Nze Mukama akola eby’ekisa n’eby’ensonga n’eby’obutuukirivu mu nsi

“Omusajja omugezi aleme kwenyumiririza mu magezi ge, oba omusajja ow’amaanyi okwenyumiririza mu maanyi ge oba omugagga mu bugagga bwe. Naye leka oyo eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu kino: antegeera era ammanyi, nti nze Mukama akola eby’ekisa n’eby’ensonga n’eby’obutuukirivu mu nsi, kubanga mu byo mwensanyukira.” Yeremiya 9:23-24

Ekijjulo kyaffe leero kijjudde ebya ssava okuva mu: Yeremiya 7-9. 

Bwetujjako akawuwo, tulaba nga Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri ayogeera eri abantu ba Yuda okuyita mu nnabbi Yeremiya. Agamba nti,

“Mulongoose amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe, nange ndibalekera ekifo kino ne mubeeramu.” Yeremiya 7:3b

Era Mukama abuuza nti,

“Munabba ne mutta, ne mukola obwenzi ne mulayira eby’obulimba, ne mwoteza obubaane eri baali Baali, ne mutambula okugoberera bakatonda abalala be mutamanyanga; ne mulyoka mujja muyimirira mu maaso gange mu nnyumba eno, eyitibwa Erinnya lyange, ne  mugamba nti, ‘Tuli bulungi, tuli bulungi,’ ne mulyoka mukola eby’emizizo byonna?” Yeremiya 7:9-10

Era ayongerako nti,

“Mulowooza nti ennyumba eno eyitibwa ennyumba yange, mpuku y’abanyazi?” Yeremiya 7:11

Era Mukama agamba Yeremiya nti,

“Noolwekyo tosabira bantu abo wadde okubegayirira okubawolereza, kubanga sikuwulire.” Yeremiya 7:16

Era Mukama kyava agamba nti,

“Laba obusungu bwange n’ekiruyi kyange bijja kufukibwa ku kifo kino, ku bantu ne ku nsolo, ku miti egy’omu ttale era ne ku bibala eby’omu ttaka; bujja kubuubuuka era tebujja kukoma.” Yeremiya 7:20

Era  Mukama ajjukiza kyeyalagira abaana ba Isirayiri nga baava e Misiri nti,

“Muŋŋondere, nange nnaabeera Katonda wammwe, nammwe munaabeera bantu bange. Mutambulire mu makubo gonna ge mbalagira, mulyoke mubeere bulungi.” Yeremiya 7:23

Wabula Mukama agamba nti Isirayiri teyamuwuliriza wadde okumusaako omwoyo. Era Mukama agamba Yeremiya abagambe nti,

“Lino ly’eggwanga eritagondera Mukama Katonda waalyo oba okufaayo ku kugololwa. Amazima gabulawo, tegali ku mimwa gyabwe.” Yeremiya 7:28

Era Mukama ayogera nti,

“Omuntu bw’agwa, tayimuka? Oba omuntu bwava mu kkubo ettuufu, takyusa n’adda? Kale lwaki abantu bange bano banvaako ne bagendera ddala.” Yeremiya 8:4-5

Era Mukama agamba nti,

“Bonna ba mululu okuva ku asembayo wansi okutuuka ku akomererayo waggulu, nnabbi ne kabona bonna balimba ne babba abantu.” Yeremiya 8:10b

Era Mukama abuuza nti lwaki ensi eyonoonese ng’eddungu ne wataba agiyitamu. Addamu nti,

“Kubanga balese amateeka gange, ge nabateekerawo. Tebaŋŋondedde wadde okugoberera amateeka gange.” Yeremiya 9:13

Era Mukama ayogera nti,

“Omusajja omugezi aleme kwenyumiririza mu magezi ge, oba omusajja ow’amaanyi okwenyumiririza mu maanyi ge oba omugagga mu bugagga bwe. Naye leka oyo eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu kino: antegeera era ammanyi, nti nze Mukama akola ebyekisa n’ebyensonga n’eby’obutuukirivu mu nsi, kubanga mu byo mwensanyukira.” Yeremiya 9:23-24

 

 

Advertisements

Buuza ekkubo eddungi gye liri, era otambulire omwo

“Yimirira mu masaŋŋanzira otunule. Buuza amakubo ag’edda, buuza ekkubo eddungi gye liri, era otambulire omwo, emmeeme yammwe erifuna ekiwummulo.” Yeremiya 6:16

Ekijjulo kya leero kijjudde ebirungo okuva mu: Yeremiya 4-6. 

Bwetujjako akawuwo, Mukama Katonda agamba Yeremiya nti,

“Bw’oba odda, ggwe Isirayiri,” bw’ayogera Mukama, “eri nze gy’olina okudda.” Yeremiya 4:1

Era ayongerako nti,

“Mulime ennimiro zammwe ezitali nnime, temusiga mu maggwa. Mukoowoole Mukama, mweweeyo mutukuze emitima gyammwe…obusungu bwange buleme okubuubuuka ng’omuliro, olw’ebikolwa byammwe ebibi, ne wataba ayinza kubuzikiza.” Yeremiya 4:4

Era kyogerwa nti,

“Ayi Yerusaalemi, naaza omutima gwo guve mu kukola ebibi olyoke olokolebwe. Olikomya ddi ebirowoozo ebibi?” Yeremiya 4:14

Ewalala okuzikirizibwa kulangirirwa era ne kyogerwa nti,

“Empisa zammwe, n’ebikolwa byammwe bye bibaleeseeko bino. Kino kyekibonerezo kyammwe. Nga kya bulumi. Nga kifumita omutima.” Yeremiya 4:18

Era Mukama agamba nti,

“Kubanga abantu bange basirusiru, tebammanyi. Baana  abatalina magezi; abatategeera. Bakagezimunnyu mu kukola ebibi, tebamanyi kukola birungi.” Yeremiya 4:22

Era kyogerwa nti,

“Dduka ogende eno n’eri mu nguudo za Yerusaalemi, tunulatunula olabe, noonya wonna we bakuŋŋaanira, bw’onoosanga omuntu omu bw’ati omwesimbu ow’amazima, nnaasonyiwa ekibuga kino.” Yeremiya 5:1

Era Mukama abuuza nti,

“Mbasonyiwe ntya? Abaana bammwe banvuddeko ne balayirira bakatonda abatali bakatonda. Bwe nabaliisa ne bakkuta, badda mu kwenda, ne beekuŋŋaana ku nnyumba z’abenzi.” Yeremiya 5:7

Era nti,

“Baali ng’embalaasi ennume ezikkuse ezitaamye, buli muntu ng’akaayanira muka munne.” Yeremiya 5:8

Era Mukama ayogera kukulumbibwa kwa Yuda. Era agamba nti abantu bwe bebuuza lwaki, bakuddibwamu nti,

“Nga bwe mwanvaako ne muweereza bakatonda abalala mu nsi yammwe, mujja kuweereza bakatonda abagwira mu nsi eteri yammwe.” Yeremiya 5:19b

Era Mukama abogerako ng’abantu abalina omutima omwewagguze era omujeemu. Era abantu,

“Abateekuba mu kifuba kugamba nti, ‘Tutye Mukama Katonda waffe agaba enkuba, eya ddumbi n’eya ttoggo, mu ntuuko zaayo; atugerekera ssabbiiti ez’okukunguliramu.’ ” Yeremiya 5:24

Era nti,

“Obutali butuukirivu bwammwe bubibakwese ebibi byammwe bibaggyeeko ebirungi.” Yeremiya 5:25

Era Mukama ayogera nti,

“Ekigambo eky’ekitalo era eky’ekivve kigudde mu nsi; Bannabbi bawa obunnabbi obw’obulimba, bakabona bafuhisa buyinza bwabwe ate abantu bange bwe batyo bwe bakyagala. Naye ku nkomerero munaakola mutya?” Yeremiya 5:30-31

Era Mukama abuuza nti,

“Ndyogera eri ani gwe ndirabula? Ani alimpuliriza? Amatu gaabwe gagaddwa ne batasobola kuwulira. Ekigambo kya Mukama kiri nga kyakusesa gye bali, tebakisanyukira n’akamu.” Yeremiya 6:10

Era nti,

“Kubanga okuva ku asembayo wansi okutuusa ku asingayo waggulu, buli omu alulunkanira kufuna. Nnabbi ne kabona bonna boogera eby’obulimba.” Yeremiya 6:13

Era Mukama abuuza nti,

“Bakwatibwa ensonyi olw’ebikolwa byabwe eby’emizizo? Nedda. Tebakwatibwa nsonyi n’akatono.” Yeremiya 6:15

Era Mukama agamba nti,

“Yimirira mu masaŋŋanzira otunule. Buuza amakubo ag’edda, buuza ekkubo eddungi gye liri, era otambulire omwo, emmeeme yammwe erifuna ekiwummulo.” Yeremiya 6:16

 

 

Nakumanya bwe nnali sinnakubumba mu lubuto lwa maama wo

“Abantu bange bakoze ebibi bibiri, banvuddeko nze ensulo ey’amazzi amalamu ne beesimira ettanka ez’omu ttaka, ettanka ez’omu ttaka ezirimu enjatika ezitanyweeramu mazzi.” Yeremiya 2:13

Ebyassava byaffe leero bigyiddwa mu: Yeremiya 1-3. 

Mukwanjuluza, Mukama Katonda agamba Yeremiya nti,

“Nakumanya bwe nnali sinnakubumba mu lubuto lwa maama wo; nga tonnava mu lubuto n’akutukuza. Nakulonda okubeera nnabi eri amawanga.” Yeremiya 1:5

Wabula tulaba nga Yeremiya agezaako okwekwasa nga bwatamanyi kwogera era nga bweyali omwana omuto. Mukama amutegeeza nti,

“Toyogera nti , ‘Ndi mwana bwana;’ kubanga yonna gye nnaakutumanga gy’onoogendanga, era byonna bye nnaakulagiranga by’onooyogeranga.” Yeremiya 1:7

Era ayongerako nti,

“Tobatyanga kubanga nze ndi naawe okukuwonya.” Yeremiya 1:8

Era Mukama ategeeza Yeremiya nti,

“Leero nkutaddewo okuba n’obuyinza ku mawanga era ne ku bwakabaka. Okusimbula n’okumenya, okuzikiriza n’okuwamba; okuzimba n’okusimba.” Yeremiya 1:10

Era Mukama ategeza Yeremiya nti,

“Era ndibonereza abantu bange olw’ebibi byabwe byonna, kubanga banvaako ne booteeza obubaane eri bakatonda abalala, era ne basinza ebibajje bye beekolera n’emikono gyabwe.” Yeremiya 1:16

Wabula Mukama Katonda alagira Yeremiya okwetegeka, ayimirire abuulire byonna Mukama bya  mulagira. Era Mukama agamba Yeremiya nti,

“Leero nze nkufudde ekibuga ekiriko enkomera ez’amaanyi, era empagi ey’ekyuma, era bbugwe ow’ekikomo eri ensi yonna …” Yeremiya 1:18

Ayongerako nti,

“Balirwana naawe naye tebalikuwangula; kubanga nze di wamu naawe okukununula,”  Yeremiya 1:19

Bwe tweyongerayo, tulaba nga Isirayiri eva ku katonda. Era Mukama atuuma Yeremiya okulangirira Mukama byayogera nti,

“Nzijukira okwewayo kwe weewaayo ng’okyali muto, engeri gye wanjagalamu nga twakafumbiriganwa, wangoberera mu ddungu mu nsi etali nnime.” Yeremiya 2:2

Era nti,

“Isirayiri wali mutukuvu wa Mukama, ebibala  ebibereberye ebyamakungula ge; bonna abaakulyangako nga bazzizza omusango, akabi nga kabatuukako,” Yeremiya 2:3

Era Mukama abuuza ezzadde lya Yakobo nti,

“Kibi ki bakitammwe kye bansangamu ne banvaako ne bagenda ewala ennyo bwe batyo? Baagoberera ebifaananyi byabakatonda abakole n’emikono…” Yeremiya 2:5

Era ayongerako nti,

“Ne batagamba nako nti; Ali ludda wa Mukama eyatuggya mu nsi y’e Misiri; eyatuyisa mu lukoola, mu nsi ey’amalungu n’obunnya, mu nsi enkalu n’ekisiikirize eky’okufa, munsi omutali muntu n’omu, so n’omuntu yenna mw’atayinza kuyita?” Yeremiya 2:6

Era Mukama abuuza nti,

“Waali wabaddewo eggwanga erikyusa bakatonda baalyo, wadde nga si bakatonda, naye nga bitaliimu? Naye abantu bange baawaanyisa ekitiibwa kyabwe n’ebitagasa.” Yeremiya 2:11

Ayongerako nti,

“Abantu bange bakoze ebibi bibiri, banvuddeko nze ensulo ey’amazzi amalamu ne beesimira ettanka ez’omu ttaka, ettanka ez’omu ttaka ezirimu enjatika ezitanyweeramu mazzi.” Yeremiya 2:13

Era mukama ayogera ku kyavirako akabi akagwa ku Isirayiri nti,

“Si ggwe weeretedde bino ng’ova ku Mukama Katonda wo, eyakukulembera akulage ekkubo?” Yeremiya 2:17

Era nti,

“Ebibi byo byennyini bye biri kubonereza, n’okudda kwo emabega kwe kulikusalira omusango. Kale lowooza era otegeere nga bwe kiri ekibi era eky’omutawaana gy’oli bw’ova  ku Mukama Katonda wo, n’oba nga tokyantya,” Yeremiya 2:19

Era tulaba okubonerezebwa kwa Isirayiri olw’okusinza bakatonda abalala. Era Mukama ayogera nti,

Ng’omubbi bw’aswala ng’akwatiddwa, n’ennyumba ya Isirayiri bw’eswala bw’etyo, … nga bagamba emiti nti, “Ggwe kitange,” era n’ejjinja nti, “Ggwe wanzaala.” Bankubye amabega, naye bwe balaba ennaku bankaabirira nti, “Yimuka ojje otulokole. ” Yeremiya 2:26-27

Ayongerako nti,

“Abaana bammwe nababonereza naye nga bwerere, tebakkiriza kugololwa. Mmwe bennyini ne mwettira bannabbi bammwe ng’empologoma bw’etta.” Yeremiya 2:30

Era Mukama abuuza,

“Omuwala omuto ayinza okwerabira ebikomo, oba omugole okwerabira ekyambalo kye? Naye ng’ate abantu bange bannerabidde.” Yeremiya 2:32

Bwe tweyongerayo tulaba Mukama ng’ayita Yuda omukazi atali mwesigwa. Era agamba nti,

“Oyonoona ensi n’obwenzi bwo n’ekibi kyo.” Yeremiya 3:2b

Era nti,

“Noolwekyo enkuba kyevudde eziyizibwa, n’ekuba eya ttoggo n’etetonnya. Naye era otemya nga malaya tokwatibwa nsonyi.” Yeremiya 3:3

Wabula tulaba Mukama ng’awa Yeremiya obubaka buno eri Isirayiri,

“’Komawo ggwe Isirayiri eyanvaako,’ bw’ayogera Mukama. ‘Siribatunuuliza busungu kubanga ndi wakisa,’ bw’ayogera Mukama; ‘Sirisiba busungu ku mwoyo emirembe gyonna.” Yeremiya 3 :12

Era nti,

“Mukkirize bukkiriza ekibi kyammwe, mwajeemera Mukama Katonda wammwe, mwasinza bakatonda abalala, wansi wa buli muti oguyimiridde, era ne mutaŋŋondera. ” Yeremiya 3:13

Ayongerako,

“Era ndibawa  abasumba abakola ng’omutima gwange bwe gwagala, abalibakulembera mu kumanya era ne mu kutegeera. ” Yeremiya 3 :15

Era nti,

“Ebbanga lyonna Yerusalemi kiriyitibwa Entebbe ya Mukama ey’Obwakabaka, amawanga gonna mwe ganaakuŋŋaaniranga okumugulumiza Mukama mu Yerusaalemi era tebliddayo kugoberera mitima gyabwe minyoomi. ” Yeremiya 3:17

Ewalala Mukama ayita abantu be okwenenya,

“Mukomweewo mmwe abantu abatali beesigwa, nnaabawonya ne mbafuula abeesigwa. ” Yeremiya 3:22

Era Abantu baddamu nti,

“Ddala mu Mukama Katonda waffe mwe muli obulokozi bwa Isirayiri. ” Yeremiya 3:23b

Mukama, ali naawe; tokyaddayo kutya kabi konna

“Mukama Katonda ali naawe, ow’amaanyi alokola: alikusanyukira, alikukkakkanyiza mu kwagala kwe, alikusanyukira n’okuyimba.”  Zeffaniya 3:17

Ekijjulo kyaffe leero kigyiddwa mu: Zeffaniya 1-3. 

Bwetujjako akawuuwo,  Katonda ayogera nti,

“Ndizikiriza ddala byonna okuva ku nsi. Ndizikiriza abantu wamu n’ensolo; ndizikiriza ebinyonyi eby’omu bbanga n’ebyennyanja; ababi balisigaza ntuumu ya kafalimbo; ndimalawo abantu okuva ku nsi.”  Zeffaniya 1:2-3

Era Mukama agamba ndi aligololera ku Yuda omukono gwe n’eku abo bonna abali mu Yerusaalemi;

“Abo abadda emabega obutagoberera Mukama, wadde abo abatamunoonya newaakubadde okumwebuuzaako.”  Zeffaniya 1:6

Era Mukama ayogera kukubonereza kubalagajjavu,

“Ne bwe balizimba ennyumba tebalizituulamu, era balisimba ennimiro ez’emizabbibu nazo tebalinywa wayini wamu.”  Zeffaniya 1:13b

Era kyogerwa nti,

“Munoonye Mukama, mmwe mwenna abawombeefu ab’omu nsi, abakola by’alagira; munoonye obutuukirivu n’obuwombeefu; mpozzi mulikwekebwa ku lunaku olw’obusungu bwe.”  Zeffaniya 2:3

Era ku Yuda Mukama agamba nti,

“…Mukama Katonda waabwe alibalabirira, n’akomyawo obugagga bwabwe.”  Zeffaniya 2:7c

Wabula Mukama ayogera kukuzikirizibwa kwa abamowaabu n’Abamoni. Ayongerako nti,

“Eno y’eriba empeera yaabwe olw’amalala gaabwe, kubanga bavumye ne banyooma abantu ba Mukama Ayinzabyonna.”  Zeffaniya 2:10

Era nti,

“Mukama aliba wa ntiisa gye bali bw’alizikiriza bakatonda bonna ab’ensi. Amawanga gonna ag’oku mbalama zonna galimusinza, buli muntu ng’asinziira mu nsi ye.”  Zeffaniya 2:11

Ku bujeemu bwa Yerusaalemi, Mukama agama nti,

“Zikisanze ekibuga ekijooga, ekijeemu era ekyonoonefu! Tekigondera ddoboozi lya Mukama, wadde okukkiriza okubuulirirwa; tekyesiga Mukama; wadde okusemberera Katonda wakyo.”  Zeffaniya 3:1-2

Era kyogerwa nti,

“Mu biro ebyo ndirongoosa enjogera ey’amawanga; bonna balikoowoola erinnya lya Mukama, okumuweereza n’omwoyo gumu.”  Zeffaniya 3:9

Era Ku Isirayiri kyogerwa nti,

“Naye ndireka wakati mu ggwe abantu abakakkamu era abeetoowaze, abo abesiga erinnya lya Mukama.”  Zeffaniya 3:12

Era nti,

“Mukama, ali naawe; tokyaddayo kutya kabi konna.”  Zeffaniya 3:15b

Era nti,

“Mukama Katonda ali naawe, ow’amaanyi alokola: alikusanyukira, alikukkakkanyiza mu kwagala kwe, alikusanyukira n’okuyimba.”  Zeffaniya 3:17

Era ku Isirayiri Mukama ayogerwa nti,

“ndibafuula ettendo ne mbawa ekitiibwa mu nsi zonna gye baaswazibwa.”  Zeffaniya 3:19b

Era nti,

“Weewaawo ndibawa ekitiibwa n’ettendo mu mawanga gonna ag’omunsi zonna, bwe ndikomyawo obugagga bwammwe nga mulaba.”  Zeffaniya 3:20b

Katonda wa buggya

“Mukama mulungi, kiddukiro mu kiseera eky’okulabiramu ennaku, era alabirira abo bonna abamwesiga.” Nakkumu 1:7

Ebyassava byaffe leero bigyiddwa mu: Nakkumu 1-3. Omulamwa gw’ekitabo kya Nakkumu kwe kulaga nga Mukama bw’alina obuyinza obw’enkomeredde ku bantu bonna ne ku bintu byonna mu nsi.

Mukwanjuluza, kyogerwa nti,

“Katonda wa buggya… Mukama yeesasuza ku balabe be era aterekera abamuwakanya obusungu bwe.” Nakkumu 1:2

Era kyongerwako nti,

“Mukama tatera kusunguwala, ate nga wa maanyi mangi era tayinza n’akatono butabonereza oyo gwe gusinze.” Nakkumu 1:3

Era nti,

“Mukama mulungi, kiddukiro mu kiseera eky’okulabiramu ennaku, era alabirira abo bonna abamwesiga.” Nakkumu 1:7

“Naye alisaanyaawo abalabe be mu mataba amazibu, ekizikiza kiribawondera.” Nakkumu 1:8

Eri abantu be, kigambibwa nti,

“Yimusa amaaso, tunula ku nsozi, laba, ebigere ebirungi eby’oyo aleese amawulire amalungi, alangirira emirembe.” Nakkumu 1:15a

Bwetweyongerayo tulaba ng’ekibuga Nineeve kigwa. Kyogerwa nti,

“Zikusanze ggwe ekibuga eky’omusaayi! Kyonna ekijjudde eby’obulimba n’obunyazi, ekitaggwaamu banyagiddwa.” Nakkumu 3:1

Era nti,

“Laba abalwanyi bammwe balinafuwa ne batiitiira ng’abakazi.” Nakkumu 3:13a

Era nti,

“Enzigi z’ensi yo nzigule eri abalabe bo. Era omuliro gwokezza emikiikiro gyazo.” Nakkumu 3:13b

Era nti,

“Omuliro gulikulya, ekitala kirikuzikiriza. Wenna oliriibwa ng’enzige bwe zirya ebirime.” Nakkumu 3:15

Era nti,

“Bonna abawulira ebikuguddeko bakuba bukubi mu ngalo olw’okugwa kwo. Ani ataakosebwa olw’ettima lyo eringi? Kubanga muntu ki ataatuusibwako bukambwe bwo obwa buli kakedde?” Nakkumu 3:19b

 

 

 

Tulina Mukama Katonda waffe atulwanirira mu ntalo zaffe

“Mube n’amaanyi, mugume omwoyo. Temutya so temwelariikirira olwa kabaka w’e Bwasuli n’eggye lye eddene, kubanga waliwo eggye eddene eririsinga eriri awamu naffe.” 2 Ebyomumirembe 32:7

Ekijjulo kyaffe leero kigyiddwa mu: 2 Bassekabaka 20-21;  2 Ebyomumirembe 32-33

Bwetujjako akawuuwo,  tulaba Sennakeribu ng’atisatisa okulumba Yerusalemi. Era tulaba nga kabaka Keezeekiya alonda abaduumizi b’eggye okukulembera abantu era n’abagumya nti,

“Mube n’amaanyi, mugume omwoyo. Temutya so temwelariikirira olwa kabaka w’e Bwasuli n’eggye lye eddene, kubanga waliwo eggye eddene eririsinga eriri awamu naffe.” 2 Ebyomumirembe 32:7

Era nti,

“Sennakeribu akozesa omukono ogw’omubiri, naye ffe tulina Mukama Katonda waffe atulwanirira mu ntalo zaffe.” 2 Ebyomumirembe 32:8

Era tulaba nga Mukama alwanirira Isirayiri,

“Mukama n’atuma malayika, n’atemaatema abasajja abalwanyi abazira ab’amaanyi bonna n’abaduumizi, n’abakungu mu nkambi ya kabaka w’e Bwasuli. Sennakeribu n’addayo mu nsi ye ng’ensonyi zimukutte. Bwe yayingira mu yeekaalu ya katonda we, abamu ku batabani be ne bamutta n’ekitala.” 2 Ebyomumirembe 32:21

Be tweyongerayo tulaba okulwala kwa kabaka Keezeekiya. Era nawebwa obubaka okuva eri Mukama nti,

“Teekateeka ennyumba yo, kubanga ogenda kufa so togenda kuwona.” 2 Bassekabaka 20:1b

Tulaba nga Keezeekiya yegayirira Mukama nga agamba nti,

“Jjukira, Ayi Mukama Katonda, nga bwe ntambulidde mu maaso go mu bwesigwa n’omutima ogutuukiridde, era ne nkola ebirungi mu maaso go.” 2 Bassekabaka 20:3

Tulaba nga Mukama amuddamu mbagirawo nti,

“Mpulidde okusaba kwo, era n’amaziga go ngalabye. Nzija kukuwonya… Ndikwongerako emyaka emirala kkumi n’ettaano, era laba ndikulokola ggwe n’ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli, nga nnwanirira ekibuga kino ku lwange nze ne ku lw’omuddu wange Dawudi.” 2 Bassekabaka 20:5a – 6

Wabula bwe tweyongerayo, tulaba nga Keezeekiya alaga byonna ebyali mu lubiri lwe ababaka abava ewa Berodakubaladani mutabani wa Baladani kabaka w’e Babulooni oku, ekintu ekitasanyusa Mukama. Era Mukama ayogera nti,

“Laba, ekiseera kijja byonna ebiri mu lubiri, ne byonna bajjajjaabo bye baatereka, lwe biritwalibwa e Babulooni. Tewaliba kintu ekirisigalawo.” 2 Bassekabaka 20:17

Keezeekiya wamala okufa, mutabani we Manase alya entebbe y’obwakabaka. Wabula kigambibawa nti,

“N’akola ebibi bingi mu maaso ga Mukama, era n’amusunguwaza.” 2 Bassekabaka 21:6b

 

Era tulaba ng’obubi bweyongera mu bwakabaka bwa kabaka Manase. Era Mukama ayogera nti,

 

“Ndireeta ku Yerusaalemi ne ku Yuda obubi obusingirayo ddala, era na buli muntu alikiwulira alisasamala.” 2 Bassekabaka 21:12

Era nti ekyo kyali kyakubaawo kubanga,

“Kubanga baakola ebibi mu maaso gange, ne bansunguwaza nnyo okuviira ddala ku lunaku bajjajjaabwe kwe baaviirako mu Misiri n’okutuusa ku lunaku lwa leero.” 2 Bassekabaka 21:15

 

Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe. Ffe tuli bbumba, ggwe mubumbi, ffe ffenna tuli mulimu gwa mikono gyo

“Era Mukama anaakuluŋŋamyanga ennaku zonna, n’akuwa ebintu ebirungi obulamu bwo bye bwetaaga, amagumba go aligongeramu amaanyi; era olibeera ng’ennimiro enfukirire obulungi, era ng’oluzzi olw’amazzi agatakalira.” Isaaya 58:11

Omuwumbo gwaffe leero gujjudde ebyasava okuva mu: Isaaya 54 – 66.

Bwetuggyako akawuuwo, ekitiibwa kya Sayuuni eky’oluvanyuma kyogerwaako. Kigambibwa nti,

“Yimba ggwe omugumba atazaalanga; tandika okuyimbira mu ddoboozi ery’omwanguka osanyukire ddala ggwe atalumwanga kuzaala. Kubanga ggwe eyalekebwa ojja kuba n’abaana bangi okusinga oyo akyalina bba,” bwayogera Mukama. Isaaya 54:1

Era nti,

“Gaziya weema yo, owanvuye emiguwa gyayo, tokwata mpola; nyweza enkondo zo. Kubanga olisaasaanira ku mukono gwo ogwa ddyo era n’ogwa kkono, n’ezzadde lyo lirirya amawanga, era abantu bo balituula mu bibuga ebyalekebwa awo obyereere.” Isaaya 54:2-3

Era nti,

“Totya kubanga toliddayo kukwatibwa nsonyi. Toggwaamu maanyi kubanga togenda kuswazibwa. Olyerabira ensonyi z’obuvubuka bwo, n’ekivume ky’obwannamwandu bwo tolikijjukira nate. Isaaya 54:4

“Kubanga Omutonzi wo ye balo, Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye. Omutukuvu wa Isirayiri ye Mununuzi wo, Katonda ow’ensi yonna, bw’ayitibwa.” Isaaya 54:5

Era Mukama ayongerako nti,

“Nga bwe nalayira nti amazzi ga Nuuwa tegagenda kuddamu kulabikako ku nsi, bwe ntyo ndayira nti siriddayo kukusunguwalira wadde okukunenya.” Isaaya 54:9b

Ku Yerusaalemi ey’ebiro ebijja kyogerwa nti,

“N’abaana bo bonna baliyigirizibwa Mukama; n’emirembe gy’abaana bo giriba mingi.” Isaaya 54:13

Era nti,

“Olinywezebwa mu butuukirivu era toojoogebwenga, kubanga tolitya, onoobanga wala n’entiisa kubanga terikusemberera.” Isaaya 54:14

Era nti,

“Omuntu yenna bwakulumbanga kiriba tekivudde gyendi. Buli anaakulumbanga anaawangulwanga ku lulwo.” Isaaya 54:15

Era nti,

“Naye teri kyakulwanyisa kye baliweesa ekirikwolekera ne kikusobola, era oliwangula buli lulimi olulikuvunaana era oluwoza naawe. Guno gwe mugabo gw’abaddu ba Mukama, n’obutuukirivu bwabwe obuva gye ndi.” Isaaya 54:17

Bwe tweyongerayo tulaba nga abalina ennyonta bayitibwa.

“Kale mujje, mmwe mwenna abalumwa ennyonta, mujje eri amazzi. Mujje mmwe abatalina ssente zigula, mujje muweebwe bye mwagala, envinnyo oba amata ebitali bya kugula ebitaliiko miwendo gya kusasula.” Isaaya 55:1

Era nti,

“Mumpulirize, mumpulirize n’obwegendereza mulye ebyo ebirungi, emmeeme yammwe eneesanyuka nnyo.” Isaaya 55:2b

Era kyongerwako nti,

“Munoonye Mukama nga bw’akyayinzika okulabika, mumukaabirire nga bw’akyali okumpi.” Isaaya 55:6

Era nti,

“Omubi aleke ekkubo lye, n’atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye. Leka adde eri Mukama naye anaamusaasira, adde eri Katonda waffe kubanga anaamusonyiyira ddala.” Isaaya 55:7

Mukama ayogera ku birowoozo bye n’amakubo ge nti,

“Ng’eggulu bwe liri waggulu okukira n’ensi, bwe gatyo amakubo gange bwe gali ewala ennyo n’okukira amakubo gammwe, n’ebirowoozo byange bwe biri eri ebirowoozo byammwe.” Isaaya 55:9

Mukama era agerageranya ekigambo kye ku nkuba n’omuzira.

“Era ng’enkuba bwetonnya n’omuzira ne gugwa okuva mu ggulu n’ebitaddayo wabula ne bifukirira ettaka, ebirime ne bikula, ne bimerusa ensigo z’omusizi, era ne biwa omuli emmere.” Isaaya 55:10

“Bwe kityo ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange bwe kiri; tekiriddayo bwerere, naye kirikola ekyo kye njagala era kirituukiriza ekyo kye nakituma.” Isaaya 55:11

Era nti,

“Era kino kiribaawo erinnya lya Mukama limanyibwe era ako ke kaliba akabonero akataliggwaawo ak’emirembe n’emirembe.” Isaaya 55:13b

Bwe tweyongerayo Mukama ayogera nti,

“Mukolenga obwenkanya era ebituufu, kubanga obulokozi bwange bunaatera okujja, n’obutuukirivu bwange bunatera okubikkulibwa.” Isaaya 56:1

Era nti,

“Eri abalaawe abakwata ssabbiti zange ne basalawo okugoberera ebyo ebinsanyusa, ne bakuuma endagaano yange, amannya gaabwe galijjukirwa mu yeekaalu yange mu bisenge byamu, ng’ekijjukizo n’okusinga bwe mwandibadde n’abaana aboobulenzi n’aboobuwala.” Isaaya 56:4-5

Era kyogerwa nti,

“Kubanga ennyumba yange eriyitibwa nnyumba ya kusabiramu eri amawanga gonna.” Isaaya 56:7c

Ewalala tulaba Mukama nga agamba amawanga amalala okujja ng’ensolo ez’omu nsiko, galye abantu be. Awa esonga nti,

“Kubanga abakulembeze ba Isirayiri bazibe ba maaso, bonna tebalina magezi, bonna mbwa ezitasobola kuboggola, zibeera mu kuloota nakugalaamirira ezaagala okwebaka obwebasi.” Isaaya 56:10

Ewalala kyegerwa ku bantu abatuukirivu abazikirira nti,

“Kubanga omutuukirivu aggyibwawo olw’akabi akagenda okujja. Ayingira mu mirembe n’afuna okuwummulira mu kufa kwe.” Isaaya 57:1c-2a

Era Mukama agamba nti,

“Naye oyo anfuula ekiddukiro kye alirya ensi era alitwala olusozi lwange olutukuvu.” Isaaya 57:13c

Era nti,

“Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu awamu n’oyo alina omwoyo oguboneredde ogwetoowaza, okuzzaamu amaanyi omwoyo gw’abakkakkamu, era n’ogw’abo ababoneredde.” Isaaya 57:15b

Era nti,

“Naye ababi bali ng’ennyanja esiikuuse, eteyinza kutereera ey’amayengo agasiikuula ebitosi n’ebitaka. Tewali mirembe, eri aboonoonyi,” bwayogera Katonda wange. Isaaya 57:20-21

Bwe tweyongerayo Mukama ayogera kukusiiba okw’amazima:

“Si kugabira bayala ku mmere yo, n’okusembeza abaavu abatalina maka mu nnyumba yo;  bw’olaba ali obwereere, n’omwambaza n’otekweka baŋŋanda zo abeetaaga obuyambi bwo?” Isaaya 58:7

Era nti,

“Awo omusana gwo gulyoke guveeyo gwake ng’emmambya esala, era okuwonyezebwa kwo kujje mangu; obutuukirivu bwo bukukulembere, era ekitiibwa kya Katonda kikuveeko emabega.” Isaaya 58:8

Era kyongerwako nti,

“Bw’olyewaayo okuyamba abayala n’odduukirira abali mu buzibu, olwo omusana gwo gulyaka n’ova mu kizikiza, ekibadde ekiro kifuuke ettuntu.” Isaaya 58:10

Era nti,

“Era Mukama anaakuluŋŋamyanga ennaku zonna, n’akuwa ebintu ebirungi obulamu bwo bye bwetaaga, amagumba go aligongeramu amaanyi; era olibeera ng’ennimiro enfukirire obulungi, era ng’oluzzi olw’amazzi agatakalira.” Isaaya 58:11

Bwe tweyongerayo kyogerwa nti,

“Mulabe, omukono gwa Mukama teguyimpawadde n’okuyinza ne gutayinza kulokola, era si muzibe wa matu nti tawulira. Naye obutali butuukirivu bwammwe bwe bubaawudde ku Katonda wammwe. Ebibi byammwe bye bimukwesezza amaaso ge, n’atawulira.” Isaaya 59:1-2

Era nti,

“Tewali awaaba bya nsonga so tewali awoza mu mazima.” Isaaya 59:4

Era nti,

“Tewali w’oyinza kusanga mazima, era oyo ava ku kibi asuulibwa. Mukama yakiraba n’atasanyuka kubanga tewaali bwenkanya.” Isaaya 59:15

Bwe tweyongerayo tulaba ekitiibwa kya Sayuuni ekijja.

Kyogerwa nti,

“Yimuka, oyake, kubanga ekitangaala kyo kizze kyase era ekitiibwa kya Mukama kikwakirako.” Isaaya 60:1

Era nti,

“Kubanga laba ensi eribikkibwa ekizikiza era n’ekizikiza ekikutte ennyo kibikke abantu baamawanga gonna, naye ggwe Mukama alikwakirako era ekitiibwa kye kikulabikeko.” Isaaya 60:2

Era nti,

“Amawanga galijja eri omusana gwo ne bakabaka eri okumasamasa okunaakubangako ng’ojja.” Isaaya 60:3

Era nti,

“Obugagga bw’amawanga bulyoke bukuleetebwe, era n’ebirungi byonna eby’omu nnyanja birikweyuna.” Isaaya 60:5b

Era nti,

“Abaana ba bamawanga amalala balizimba bbugwe wo, era bakabaka baabwe bakuweereze; Olw’obusungu bwange, nakukuba, naye mu kusaasira kwange ndikukwatirwa ekisa.” Isaaya 60:10

Era nti,

“Batabani baabo abaakunyigirizanga balijja okukuvuunamira; era bonna abaakusekereranga balivuunamira ku bigere byo. Balikuyita kibuga kya Katonda, Sayuni ey’Omutukuvu wa Katonda.” Isaaya 60:14

Era nti,

“Ebisenge byo olibiyita Bulokozi, Era n’enzigi zo, Kutendereza.” Isaaya 60:18b

Era kyogerwa nti,

“Enjuba si yeenekumulisizanga emisana, oba omwezi okukumulisizanga ekiro. Kubanga Mukama y’anaabeeranga ekitangaala kyo eky’emirembe n’emirembe, era Katonda wo y’anaabeeranga ekitiibwa kyo.” Isaaya 60:19

Era nti,

“Asembayo okuba owa wansi alyala n’aba lukumi, n’asembayo obutono afuuke eggwanga ery’amaanyi.” Isaaya 60:22

Mu kibego ekiddako tulaba amawulire amalungi ag’obulokozi. Kyogerwa nti,

“Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze, kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi, antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese. Okulangirira eddembe eri abawambe, n’abasibe bateebwe bave mu makomera.” Isaaya 61:1

Era okubawa,

“N’amafuta ag’essanyu mu kifo ky’ennaku. Ekyambalo ky’okutendereza mu kifo ky’omwoyo w’okukeŋŋeentererwa balyoke bayitibwe mivule gy’abutuukirivu, ebisimbe bya Mukama.” Isaaya 61:3b

Era nti,

“Era muyitibwe bakabona ba Mukama, abantu baliboogerako ng’abaweereza ba Mukama, mulirya obugagga bw’amawanga, era mu bugagga bwabwe mwe mulyenyumiririza.” Isaaya 61:6

Era nti,

“Abo bonna abalibalaba balibamanya, nti bantu Mukama be yawa omukisa.” Isaaya 61:9b

Era Mukama agamba nti,

“Ku lwa Sayuuni ssiisirike, era ku lwa Yerusalemi ssiiwummule, okutuusa nga obutuukirivu bwe butemagana ng’emmambya esala, obulokozi bwe ng’ettala eyaka.” Isaaya 62:1

Era nti,

“Kubanga ng’omuvubuka bwawasa omuwala omuto bw’atyo eyakutonda bwalikulabirira. Nga omugole omusajja bwasanyukira oyo gw’awasizza, bw’atyo Katonda bwalikusanyukira.” Isaaya 62:5

Era nti,

“Ntadde abakuumi ku bbugwe wo, ggwe Yerusaalemi abataasirike emisana n’ekiro. Mmwe abakoowoola Mukama temuwummula.” Isaaya 62:6

Era nti,

“Era temumuganya kuwummula okutuusa azimbye Yerusaalemi era ng’agifudde ettendo mu nsi.” Isaaya 62:7

Era,

“Gamba omuwala wa Sayuuni nti, ‘Laba omulokozi wo ajja, Laba aleeta n’ebirabo bingi, n’abantu b’anunudde bamukulembedde.'” Isaaya 62:11

Era nti,

“Era baliyitibwa Abantu Abatukuvu, Abanunule ba Mukama, ne Yerusaalemi kiyitibwe, Ekibuga Mukama ky’ayagala.” Isaaya 62:12

Ekibego ekiddako kyogerwa nti,

“Ndibuulira ku bulungi bwa Mukama, ebikolwa ebyamugwanyisa okutenderezebwa, okusinziira ku byonna Mukama by’atukoledde; weewaawo ebirungi ebingi by’akoledde ennyumba ya Isirayiri, okusinziira ku kisa kye, okusinziira ku bungi bw’okwagala kwe okutajjulukuka.” Isaaya 63:7

Bwe tweyongerayo kyogerwa nti,

“Okuva mu mirembe egy’edda teri yali awulidde oba kutu kwali kutegedde, oba liiso lyali lirabye Katonda yenna okuggyako ggwe, alwanirira abo abamulindirira.” Isaaya 64:4

Era olw’okwonoona abantu be kwe baali batambuliriddemu kyogerwa nti,

“Ffenna twafuuka batali balongoofu era obutuukirivu bwaffe buli nga nziina ezijjudde ekko.” Isaaya 64:6

Tulaba okwegayirira,

“Ate ng’era, Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe. Ffe tuli bbumba, ggwe mubumbi, ffe ffenna tuli mulimu gwa mikono gyo.” Isaaya 64:8

Bwe tweyongerayo, Mukama agamba nti,

“Nze nnali mwetegefu okweyoleka eri abo abaali tebannoonya. Neeraga abo abaali tebannoonya. Eri eggwanga eryali litakoowoola linnya lyange nneyoleka gye bali ng’aŋŋamba nti, ‘Ndi wano, Ndi wano’.” Isaaya 65:1

Wabula Mukama agamba nti,

“Abaweereza bange bajja kulya naye mmwe mujja kulumwa enjala, abaweereza bange bajja kunywa, naye mmwe mulumwe ennyonta; abaweereza bange bajja kujaguza, naye mmwe mukwatibwe ensonyi.” Isaaya 65:13

Era nti,

“Kiryoke kibeere nti buli muntu ananoonya okufuna omukisa anaagunoonya kuva eri Katonda Ow’amazima buli anaalayiranga mu ggwanga anaalayiranga Katonda ow’amazima. Kubanga emitawaana egyayita gya kwerabirwa gikwekebwe okuva mu maso gange.” Isaaya 65:16

Era nti,

“Laba nditonda eggulu eriggya n’ensi empya. Ebintu eby’edda tebijja kujjukirwa wadde okulowoozebwako mu mutima.” Isaaya 65:17

Era kyogerwa ku Yerusalemi empya nti,

“Oyo alifira ku myaka ekikumi alitwalibwa ng’omuvubuka obuvubuka. Oyo alituusa kikumi abalibwe ng’eyakolimirwa.” Isaaya 65:20

Era nti,

“Balizimba ennyumba bazisulemu, balisimba emizabbibu balye ebibala byagyo.” Isaaya 65:21

Era nti,

“Abalonde bange balirwawo nga bawoomerwa emirimu gy’emikono gyabwe.” Isaaya 65:22c

Era nti,

“Nga tebanakoowoola ndibaddamu, nga bakyayogera bati, mbaddemu.” Isaaya 65:24

Mu kibego ekirala, Mukma agamba nti,

“Eggulu y’entebe yange kwe nfugira n’ensi ke katebe kwe mpummuliza ebigere byange, nnyumba ki gye mulinzimbira? Kifo ki kye mulimpa okuwummuliramu?” Isaaya 66:1

Wabula Mukama ayongerako nti,

“Ono ye muntu gwe ntunulako; oyo ow’eggonjebwa era omwetoowaze mu mwoyo, oyo akankanira ekigambo kyange.” Isaaya 66:2b

Era Mukama abuuza nti,

“Nnyinza okutuusa abantu bange ku kuzaalibwa ne batazaalibwa?” Isaaya 66:9

Era Mukama ayogera nti,

“Laba mbaleetera obugagga obutaliiko kkomo, obugagga bw’amawanga bube gye muli ng’omugga ogwanjaala.” Isaaya 66:12

Era nti,

“Okuva ku mwezi okutuuka ku mwezi, n’okuva ku ssabbiiti okutuuka ku ssabbiiti, bonna abalina omubiri banajjanga okusinza mu maso gange.” Isaaya 66:23

 

Nze nabakola era nze nnaabawekanga. Nnaabasitulanga era nnaabanunulanga

“Mmwe be nnalera okuva lwe mwava mu lubuto, be nasitula okuva lwe mwazalibwa. Ne mu bukadde bwammwe nzija kusigala nga nze Nzuuyo. Ne bwe muliba mulina envi nnabasitulanga. Nze nabakola era nze nnaabawekanga. Nnaabasitulanga era nnaabanunulanga.” Isaaya 46:3b-4

Ekijjulo kyaffe leero kigyiddwa mu: Isaaya 44-48;  2 Kings 18:9 – 19:37, Psalm 46, 80, 135; Isaaya 49-53

Mukwanjuluza, Mukama ayogera eri Isirayiri nti,

Bw’ati bw’ayogera Mukama oyo, eyakutonda era eyakubumba mu lubuto, ajja kukuyamba. “Totya ggwe Yakobo, omweereza wange, ggwe Yesuruni gwe nalonda.” Isaaya 44:2

Ayongerako nti,

“Kubanga ndifuka amazzi ku ttaka eririna ennyonta n’enzizi ku ttaka ekkalu. Ndifuka Omwoyo wange ku zadde lyo, era n’omukisa gwange ku bazzukulu bo.” Isaaya 44:3

Ayongerako,

“Era balimera ng’omuddo ku mabbali g’enzizi, babe ng’emiti egiri ku mabbali g’emigga.” Isaaya 44:4

Kyongerwako nti,

“Omu aligamba nti,’ Nze ndi wa Mukama,’ n’omulala ne yeeyita erinnya lya Yakobo, n’omulala ne yeewandiikako nti, ‘Wa Mukama,’ ne yeetuuma Isirayiri.” Isaaya 44:3

Era Mukama ayogera nti,

“Nze w’olubereberye era era nze nkomerero era tewali Katonda mulala wendi.” Isaaya 44:6b

Era Mukama abuuza nti,

“Mmwe bajulirwa bange. Eriyo Katonda omulala okuggyako nze? Nedda. Tewali Lwazi lulala sirina lwe mmanyi.” Isaaya 44:8b

Bwe tweyongerayo, Mukama ayogera ku butagasa bakatonda abakole n’emikono.

Wabbula ajjukiza Isirayiri,

“Nze nakubumba, oli muweereza wange, ggwe Isirayiri sirikwerabira.” Isaaya 44:21b

Era nti,

“Ebyonoono byo mbyezeewo n’embisenda ng’ekire, n’ebibi byo ne mbyerawo ng’olufu olw’omu makya. Kamawo gye ndi kubanga nakununula.” Isaaya 44:22

Era kyogerwa nti,

“Yimba n’essanyu ggwe eggulu kubanga ekyo Mukama yakikoze.” Isaaya 44:23

Era Mukama ayogera ku kuzzibwawo kw’ekibuga Yerusaalemi.

Agamba nti,

“Nze Mukama, eyatonda ebintu byonna, eyabamba eggulu nzekka, eyayanjuluza ensi obwomu.” Isaaya 44:24

Era,

“Asazaamu abalaguzi bye balagudde era abalogo abafuula abairusiru. Asaabulula eby’abagezi n’afuula bye balowoozezza okuba eby’obusirusiru.” Isaaya 44:25

Era nti,

“Anyweza ekigambo ky’omuweereza we n’atuukiriza obubaka bwa babaka bange. Ayogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kirituulibwamu,’ ne ku bibuga bya Yuda nti, ‘Birizimbibwa,’ ne ku bifo ebyazika nti, ‘Ndibizzaawo,’.” Isaaya 44:26

Bwe tweyongerayo, Mukama agamba Kuulo,

“Ndikukulembera ne ntereeza ebifo ebigulumivu.” Isaaya 45:2

Ayongerako,

“Era ndikuwa obugagga obwakwekebwa mu bifo ebyekusifu era n’ebintu ebyakwekebwa mu bifo ebyekyama olyoke omanye nga nze Mukama, Katonda wa Isirayiri akuyitira ddala erinnya lyo.” Isaaya 45:3

Webula Mukama ayogera nti kino wakukilorea Kuulo olwa Isirayiri. Yali wakuuwa Kuulo ekitiibwa wadde nga yali tamusaako mwoyo. Era awa ensonga nti,

“Balyoke bamanye nga okuva enjuba gy’eva okutuuka gyegenda tewali mulala wabula nze. Nze Mukama tewali Mukama, tewali mulala.” Isaaya 45:6

Ayongerako nti,

“Nze nteekawo ekitangaala n’entonda ekizikiza. Nze ndeeta okukulaakulana n’okubonaabona. Nze Mukama akola ebyo byonna.” Isaaya 45:7

Era Mukama agamba nti,

“Mmwe eggulu eriri waggulu, mutonnyese obutuukirivu. Ebire bitonnyese obutuukirivu. Ensi egguke n’obulokozi bumeruke, ereete obutuukirivu. Nze Mukama nze nagitonda.” Isaaya 45:8

Ayongerako,

“Zimusanze oyo ayomba n’omutonzi we!… Bbumba ki eribuuza oyo alibumba nti, ‘Obumba ki?’.” Isaaya 45:9

Ewalala Mukama abuuza nti,

“Lwaki mumbuuza ebigenda okuja, oba ebikwata ku baana bange, oba okumpa ebiragiro ku bikwata ku mirimu gy’emikono gyange?” Isaaya 45:11b

Era Mukama ayongera okwogera ku Kuulo nti,

“Ndiyimusa Kuulo mu butuukirivu era nditereeza amakubo ge gonna. Alizimba ekibuga kyange n’asumulula abantu bange abaawaŋŋangusibwa; naye si lwa mpeera oba kirabo,” Isaaya 45:13

Era Mukama agamba nti balyogera ku Isirayiri,

‘Ddala Katonda ali naawe, ye Katonda yekka, tewali Katonda mulala.’ Isaaya 45:14c

Era nti,

“Bonna abakola bakatonda abakole n’emikono baliswazibwa, balikwatibwa ensonyi…” Isaaya 45:16a

Era nti,

“Naye Isirayiri alirokolebwa Mukama n’obulokozi obutaliggwaawo. Temuukwatibwenga nsonyi, temuswalenga emirembe gyonna.” Isaaya 45:17

Era Mukama agamba nti,

Sigambanga bazzukulu ba Yakobo nti, “Munoonyeze bwereere.” Nze Mukama njogera mazima, mbuulira ebigambo eby’ensonga. Isaaya 45:19b

Era nti,

“Tebalina magezi abo abasitula ebifaananyi ebibajje, abasaba eri katonda atasobola kubalokola.” Isaaya 45:20b

Era Mukama akowoola nti,

“Mudde gye ndi, mulokoke, mmwe mwenna abali ku nkomerero z’ensi, kubanga nze Katonda so tewali mulala.” Isaaya 45:22

Era ayogera nti buli lulimi lulirayira nti,

“Mu mukama mwokka mwe muli obutuukirivu n’amanyi.” Isaaya 45:24

Era nti,

“Naye mu Mukama ezzadde lyonna erya Isirayiri mwe liriweerwa obutukirivu era mwe liryenyumiririza.” Isaaya 45:25

Era Mukama asubiiza Isirayiri nti,

“Mmwe be nnalera okuva lwe mwava mu lubuto, be nasitula okuva lwe mwazalibwa. Ne mu bukadde bwammwe nzija kusigala nga nze Nzuuyo. Ne bwe muliba mulina envi nnabasitulanga. Nze nabakola era nze nnaabawekanga. Nnaabasitulanga era nnaabanunulanga.” Isaaya 46:3b-4

Era Mukama ajjukiza nti,

“Kubanga Nze Katonda, teri mulala. Nze Katonda, teri ali nga nze; alanga ku ntandikwa ebigenda okubaawo. Okuva ku mirembe egy’edda ennyo, nalanga ebintu ebitannabaawo, nga ŋŋamba nti, ‘Enteekateeka zange zijja kubaawo era ndituukiriza byonna bye nategeka.’ “ Isaaya 46:10

Era bwe tweyongerayo, tulaba nga Mukama asalira Babulooni omusango. Era ayogera nti,

“Nnali nsunguwalidde abantu bange, ne nyonoonesa omugabo gwange. Nabawaayo mu mikono gyo, n’otobasaasira n’akatono. N’abakadde wabateekako ekikoligo ekinene ennyo.’ “ Isaaya 47:6

Wabula ayongerako nti,

“Weesiga obutali butuukirivu bwo, n’olowooza nti, ‘Siriiko annondoola.’ Amagezi go era n’okumanya kwo byakuwabya bwe wayogera nti, ‘Nze ndiwo, era teri mulala wabula nze.’ “ Isaaya 47:10

Bwe tweyongerayo Mukama ayogera eri Isirayiri ng’akattiriza nti bye yayogera bituukirira.

“Nabamanyisizaawo edda ebyali bigenda okujja nga tebinnabaawo, muleme kugamba nti, Bakatonda bange be baakikola…” Isaaya 48:5

Era agamba nti,

“Mulabe ebintu bino nabibagamba dda, era temubikkirize?” Isaaya 48:6

Era Mukama ayongerako nti,

“Olw’erinnya lyange ndwawo okusunguwala. Olw’ettendo lyange ndwawo okukusunguwalira nneme okukuzikiriza.” Isaaya 48:9

Era  nti,

“Nze Mukama Katonda wo akuyigiriza okukulaakulana, akukulembera mu kkubo ly’oteekwa okutambuliramu.” Isaaya 48:17b

Era nti,

“Singa kale wali owulirizza ebiragiro byange! Wandibadde n’emirembe egikulukuta ng’omugga! Era n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja.” Isaaya 48:18

Era kyogerwa nti Mukama anunudde omuddu we Yakobo!

“So tebaalumwa nnyonta bwe yabayisa mu malungu. Yabakulukusiza amazzi mu lwazi: yayasa olwazi amazzi ne gavaamu.” Isaaya 48:21

Era nti,

“Tewali mirembe eri aboonoonyi,” Bwayogera Mukama. Isaaya 48:21

Bwe tutunulirako ku kibego ekirala, kyogerwa nti,

“Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe; omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.” Psalm 46:1

Era nti,

“Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw’eneeyuuguumanga, ensozi ne bwe zinaasiguulukukanga ne zigwa mu buziba bw’ennyanja.” Psalm 46:2

Era nti,

“Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda, kye kifo ekitukuvu ekya Katonda Ali Waggulu Ennyo.” Psalm 46:4

Era nti,

“Mukama ow’Eggye ali naffe, Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.” Psalm 46:7

Era nti,

“Musiriikirire mutegeere nga nze Katonda. Nnaagulumizibwanga mu mawanga. Nnaagulumizibwanga mu nsi.” Psalm 46:10

Era tulaba okusaba nti,

“Tukomyewo gyoli, Ayi Katonda, otutunuulize amaaso ag’ekisa, otulokole.” Psalm 80:3

Era nti,

“Otukomyewo gy’oli, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, otutuulize amaaso go ag’ekisa tulyoke tulokolebwe.” Psalm 80:19

Mu kibego ekirala, kyogerwa nti,

“Mutendereze Mukama. Mutendereze erinnya lya Mukama. Mumutendereze mmwe abaddu ba Mukama.” Psalm 135:1

Era nti,

“Mutendereze Mukama, kubanga Mukama mulungi; mutendereze erinnya lye kubanga ekyo kisanyusa..” Psalm 135:3

Era kyogerwa nti,

“Mukama kyonna ky’asiima ky’akola, mu ggulu ne ku nsi; mu nnyanja ne mu buziba bwayo.” Psalm 135:6

Era nti,

“Ayi Mukama, erinnya lyo lya lubeerera, era n’obukulu bwo bumanyibwa emirembe gyonna.” Psalm 135:13

Wabula ku bifananyi ebisinzibwa abantu kyogerwa nti,

“Birina emimwa, naye tebyogerwa; birina amaaso naye tebiraba; birina amatu naye tebiwulira; so ne mu kamwa kaabyo temuyitamu mukka. Ababikola balibifaanana; na buli abyesiga alibifaanana.” Psalm 135:16-18

Era bwe tweyongerayo omuwereza wa Mukama ayogerwako,

“Nnali sinazaalibwa Mukama n’ampita. Bwe nnali nkyali mu lubuto lwa mmange n’ayatula erinnya lyange. Yakola akamwa kange ng’ekitala eky’obwogi, nankweka mu kisiikirize ky’omukono gwe.” Isaaya 49:1b-2a

Era Mukama agamba nti,

“Ggwe muweereza wange , Isirayiri, mu ggwe mwe ndiweerwa ekitiibwa.” Isaaya 49:3

Era nti,

“Kubanga ndi wa kitiibwa mu maaso ga Mukama era Katonda wange afuuse amaanyi gange.” Isaaya 49:5c

Era nti,

“Nzija kukufuula ekitangaala eri abamawanga, olyoke oleete obulokozi bwange eri ensi yonna.” Isaaya 49:6c

Era nti,

“Bakabaka baliyimirira ne bakuwa ekitiibwa, abalangira balikulaba ne bakuvuunamira.” Isaaya 49:7b

Era Mukama ayogera ku kuzzaawo kwa Isirayiri. Agamba nti,

“Nnyina w’omwana ayinza okwerabira omwana we gw’ayonsa, n’atasaasira mwana eyava mu lubuto lwe? Weewaawo, wadde ng’ayinza okumwerabira.” Isaaya 49:15

Ayongerako,

“Laba, nkuwandiise mu bibatu by’engalo zange; ebisenge byo binaabeeranga mu maaso gange..” Isaaya 49:16

Era nti,

“Abo abakuteganya banaakubeeranga wala.” Isaaya 49:19c

Era Mukama ayogera ku kuzzibwa kwa Isirayiri mu kitiibwa. Agamba nti,

“Abo bonna abannindirira n’abansuubiriramu tebalikwatibwa nsonyi.” Isaaya 49:23d

Era nti,

“Ndiyomba n’oyo ayomba naawe.” Isaaya 49:25c

Era,

“Olwo abalina omubiri bonna bamanye nti nze Mukama  Omulokozi wo, Omununuzi wo, ow’amaanyi owa Yakobo.” Isaaya 49:26b

Mu kibego ekirala Mukama abuuza Isirayiri nti,

“Ebbaluwa egoba nnyammwe, kwe namugobera eri ludda wa? Oba nabatunda eri ani?” Isaaya 50:1a

Era y’eddamu nti,

“Mwatundibwa lwa bikolwa byammwe ebibi; olw’obutali butuukirivu bwammwe nnyammwe kyeyava agobwa.” Isaaya 50:1b

Era abuuza nti,

“Omukono gwange gwali mumpi nnyo okukununula? Mbuliddwa amaanyi agakununula?” Isaaya 50:2b

Ewalala kyogerwa nti,

“Mukama Ayinzabyonna ampadde olulimi oluyigirizibbwa, mmanye ebigambo ebigumya abo abakooye. Anzukusa buli nkya, buli nkya anzukusa okuwulira by’anjigiriza.” Isaaya 50:4

Era nti,

“Kubanga Mukama Ayinzabyonna anyamba kyennaava siswazibwa.” Isaaya 50:7

Era,

“Kubanga oyo ampolereza ali kumpi. Ani alinnumiriza omusango?” Isaaya 50:8a

Era nti,

“Mukama Ayinzabyonna y’anyamba. Ani alinsalira omusango?” Isaaya 50:9a

Era kyogerwa nti,

“Oyo atambulira mu kizikiza, atalina kitangaala yeesige erinnya lya Mukama era yeesigame ku Katonda we.” Isaaya 50:10b

Mu kibego ekirala kyogerwa nti,

“Mumpulirize, mmwe abanoonya obutuukirivu, mmwe abanoonya Mukama: Mutununuulire olwazi lwe mwatemebwako, n’obunnya bw’ekirombe gye mwasimibwa.” Isaaya 51:1

Era,

“Mulowooze ku Ibulayimu jjajjammwe ne Saala eyabazaala. Kubanga we namuyitira yali bw’omu ne mmuwa omukisa ne mmwaza.” Isaaya 51:2

Kyogerwa nti Mukama alikubagiza Sayuuni,

“Era afuule olukoola lwe lwonna okuba Adeni, n’eddungu libeere ng’ennimiro ya Mukama; essanyu n’okujaguza biryoke bibeere omwo, okwebaza n’amaloboozi ag’okuyimba.” Isaaya 51:3b

Era Mukama ayogera nti,

“Muyimuse amaaso gammwe eri eggulu, mutunuulire ensi wansi! Kubanga eggulu lirivaawo ng’omukka n’ensi ekaddiwe ng’ekyambalo. Abagituulamu balifa ng’ensowera.” Isaaya 51:6a

Era nti,

“Naye obulokozi bwange bunaabeereranga emirembe gyonna, so n’obutuukirivu bwange tebujjulukukenga.” Isaaya 51:6b

Era Mukama agamba nti,

“Nze, nze mwene, nze nzuuno abawa amaanyi.” Isaaya 51:12a

Era nti,

“Ntadde ebigambo byange mu kamwa ko, era nkubisse mu kisiikirize ky’omukono gwange. Nze nakola eggulu ne nteekawo emisingi gy’ensi; era nze wuuyo agamba Sayuuni nti, ‘Muli bantu bange!'” Isaaya 51:16

Mu kibego ekirala kyogerwa nti,

“Zuukuka, zuukuka, oyambale amaanyi go, ggwe Sayuuni. Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekitukuvu, teekako ebyambalo byo ebitemagana. Kubanga okuva leero mu miryango gyo temukyayingira mu atali mukomole n’atali mulongoofu..” Isaaya 52:1

Era Mukama agamba nti,

“Mwatundibwa bwereere era mujja kununulibwa awatali kusasula nsimbi.” Isaaya 52:3

Ewalala kyogerwa nti,

Nga birungi ku lusozi ebigere by’oyo aleeta amawulire amalungi, alangirira emirembe, aleeta ebigambo ebirungi, alangirira obulokozi, agamba Sayuuni nti, “Katonda wo afuga.” Isaaya 52:3

Mu kibego ekiddako tulaba okubonaabona n’Ekitiibwa ky’Omuwereza wa Mukama. Era kyogerwa nti,

“Laba, omuweereza wange by’akola alibikozesa magezi, aliyimusibwa asitulibwe, era assibwemu nnyo ekitiibwa.” Isaaya 52:13

Era Mukama abuuza nti,

“Ani akkiriza ebigambo byaffe, era ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama?” Isaaya 53:1

Era Omuwereza  ayogerwako ati,

“Kubanga yakulira mu maaso ga Mukama ng’ekisimbe ekigonvu era omulandira oguva mu ttaka ekkalu.” Isaaya 53:2a

Era nti,

“Teyalina kitiibwa wadde obulungi obutusikiriza tulage gy’ali; tewaali kalungi mu ye katumwegombesa.” Isaaya 53:2b

Era,

“Yanyoomebwa n’aganibwa abantu; omuntu eyagumira ennaku n’obuyinike. Tetwayagala na kumutunulako,” Isaaya 53:3a

Wabula,

“Mazima ddala yeetikka obuyinike bwaffe, n’atwala ennaku yaffe, obulumi obwanditulumye bwe bwamunyiga.” Isaaya 53:4

Era nti,

“Naye yafumitibwa olw’okusobya kwaffe. Yabetentebwa olw’obutali butuukirivu bwaffe. Yeetikka ekibonerezo ffe tusobole okubera n’emirembe. Ebiwundu bye, bye bituwonya “ Isaaya 53:5

Era kyogerwa nti,

“Songa ate yali nteekateeka ya Mukama okumubetenta okubonaabona. “ Isaaya 53:10

Wabula,

“Olw’ebyo bye yayitamu omuwereza wange omutuukirivu alireeta bangi okubalirwa obutuukirivu; era alyetikka obutali butuukirivu bwabwe.” Isaaya 53:11b

“Era yeetikka ebibi by’abangi era ne yeegayiririra abakozi b’ebibi.” Isaaya 53:12c

 

Naye abo abalindirira Mukama, baliddamu buggya amaanyi gaabwe

“Totya kubanga nze ndi wamu naawe;… Nnaakuwanga amaanyi, wewaawo nnaakuyambanga n’omukono ogwa ddyo ogw’obutuukirivu bwange.” Isaaya 41:10

Ebyassava byaffe leero bigyiddwa mu: Isaaya 36-43  

Mukwanjuluza, tulaba nga Yerusaalemi etiisibwatiisibwa Sennakeribu – kabaka w’e Bwasuli, ng’ayita mu Labusake omuduumizi we ow’oku ntikko. Era Lobusake agamba Keezeekiya nti,

“Olowooza ebigambo obugambo birina amaanyi n’amagezi okuwangula olutalo. Ani gwe weesiga olyoke onjemere.” Isaaya 36:5

Era Lobusake ayogera eri abantu nti ,

“Temukkiriza Keezeekiya kubasigula ng’agamba nti, ‘Mukama ddala ajja kutununula, ekibuga kino tekijja kugwa mu mukono gwa Bwasuli.'” Isaaya 36:15

Era olw’amawanga Bwasuli ge yaali ewambye, Lobusake abuuza nti,

“Baani ku bakatonda ab’ensi ezo abaali bawonyezza ensi zaabwe mu mukono gwange? Kale Mukama asobola atya okubawonya Yerusalemi mu mukono gwange?” Isaaya 36:20

Wabula amawulire gano bwe gatuuka mu matu kabaka Keezeekiya, tulaba nga akaabiriria Mukama. Era tulaba nga Keezeekiya atuuma Eriyakimu eri nnabbi Isaaya okumutegeeza ebyogeddwa.

Era Isaaya ateegeeza abatumiddwa okugamba Keezeekiya nti,

“Bw’ati bw’agamba Mukama nti, Ebigambo by’owulidde abaddu ba kabaka w’e Bwasuli bye banvumye tebikutiisa.” Isaaya 37:6

Bwe tweyongerayo tulaba nga Keezeekiya asaba. Era yayanjuluza ebbaluwa  mu maaso ga Mukama, nasaba era ne yeegayirira ng’agamba nti,

“Ayi Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, atuula wakati mu bakerubbi, ggwe Katonda wekka afuga obwakabaka bwonna obw’omunsi, gwe wakola eggulu n’ensi.” Isaaya 37:16

Era asaba nti,

“Kale nno, ayi Mukama Katonda waffe, tulokole mu mukono gwa Sennakeribu, obwakabaka bwonna obw’ensi butegere nga ggwe wekka ggwe Mukama .” Isaaya 37:20

Era okuyita mu Isaaya ayogera ku kabaka we Bwasuli eri Keezeekiya nti,

“Ggwe towuliranga nti bino nabikola dda ne mbitegeka okuviira ddala mu biro eby’emabega? Kaakano nkituukirizza. Nakuwa ggwe obuyinza okugenda ng’ozikiriza ebibuga okubifuula entuumu y’amafunfugu.” Isaaya 37:26

Ayongerako nti,

“Kubanga oneereegeddeko, okwepanka kw’okoze… Era  kaakano ntuuse okuteeka eddobo mu nnyindo zo, n’oluuma ndufumite mu mimwa gyo, nkuzzeeyo ng’opaala mu kkubo lye wanjjiramu.” Isaaya 37:29

Era Mukama asuubiza Keezeekiya okuyita mu Isaaya ng’agamba nti,

“Abantu ba Yuda abalifikkawo baliba ng’ebisimbe emirandira gyabyo nga gikka wansi ate nga bigimuka ne bibala.” Isaaya 37:31

Era ku kabaka we Bwasuli Mukama agamba nti,

“Ekkubo lye yajjiramu lye limu ly’anaakwata okuddayo. Tajja kuyingira mu kibuga kino”, bw’ayogera Mukama. “Kubanga nzija kulwanirira ekibuga kino nkirokole.” Isaaya 37:34

Era mukama atukiriza ekisuubizo kino. Kigambibwa nti,

“Awo malayika wa Mukama n’afuluma n’atta mu lusiisira olw’Abasuli abantu emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano.” Isaaya 37:36

Era bwe tweyongerayo tutugezeebwa nti, Keezeekiya yalwaala katono afe era Mukama namusindikira obubaka okuyita mu Isaaya ateeketeeke ennyumba ye kubanga yali tagenda kulama. Wabula Keezeekiya tulaba nga yegayirira Mukama aleme okutwala.

Era Mukama addamu nti,

“Mpulidde okusaba kwo, ndabye amaziga go: laba nzija kwongera ku nnaku zo emyaka kkumi n’ettaano.” Isaaya 38:5b

Era Mukama ayongerako nti,

“Era ndikuwonya ggwe n’ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli: Era ndikuuma ekibuga kino.” Isaaya 38:6

Keezeekiya bweyamala okuwona ayatula nti,

“Ddala laba okulumwa ennyo bwe ntyo kyali ku lwa bulungi bwange, naye ggwe owonyezza obulamu bwange okugwa mu bunnya obw’okuzikirira. Kubanga otadde ebibi byange byonna emabega wo.” Isaaya 38:17

Bwe tweyongerayo, Keezeekiya afuna abagenyi okuva e Babulooni, era kitegezeebwa nti, yabalaga byonna ebyali mu nnyumba ye, eby’obugagga byonna. Era tulaba Mukama nga agamba nti,

“Laba, ennaku zijja, byonna ebiri mu nnyumbayo n’ebyo bajjajjaabo bye baaterekanga ebikyaliwo n’okutuusa leero, lwe biritwalibwa e Babulooni, ne watasigala kintu na kimu, bw’ayogera Mukama.” Isaaya 39:6

Era bwetugenda mu maaso tulaba ebigambo eby’essubi.

“Mugumye, mugumye abantu bange, bwayogera Katonda wammwe. Muzzeemu Yerusalemi amaanyi mumubuulire nti entalo ze ziweddewo.” Isaaya 40:1-2

Era nti,

“Buli kiwonvu kirigulumizibwa, na buli lusozi n’akasozi ne bikkakkanyizibwa. N’obukyamu buligololwa, ebifo ebitali bisende ne bitereezebwa.” Isaaya 40:4

Era nti,

“Ekitiibwa kya Mukama kiribikkulwa, ne bonna abalina omubiri balikirabira wamu, kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.” Isaaya 40:5

Ewalala kyogerwa nti,

“Abantu bonna bali nga muddo, n’obulungi bwabwe bumala ennaku ntono ng’ebimuli eby’omu nnimiro.” Isaaya 40:6b

Era nti,

“Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera, naye ekigambo kya Katonda waffe kibeerera emirembe gyonna.” Isaaya 40:8

Era kyogerwa nti,

“Laba, Mukama Katonda ajja n’amaanyi mangi era afuga n’omukono gwe ogw’amaanyi ag’ekitalo. Laba empeera ye eri mu mukono gwe, buli muntu afune nga bw’akoze.” Isaaya 40:10

Era nti,

“Aliisa ekisibo kye ng’omusumba, akuŋŋaanya abaana b’endiga mu mukono gwe n’abasitula mu kifuba kye, n’akulembera mpola mpola ezibayonsa.” Isaaya 40:11

Ewalala kibuuzibwa,

“Ani eyali aluŋŋamizza Omwoyo wa Mukama? Ani ayinza okumuyigiriza n’amuwa amagezi?” Isaaya 40:13

Era kyogerwa nti,

“N’ensolo zonna ez’omu kibira kya Lebanooni tezimala kubeera kiweebwayo eri Katonda waffe…” Isaaya 40:16

Era nti,

“Afuula abafuzi obutaba kintu, afuula n’abalamuzi mu nsi okuba ekitaliimu.” Isaaya 40:23

Era Mukama abuuza nti,

“Kale mulinfaananya ani, ani gwe mulinnenkanya?” Bw’ayogera Omutukuvu. Isaaya 40:25

Era nti,

Lwaki ogamba ggwe Yakobo era ne wemulugunya ggwe Isirayiri nti, “Mukama tamanyi mitawana gye mpitamu, era tafaayo nga tuggyibwako eddembe lyaffe ery’obwebange”? Isaaya 40:27

Era nti,

“Tonnamanya? Tonnawulira? Mukama, ye Katonda ataliggwaawo. Omutonzi w’enkomerero y’ensi. Tazirika so takoowa era n’amagezi ge tewali n’omu ayinza kugapima.” Isaaya 40:28

Era,

“Awa amaanyi abazirika, n’oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi.” Isaaya 40:29

Era nti,

“Abavubuka bazirika, bakoowa, n’abalenzi bagwira ddala. Naye abo abalindirira Mukama baliddamu buggya amaanyi gaabwe, balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu; balidduka mbiro ne batakoowa, balitambula naye ne batazirika.” Isaaya 40:30-31

Bwe tweyongerayo, Mukama abuuza nti,

“Ani eyakola kino ng’ayita emirembe gy’abantu okuva ku lubereberye?” Isaaya 41:4a

Yeddamu nti,

“Nze Mukama ow’olubereberye era ow’enkomerero, nze wuuyo.” Isaaya 41:4b

Era Mukama ayogera Ku Isirayiri nti,

“Naye ggwe Isirayiri omuwereza wange, Yakobo gwe nalonda, ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwange,”  Isaaya 41:8

Ayongerako nti,

“Totya kubanga nze ndi wamu naawe; tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo. Nnaakuwanga amaanyi, wewaawo nnaakuyambanga n’omukono ogwa ddyo ogw’obutuukirivu bwange.” Isaaya 41:10

Era nti,

“Laba ndikufuula ng’ekyuma ekiggya ekisala ennyo, ekyogi eky’amannyo amangi.” Isaaya 41:15

Era nti,

“Era naawe olisanyukira mu Mukama, era mu Mumutukuvu wa Isirayiri mw’olyenyumiririza.” Isaaya 41:16b

Ekirala,

“olukoola ndirufuula ennyanja, n’eddungu lirivaamu enzizi z’amazzi.” Isaaya 41:18b

Olw’ebyo byonna,

“Abantu balyoke balabe bamanye, balowooze era batuuke bonna okutugeera nti omukono gwa Mukama gwe gukoze kino, nti Omutukuvu wa Isirayiri yakikoze.” Isaaya 41:20

Era Mukama asoomooza bakatonda abalala. Agamba nti,

“Mutubuulire ebigenda okubaawo tulyoke tumanye nga muli bakatonda. Mubeeko kye mukola ekirungi oba ekibi tulyoke tutye era tukeŋŋentererwe mu mutima.” Isaaya 41:23

Bwe tweyongerayo tulaba Katonda ayogera ku muwereza waabwe. Era agamba nti,

“Laba omuweereza wange gw’empanirira, omulonde wange gwe nsanyukira ennyo. Ndimuwa Omwoyo wange era alireeta obwenkanya eri amawanga.” Isaaya 42:1

Era Mukama agamba nti,

“Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda, eyatonda eggulu n’alimbamba. Eyayanjuluza ensi ne byonna ebigivaamu; awa omukka abantu baakwo era n’obulamu eri bonna abagitambulirako.” Isaaya 42:5

Era nti,

“Nze Mukama, nakuyita mu butuukirivu. Ndikukwata ku mukono era ndikukuuma. Ndikufuula okuba endagaano eri bannamawanga, era omusana eri bannamawanga.” Isaaya 42:6

Era nti,

“Nze Mukama, eryo lye linnya lyange, n’ekitiibwa kyange sirikiwa mulala, newaakubadde ettendo lyange okukiwa bakatonda abalala.” Isaaya 42:8

Mukama asuubiza nti,

“Era ndikulembera abantu bange abazibe ba maaso mu kkubo lye batamanyi n’abayise mbaluŋŋamize mu makubo ge batamanyidde. Ndifuula ekizikiza okuba omusana mu maaso gaabwe.” Isaaya 42:16

Era tulaba ekibuuzo nti,

“Ani eyawaayo Yakobo okuba omunyago ne Isirayiri eri abanyazi? Teyali Mukama gwe twayonoona? Ekyo yakikola kubanga tebaagoberera makubo ge. Tebagondera mateeka ge.” Isaaya 42:24

Bwe tweyongerayo, Mukama agamba nti,

“Naye kaakano bw’atyo bw’ayogera Mukama oyo eyakutonda, ggwe Yakobo, eyakukola ggwe Isirayiri:” Isaaya 43:1a

“…Totya kubanga nkununudde, nakuyita nga mpitira ddala erinnya lyo, oli wange.” Isaaya 43:1b

Era nti,

“Bw’onooyitanga mu mazzi amawanvu nnaabeeranga naawe, ne bw’onooyitanga mu migga tegirikusaanyawo; bw’onooyitanga mu muliro tegukwokyenga, ennimi z’omuliro tezirikwokya.” Isaaya 43:2

Era nti,

“Kubanga oli wa muwendo gyendi, ow’ekitiibwa, era kubanga nkwagala, ndiwaayo abasajja ku lulwo mpeeyo n’abantu ku lw’obulamu bwo.” Isaaya 43:4

Era Mukama agamba nti,

“Nze, Nze mwene, nze Mukama; okuggyako nze tewali Mulokozi.” Isaaya 43:11

Era nti,

“Weewaawo, okuva mu nnaku ez’edda Nze Nzuuyo; tewali n’omu ayinza okuwonya omuntu mu mukono gwange. Kye nkola ani ayinza okukikyusa?” Isaaya 43:13

Era kyogerwa nti,

“Bw’ati bw’ayogerwa Mukama, oyo eyakola ekkubo mu nnyanja, n’oluguudo mu mazzi amangi ennyo.” Isaaya 43:16

“Mwerabire eby’emabega, so temulowooza ku by’ayita. Laba, nkola ekintu ekiggya! Kaakano kitandise okulabika, temukiraba? Nkola oluguudo mu ddungu n’endeeta emigga mu lukoola.” Isaaya 43:18-19

Era nti,

“Nze, Nze mwene, nze wuuyo asangula ebyonoono byo ku lwange nze, so sirijjukira bibi byo.” Isaaya 43:25

 

 

Mukama ye musingi omugumu, lye tterekero eggagga ery’obulokozi, n’amagezi n’okumanya

“Abantu bange balibeera mu bifo eby’emirembe, mu maka amateefu mu bifo eby’okuwummuliramu ebitatawaanyizibwa.” Isaaya 32:18

Ekijjulo kyaffe leero kigyiddwa mu: Isaaya 28-35.  

Mukwanjuluza, kyogerwa  ku Efulayimu nti,

“Zikusanze ekibuga ky’abo abatamiivu.” Isaaya 28:1c

Era nti,

“Ng’embuyaga ey’omuzira n’embuyaga ezikiriza, ng’enkuba ey’amaanyi ereeta amataba, bwe ndisuula ekibuga ekyo n’amaanyi mangi.” Isaaya 28:2

Wabula eri abantu abalisigalawo, kyogerwa nti,

“Aliba n’omwoyo ogw’okusala ensonga mu bwenkanya oyo atuula n’asala emisango, aliba nsibuko ya maanyi eri abawoza olutabaalo ku wankaaki.” Isaaya 28:6

Ewalala Mukama agamba nti,

“Weewaawo emmeza zonna ziriko ebisesemye, tewakyali kifo kiyonjo.” Isaaya 28:8

Era Mukama Ayinzabyonna agamba nti,

“Laba, nteeka ejjinja mu Sayuuni, ejjinja eryagezesebwa, ery’okunsonda ery’omuwendo okuba omusingi; oyo alyesiga taliterebuka.” Isaaya 28:16

Era nti,

“Ndifuula obwenkanya okuba omuguwa ogupima, n’obutuukirivu okuba omuguwa ogutereeza, era omuzira gulyera ekiddukiro ekyobulimba, n’amazzi galyanjaala ku kifo eky’okwekwekamu.” Isaaya 28:17

Bwetweyongerayo Mukama abuuza ebibuuzo, okugeza,

“Omulimi bw’alima nga yeetegekera okusimba, alima lutata?” Isaaya 28:24

Era amaliriza agamba nti,

“Bino byonna nabyo biva eri Mukama Katonda ow’Eggye, ow’ekitalo mu kuteesa ebigambo, asinga amagezi.” Isaaya 28:29

Era Mukama agamba nti,

“Ng’omuntu alumwa enjala bw’aloota ng’alya naye bw’agolokoka n’asigala ng’akyalumwa enjala; oba ng’omuntu alumwa ennyonta bw’aloota ng’anywa naye n’agolokoka nga munafu ng’akyalumwa ennyonta. Ekyo kye kirituuka ku bibinja by’amawanga gonna agalwana n’Olusozi Sayuuni.” Isaaya 29:8

Wabula Mukama agamba nti,

“Abantu bano bansemberera n’akamwa kaabwe, ne banzisaamu ekitiibwa n’emimwa gyabwe, naye ng’emitima gyabwe gindi wala. Okusinza kwe bansinza biragiro abantu bye baayigiriza.” Isaaya 29:13

Noolwekyo Mukama agamba nti,

“Amagezi g’abagezi galizikirira, n’okutegeera kw’abategeevu kuliggwaawo.” Isaaya 29:14b

Wabula mi biro ebyo,

“Abawombeefu balisanyukira mu Mukama nate, n’abeetaaga balisanyukira mu Mutukuvu wa Isirayiri.” Isaaya 29:19

Noolwekyo Mukama ayanunula Ibulayimu bw’ati bw’ayogera eri ennyumba ya Yakobo nti,

“Yakobo taliddayo kuswazibwa, n’obwenyi bwabwe tebulisiiwuuka.” Isaaya 29:22b

Era nti,

“Abo abaabula mu mwoyo balifuna okutegeera, n’abo abeemulugunya balikkiriza okuyigirizibwa.” Isaaya 29:24

Era ku abo abaddukira e Misiri, Mukama agamba nti,

“Bagenda e Misiri, eterina kyeyinza kubayamba n’akatono.” Isaaya 30:7

Era ayongerako nti,

“Weewaawo bano bantu bajeemu, baana balimba, baana abateetegese kuwulira biragiro bya Mukama.” Isaaya 30:9

Era nti bagamba abalabi ne bannabbi nti,

“Temuddayo kututegeeza kwolesebwa kutuufu. Mututegeeze ebitusanyusa, mulagule ebituwabya.” Isaaya 30:10b

Wabula bw’ati bwayogera Mukama Ayinzabyonna Omutukuvu wa Isirayiri nti,

“Mu kwenenya ne mu kuwummula mwe muli obulokozi bwammwe, mu kusiriikirira ne mu kwesiga mwe muli ammanyi gammwe.” Isaaya 30:15

Era kigattibwaako nti,

“Kubanga Mukama Katonda wa bwenkanya, balina omukisa bonna abamulindirira.” Isaaya 30:18b

Era eri abantu ba Sayuuni ababeera mu Yerusalemi, kyogerwa nti,

“Alikukwatirwa ekisa bw’olimukaabira ng’omusaba akuyambe. Amangwago ng’awulidde, alikwanukula.” Isaaya 30:19b

Era kyogerwa nti,

“Bw’olidda ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono, amatu go galiwulira eddoboozi emabega wo nga ligamba nti, ‘Lino ly’ekkubo, litambuliremu.’” Isaaya 30:21

Era mu  biro ebyo kyogerwa nti,

“Omwezi gulyaka ng’enjuba, n’omusana gulyaka emirundi musavu okusinga ogwa bulijjo, ng’ekitangaala ky’ennaku omusanvu zonna awamu, Mukama bw’alinyiga ekinuubule ky’abantu be, n’awonya ekiwundu ky’abaakosebwa.” Isaaya 30:26

Wabula ku abo abeesiga Misiri, kyogerwa nti,

“Zibasanze abo abaserengeta e Misiri okuyambibwa, abeesiga embalaasi, abeesiga amagaali gaabwe amangi, abeesiga amaanyi amangi ag’abeebagala embalaasi ne batatunuulira Omutukuvu wa Isirayiri wadde okunoonya obuyambi bwa Mukama.” Isaaya 31:1

Era bwetyeyongerayo, tulaba okwogera ku bwakabaka obw’Obutuukirivu. Kigambibwa nti,

“Omusirusiru taliddayo kuyitibwa wa kitiibwa, newaakubadde omuntu omwonoonyi okuteekebwamu ekitiibwa.” Isaaya 32:5

Era nti, Omwoyo lw’alitufukibwako okuva waggulu…

“Ekibala ky’obutuukirivu kiriba mirembe, n’ekiriva mu butuukirivu kiriba kusiriikirira na bwesige emirembe gyonna.” Isaaya 32:17

Era nti,

“Abantu bange balibeera mu bifo eby’emirembe, mu maka amateefu mu bifo eby’okuwummuliramu ebitatawaanyizibwa.” Isaaya 32:18

Tulaba okusaba nti,

“Ayi Mukama tusaasire, tukuyaayaanira. Obeere amaanyi gaffe buli makya, obulokozi bwaffe mu biro eby’okulabiramu ennaku.” Isaaya 33:2

Era kyogerwa nti,

“Mukama agulumizibwe, kubanga atuula waggulu, alijjuza Sayuuni n’obwenkanya n’obutuukirivu.” Isaaya 33:5

Era nti Mukama,

“Y’aliba omusingi omugumu mu biro ebyo, nga lye tterekero eggagga ery’obulokozi, n’amagezi n’okumanya.” Isaaya 33:6a

Kyongerwako nti,

“Okutya Mukama kye kisumuluzo kye tterekero ly’obugagga obwo.” Isaaya 33:6b

Ewalala kyogerwa nti,

“Mukama agamba nti, ‘kaakano nnaagolokoka, kaakano nnaagulumizibwa, kaakano nnaayimusibwa waggulu…’.” Isaaya 33:10

Era Mukama abuuza,

“Ani ku ffe ayinza okubeera awamu n’omuliro ogusaanyaawo? Ani ku ffe ayinza okubeera awamu n’omuliro ogutaliggwaawo?” Isaaya 33:14b

Era addamu nti,

“Atambulira mu butuukirivu, n’ayogera ebituufu, oyo atatwala magoba agava mu bubi, n’akuuma emikono gye obutakkiriza nguzi.” Isaaya 33:15

Era nti,

“Ye muntu alituula waggulu mu bifo ebya waggulu, n’obuddukiro bwe buliba ebigo eby’omu nsozi. Aliweebwa emmere, n’amazzi tegalimuggwaako.” Isaaya 33:17

Era kyogerwa nti,

“Mukama ye mulamuzi waffe, Mukama y’atuwa amateeka, Mukama ye Kabaka waffe, yalitulokola.” Isaaya 33:22

Era nti,

“Tewali abeera mu Sayuuni alyogera nti, ‘ndi mulwadde,’ n’abo ababeeramu balisonyiyibwa ekibi kyabwe.” Isaaya 33:24

Bwe tweyongerayo tulaba nga okusalirwa amawanga omusango kulangibwa.  Era kyogerwa nti,

“Emmunyeenye zonna ez’omu ggulu zirisaanuuka, n’eggulu liryezingako ng’omuzingo.” Isaaya 34:4

Wabula tulaba essanyu ly’abanunule. Era nti baliraba ekitiibwa kya Mukama, ekitiibwa kya Katonda waffe.

Era kyogerwa nti,

“Muzzeemu amaanyi emikono eminafu, n’amavivi agajugumira mugagumye. Mugambe abo abalina omutima omuti nti, mubeere n’amaanyi temutya: laba Katonda wammwe alijja; alibalwanirira.” Isaaya 35:3-4

Era nti,

“Olwo amaaso g’abazibe galiraba, era n’amatu g’abakiggala galigguka.” Isaaya 35:5

Era nti,

“Omulema alibuuka ng’ennangaazi, n’olulimi lw’abatayogera luliyimba n’essanyu. Amazzi galifubutuka ne gakulukutira mu lukoola n’emigga mu ddungu.” Isaaya 35:6

Era nti,

“Era eribaayo oluguudo olunene, n’ekkubo, eririyitibwa Ekkubo Ettukuvu. Abatali balongoofu tebaliriyitamu.” Isaaya 35:8

 

 

Musige ensigo ez’obutuukirivu, mukungule ebibala eby’okwagala okutaggwawo

“Tumanye Mukama; tunyiikire okumumanya. Ng’enjuba bw’evaayo enkya, bw’atyo bw’alirabika.” Koseya 6:3

Ebyassava byaffe leero biva mu: Koseya 1-14.  Ekijjulo kino kiraga okwagala Katonda kw’alina eri abantu be abajjudde ebibi. Nnabi Koseaya alaga ekifaananyi eky’omwami omwesigwa alaina amaka ge, eyawasa omukyala atali mwesigwa. Muno mulimu ekifanaanyi ky’obwesigwa bwa Mukama, newakubadde nga Isirayiri addiŋŋana mu kukola ebibi.

Bwe tuggyako akawuwo, Mukama agamba Koseya  nti,

“Ggenda owase omukazi malaaya, omuzaalemu abaana, era banaayitibwanga abaana aboobwamalaaya, kubanga ensi eyitirizza okukola ekibi eky’obwenzi, n’eva ku Mukama.” Koseya 1:2

Bwe tweyongerayo tulaba nga omukyala wa Koseya, Gomeri, azaala abaana ab’enjawulo era nga Mukama abaatuuma amanya.

Omwana asooka yatumibwa Yezuleeri, kubanga,

“Nnaatera okubonereza ennyumba ya Yeeku, olw’okuyiwa omusaayi gw’abantu aab’e Yezuleeri, era ndimalawo obwakabaka bwa Isirayiri.” Koseya 1:4

Omwana Ow’okubiri yatumibwa Lolukama, kubanga,

“Ennyumba ya Isirayiri ndiba  sikyagyagala, si kulwa nga mbasonyiwa.” Koseya 1:6b

Omwana Ow’okusatu yatumibwa Lowami, kubanga,

“Temukyali bantu bange, nange sikyali Katonda wammwe.” Koseya 1:9b

Wabula oluvanyuma Mukama agamba nti,

“Naye ekiseera kirutuuka ba Isirayiri ne baba bangi ng’omusenyu ogw’oku nyanja… Mu kifo ky’okuyitibwa abatali bantu bange, baliyitibwa baana ba Katonda omulamu.” Koseya 1:10

Bwe tweyongerayo tulaba okubonerezebwa kwa Isirayiri olw’okwonoona kwe.

Mukama ayogera nti,

“Kyendiva  neddiza emmere yange ey’empeke ng’eyengedde, ne wayini wange ng’atuuse; era nzija kumuggyako ebyambalo byange eby’ebbugumu n’ebyambalo byange ebya bulijjo, bye yayambalanga
.” Koseya 2:9

Era nti,

“Ndikomya ebinyumu bye byonna, n’embaga ze eza buli mwaka, n’embaga ze ez’emyezi egyakaboneka, ne ssabbiiti ze, n’enkuŋŋaana ze zonna entukuvu.” Koseya 2:11

Era nti,

“Ndimubonereza olw’ennaku ze yayotereza obubaane eri Babaali, ne yeeyambaza empeta n’ebintu eby’omuwendo ennyo, n’agenda eri baganzi be naye nze n’aneerabira, bw’ayogera Mukama.” Koseya 2:13

Era Mukama asubiiza nti,

“Kale kyendiva musendasenda, ne mmutwala mu ddungu, ne njogera naye n’eggonjebwa.” Koseya 2:14

Era nti,

“Era eyo ndimuddiza ennimiro ze ez’emizabbibu, ne nfuula Ekiwonvu kya Akoli oluggi olw’essubi. Alimpuliriza nga bwe yampulirizanga mu nnaku ez’obuvubuka bwe, era nga mu biro bye yaviira mu nsi ya Misiri.” Koseya 2:15

Era nti,

“Ku lunaku olwo,”  bw’ayogera Mukama, “olimpita nti, ‘mwami wange;’ toliddayo nate kumpita, ‘Mukama wange.’” Koseya 2:16

Ayongerako nti,

“Era ndikwogereza ennaku zonna, ndikwogereza mu butuukirivu, ne mu mazima, ne mu kwagala ne mu kusaasira. Ndikwogereza mu bwesigwa, era olimanya Mukama.” Koseya 2:119-20

Era nti,

“Ndimwesimbira mu nsi, ndisaasira oyo eyayitibwanga nti, atasaasirwa, era ndigamba abataali bantu bange nti, ‘Bantu bange,’ era nabo balyogera nti, ‘Ggwe Katonda wange.’” Koseya 2:23

Bwe tweyongerayo, Mukama agamba Koseya addiŋŋane ne Mukyala we omwenzi. Omugamba nti,

“Mwagale nga Mukama bw’ayagala Abayisirayiri newaakubadde nga bakyukira bakatonda abalala ne baagala obugaati obw’emizabbibu enkalu obuwonge eri bakatonda abalala.” Koseya 3:1b

Era Koseya agamba mukyala we nti,

“Oteekwa okubeera nange ebbanga lyonna. Lekeraawo okukuba obwamalaaya, oba okukola obwenzi, nange bwe ntyo naabeeranga naawe.” Koseya 3:3

Era eky’onno nga kyalikulaga nti,

“N’oluvannyuma abaana ba Isirayiri balidda ne banoonya Mukama Katonda waabwe ne Dawudi kabaka waabwe. Balijja eri Mukama nga bakankana nga banoonya emikisa gye mu nnaku ez’oluvannyuma.” Koseya 3:5

Bwe tugenda mu maaso tulaba okulabulwa eri Isirayiri, kubanga,

“Obwesigwa n’okwagala Katonda, n’okumumanya bikendedde mu nsi. Waliwo okukolima, n’okulimba, n’okutta, n’okubba, n’okukola eby’obwenzi; bawaguza, era bayiwa omusaayi obutakoma.” Koseya 4:1b-2

Era kyogerwa,

“Ensi kyeneeva ekaaba, ne bonna bagibeeramu ne bafuuka ekitagasa; n’ensolo enkambwe ez’omunsiko zirifa, n’ennyonyi ez’omu bbanga nazo zirifa, n’ebyennyanja ebiri mu nnyanja ne bifa.” Koseya 4:3

Era nti,

“Abantu bange bazikiridde olw’obutamanya. Kyemunaava mulema okubeera bakabona bange; era olw’okulagajjalira etteka lya Katonda wo, nange kyendiva ndagajjalira abaana bo.” Koseya 4:6

Era nti,

“Era bwe kityo bwe kiriba eri abantu n’eri bakabona: ndibabonereza olw’enneeyisa yaabwe, era ne mbasasula ng’ebikolwa byabwe.” Koseya 4:9

Kyogerwa nti,

“Balirya naye tebalikkuta,” Koseya 4:10

Era nti,

“Omwoyo og’obwenzi gabasendasenda ne gubaleetera obutaba beesigwa eri Katonda waabwe.” Koseya 4:12b

Era Mukama abuuza nti,

“Abayisirayiri bakakanyavu mu mitima ng’ennyana endalu, olwo Mukama ayinza atya okubalabirira ng’abaana b’endiga abali mu kisibo?” Koseya 4:16

Era kigambibwa,

“Abayisirayiri bakakanyavu mu mitima ng’ennyana endalu, olwo Mukama ayinza atya okubalabirira ng’abaana b’endiga abali mu kisibo?” Koseya 4:16

Era kyogerwa nti,

“Ebikolwa byabwe tebibaganya kudda eri Katonda waabwe.” Koseya 5:4

Era nti,

“Tebabadde beesigwa eri Mukama; bazadde abaana aboobwenzi.” Koseya 5:7

Era Mukama agamba nti,

“Kyendiva mbeera ng’empologoma eri Efulayimu, era ng’empologoma ey’amaanyi eri ennyumba ya Yuda. Ndibataagulataagula ne ŋŋenda; ndibeetikka ne mbatwala, ne babulwako ayinza okubawonya.” Koseya 5:14

Bwe tugenda mumaaso tulaba okukowoola nti,

“Mujje, tudde eri Mukama. Atutaaguddetaagudde, naye alituwonya; atuleeseeko ebiwundu, naye ebiwundu, naye ebiwundu alibinyiga.” Koseya 6:1

“Oluvannyuma olw’ennaku bbiri alituzzaamu obulamu, era ku lunaku olw’okusatu alituzza buggya, ne tubeera balamu mu maaso ge.” Koseya 6:2

Era nti,

“Tumanye Mukama; tunyiikire okumumanya. Ng’enjuba bw’evaayo enkya, bw’atyo bw’alirabika.” Koseya 6:3

Mukama ayogera nti,

“Kubanga njagala ekisa so si ssaddaaka, era n’okumanya Katonda, okusinga ebiweebwayo ebyokebwa.” Koseya 6:6

Era Mukama agamba nti,

“Njagala nnyo okubanunula, naye banjogerako eby’obulimba. Tebankaabira n’emitima gyabwe, wabula ebiwoobe babikubira ku bitanda byabwe.” Koseya 7:13b-14b

Era nti,

“Balonda bakabaka nga sikkirizza, balonda abakulembeze be sikakasizza. Beekolera ebifaananyi ebyole mu ffeeza yaabwe ne mu zaabu yaabwe” Koseya 8:4

Era nti,

“Basiga empewo, ne bakungula embuyaga. Ekikolo olw’obutaba na mutwe, kyekiriva kirema okubala ensigo. Naye ne bwe kyandibaze, bannaggwanga bandigiridde. Isirayiri amaliddwawo; ali wakati mu mawanga ng’ekintu ekitagasa.” Koseya 8:7-8

Era kyogerwa nti,

“Tosanyuka ggwe Isirayiri; tojaguza ng’amawanga amalala, kubanga tobadde mwesigwa eri Katonda wo, weegomba empeera eya malaaya.” Koseya 9:1

Era nti,

“Ennaku ez’okubonerezebwa zijja, ennaku ez’okusasulirwamu ziri kumpi. Ekyo Isirayiri akimanye. Olw’ebibi byammwe okuba ebingi ennyo, n’obukambwe bwammwe obungi, nnabbi ayitibwa musirusiru, n’oyo eyabikkulirwa mumuyita mugu wa ddalu.” Koseya 9:7

Era kyogerwa nti,

“Musige ensigo ez’obutuukirivu, mukungule ebibala eby’okwagala okutaggwawo; mukabale ettaka lyammwe eritali ddime, kubanga ekiseera kituuse okunoonya Mukama, okutuusa lw’alidda n’abafukako obutukirivu.” Koseya 10:12

Ewalala Mukama agamba nti,

“Isirayiri bwe yali omwana omuto, namwagala, era namuyita okuva mu Misiri. Naye buli lwe nayongeranga okuyita Isirayiri, nabo gye beeyongeranga okusemberayo ne bawaayo ssaddaaka eri Babaali, ne bootereza ebifaananyi ebyole obubaane.” Koseya 11:1-2

Wabula Mukama yebuuza nti,

“Nnyinza ntya okukuleka ggwe Efulayimu? Nnyinza ntya okukuwaayo ggwe Isirayiri?… Omutima gwange gwekyusiza munda yange, Mpulira nkukwatiddwa ekisa kingi.” Koseya 11:8

Era Mukama agamba nti,

“Siikole ng’obusungu bwange obungi bwe buli, so siridda kuzikiriza Efulayimu; kubanga siri muntu wabula Katonda, Omutukuvu wakati mu mmwe: sirijja na busungu.” Koseya 11:9

Awalala Mukama agamba nti alibonereza Yakobo ng’engeri ze bwe ziri. Agamba nti,

“Bwe yali mu lubuto lwa nnyina yakwata muganda we ku kisinziiro, ne mu bukulu bwe n’ameggana ne Katonda.” Koseya 12:3

Era Mukama agamba nti,

“Nze Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi ya Misiri; so tolimanya Katonda mulala wabula nze, so tewali mulokozi wabula nze.” Koseya 13:4

Era nti,

“Bwe nabaliisa, bakkuta; bwe bakkuta ne beegulumiza, bwe batyo ne banneerabira.” Koseya 13:6

Era olw’ekyo, Mukama agamba nti,

“Kyendiva mbalumba ng’empologoma, era ndibateegera ku kkubo ng’engo. Ng’eddubu erinyagiddwako abaana baalyo.” Koseya 13:7-8

Era kyogerwa nti,

“Mudde eri Mukama Katonda wammwe, ggwe Isirayiri. Ebibi buammwe bye bibaletedde okugwa.” Koseya 14:1

Era Isirayiri egambibwa okwogera nti,

“Tusonyiwe ebibi byaffe byonna, otwanirize n’ekisa, bwe tutyo tunaawaayo ebibala by’akamwa kaffe, n’ebiweebwayo eby’ente ennume.” Koseya 14:2

Mukama agamba nti,

“Ndibalesaayo empisa zaabwe embi, ne mbaagala awatali kye mbasalidde kya kusasula.” Koseya 14:4

Mukumaliriza kyogerwa nti,

“Amakubo ga Mukama matuufu, n’abatuukirivu bagatambuliramu, naye abajeemu bageesittaliramu.” Koseya 14:9b

 

 

Katonda ono ye Katonda waffe, y’anaatuluŋŋamyanga ennaku zonna okutuusa okufa!

“Mukama Katonda wammwe wa kisa era ajjudde okusaasira, so taakyuse maaso ge, okubavaako bwe munadda gyali.” 2 Ebyomumirembe 30:9b

Oluwombo lwaffe leero lujjudde ebyassava okuva mu: 2 Bassekabaka 18:1-8; 2 Ebyomumirembe 29-31, Psalm 48.

Bwetujjako akawuwo, tulaba nga Keezeekiya atandika okufuga era tutegezeebwa nti,

“N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama nga jjajjaawe Dawudi bwe yakola.” 2 Bassekabaka 18:3

Era kyongerwako nti,

“Keezeekiya yeesiga Mukama, Katonda wa Isirayiri, ne wataba n’omu eyamwenkana ku bakabaka bonna aba Yuda mu abo abaamusooka ne mu abo abamuddirira.” 2 Bassekabaka 18:5

Era nti,

“Nanywerera ku Mukama, nataleka kumugoberera, era n’akuuma n’amateeka Mukama ge yawa Musa.” 2 Bassekabaka 18:6

Era nti,

“Mukama n’abeera wamu naye, era n’abeera n’omukisa mu buli kye yakolanga.” 2 Bassekabaka 18:7

Mu kibego eky’okubiri tulaba ebintu eby’enjawulo kabaka Keezeekiya by’eyakola. Era katulabe ku bimu ku bbyo. Kigambibwa nti,

“Mu mwaka gwe ogwasooka, mu mwezi ogw’olubereberye, n’aggulawo enzigi za yeekaalu ya Mukama, n’aziddaabiriza.” 2 Ebyomumirembe 29:3

Era ekyaddirira, Keezeekiya yakuŋŋanya bakabona n’Abaleevi n’abagamba nti,

“Mumpulirize  Abaleevi, kaakano mwetukuze, ate mutukuze ne yeekaalu ya Mukama Katonda wa bajjajja mmwe, muggye buli kitali kirongoofu mu watukuvu.” 2 Ebyomumirembe 29:5

Era abajjukiza nti,

“Bajjajjaffe baayonoona, ne bakola ebitali birungi mu maaso ga Mukama Katonda waffe ne bamuvaako. Baggya amaaso gaabwe ku kifo Mukama gy’abeera, ne bamukuba amabega.” 2 Ebyomumirembe 29:6

Era abajjukiza nti ekyo kyali kibi nnyo era ebyali bibatuuseeko byonna byava ku ekyo.

Wabula Kezeekiya ayogera nti,

“Kaakano mmaliridde mu mutima gwange okukola endagaano ne Mukama, Katonda wa Isirayiri obusungu bwe obw’amaanyi butuveeko.” 2 Ebyomumirembe 29:10

Era tulaba ng’okutukuzibwa kutandikira ku Baleevi. Era kigambibwa nti,

“Ne bakuŋŋaanya baganda baabwe, ne beetukuza bo bennyini, n’oluvannyuma ne bayingira okutukuza yeekalu ya Mukama nga kabaka bwe yali alagidde, ng’agoberera ebigambo bya Mukama.” 2 Ebyomumirembe 29:15

Okutukuzibwa nga kuwedde, tulaba okusaddaka nga kutandiika.

Era kigambibwa nti,

“Keezeekiya n’alagira okuwaayo ssaddaaka ey’ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto. Era okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa bwe kwatandika, abayimbi nabo nebatandika okuyimbira Mukama, n’amakondeere n’ebivuga ebirala ebya Dawudi kabaka wa Isirayiri nabyo ne bivuga.” 2 Ebyomumirembe 29:27

Era nti,

“Awo okuwaayo ebiweebwayo bwe kwaggwa, kabaka n’abo bonna abaaliwo ne bavuunama ne basinza.” 2 Ebyomumirembe 29:29

Era kitegezeebwa nti,

“Okuweereza mu yeekaalu ya Mukama ne kuzzibwawo. Awo Keezeekiya n’abantu bonna ne bajaguza lw’ekyo Katonda kye yali akoledde abantu be mu bbanga ettono ennyo.” 2 Ebyomumirembe 29:35b-36

Bwetweyongerayo tulaba nga Keezeekiya ng’atekateeka eggwanga lya Isirayiri okukwata Embaga ey’Okuyitako eya Mukama Katonda wa Isirayiri.

Era amabaluwa gatwalibwa mu Isirayiri yonna nga gagamba nti,

“Abantu ba Isirayiri, mudde eri Mukama Katonda wa Ibulayimu, ne Isaaka, ne Isirayiri, Katonda alyoke adde gye muli, mmwe ekitundu ekisigaddewo, ekiwonye omukono gwa bakabaka b’e Bwasuli.” 2 Ebyomumirembe 30:6b

Era nti,

“So temuba ba nsingo nkakanyavu nga bajjajjammwe bwe baali, naye mukkakkane eri Mukama, mujje mu watukuvu we, we yatukuza emirembe gyonna, muweereze Mukama Katonda wammwe obusungu bwe bubaveeko.” 2 Ebyomumirembe 30:8

Era ku Mukama kyogerwa nti,

“Mukama Katonda wammwe wa kisa era ajjudde okusaasira, so taakyuse maaso ge, okubavaako bwe munadda gyali.” 2 Ebyomumirembe 30:9b

Era tutegezebwa nti embaga yatwalira ddala ennaku kkumi nannya. Era nti,

“Ne waba essanyu lingi mu Yerusalemi kubanga okuva mu biro bya Sulemaani mutabani wa Dawudi kabaka wa Isirayiri, waali tewabangaawo kintu kifaana bwe kityo mu Yerusalemi” 2 Ebyomumirembe 30:26

Era tulaba nga abantu baddayo mubibuga byabwe eby’enjawulo n’ebasanyaawo ebifo ebigulumivu.

Bwetweyongerayo tulaba ebirabo eby’okusinza nga bitandika okuwebwayo abantu era kyogerwa Azaliya kabona asinga obukulu nti,

“Okuva abantu lwe baatandika okuleeta ebirabo byabwe mu yeekaalu ya Mukama, tubadde n’ebyokulya ebiwera n’ebirala ne bifikkawo, kubanga Mukama awadde abantu be omukisa, n’ebifisseewo bye bino obungi .” 2 Ebyomumirembe 31:10

Mu kibego ekisembayo, tugendako mu Zabbuli 48. Era Eggulwo bweti,

“Mukama mukulu, asaanira okutenderezebwa ennyo mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu .” Zabbuli 48:1

Era tulaba nti olusozi luno ye Sayuuni.

Era tulaba obujjulizi nga buweebwa nti,

“Ebyo bye twawuliranga obuwulizi, kaakano tubirabye mu kibuga kya Mukama ow’Eggye, mu kibuga kya Katonda waffe, kyalinywereza ddala emirembe gyonna.” Zabbuli 48:8

Era kyongerako nti,

“Ayi Katonda, tufumitiriza ku kwagala kwo okutaggwaawo nga tuli mu Yeekaalu yo.” Zabbuli 48:9

Era nti,

“Sanyuka gwe Sayuuni, musanyuke mmwe ebibuga bya Yuda; kubanga Katonda alamula bya nsonga.” Zabbuli 48:11

Era mukumaliriza kigambibwa nti,

“Kubanga Katonda ono, ye Katonda waffe emirembe gyonna; y’anaatuluŋŋamyanga ennaku zonna okutuusa okufa.” Zabbuli 48:14

Mukama Katonda, ebyo byonna bye tukoze Ggw’obitukoledde!

“Eky’amazima oyo ye Katonda waffe; twamwesiga n’atulokola. Ono ye Mukama Katonda twamwesiga; tusanyukire mu bulokozi bwe, era tumujagulizeemu.” Isaaya 25:9

Ekijjulo kyaffe leero kiva mu: Isaaya 23-27.

Mukusosotola, tulaba obunnabi ku Tuulo, era ku magoba ga Tuulo kigambibwa nti,

“Amagoba ge galigenda eri abo ababeera mu maaso ga Mukama, basobole okuba n’emmere emala, n’okuba n’ebyambalo ebirungi.” Isaaya 23:18b

Era tulaba nga Mukama ayogera  ku kuzikiriza ensi. Era kyogerwa nti,

“Ensi eyonooneddwa abantu baayo, bajeemedde amateeka, bamenye ebiragiro, ne bamenyawo endagaano ey’emirembe n’emirembe.” Isaaya 24:5

Era nti,

“Noolwekyo ekikolimo kimalawo ensi; n’abantu baayo bateekwa okusasula olw’omusango okubasinga.” Isaaya 24:6

Era kyogerwa nti,

“Okujaguza kw’ebitasa kusirise, n’oluyoogaano lw’abo ababeera mu masanyu lusirise.” Isaaya 24:8

Wabula ebyo nga bikyali bityo, waliwo okuleekana olw’essanyu okwogerwako. Kigambibwa nti,

“Bayimusa amaloboozi gaabwe, baleekaana olw’essanyu, batendereza ekitiibwa kya Mukama Katonda okuva mu bugwanjuba.” Isaaya 24:14

Era nti,

“Tuwulira okuyimba okuva ku nkomerero y’ensi, ‘Ekitiibwa kibeere eri Omutuukirivu’.” Isaaya 24:14

Era ku nsi kyogerwa nti,

“Ensi emenyeddwamenyeddwa, ensi eyawuliddwamu, ensi ekankanira ddala. Ensi etagala ng’omutamiivu, eyuugayuuga ng’akasiisira bwe kayuugayuuga mu kibuyaga.” Isaaya 24:19-20

Era nti,

“Ku lunaku olwo Mukama Katonda alibonereza ab’amaanyi abali waggulu mu bwengula, ne bakabaka abali wansi ku nsi.” Isaaya 24:21

Era nti,

“Omwezi gulitabulwatabulwa, n’enjuba eriswazibwa; Mukama Katonda ow’Eggye alifugira mu kitiibwa ku Lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi, ne mu maaso g’abakadde.” Isaaya 24:23

Bwetweyongerayo, wabawo ayogera nti,

“Ggwe, Ayi Mukama, gwe Katonda wange; ndikugulumiza ne ntendereza erinnya lyo, kubanga okoze  ebintu eby’ettendo, ebintu bye wateekateeka edda, mu bwesigwa bwo.” Isaaya 25:1

Era nti,

“Ddala obadde kiddukiro eri abaavu, ekiddukiro eri oyo eyeetaaga, ekiddukiro ng’eriyo embuyaga n’ekisiikirize awali ebbugumu.” Isaaya 25:4

Kyongerwako nti,

“Ku lusozi luno Mukama Katonda ow’Eggye aliteekerateekerako abantu bonna ekijjulo eky’emmere ennungi.” Isaaya 25:6

Era kigambibwa nti,

“Era alimalirawo ddala okufa. Mukama Katonda alisangula amaziga mu maaso gonna, era aliggyawo okuswazibwa kw’abantu be mu nsi yonna. Mukama ayogedde.” Isaaya 25:8

Era nti mu biro ebyo balyogera nti,

“Eky’amazima oyo ye Katonda waffe; twamwesiga n’atulokola. Ono ye Mukama Katonda twamwesiga; tusanyukire mu bulokozi bwe, era tumujagulizeemu.” Isaaya 25:9

Era kigambibwa nti mu biseera ebyo, oluyimba olw’okutendereza luliyimbibwa mu nsi ya Yuda. Ebimu ku biri mu luyimba luno,

“Tulina ekibuga eky’amaanyi; Katonda assaawo obulokozi okuba bbugwe waakyo n’ekigo kyakyo.” Isaaya 26:1

Era nti,

“Mukama alikuuma mirembe oyo amaliridde okumwesiga mu mutima gwe.” Isaaya 26:3

Era nti,

“Weesigenga Mukama ennaku zo zonna, kubanga emirembe giri waggulu mu Mukama, Mukama Katonda oyo atoowaza.” Isaaya 26:4

Era nti,

“Ekkubo ly’abatuukirivu ttereevu; Ggwe atuukiridde, olongoosa olugendo lw’omutuukirivu.” Isaaya 26:7

Era nti,

“Weewawo Mukama Katonda tukulindirira nga tutambulira mu mateeka go, era erinnya lyo n’okumanyibwa kwo kwe kwegomba kw’emitima gyaffe.” Isaaya 26:8

Era nti,

“Bw’osalira ensi omusango, abantu b’ensi bayiga obutuukirivu.” Isaaya 26:9b

Wabula,
“Omukozi w’ebibi ne bw’akolerwa ebyekisa, tayiga butuukirivu. Ne bw’abeera mu nsi ey’abatuukiridde, yeeyongera kukola bibi, era talaba kitiibwa kya Mukama Katonda.” Isaaya 26:10

Era nti,

“Mukama Katonda otuteekerateekera emirembe, n’ebyo byonna bye tukoze ggw’obitukoledde.” Isaaya 26:12

Era nti,

“Ayi Mukama Katonda waffe, abafuzi abalala batufuze nga wooli naye erinnya lyo lyokka lye tussaamu ekitiibwa.” Isaaya 26:13

Era nti,

“Naye abafiira mu ggwe balirama, emibiri gyabwe girizuukira.” Isaaya 26:19a

Bwe tweyongerayo, Mukama agamba nti,

“Nze Mukama Katonda ennimiro nze ngirabirira era nze ngifukirira buli kiseera. Ngikuuma emisana n’ekiro waleme kubaawo n’omu agikola kabi.” Isaaya 27:3

Era kigambibwa nti,

“Mu biro ebijja Yakobo alisimba emirandira, Isirayiri aliroka n’amulisa n’ajjuza ensi yonna ebibala.” Isaaya 27:3

Ndibonereza ensi olw’okwonoona kw’ayo

“Noolwekyo ndikankanya eggulu, era n’ensi ngiyuuguumye okuva mu kifo kyayo…” Isaaya 13:13a

Ekijjulo kyaffe leero kiva mu: Isaaya 13-17. Era tulaba Mukama nga awa obunnabbi ku mawanga agenjawulo.

Mukusosotola, Mukama agamba nti,

“Nze Mukama nadagidde abatukuvu bange mpise abalwanyi bange ab’amaanyi, babonereze abo abeeyisaawo abeemanyi.” Isaaya 13:3

Era tutegezeebwa nti Mukama Katonda Ow’Eggye ateekateeka eggye lye okulwana. Era nti,

“Mu busungu bwe Mukama Katonda aleese eby’okulwanyisa eby’okuzikiriza ensi yonna.” Isaaya 13:5b

Era kyogerwa nti, mukungubage, kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi. Era nti,

“Emikono gyonna kyegiriva giggwaamu amaanyi, na buli mutima gwa muntu gulisaanuuka.” Isaaya 13:7

Era nti,

“Laba olunaku lwa Mukama lujja, olunaku olubi ennyo olw’ekiruyi n’obusungu obubuubuuka okufuula ensi amatongo, n’okuzikiriza abakozi b’ebibi okubamalamu.” Isaaya 13:9

Kigambibwa nti,

“Kubanga emmunyeenye ez’omu ggulu n’ebibiina byazo tebiryaka; enjuba nayo teryaka nga bw’ekola bulijjo, n’omwezi nago tegulyaka.” Isaaya 13:10

Mukama agamba nti,

“Ndibonereza ensi olw’okwonoona kw’ayo, n’abakozi b’ebibi olw’ebyonoono byabwe. Era ndimalawo okweyisa kw’abamalala era ndikakkanya okwenyumiriza kw’abo abakambwe.” Isaaya 13:11

Era nti,

“Abantu ndibafuula abebbula okusinga zaabu…” Isaaya 13:12

Ayongerako nti,

“Noolwekyo ndikankanya eggulu, era n’ensi ngiyuuguumye okuva mu kifo kyayo…” Isaaya 13:13a

Ku Babulooni kigambibwa nti,

“Ne Babulooni, ekitiibwa eky’obwakabaka, obulungi obw’okwemanya kw’Abakaludaaya, kiriba nga Sodomu ne Ggomola Katonda bye yawamba.” Isaaya 13:19

Era nti,

“Tekiriddamu kusulwamu ennaku zonna, so tekiribeerwamu emirembe n’emirembe…” Isaaya 13:20a

Wabula Ku Isirayiri kyogerwa nti,

“Mukama Katonda alikwatirwa Yakobo ekisa, addemu alonde Isirayiri abazze ku ttaka lyabwe.” Isaaya 14:1a

Era nti,

“N’amawanga mangi galibayamba okudda mu nsi yaabwe…” Isaaya 14:2a

Era nti,

“Baliwamba abaali babawambye, bafuge abo baabakijjanyanga.” Isaaya 14:2ac

Era kigambibwa ku lunaku Mukama lwaliwa Isirayiri okuwummula okuva mu kulumwa kwabwe nti baligera olugero ku kabaka w’e Babulooni nti,

“Omujoozi ng’agudde n’aggwaawo! Ekibuga ekya zaabu ekibadde kitutigomya nga tekikyaliwo. Mukama Katonda amenye omuggo ogw’abakozi b’ebibi…” Isaaya 14:4-5a

Era nti,

“Ng’ogudde okuva mu ggulu, ggwe emunyeenye ey’enkya, omana w’emambya!” Isaaya 14:12

Era nti,

Wayogera mu mutima gwo nti, “Ndirinnya mu ggulu, ndigulumiza entebe yange okusinga emunyeenye za Katonda…” Isaaya 14:13

Era nti,

“Nyambuka okusinga ebire we bikoma, nyoke nfuuke ng’oyo ali waggulu ennyo.” Isaaya 14:14

Ewalala kyogerwa nti,

“Ezzadde lyabo abaakola ebibi teriryongerwako n’akatono.” Isaaya 14:20b

Ku Bwasuli, Mukama katonda ow’Eggye agamba nti,

“Ndimenyera Omwasuli mu nsi yange, era ndimulinyirira ku nsozi zange. Ekikoligo kye kilibavaako, n’omugugu gwe guliggyibwa ku kibegabega kye.” Isaaya 14:25

Era nti,

“Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye ye yateesa, kale ani ayinza okukijjulula?” Isaaya 14:27

Mukama ng’amaze okumalawo abajoozi, kigambwa nti,

“Entebbe ey’obwakabaka eryoke etekebwewo mu kwagala, era ku yo kutuuleko omufuzi ow’omu nnyumba ya Dawudi alamula mu bwesigwa era anoonya obwenkanya era ayanguwa okukola eby’obutuukirivu.” Isaaya 16:5

Nga Mukama amaze okubonereza amawanga agenjawulo, kyogerwa nti,

“Ku lunaku luli abantu balirowooza ku Mutoonzi waabwe, n’amaaso gaabwe galikyukira Omutukuvu wa Isirayiri. So tebalirowooza ku byoto byabalubaale baabwe, emirimu gy’emikono gyabwe, be beekolera…” Isaaya 17:7-8

Era tulaba nga bwe kitali kirungi kwerabira Mukama.

“Weerabidde Katonda Omulokozi wo, So tojjukidde lwazi lwa maanyi go…” Isaaya 17:10

Kino nno kyabulabe eri okukungula,

“Wadde obisimba bulungi nnyo ne bimera ku lunaku lw’obisimbye, era ne bimerusa ensigo ku makya kwenyini kwe bisimbiddwa, tolibaako ky’okungula wabula obulumi obutawonyezeka n’ennaku ey’ekitalo.” Isaaya 17:11

 

 

Temusinzanga bakatonda abalala wabula Mukama Katonda wammwe yekka!

“Wabula musinzanga Mukama Katonda wammwe, kubanga y’anaabalokolanga mu mukono gw’abalabe bammwe bonna.” 2 Bassekabaka 17:39

Ekijjulo kyaffe leero kiva mu: 2 Ebyomumirembe 28, 2 Bassekabaka 16-17.  

Bwe tuggyako akawuwo, tulaba nga Akazi alya obwakabaka era kigambibwa nti,

“Naye obutafaanana nga jjajjaawe Dawudi, yakola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama.” 2 Ebyomumirembe 28:1b

Era olw’obutasinza Mukama,

“Mukama Katonda we kyeyava amuwaayo mu mukono gwa kabaka w’e Busuuli, eyamuwangula n’atwala abantu ba Yuda nga basibe , n’abaleeta e Ddamasiko.” 2 Ebyomumirembe 28:5

Era kyongerwaako nti,

“Mukama yakkakkanya nnyo Yuda olw’ebibi n’obutali bwesigwa bwa Akazi kabaka wa Isirayiri eri Mukama, Akazi bye yakola mu Yuda.” 2 Ebyomumirembe 28:19

Era nti,

“Mu buli kibuga kya Yuda n’azimbamu ebifo ebigulumivu okuwerangayo ssaddaaka eri bakatonda abalala, n’asunguwaza Mukama Katonda wa bajjajjaabe.” 2 Ebyomumirembe 28:25

Era Akazi yannoonya obulokozi okuva ewa kabaka w’e Bwasuli,

“Akazi n’aggya effeeza ne zaabu ebyabeeranga mu yeekaalu ya Mukama, ne mu mawanika ag’omu lubiri lwa kabaka, n’agiweereza ng’ekirabo eri kabaka w’e Bwasuli.” 2 Bassekabaka 16:8

Bwetweyongerayo tulaba nga Abayisirayiri batwalibwa mu buwaŋŋanguse e Bwasuli. Era eno y’ensonga lwaki kyaba kiti.

“Bino byonna byabaawo kubanga Abayisirayiri bayonoona mu maaso ga Mukama Katonda waabwe, eyali abaggye mu Misiri okuva mu mukono gwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri. ” 2 Bassekabaka 17:7

Era nti,

“Baasinzanga bakatonda abalala, ne bagobereranga empisa za baamawanga Mukama ge yali agobye mu maaso gaabwe. Era bagobereranga n’emizizo bassekabaka ba Isirayiri gye baali bataddewo. ” 2 Bassekabaka 17:7c-8

Era bakola ebintu eby’ekivve ne basunguwaza Mukama.

“Ne basinza ebifaananyi, ate nga Mukama yali abalagidde nti, “Temukolanga ekyo. ” 2 Bassekabaka 17:12

Wabula kigambibwa nti,

“Mukama n’alabula Isirayiri ne Yuda ng’akozesa bannabi n’abalabi nti, “Mukyuke muve mu bibi byammwe, mukuume amateeka gange n’ebiragiro byange, ng’etteeka bwe liri lye nalagira bajjajjammwe, lye nabaweereza nga nkozesa abaddu bange bannabbi.” 2 Bassekabaka 17:13

Wadde nga balabulwa, kigambibwa nti,

“Naye ne batawuliriza, ne baba bakakanyavu nga bajjajjaabwe bwe baali, abateesiga Mukama Katonda waabwe. Ne banyooma ebiragiro n’endagaano gye yali akoze ne bajjajjaabwe, n’okulabula kwe yali abawadde. Nebagoberera bakatonda abataliimu, ate nabo ne bafuuka ebitagasa.” 2 Bassekabaka 17:14-15

Era olw’ekyo,

“Mukama kyeyava asunguwalira ennyo Isirayiri, n’abagoba mu maaso ge, n’alekawo ekika kya Yuda kyokka.” 2 Bassekabaka 17:18

Wabula ne Yuda bwetakuuma mateeka ge,

“Mukama kyeyava aleka ezzadde lyonna erya Isirayiri, n’ababonereza, n’abawaayo mu mikono gy’abanyazi, n’okubagoba n’abagobera ddala okuva mu maaso ge.” 2 Bassekabaka 17:20

Era,

Awo Abayisirayiri ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse mu nsi eya Bwasuli, gye bali ne  kaakano.” 2 Bassekabaka 17:23b

Era kigambibwa nti kabaka w’e Bwasuli n’akuŋŋanya abantu abamawanga amalala n’abaleeta mu bibuga Isirayiri mwe yabeeranga.

Era tulaba nti,

“Ku ntandikwa bwe babeeramu ne batasinza Mukama, kyeyava abasindikira empologoma ne zitta abamu ku bo.” 2 Bassekabaka 17:25

Olw’ekyo kabaka w’e Bwasuuli ategezebwa era nasindika omu ku bakabona ba Isirayiri agende abeere eyo, ayigirize abantu amateeka ga Katonda w’ensi eyo.

“Awo omu ku bakabona eyali awaŋŋangusibbwa okuva mu Samaliya n’agenda n’abeera e Beseri, n’abayigiriza bwe kibagwanira okusinza Mukama.” 2 Bassekabaka 17:28

Era kigambibwa nti,

“Ne basinzanga Mukama, naye nga bwe baweereza ne bakatonda baabwe, ng’empisa ez’amawanga gye baali bavudde bwe zalinga.” 2 Bassekabaka 17:33

Wabula endagaano Mukama gye yakola n’Abayisirayiri egamba nti,

“Temusinzanga bakatonda balala, so temubavuunamiranga so temubaweerezanga, wadde okuwaayo ssaddaaka gye bali. Mwekuumenga okugobereranga ebiragiro n’amateeka, n’etteeka, n’ekiragiro bye yabawandiikira. Temusinzanga bakatonda abalala.” 2 Bassekabaka 17:35-36

Era nti,

“Wabula musinzanga Mukama Katonda wammwe, kubanga y’anaabalokolanga mu mukono gw’abalabe bammwe bonna.” 2 Bassekabaka 17:39

Mukama atwetaaza okukola eby’ensonga, okuba n’ekisa n’okutambulira mu buwombeefu!

“Mukama akulaze, ggwe omuntu, ekirungi ky’oteekwa okukola. Kaakano, Mukama kiki ky’akwetaaza, okuggyako okukola eby’ensonga, okuba n’ekisa era n’okutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo.” Mikka 6:8

Ekijjulo kyaffe leero kiva mu: Mikka 1-7.  Oluwombo luno lulaga nga Katonda bwe yeeyama atuukiriza, nga bwe kiri mundagaano ye ne Isirayiri. Newaakubadde nga Isirayiri tebaali beesigwa era nga Katonda yabasalira omusango okubasinga olw’obutali bwesigwa bwabwe, kyokka Katonda asigala abaagala era atuukiriza endagaano ye eri abaana be Isirayiri.

Bwe tuggyako akawuwo, Mikka agamba nti,

“…Mukama Ayinzabyonna asinziira mu yeekaalu ye entukuvu, ng’alina by’abalumiriza.” Mikka 1:2b

Mikka agenda mumaaso okulambika nti,

“Bino byonna biribeerawo olw’okwonoona kwa Yakobo, olw’ebibi by’ennyumba ya Isirayiri…” Mikka 1:5a

Era nti,

“Ng’ebirabo ebyo bwe byafunibwa mu bwenzi, bwe bityo bwe biritwalibwa mu bwenzi ne bikozesebwa.” Mikka 1:7c

Mikka era ayogera nti,

“Zibasanze mmwe abateesa okukola ebitali bya butuukirivu era abateesa okukola ebibi nga bali ku buliri bwabwe; obudde bwe bukya ne batuukiriza entegeka zaabwe, kubanga kiri mu nteekateeka yaabwe.” Mikka 2:1

Ewalala kibuuzibwa nti,

“Olowooza Omwoyo wa Mukama asunguwalira bwereere, si lwa bulungi bwo? Ebigambo bye tebiba birungi eri abo abakola obulungi? ” Mikka 2:7

Era tweyongera okulaba nga Mukama avunaana abakulembeze ba Yakobo era abafuzi b’ennyumba ya Isirayiri. Era ayagera nti,

“Abakulembeze be, balya enguzi ne basala omusango nga beekubiira, bakabona be, baggya ensimbi ku bantu balyoke bayigirize, ne bannabbi be, baagala okuwa obunnabbi nga bamaze kusasulwa. ” Mikka 3:11

Era eri bannabbi ababuzabuza abantu kyogerwa nti,

“Noolwekyo ekiro kiribajjira, awatali kwolesebwa, n’enzikiza ebajjire awatali kulagulwa. ” Mikka 3:6

Bwetweyongerayo tulaba obufuzi bwa Mukama eri Amawanga gonna nga kiragulwa nti,

“Mu nnaku ez’oluvannyuma olusozi lw’ennyumba ya Mukama luligulumizibwa okusinga ensozi zonna; lulisitulibwa waggulu okusukkuluma ku busozi, era abantu balisimba ennyiriri nga balaga gye luli. ” Mikka 4:1

Era nti Amawanga mangi galiragayo ne googera nti,

“Mujje twambuke ku lusozi lwa Mukama, mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo. Alituyigiriza by’ayagala tulyoke tutambulire mu makubo ge.” Mikka 4:2

Era nti,

“Newaakubadde nga amawanga gonna galigoberera bakatonda baago, naye ffe tunaatambuliranga mu linnya lya Mukama Katonda waffe emirembe n’emirembe. ” Mikka 4:5

Ekitole eky’okutaano kiraga omufuzi ava mu Besirekemu,

“Naye ggwe Besirekemu Efulasa, newaakubadde ng’oli mutono mu bika bya Yuda, mu ggwe mwe muliva alibeera omufuzi wange mu Isirayiri. Oyo yaliwo okuva edda n’edda, ng’ensi tennabaawo. ” Mikka 5:2

Era nti,

“Mukama kyaliva awaayo Isirayiri eri abalabe baayo okutuusa omukyala alumwa okuzaala lwalizaala Omwana, era baganda be abaasigalawo ne balyoka bakomawo er bannaabwe mu Isirayiri.. ” Mikka 5:3

Era Omwana ono alizaalwa ayogerwako nti,

“Aliyimirira n’anyweera n’aliisa ekisibo Kye mu maanyi ga Mukama, mu kitiibwa ky’erinnya lya Mukama Katonda we. Era abantu tebalibaako abateganya, kubanga aliba mukulu okutuusa ku nkomerero y’ensi.” Mikka 5:4

Era nti,

“Omukulu oyo aliba mirembe gyabwe…” Mikka 5:5

Mukama agenda mumaaso okujjukiza Isirayiri by’eyali abakoledde era abalaga ky’abetaaza,

“Mukama akulaze, ggwe omuntu, ekirungi ky’oteekwa okukola. Kaakano, Mukama kiki ky’akwetaaza, okuggyako okukola eby’ensonga, okuba n’ekisa era n’okutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo.” Mikka 6:8

Era kyongerwako nti,

“Kyamagezi ddala okutya Erinnya lye, n’okussaayo omwoyo eri okukangavvula n’eri oyo Akangavvula.” Mikka 6:9b

Era olw’obutali butukirivu Mukama agamba nti,

“Onoolyanga, naye n’otokutta, era olubuto lwo lulisigala lutokota nga lukubanja. Oligezaako okukuŋŋanya, weeterekere, naye tolibaako na kimu ky’otereka kubanga byonna ndibiwaayo eri ekitala. Olisiga naye tolikungula…” Mikka 6:14-15a

Bwe tweyongerayo kyogerwa nti,

“Abantu abatya Katonda, baweddewo mu nsi; tewali n’omu mulongoofu asigaddewo. Bonna banoonya kuyiwa musaayi, buli omu anoonya okutega muganda we ekitimba.” Mikka 7:2

Era kyogerwa nti,

“Tewesiga muntu n’omu, wadde mukwano gwo, newaakubadde mukazi wo, weegendereze by’oyogera…abalabe b’omuntu, bantu be ab’omu nju ye bennyini.” Mikka 7:5, 6b

Wabula nga bbiri bityo,

“Naye nze nnindirira Mukama nga nnina essubi, nnindirira Katonda Omulokozi wange; Katonda wange anampulira.” Mikka 7:7

Era nti,

“Tonjeeyereza ggwe omulabe wange, kubanga wadde ngudde, nnaayimuka. Ne bwe naatuula mu kizikiza, Mukama anaabeera ekitangaala kyange.” Mikka 7:8

Ewalala Mukama agamba nti,

“Nga bwe kyali mu nnaku ze mwaviiramu mu misiri, nzija kubalaga ebikulu eby’ekitalo.” Mikka 7:15

Ewalala kyebuzibwa nti,

“Katonda ki omulala alinga ggwe asonyiwa ekibi era n’asonyiwa ebyonoono byabo abasigalawo ku bantu be? Obusungu bwe tebubeerera emirembe gyonna, naye asanyukira okusaasira.” Mikka 7:18

Era nti,

“Alikyuka n’atukwatirwa ekisa nate; alirinnyirira ebibi byaffe, n’asuula ebyonoono byaffe byonna mu buziba bw’ennyanja.” Mikka 7:19

Era kigambibwa nti,

“Olikola eby’amazima bye wasuubiza Yakobo, n’eby’ekisa bye wasuubiza Ibulayimu, nga bwe weeyama eri bajjajjaffe okuva mu nnaku ez’edda.” Mikka 7:20

Abantu abaatambuliranga mukizikiza balabye ekitangaala eky’amaanyi!

“Kubanga Omwana atuzaliddwa ffe, Omwana ow’obulenzi atuweereddwa ffe, n’okufuga kunaabanga ku bibegabega bye. N’erinnya lye aliyitibwa nti, Wa kitalo, Omuwi w’amagezi, Katonda Ayinzabyonna, Kitaffe ow’Emirembe Gyonna, Omulangira w’Emirembe. Okufuga kwe n’emirembe biryeyongeranga obutakoma. “ Isaaya 9:6-7a

Olwaliiro lwa leero  lujjudde ebyassava okuva mu bitabo bibiri (2 Ebyomumirembe 27 ne Isaaya 9-12 .

Mukwanjuluza tulaba Yosamu ng’alya obwakabaka nga wa myaka amakumi abiri mu ataano. Wabula yatambula bulungi era yasanyusa Mukama wadde nga okukola obutali butukirivu bwali bungi. Era tutegezebwa nti,

Newakubadde ng’abantu beeyongera okukola ebitali bya butuukirivu, Yosamu yakola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Uzziya bwe yakola. 2 Ebyomumirembe 27:2

Era kigambibwa nti,

Yosamu n’aba n’obuyinza bungi kubanga yatambuliranga mu makubo ga Mukama Katonda we. 2 Ebyomumirembe 27:2

Kino nno kiranga nti Mukama asanyukira, eyinzisa era alwanira abo abatambulira mu makubo ge.

Ekijjulo kino kyeyongera okuwooma bwetutuuka mu Isaaya. Era ekibego eky’omwenda kitandika kiti,

Naye tewaliba kizikiza eri oyo eyali mu kubonaabona… Isaaya 9:1

Era kyongerwako nti,

Abantu abaatambuliranga mu kizikiza balabye ekitangaala eky’amaanyi, abo abaatuulanga mu nsi ey’ekizikiza ekingi, omusana gubaakidde. Isaaya 9:2

Era nti,

Oyazizza eggwanga, obongedde essanyu, basanyukira mu maaso go ng’abantu bwe basanyuka mu biseera eby’amakungula, ng’abasajja bwe basanyuka nga bagabana omunyago.. Isaaya 9:3

Era tuwebwa ensonga y’okusanyuka kuno,

“Kubanga Omwana atuzaliddwa ffe, Omwana ow’obulenzi atuweereddwa ffe, n’okufuga kunaabanga ku bibegabega bye. N’erinnya lye aliyitibwa nti, Wa kitalo, Omuwi w’amagezi, Katonda Ayinzabyonna, Kitaffe ow’Emirembe Gyonna, Omulangira w’Emirembe. Okufuga kwe n’emirembe biryeyongeranga obutakoma.” Isaaya 9:6-7a

Era tutegezebwa nti,

“Obumalirivu bwa Mukama Katonda Ow’Eggye bulikituukiriza ekyo.” Isaaya 9:7c

Bwe tweyongera mumaso tulaba obusungu bwa Mukama ku Isirayiri era nga eno y’ensonga…

“Kubanga abantu tebakyuse kudda wadde okunoonya Mukama Katonda ow’Eggye eyabakuba.” Isaaya 9:13

Era Mukama agamba nti tajja kusanyukira bavubuka, wadde okukwatirwa ekisa abataliko ba kitaabwe wadde bannamwandu;

“Kubanga buli omu mukozi wa bibi, era buli kamwa konna kogera eby’obuwemu.” Isaaya 9:17b.

Era kigambibwa nti,

“Olw’obusungu bwa Mukama Katonda Ow’Eggye ensi eggiiridde ddala, era n’abantu bali ng’enku ez’okukuma omuliro…” Isaaya 9:19

Era kirambikibwa nti,

“Nga zibasanze abo abateeka amateeka agatali ga bwenkanya, n’abo abawa ebiragiro ebinyigiriza, okulemesa abaavu ne batafuna nsala ebagwanidde…” Isaaya 10:1-2a

Bwe tweyongerayo tutegezebwa nti Mukama yakozesa Bwasuli ng’omuggo gw’obusungu bwe era ng’omuggo gw’ekiruyi kye. Era kigambibwa nti;

“Mukama bw’alimaliriza omulimu gwe ku lusozi Sayuuni era ne ku Yerusaalemi n’alyoka abonereza kabaka w’e Bwasuli olw’okwewaana n’okuduula kwe n’entunula ye ey’amalala. Kubanga yayogera nti, bino byonna mbikoze olw’amaanyi g’omukono gwange, era n’olw’amagezi gange…” Isaaya 10:12-13

Era Mukama abuuza nti,

“Embazzi eyinza okweyita ey’ekitalo okusinga oyo agitemesa? Omusumeeno gulyekuza okusinga oyo agusazisa? Gy’obeera nti oluga luyinza okuwuuba omuntu alukozesa…?” Isaaya 10:15

Kwabo abasigalawo kyayogerwa nti,

“…abaliba bawonye ku nnyumba ya Yakobo nga tebakyeyinulira ku oyo eyabakuba naye nga beesigama ku Mukama Katonda, omutukuvu wa Isirayiri mu mazima.” Isaaya 10:20b

Era Mukama agamba abantu be obutatyanga Abasuli…

“Kubanga mu kaseera katono nnyo obusungu bwange gy’oli bujja kukoma era ekiruyi kyange kiribazikiriza.”
Isaaya 10:25

Bwe tweyongerayo, Mukama ayogera ku ttabi eririva ku Yese nti;

“Mwoyo wa Mukama alibeera ku ye, Mwoyo ow’amagezi n’okutegeera ne Mwoyo w’okusala ensonga, n’owamanyi ne Mwoyo w’okumanya era n’okutya Mukama Katonda. Era n’essanyu lye liribeera mu kutya Mukama Katonda…” Isaaya 11:2-3

Kyongerwako nti,

“Obutuukirivu, bwe buliba olukoba lwe yeesibya, n’obwesigwa, bw’alyesiba mu kiwato kye.” Isaaya 11:5

Era kyogerwa nti,

“Tewalibeera kukolaganako bulabe wadde okuttiŋŋana ku lusozi lwange olutukuvu. Kubanga ensi eribeera ejjudde okumanya Mukama Katonda, ng’amazzi bwe gajjuza ennyanja.” Isaaya 11:9

Kulyobulokozi bwa Mukama Isirayiri eligamba nti,

“Nnaakwebazanga ayi Mukama Katonda newaakubadde nga wansuguwalira, obusungu bwo bwaggwaawo era onzizizzaamu amaanyi.” Isaaya 12:1

Elyongerako nti,

“Laba Katonda bwe bulokozi bwange; Nzija kumwesiga era siritya; kubanga Mukama Katonda ge maanyi gange era lwe luyimba lwange, era afuuse obulokozi bwange.” Isaaya 12:2

Era nti,

“Mwebaze Mukama Katonda, mukoowoole erinnya lye, mubuulire ebikolwa bye mu mawanga, mwogere nti erinnya lye ligulumizibwe.” Isaaya 12:4

Akibego ekisembayo, kigamba nti,

“Leekaana n’eddoboozi ery’omwanguka oyimbe n’essanyu gwe omuntu w’omu Sayuuni, kubanga Omutukuvu wa Isirayiri ali wakati mu ggwe mukulu.”
Isaaya 12:6

Munnoonye kale munaabanga balamu

“Ekiseera kijja”, bw’ayogera Mukama Katonda, “lwe ndisindika enjala mu nsi yonna, teriba njala ya mmere oba nnyonta y’amazzi, naye eriba enjala y’ekigambo kya Katonda.”  Amos 8:11

Ebyasava bino bijiddwa mu kitabo Amos 1-9. Era ekijjulo kino kiraga nga Katonda bw’atasanyukira butali bwenkanya.

Mukwanjuluza Mukama alamula bariranwa ba Isirayiri. Okugeza nga Gaza, Ttuulo, amoni, Edomu, Damasiko, Mowaabu nga kwotadde ne Yuda. Ku Yuda ayogera nti,

“Olw’ebyonoono bya Yuda ebisatu weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Kubanga banyoomye amaateka ga Mukama, ne batakuuma biragiro bye nabawa ne bagondera bakatonda ab’obulimba bajjajjaabwe be baagobereranga.”  Amos 2:4

Era nti,

“Batunda obuukirivu bafune ffeeza…omwana ne kitaawe bayingira eri omuwala omu ne boonoona erinnya lyange.”  Amos 2:6c,7b

Era Mukama ayogera nti,

“Laba, ndibasesebbula…abanguwa tebaliwona, n’ab’amaanyi tebaliŋŋaanya maanyi gaabwe era n’omuzira nnamige talisobola kuwonya bulamu bwe.”  Amos 2:13a,14

Era Mukama ayongera okulabula Isirayiri nti,

“Mu bantu bonna abali ku nsi, mmwe mwekka be nalonda. Kyendiva mbabonereza olw’ebibi byammwe byonna. Abantu ababiri bayinza okutambulira awamu wabula nga bakkiriziganyizza?”  Amos 3:2-3

Era Mukama abuuza ebibuuzo ebyenjawulo, okugeza,

“Akanyonyi kayinza okugwa mu mutego nga tewali kikasikirizza? Omutego gumasuka nga teguliiko kye gukwasizza.”  Amos 3:5

Era,

“Akagombe kavugira mu kibuga abantu ne batatya?.”  Amos 3:6

Ekirala,

“Naye ddala Mukama Katonda takola kintu kyonna nga tasoose kukibikkulira baweereza be, bannabbi.”  Amos 3:7

Era Mukama alabula enju ya Yakobo nti,

“Era ndisaanyaawo ennyumba ebeerwamu mu biseera eby’obutiti, awamu n’ennyumba ebeerwamu mu biseera ey’ebbugumu.”   Amos 3:15

Era kyogerwa nti,

“Mu  butukuvu bwe Mukama Katonda alayidde nti,”  Amos 4:2

“Nabaleetera enjala embuto zammwe ne ziba njereere mu buli kibuga, ne ssibawa kyakulya mu buli kabuga, naye era ne mugana okudda gyendi.”  Amos 4:6

Mukama era ayogera ku bye yakola abantu be naye era nebatadda gyali,

“Emirundi mingi ebirime byammwe na bigengewaza. Nabireetaako obulwadde…naye era temwadda gyendi.”  Amos 4:9

Era ku Mukama kyogerwa nti,

“Oyo eyatonda ensozi era ye yatonda n’embuyaga era abikkulira omuntu ebirowoozo bye. Yafuula enkya okubeera ekiro…Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.”  Amos 4:13

Ewalala Mukama ayogera nti,

“Munnoonye kale munaabanga balamu.”  Amos 5:4

Era nti,

“Oyo eyakola ettendo eriri mu mmunyeenye ezaaka…era akyusa obudde ne buva mu kitangaala ne bufuuka ekiro, ayita amazzi g’omu nnyanja ne gafukirira ensi ng’enkuba, Mukama lye linnya lye.”  Amos 5:8

Era alabula nti,

“Newaakubadde nga mwezimbidde amayumba ag’amayinja, temuligabeeramu.”  Amos 5:11

Wabula,

“Munoonyenga okukola obulungi so si obubi munaaberanga balamu! Mukyawe ekibi, mwagalenga ekirungi”  Amos 5:14-15a

Era Mukama ayatula nti,

“Nkyawa, era nnyooma embaga zammwe n’emikolo gyammwe egy’eddiini so sisanyukira kukuŋŋaana kwammwe.”  Amos 5:21

Naye alaga kya yagala,

“Kye njagala okulaba ge mazima n’obwenkanya nga bikulukuta ng’amazzi, n’obutuukirivu ng’omugga ogw’amaanyi.”  Amos 5:24

Era Mukama enenya abali mu mirembe nti,

“Mwekatankira wayini, ne mwesiiga n’ebizigo ebirungi, naye temukaabira kubonaabona kwa Yusufu.”  Amos 6:6

Ewalala Mukama ayogera nti,

“Ekiseera kijja”, bw’ayogera Mukama Katonda, “lwe ndisindika enjala mu nsi yonna, teriba njala ya mmere oba nnyonta y’amazzi, naye eriba enjala y’ekigambo kya Katonda.”  Amos 8:11

Era Mukama ayogera ku balitwalibwa mubuwaŋŋanguse nti,

“Ndibasimba amaaso ne batuukibwako bibi so si birungi.”        Amos 9:4b

Era kyogerwa nti,

“Oyo eyazimba olubiri lwe olulungi ennyo mu ggulu, omusingi gwalwo ne gubeera ku nsi, ayita amazzi g’ennyanja, n’agayiwa wansi ku lukalu, Mukama lye linnya lye.”  Amos 9:6

Ekijjulo kino kiwumbibwako nga Mukama asubiza nti,

“Ndisimba Isirayiri mu nsi yaabwe era tebaliggibwa nate mu nsi gye nabawa,”  bw’ayogera Mukama Katonda. Amos 9:15

Bwe mutalinywerera mu kukkiriza kwammwe, ddala temuliyimirira n’akatono

“Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi n’ekirungi ekibi, abafuula ekizikiza okuba ekitangaala, n’ekitangaala okuba ekizikiza, abafuula ekikaawa okuba ekiwoomerera n’ekiwoomerera okuba ekikaawa.Isaaya 5:11

Ebya ssava byaffe leero biggyiddwa mu:  Obadiya, Zabbuli 82-83;      2 Bassekabaka 1-4;  2 Bassekabaka 5-8; 2 Bassekabaka 9-11;            2 Bassekabaka 12-13, 2 Ebyomumirembe 24; 2 Bassekabaka 14,      2 Ebyomumirembe 25; Yona 1-4; 2 Bassekabaka 15, 2 Ebyomumirembe 26; Isaaya 1-4; Isaaya 5-9.

Mu kusosootola, twanjuluza oluwombo Obadiya, omu ku ba nnabbi ba mu Mukama. Erinnya Obadiya litegeza omuwereza wa Mukama. Era eikitabo kino kilabula Edomu obuteegulumiza n’obutasekereranga baganda baabwe Isirayiri nga bagudde mu katyabaga. Kigambibwa nti,

“Wadde nga mwewanika waggulu ng’empungu era ne muzimba ebisu byammwe wakati w’emmunyeenye, ndibawanulayo ne mbasuula wansi.”  Obadiya 1:4

Era tulaba okukutirwa nti,

“Tosaanye kusekerera muganda wo mu biseera bye eby’okulaba ennaku, wadde okusanyuka ku lunaku olw’okuzikirira kw’abantu ba Yuda, newakubadde okwewaana ennyo ku lunaku lwe baatawaanyizibwa ennyo.”  Obadiya 1:12

Wabula,

“Nga bwe mwakola abalala, nammwe bwe mulikolebwa. Ebikolwa byammwe biribaddira.”  Obadiya 1:15

Naye,

“Naye ku lusozi Sayuuni baliwona, kubanga lutukuvu, n’ennyumba ya Yakobo eritwala omugabo gwabwe.”  Obadiya 1:17

Bwe tugendako mu Zabbuli, era kibuuzibwa nti,

“Mulituusa ddi okusala emisango n’obukuusa nga musalira abanafu.”  Zabbuli 82:2

Ekirala,

“Njogedde nti, muli bakatonda, era mwenna muli baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo.”  Zabbuli 82:6

Era kyogerwa nti,

“Abaagamba nti, ka tutwale amalundiro ga Katonda, tugeefunire. Ayi Katonda wange, bafuumuule ng’enfuufu, obasaasaanye ng’ebisusunku mu mbuyaga.”  Zabbuli 83:12-13

Balyoke bategeere nti,

“Ggwe wekka, Ayi Mukama, ggw’oyitibwa YAKUWA, gw’obeera waggulu ennyo ng’ofuga ensi yonna.”  Zabbuli 83:18

Bwe tuva awo, tuddako mu 2 Bassekabaka. Tulaba kabaka Akaziya n’alwala n’eyebuuza ku bakatonda b’e Ekuloni. Wabula ekintu ekyo tekyasanyusa Mukama era natuma Eriya gyali ng’agamba nti,

“Teri Katonda mu Isirayiri, kyemuvudde mugenda mwebuuza eri Baaluzebubi bakatonda b’e Ekuloni?”  2 Bassekabaka 1:3b

Bwe tweyongerayo, tulaba ebiiro ebyasembayo nga Eriya tannayabulibwa ku Erisa. Era Eriya yabuuza Erisa kye yaali ayagala,

“Kiki ky’oyagala nkukolere nga sinnaba kukuggyibwako?” Erisa n’amuddamu nti, “Nkusaba nsikire emigabo ebiri egy’Omwoyo akuliko”  2 Bassekabaka 2:9

Erisa bwe yatuuka ku mugga Yoladani, nga Eriya amaze okutwalibwa, yakuba omunagiro gwa Eriya n’akuba amazzi nga agamba n’ayogera nti,

“Kaakano Mukama, Katonda wa Eriya ali luuyi wa?”  2 Bassekabaka 1:14

Omugga bwe gwe yawulamu, nasomoka, ekibiina kya bannabi n’ekyogera nti,

“Omwoyo wa Eriya ali ku Erisa” Ne bagenda okumusisinkana ne bamuvuunamira. ”  2 Bassekabaka 2:15

Bwe tweyongerayo, tulaba Erisa nga otukuza amazzi n’omunnyo.

“Nnoongosezza amazzi gano era tegakyaddamu kuleeta kufa wadde okufuula ensi obutaba njimu.”  2 Bassekabaka 2:21b

Ewalala, tulaba nga Erisa asabira omukyala omusenammu okufuna omwana. Era tulaba nga Erisa agamba Gekazi omuwereza we abuuze omukazi oyo nti,

“Otulabiridde bulungi nnyo. Kaakano kiki kye wandyagadde kikukolerwe?.”  2 Bassekabaka 4:13

Bwe tweyongerayo, tulaba omuwala eyali awereza mu maka ga Naamani omuduumizi w’eggye lya kabaka we Busuuli, ng’agamba mukyala Naamani nti,

“Singa mukama wange Naamani agenda n’alaba nnabbi ali mu Samaliya, nnabbi oyo yandiyinzizza okumuwonya ebigenge.”  2 Bassekabaka 5:3

Wabula, Naamani ye yagenda bugenzi eri mukama we (kabaka wa Busuuli) namubulira ebigambo ebyo. Wabula kabaka ono ye nawandikira buwandikizi kabaka Isirayiri awonye Naaman ebigenge. Kabaka wa Isirayiri olwasoma ebbaluwa eno, nayuza ebyambalo bye, n’ayogera nti,

“Ndi Katonda, atta era awonya, omusajja ono alyoke ampeereze omusajja we mmuwonye ebigenge bye?”  2 Bassekabaka 5:7b

Wabula Erisa bwe yakitegera, natumira kabaka nti,

“Nsindikira omusajja, alyoke ategeere nga mu Isirayiri mulimu nnabi.”  2 Bassekabaka 5:8c

Naaman bwe yamala okuwona, n’ayogera nti,

“Kaakano ntegeeredde ddala nga teri Katonda mu nsi endala zonna wabula mu Isirayiri.”  2 Bassekabaka 5:15b

Bwe wayiyawo ekiseera, kabaka wa Basuuli agezako okukwata Erisa. Wabula omuwereza wa Erisa bwe yalaba eggye eryalisindikidwa okukwata Erisa, n’atya nnyo. Erisa n’amuddamu nti,

“Totya kubanga abali naffe bangi okusinga abali nabo.”                     2 Bassekabaka 6:16

Bwe tweyongerayo, abagenge, nga baggwa ku munyago ogwali kulekeddwa Abasuli bwe badduka okuva mu nkambi yabwe. Bwe balya era nga bamaze okweyawulirako omugabo gwabwe, ne bagamba nti,

“Kye tukola si kituufu. Luno olunaku lwa bigambo birungi; bwe tunaasirika ne tulinda okutuusa enkya, tujja kubonerezebwa.”      2 Bassekabaka 7:9

Bwe twoyongerayo, tulaba nga Yeeku afukibwako amafuta, era ng’ategezebwa nti,

“Olizikiriza ennyumba ya Akabu mukama wo, nga mpalana eggwanga olw’omusaayi gw’abaddu ba Mukama bonna, Yezeberi gwe yayiwa.”  2 Bassekabaka 9:7

Oluvannyuma tulaba nga Yeeku asisinkana Yolaamu, era Yolaamu namubuuza nti, ojja mirembe Yeeku? Yeeku n’amubuuza nti,

“Kiyinzika kitya okubaawo emirembe, nga wakyaliwo obwenzi n’obulogo bwa nnyoko Yezeberi?.”  2 Bassekabaka 9:22b

Era tulaba nga Mukama agamba Yeeku nti,

“Olw’okukola obulungi n’otuukiriza byonna mu maaso gange, n’okola ennyumba ya Akabu byonna ebyali ku mutima gwange bye nnali nteeseteese okukola, bazzukulu bo kyebaliva batuula ku ntebe ey’obwakabaka eya Isirayiri okutuusa ku muzzukulu owa nnakana.”  2 Bassekabaka 10:30

Ewalala, ku kabaka Yekoyaasi, kyogerwa nti

“Yekoyaasi n’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, ebbanga lyonna, kubanga Yekoyaada kabona ye yamuyigirizanga.”                2 Bassekabaka 12:2

Yekoyaasi yadaabiriza yeekaalu, wabula ku basajja abakwasibwa nga ensimbi kyogerwa nti,

“Era kyali tekyetagisa abasajja be baakwasa ensimbi, okulaga enkozesa y’ensimbi ezo kubanga baakolanga n’obwesigwa.”            2 Bassekabaka 12:15

Mu kiseera Yekoyazaaki kabaka wa Isirayiri we yafugira kyogerwa nti,

“Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Isirayiri, n’abawaayo okubeera wansi ow’omukono gwa Kazayeeri kabaka w’e Busuuli ne Benikadadi mutabani we.2 Bassekabaka 13:3

Bwe tweyongerayo tutegezebwa nti,

“Awo mu biro ebyo Erisa n’alwala nnyo, endwadde eyamutta, Yowaasi n’aseregeta gy’ali okumulaba, n’akaabira amaziga mu maaso ge ng’agamba nti, “Kitange, Kitange, amagaali n’abeebagala embalaasi aba Isirayiri.2 Bassekabaka 13:14

Bwe tuva awo twanjuluza oluwombo mu kitabo kya Yona. Ekitabo kino kiraga Yona ng’ajeemera ekiragiro kya Katonda. Era kiraga ekisa n’okwagala Katonda by’alina eri abantu be Abayisirayiri awamu n’abalabe baabwe.

Tulaba ekigambo kya Mukama nga kijjira Yona.

“Situuka ogende e Nineeve mu kibuga ekyo ekinene obatuuseeko obubaka buno obubanenya, kubanga ebibi byabwe birinnye eno waggulu ne bintukako.Yona 1:2

Wabula Yona n’alinnya ekyombo ekiraga e Talusiisi. Wabula Mukama n’aleeta omuyaga ogw’amaanyi ne gukunta ku nnyanja. Era,

“Entiisa ey’amaanyi n’ekwata abalunnyanja bonna, buli omu n’akaabirira katonda we amuyambe, nga bwe basuula n’emigugu egy’ebyamaguzi mu nnyanja bakendeeze ku buzito obwali mu kyombo.Yona 1:5

Wabula Yona ye yali yebaase. Era ne bamuzukusa ne bamugamba nti,

“Situka okaabirire Katonda wo, oboolyawo anaatukwatirwa ekisa n’atulokola.Yona 1:6b

Bwe bakuba akalulu, kagwa ku Yona era ne bamusaba yeyanjule. Yona nayogera nti,

“Ndi mwebbulaniya; era nsinza Mukama, Katonda w’eggulu eyakola eggulu n’ensi.Yona 1:9

Era bwe bamubuuza eky’okumukolera, Yona n’abasaba bamusuule mu nnyanja. Bwe baali bamusulamu, ne basaba Mukama nti,

“Tukwegayiridde Ayi Mukama, totuleka kufa olw’obulamu bw’omusajja ono, era totuteekako musango olw’omusaayi gwe n’okufa kwe, kubanga oleese omuyaga olw’ensonga.Yona 1:14

Yona yasaba ng’ali mu lubuto lw’ekyennyanja ng’agamba nti,

“Mu nnaku yange ennyingi nakaabirira Mukama n’anziramu; mu buziba ewala mu magombe nakukoowoola, era n’owulira eddoboozi lyange.Yona 2:2

Era nti,

“Bwe nnali nga mpweddemu essuubi, emmeeme yange ng’ezirika ne nkujjukira, Ayi Mukama Katonda. Awo okusaba kwange entakeera ne kutuuka mu yeekaalu mu yeekaalu yo entukuvu.Yona 2:7

Era,

“Abo abassayo omwoyo ku balubaale be bakatonda abataliimu ne babasinza, beefiriza okusaasirwa kwa Katonda okubalindiridde!Yona 2:8

Era tutegezebwa nti,

“Awo Mukama Katonda n’alagira ekyennyanja ne kiwandula Yona n’agwa ettale ku lukalu.Yona 2:10

Era ekigambo kya Mukama ky’ajjira Yona omulundi ogw’okubiri. Era Yona n’akigondera.

Tutegezebwa nti,

“Abantu b’omu Nineeve ne bakkiriza Katonda, ne balangirira okusiiba ne beesiba ebibukutu, bonna okuva ku asinga ekitiibwa okutuuka ku asembayo okuba owa wansi.Yona 3:5

Era kabaka we Nineeve nayisa ekiragiro nti,

“Tewaba muntu yenna, wadde ensolo oba eggana n’ekisibo, okukomba ku mmere wadde amazzi. Ani amaanyi? Oboolyawo Katonda anaakyusa ku kibonerezo kye yatusalira n’akkakkanya obusungu bwe n’atatukiriza.Yona 3:7,9

Awo,

“Katonda bwe yalaba kye bakoze, ne baleka n’ebibi byabwe, n’abasonyiwa n’atabatuusaako kibonerezo, kye yali agambye okubatuusaako.Yona 3:10

Ekyo nno tekwasanyusa Yona era neyemulugunyiza Katonda. N’agamba nti,

“Kubanga namanya nti ggwe oli Katonda ajjudde obulungi, alwawo okusunguwala, alina ekisa ekingi, era namanya nti ojja kwanguwa okukyusa entegeka zo ez’okuzikiriza abantu bano.Yona 4:2b

Bwe tuvaawo, tusosotola Isaaya. Okinyusi mu luwombo luno kwe kulaga obutukuvu bwa Mukama, Katonda wa Isirayiri n’ensi yonna. Era kirimu obunnabbi obwogera ku bulokozi bwa Mukama waffe, Yesu Kristo n’okujja kwe. Kyogera ne ku bwenkanya mu bantu, n’okukkiriza, n’emirembe.

Era Mukma ayogera ku ggwanga ejjeemu nti,

“Nayonsa ne  ndera abaana naye ne banjeemera. ente emanya nannyini yo n’endogoyi emanya ekisibo kya mukama waayo, naye Isirayiri tammanyi, abantu bange tebategeera.Isaaya 1:2b-3

Era Mukama abababuuza nti,

“Lwaki mweyongera okujeema? Mwagala wongere okubonerezebwa? Omutwe gwonna mulwadde, n’omutima gwonna gunafuye.Isaaya 1:5

Era kyogerwa nti,

“Singa Mukama ow’Eggye teyatulekerawo bantu abatonotono abaasigalawo twandibadde nga Sodomu, twandifuuse nga Ggomola.Isaaya 1:9

Olw’okwonona kw’abantu be, Mukama ayogera nti,

“Mulekeraawo okuleeta ssaddaaka zammwe ezitaliimu; obubaane bwammwe bwa muzizo gye ndi. Omwezi Ogubonese ne Ssabbiiti n’enkuŋŋaana zammwe zijjudde obutali butuukirivu.Isaaya 1:13

Era Mukama abagamba nti,

“Munaabe, mwetukuze muggirewo ddala ebikolwa byammwe ebibi gye ndi, mulekeraawo okukola ebibi. Muyige okukola obulungi.Isaaya 1:15c,16,17a

Era nti,

“Mujje nno tukubaganye ebirowoozo,” bw’ayogera Mukama; “ebibi byammwe ne bwe biba ng’olugoye olumyufu binaafuuka byeru ng’omuzira, ne bwe binaaba bitwakaavu nga langi emyufu enkwafu, binaatukula ng’ebyoya by’endiga.Isaaya 1:18

Era,

“Bwe munaagondanga ne muwulira, munaalyanga ebirungi eby’ensi.Isaaya 1:19

Wabula,

“Abava ku Mukama Katonda, balimalibwawo.Isaaya 1:28

Ku nnyumba ya Yakobo kyogerwa nti,

“Ggwe ennyumba ya Yakobo, mujje tutambulire mu kitangaala kya Mukama Katonda.Isaaya 2:5

Era tulaba nga,

“Ensi yaabwe ejjudde bakatonda ababumbe, basinza omulimu gw’emikono gyabwe bo.Isaaya 2:8

N’ekirala,

“Ebigambo byabwe byonna n’ebikolwa biwakanya Mukama Katonda, bityoboola ekitiibwa kye.Isaaya 3:8b

Era,

“Boolesa ekibi kyabwe nga Sodomu awatali kukweka n’akatono. Zibasanze! Kubanga bo bennyini be beereeteedde okuzikirira.Isaaya 3:9b

Ekirala,

“Gamba abatuukirivu nti bo tebaabeeko mutawaana, kubanga baakuwoomerwa ebibala by’ebikolwa byabwe.Isaaya 3:10

Wabula,

“Abakazi b’omu Sayuuni beemanyi, era batambula balalambazza ensingo nga batunuza bukaba.Isaaya 3:16

Tulaba nga Mukama ayogera nti abasajja ba Sayuuni balittibwa ekitala. Era nti olulituuka,

“Ekiseera ekyo bwe kirituuka abakazi musanvu balyekwata omusajja omu nga boogera nti, Tuyitibwenga erinnya lyo, otuggyeko ekivume. Tunenoonyezanga emmere yaffe era twenoonyeze n’ebyokwambala.Isaaya 4:1

Era Mukama alayira nti,

“Mu mazima ennyumba nnyingi zirifuuka bifulukkwa, n’ezo ennene ez’ebbeyi zibulemu abantu.Isaaya 5:9

Era kyogerwa nti,

“Zibasanze abo abakeera enkya ku makya banoonye ekitamiiza, abalwawo nga banywa omwenge ettumbi ly’obudde, okutuusa omwenge lwe gubalalusa.Isaaya 5:11

Era,

“Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi n’ekirungi ekibi, abafuula ekizikiza okuba ekitangaala, n’ekitangaala okuba ekizikiza, abafuula ekikaawa okuba ekiwoomerera n’ekiwoomerera okuba ekikaawa.Isaaya 5:11

Nga Uzziah afudde kitegezebwa nti,

“Awo mu mwaka kabaka Uzziah mwe yafiira, nalaba Mukama ng’atudde ku ntebe empavu ng’agulumizibbwa.Isaaya 6:1

Era Isaaya yawulira eddoboozi nga ligamba nti,

“Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama Katonda: ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.Isaaya 6:3

Wabula, Isaaya akaaba nti,

“Zinsanze! Nfudde mpeddewo! Kubanga ndi muntu ow’emimwa egitali mirongoofu, era mbeera wakati mu bantu ab’emimwa egitali mirongoofu; kubanga amaaso gange galabye Kabaka, Mukama Katonda ow’Eggye!.Isaaya 6:5

Isaaya atumibwa ewa kabaka Akazi bwe yaali alumbiddwa Obusuuli,

“Weegendereze, beera mukkakkamu toba na kutya omutima gwo teguggwaamu maanyi.Isaaya 7:4

Era kyogerwa nti,

“Bwe mutalinywerera mu kukkiriza kwammwe, ddala temuliyimirira n’akatono.Isaaya 7:9b

Era Mukama awa akabonero,

“Noolwekyo Mukama yennyini kyaliva abawa akabonero; laba omuwala atamanyi musajja alizaala omwana wabulenzi era alituumibwa erinnya Emmanuel.Isaaya 7:14

Ewalala kyogerwa nti,

“Temutya bye batya, wadde okutetemuka omutima. Naye mujjukire nti nze Mukama Katonda ow’Eggye, nze Mukama mutukuvu, nze gwe muba mutya.Isaaya 8:12b-13

Ekirala,

“Laba, nze n’abaana Mukama Katonda bampadde tuli bubonero n’ebyewuunyo mu Isirayiri.Isaaya 8:18

Amaaso ga Mukama galaba wonna mu nsi, nga ganyweza emitima gy’abo abamwesigira ddala

” Tekijja kubeetagisa kulwana lutalo luno. Mubeere mu bifo byammwe, mube bagumu mulabe obuwanguzi Mukama bw’abanabawa mmwe.2 Ebyomumirembe 20:17

Ebya ssava byaffe leero biggyiddwa mu:  1 Bassekabaka 10-11, 2 Byomumirembe 9; 1 Bassekabaka 12-14; 2 Byomumirembe 10-12; 1 Bassekabaka 15:1-24, 2 Byomumirembe 13-16; 1 Bassekabaka 15:25-16:34, 2 Byomumirembe 17;1 Bassekabaka 17-19; 1 Bassekabaka 17-19; 1 Bassekabaka 20-21; 1 Bassekabaka 22, 2 Byomumirembe 18; 2 Byomumirembe 19-23.

Mu kusosootoola, tulabanga kabaka omukazi Seeba akyalidde kabaka Sulemaani.

“Awo kabaka omukazi ow’e Seeba bwe yawulira ettutumo lya Sulemaani n’okwagala kwe yalina eri Mukama, n’ajja amugezese n’ebibuuzo ebizibu.”  1 Bassekabaka 10:1

Wabula ku kye yalaba, yayogera ati,

“Bye nawulira nga ndi mu nsi yange, ku ebyo by’okoze n’amagezi go, bya mazima. Ssakkiriza bigambo ebyo okutuusa lwe neesitukira ne nzija neerabireko n’agange. Kya mazima ddala nabulirwako kitundu kitundu butundu kyokka; kubanga amagezi go, n’obugagga bwo businga ku ebyo bye nawulira.”  1 Bassekabaka 10:6-7

Era kyogerwa nti,

“Kabaka n’afuula ffeeza okuba ng’amayinja aga bulijjo mu Yerusaalemi.”  1 Bassekabaka 10:27

Emabegako Mukama yali yalabula Abayisirayiri ku bakazi bannaggwanga ng’agamba nti,

“Temufumbiriganwanga nabo kubanga tebalirema kukyusa mitima gyammwe okugoberera bakatonda baabwe .”  1 Bassekabaka 11:2

Wabula ye Sulemaani, yawasiza ddala bangi. Bwe kityo kyogerwa nti,

“Mu bisera bya Sulemaani eby’obukadde, bakyala be ne basendasenda omutima gwe okugoberera bakatonda abalala.”  1 Bassekabaka 11:4

Era kyogerwa nti,

“Sulemaani n’akola ebitaali bya butukirivu mu maaso ga Mukama, n’atakola nga Dawudi kitaawe bwe yakola.”  1 Bassekabaka 11:6

Era Mukama kwe ku mugamba nti,

“Olw’empisa zo, n’obutakuuma ndagaano yange newaakubadde okugondera amateeka gange ge nakulagira, ndikuggyako obwakabaka, ne mbuwa omu ku baddu bo.”  1 Bassekabaka 11:11

Wabula olwa Dawudi, Mukama teyakikola Sulemaani wabula mutabani eyali ow’okumisikira. Wabula era agamba nti,

“Ate era sirimuggyako bwakabaka bwonna, naye ndimuwa ekika kimu ku lwa Dawudi omuddu wange, n’olwa Yerusaalemi, kye neerondera.”  1 Bassekabaka 11:13

Bwe wayitawo ebbanga Yerobowaamu mutabani wa Nebati, omu ku bakungu ba Sulemaani, n’ajeemera kabaka. Era n’afuna obunabbi nga bwe yali agenda okuwebwa okufuga ebika kkumi. Era Yerobowaamu ategezebwa ekyali kigenda okukozesa Mukama ekyo,

“Kino ndikikola kubanga banvuddeko ne basinza Asutoleesi katonda omukazi ow’Abamoni, ne batatambulira mu kkubo lyange, wadde okukola ebituufu mu maaso gange newaakubadde okugondera ebiragiro byange oba amateeka gange, nga Dawudi kitaawe wa Sulemaani bwe yakola.”  1 Bassekabaka 11:33

Wabula nti,

“Ekika ekimu ndikiwa mutabani we, omuddu wange Dawudi abeerenga n’ettabaaza mu maaso gange mu Yerusaalemi, ekibuga kye neeroboza olw’erinnya lyange.”  1 Bassekabaka 11:36

Bwe tweyongerayo, tulaba nga Lekobowaamu, mubani wa Sulemaani atula ku ntebbe ey’obwakabaka. Tulaba nga waliwo ekibiina eky’ajja eri Lekonowaamu nga kimusaba awewule kubuzito bwe kikoligo Sulemaani kye yaali abataddeko. Lekobowaamu bwe yebuuza ku bakadde, ne bamuddamu nti,

“Leero bw’onoobera omuwulize eri abantu bano ne weetoowaza, n’obaweereza, era n’obaddamu n’egonjebwa, kale banaabeeranga baweereza bo.”  1 Bassekabaka 12:7

Wabula amagezi ago teyagatwala kiryoke kituukirire, Isirayiri yesale era ejemere ennyumba ya Dawudi.

“Bw’atyo Isirayiri n’ajemeera ennyumba ya Dawudi n’okutuusa leero.”  1 Bassekabaka 12:19

Era Yerobowaamu bwe yakomawo okuva mu buwaŋŋanguse, nebamutikkira okuba kabaka wa Isirayiri yonna okujjako ekika kya Yuda ekyasigala nga kifugibwa era nga kigoberera ennyumba ya Dawudi.

Olw’okwagala okwenywereza mu bwa kabaka, Yerobowaamu n’asala amagezi okutanira Isirayiri okugenda okusinziza e Yerusalemi. Bw’atyo nakola ennyana bbiri eza Zaabu era n’agamba abantu nti,

“Kijja kubazitoowerera nnyo okwambukanga e Yerusalemi. Baabano bakatonda bammwe, Ayi Isirayiri, abaabaggya mu misiri.”  1 Bassekabaka 12:28

Oluvanyuma tulaba ng’obunnabi buwebwa ku kimu ku kyoto Yerobowaamu kye yayoterezangako obubaane.

“Ayi ekyoto, ekyoto! Kino Mukama ky’agamba nti, Omwana erinnya lye Yosiya alizalibwa mu nnyumba ya Dawudi, ku ggwe kw’aliweerayo bakabona ab’ebifo ebigulumivu ng’ebiweebwayo era n’amagumba g’abantu galyokerwa ku ggwe.”  1 Bassekabaka 13:2

Webula n’abbi omukadde nasendasendasenda nnabi ey’awa obunnabi buno oukyama alye ku mmere. Era namuddamu nti,

“Ndagiddwa ekigambo kya Mukama nti, toteekwa kulyayo ku mmere newaakubadde okunywayo amazzi, wadde okuddirayo mu kkubo lye wajjiddemu.”  1 Bassekabaka 13:17

Era tulaba ng’empologoma emulya. Nnabi omukulu bwe yakiwulira, n’agamba nti,

“Ye musajja wa Katonda ataagondedde kigambo kya Mukama. Mukama amuwaddeyo eri empologoma emutaagudde n’emutta, ng’ekigambo kya Mukama bwe ky’amulabudde.”  1 Bassekabaka 13:26

Wabula tutegezebwa nti, wadde ng’obunnabi bwawebwa,

“Yerobowaamu n’atakyuka ne yeeyongera nate okussaawo bakabona ab’ebifo ebigulumivu ng’abaggya mu bantu abaabulijjo. Buli eyayagalanga okubeera kabona, n’amwawulanga okubeera kabona mu bifo ebigulumivu.”  1 Bassekabaka 13:33

Era tulaba nga Akiya nnabi alagula era nga ategeeza Yerobowaamu obubaka bwa Mukama Katonda gyali,

“Nakugulumiza nga nkuggya mu bantu, ne nkufuula omukulembeze wa bantu bange Isirayiri. Naggya obwakabaka mu nnyumba ya Dawudi, ne mbukuwa, naye tobadde ng’omuddu wange Dawudi, eyagondera ebiragiro byange era n’abigoberera n’omutima gwe gwonna, ng’akola ekyo ekyali ekirungi mu maaso gange. Oyonoonye nnyo okusinga bonna abakusooka. Weekoledde bakatonda abalala, n’okola n’ebifaananyi ebisaanuuse n’onneerabira; onsunguwazizza nnyo.”  1 Bassekabaka 14:7-9

Bwe tweyongerayo mumaaso, tulaba nga Abiyaamu atanula okufuga Yuda. Era Kitegezebwa nti,

“N’akola ebibi byonna kitaawe bye yakolanga, omutima gwe ne gutatuukirira mu maaso ga Mukama Katonda we ng’omutima gwa jjajjaawe Dawudi bwe gwali.”  1 Bassekabaka 15:3

Bwe tweyongerayo, tulaba nga Asa alya obwakabaka bwa Yuda. Era kitegezebwa nti,

“Asa n’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga jjajjaawe Dawudi bwe yakola. N’agoba mu nsi abaalyanga ebisiyaga…1 Bassekabaka 15:11

Era nti,

“Omutima gwe gwali ku Mukama ennaku ze zonna.1 Bassekabaka 15:14

Mu biiro bya Asa eby’oluvanyuma, afuna obubaka obugamba nti,

“Amaaso ga Mukama galaba wonna mu nsi, nga ganyweza emitima gy’abo abamwesigira ddala.2 Ebyomumirembe 16:9

 

Oluvanyuma Asa yalwala ebigere. Era tutegezebwa nti,

“Neewakubadde ng’obulwadde bweyongera, teyanoonyanga buyambi okuva eri Mukama, yabunoonyanga mu basawo bokka.2 Ebyomumirembe 16:12

Bwe tweyongerayo, tulaba nga Yekosafaati mutabani wa Asa addira kitaawe mu ntebe. Era kyogerwa nti,

“Mukama n’abeera wamu ne Yekosafaati kubanga mu buto bwe yatambuliranga mu makubo ga jjajjaawe Dawudi ge yatambulirangamu.2 Ebyomumirembe 17:3

Era nti,

“Omutima gwe ne gunywerera mu kkubo lya Mukama, n’okuggyawo n’aggyawo ebifo ebigulumivu n’ebifaananyi bya Baasera mu Yuda.2 Ebyomumirembe 17:6

Era tulaba nga Nadabu mutabani wa Yerobowaamu alya obwakabaka bwa Isirayiri wabula wayitawo akaseera katono Baasa mutabani wa Akiya, n’amutta. Era yagenda mu maaso,

“N’atta ennyumba ya Yerobowaamu yonna n’atalekaawo muntu n’omu mulamu. Yabazikiriza bonna ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu muddu we Akiya Omusiiro, olw’ebibi bya Yerobowaamu bye yakola, era bye yayonoonesa Isirayiri, n’okusunguwaza ne bisunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri.1 Bassekabaka 15:29-31

Wabula Baasa ate naye natasanyusa Mukama, era naweebwako obunnabi nti,

“Nakugulumiza nga nkuggya mu nfuufu ne nkufuula mukulembeze w’abantu bange Isirayiri, naye watambulira mu ngeri za Yerobowaamu era n’oyonoonyesa abantu bange Isirayiri, ne bansunguwaza n’ebibi byabwe.1 Bassekabaka 16:2

Nga wayiseewo ekiseera tulaba nga Akabu lya obwakabaka bwa Isirayiri. Era ayogerwako nti,

“Akabu mutabani wa Omuli n’akola ebibi mu maaso ga Mukama okusinga bonna abaamusooka.1 Bassekabaka 16:30

Era mu kiseera ekyo, Eriya Omutisubi ow’e Tisubi mu Gireyaadi y’agamba Akabu kabaka nti,

“Mukama Katonda wa Isirayiri gwe mpeereza nga bw’ali omulamu, tewaabe musulo newaakubadde enkuba mu myaka egijja wabula olw’ekigambo kyange.1 Bassekabaka 17:1

Mukiseera ekyo Mukama yategeeza Eriya nti,

“Vva wano ogende ebuvanjuba weekweke ku kagga Kerisi akoolekera Yoludaani. Ojja kunywanga mu kagga, era ndagidde bannamuŋŋoona okukuliisiza eyo.1 Bassekabaka 17:3

Akagga bwe kakalira, Mukama nasindika Eriya ewa nnamwandu okulisibwa ng’eyo.

Bwe twebungulula, tulaba nga namwandu afirwa omulenzi we. Wabula Eriya namuzukiza. Yasaba nti,

“Ayi Mukama Katonda wange, obulamu bw’omulenzi ono bukomewo nate!1 Bassekabaka 17:21

Era bwe yazukira, nnamwandu n’ayogera nti,

“Kaakano ntegedde ng’oli musajja wa Katonda, era n’ekigambo kya Mukama ekiva mu kamwa ko kiba kya mazima.1 Bassekabaka 17:24

Oluvanyuma, Eriya akuŋŋaanya Isirayiri ku lusozi Kalumeeri. Era n’ayogera eri ekibiina kyonna nti,

“Mulituusa wa okutta aganaaga? Obanga Mukama ye Katonda mumugoberere, naye obanga Baali ye Katonda mugoberere oyo.1 Bassekabaka 18:21

Era Eriya, ayogera eri abantu ne bannabbi ba Baali nti, ye ne bannabi banno ebina baali bakuwayo ssaddaka eri gwe bayita Katonda. Nateekawo akawayiro nti,

” Anaddamu n’omuliro nga ye Katonda.1 Bassekabaka 18:24b

Ekiseera kya Eriya eky’okusaba bwe kyatuuka, nayogera nti,

” Onzireemu, Ayi Mukama, onziremu, abantu bano bamanye, Ayi Mukama nti Ggwe Katonda, era nti ggwe okyusa emitima gyabwe okudda gy’oli.1 Bassekabaka 18:37

Mukama bwe yayanukula n’omuliro, abantu bonna ne bavuunama ne bakaaba nnyo nga bagamba nti,

” Mukama, ye Katonda! Mukama, ye Katonda!1 Bassekabaka 18:39b

Ekyaddirira kwe kuttibwa kwa bannabi ba Baali. Yezeberi mukyala wa kabaka Akabu bwe yakiwulira, naweera enkolokooto okutta Eriya. Eriya naddukira e Kolebu okuwonya obulamu bwe.

Ebyaddirira Mukama ayogereganya ne Eriya mu ddungu. Era Eriya nayogera nti ye yaali asigaddewo yekka ku bannabi ba Mukama. Wabula Mukama y’amuddamu nti,

” Nesigaliza akasanvu mu Isirayiri, abatavuunamiranga Baali wadde okumunywegera.1 Bassekabaka 19:18

Oluvannyuma tulaba Akabu ng’awangula Benikadadi mu lutabalo. Wabula kino kyali bwe kiti olwobunnabi Mukama bwe yawa Akabu nti,

” Olw’okuba Abasuuli balowooza nga Mukama Katonda wa ku nsozi so si Katonda wa mu biwonvu, ndigabula eggye lino eddene mu mukono gwo otegeere nga nze Mukama.1 Bassekabaka 20:28

Bwe tweyongerayo, tulaba nga Akabu atwala ennimiro ya Nabosi era nga Yezeberi yeyakola omupango guno era nga kyaletera ne Nabosi okuttibwa. Era nga Yezeberi awebwa obunnabi nti,

” Bw’ati bw’ayogera Mukama, nti, mu kifo embwa wezikombedde omusaayi gwa Nabosi, embwa mwezirikombera ogugwo.1 Bassekabaka 21:19

Ku Akabu kyogerwa nti,

” Tewali musajja eyafaanana nga Akabu, eyeewaayo okukola ebibi mu maaso ga Mukama ng’awalirizibwa mukazi we Yezeberi.1 Bassekabaka 21:25

Wabula Akabu ng’amaze okufuna obunnabi okuva eri Eriya, yayuza engoye ze, n’ayambala ebibukutu n’okusiba n’asiiba. Era Mukama n’agamba Eriya nti,

” Olw’okubanga yeewombeese mu maaso gange, sirireeta kabi ako mu mirembe gye, naye ndikaleeta mu nnyumba ye mu mirembe gya mutabani we.1 Bassekabaka 21:29

Ku Yekosafaati, kabaka wa Yuda mutabani wa Asa, kyogerwa nti,

” N’atambulira mu ngeri za kitaawe Asa era natazivaamu, ng’akola ebirungi mu maaso ga Mukama.1 Bassekabaka 22:43

Mu biiro ebyo, Yekosafaati kabaka wa Yuda ne yeyunga ne Akaba kabaka wa Isirayiri ne batabala. Olutabalo luno lwafiramu Akabu. Wabula Yekosafaati bwe yadda, yabuzibwa omulabi Yeeku nti,

” Kituufu ggwe okuyamba ababi, ate n’okukolagana n’abo abakyawa Mukama?2 Ebyomumirembe 19:2b

Era tulaba nga Yekosafaati alonda abalamuzi, nabakkutira nti,

” Mufumitirize nnyo ku bye mukola, kubanga temulamula ku bw’abantu wabula ku bwa Mukama, abeera nammwe buli bwe musala omusango. Noolwekyo entiisa ya Mukama ebeere mu mmwe, musale omusango nga mugwelanyizza bulungi, kubanga Mukama Katonda waffe takkiriziganya na butali butuukirivu, era tewali kusosola mu bantu wadde okulya enguzi2 Ebyomumirembe 19:6-7

Nga wayisewo ebbanga ttono Yekosafaati yalumbibwa Abamowabu n’Abamoni era natya nnyo.

” Yekosafaati n’atya nnyo n’amalirira okwebuuza ku Mukama, era n’alangirira okusiiba mu Yuda yonna.2 Ebyomumirembe 20:3

Era yatanula okusaba,

” Tetumanyi kya kukola, wabula amaaso gaffe gatunuulidde ggwe.2 Ebyomumirembe 20:12c

Abantu bonna nga bali mu maaso ga Mukama, ekigambo kyayogerwa Mukama okuyita mu Yakaziyeeri nti,

“Temutya era temuggwaamu mwoyo olw’eggye eryo eddene, kubanga olutalo si lwammwe, naye lwa Katonda.2 Ebyomumirembe 20:15b

Era nti,

” Tekijja kubeetagisa kulwana lutalo luno. Mubeere mu bifo byammwe, mube bagumu mulabe obuwanguzi Mukama bw’abanabawa mmwe.2 Ebyomumirembe 20:17

Oluvanyuma lwebyo, tutegezebwa nti,

” Entiisa ya Mukama n’ejja ku bwakabaka bwonna obw’omu mawanga, bwe baawulira nga Mukama yalwana n’abalabe ba Isirayiri.2 Ebyomumirembe 20:29

Era ne Yekosafaati,

” N’atambulira mu kkubo lya Asa kitaawe, n’atalivaamu, era n’akola ebyali ebirungi mu maaso ga Mukama.2 Ebyomumirembe 20:32

 

Buli kimu yakikola nga kirungi mu kiseera kyakyo

“Ow’embiro ennyingi si y’awangula mu mpaka, era ne kirimaanyi si y’awangula olutalo, ng’ate bakalimagezi bonna si be baatiikirira; wabula ng’omukisa gukwata bukwasi oyo aba aliwo mu kifo ekituufu ne mu kiseera ekituufu.” Omubuulizi 9:11

Ekijjulo kyaffe leero kiva mu: Omubuulizi 1-6; 7-12. Mu luwombo luno tulaba okunoonya amakulu agali mu bulamu, ng’omuwandiisi yeekeneenya ensonga z’obulamu. Era yazuula ng’obulamu obutalina Katonda tebugasa.

Bwe tuggyako akawuwo, omubuulizi ayogera nti,

“Obutaliimu! Obutaliimu! bw’ayogera Omubuulizi. Byonna butaliimu. Omuntu afuna ki mu byonna by’akola, mu byonna ebimukooya wansi w’enjuba.”  Omubuulizi 1:2-3

Kubanga,

“Emigga gyonna gikulukuta nga giraga mu nnyanja, naye ennyanja tejjula.”  Omubuulizi 1:7

Era nti,

“Eriiso terimatira kulaba, wadde okutu okukoowa okuwulira.”  Omubuulizi 1:8b

Ekirala,

“Ndabye ebintu byonna ebikolebwa wansi w’enjuba; era laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo.”  Omubuulizi 1:14

Kubanga,

“Mu magezi amangi mujjiramu okunakuwala kungi; amagezi gye gakoma obungi, n’okunakuwala gye gukoma.”  Omubuulizi 1:18

Ku masanyu ayogera nti,

“Buli amaaso gange kye gaayagala okulaba sa kigamma, omutima gwange ne ngusanyusa mu buli kimu.”  Omubuulizi 2:10

Wabula,

“Awo bwe nalowooza byonna emikono gyange bye gyakola, n’okutegana kwonna nga nkola, laba, byonna bwali butaliimu na kugoberera mpewo, tewaali na kimu kye nagobolola wansi w’enjuba.”  Omubuulizi 2:11

Ekirala,

“Awo ne ndaba amagezi nga gasinga obusirusiru, n’ekitangaala nga kisinga ekizikiza.”  Omubuulizi 2:13

Kubanga,

“Ku mugezi ne ku musirusiru tewaliwo ajjukirwa lubeerera; mu nnaku ezirijja bombi baliba beerabirwa dda. Okufaanana ng’omusirusiru n’omugezi naye alifa.”  Omubuulizi 2:16

Ayongerako nti,

“Oluusi omuntu ategana ng’akozesa amagezi ge n’okumanya awamu n’obukalabakalaba bwe, naye byonna ateekwa okubirekera oyo atabiteganiranga.”  Omubuulizi 2:21

Era nti,

“Ennaku ze zonna n’okutegana kwe bijjula bulumi; era ne mu kiro omutima gwe teguwummula; na kino nakyo butaliimu.”  Omubuulizi 2:23

Afundikira nti,

“Tewali kisingira muntu kulya na kunywa na kusanyukira mu ebyo by’akola. Na kino nkiraba, kiva mu mukono gwa Katonda, kubanga awatali ye, ani ayinza okulya oba asobola okusanyuka.”  Omubuulizi 2:24

Ekirala,

“Buli kintu kirina ekiseera kyakyo, na buli ekikolebwa wansi w’eggulu kirina ekiseera kyakyo.”  Omubuulizi 3:1

okugeza nga,

“Ekiseera eky’okukaabiramu n’ekiseera eky’okusekeramu; ekiseera eky’okukungubaga n’ekiseera eky’okuzina.”      Omubuulizi 3:4

 

“Ekiseera eky’okusirikiramu n’ekiseera eky’okwogereramu; waliwo ekiseera eky’okwagaliramu n’ekiseera eky’okukyayiramu.” Omubuulizi 3:7b-8

Wabula,

“Buli kimu yakikola nga kirungi mu kiseera kyakyo. Kyokka newaakubadde nga Katonda yateeka mu mitima gy’abantu okutegeera obulamu obutaggwaawo, omuntu tayinza kuteebereza mulimu gwa Katonda gwonna, we gutandikira oba we gukoma.”      Omubuulizi 3:11

Ekirala,

“Mmanyi nga tewali kisingira bantu kusanyuka na kukola bulungi nga balamu. Buli muntu alyoke alye, anywe afune okwesiima olw’ebyo ebiva mu kutegana kwe, kubanga ekyo kirabo kya Katonda.”  Omubuulizi 3:12-13

Era,

“Ekyo ekiriwo ky’amala dda okubaawo; n’ekyo ekinaaberawo kyabaawo dda; era Katonda alagira ebyali bibaddewo, ne byongera okubaawo.” Omubuulizi 3:15

Ekirala,

“Ababiri basinga omu, kubanga bagasibwa nnyo mu kukola kwabwe. Kubanga singa omu agwa, munne amuyimusa. Naye zimusanze oyo ali obw’omu, bw’agwa tabaako amuyimusa. Ababiri bwe bagalamira bombi awamu babuguma; naye oyo ali obw’omu, ayinza atya okubuguma? Omu awangulwa mangu, kyokka ababiri bayinza okwerwanako. Kubanga omuguwa ogw’emiyondo esatu tegukutuka mangu.” Omubuulizi 4:9-12

Era alabula nti,

“Toyanguyirizanga na kamwa ko okwogera ekigambo, wadde omutima gwo ogwanguyiriza, okwogera ekigambo mu maaso ga Katonda.” Omubuulizi 5:2

Era,

“Ng’okutawaana ennyo bwe kuleetera omuntu ebirooto, n’ebigambo by’omusirusiru bwe bityo bwe biba nga bingi.” Omubuulizi 5:3

Ekirala,

“Obuteyama kisinga okweyama n’ototuukiriza kye weeyamye.” Omubuulizi 5:5

Ate,

“Ebirooto entoko n’ebigambo ebingi temuli makulu; noolwekyo otyanga Katonda.” Omubuulizi 5:7

Era nti,

“Oyo alulunkanira ensimbi, tasobola kuba na nsimbi zimumala; wadde oyo alulunkanira obugagga n’amagoba: na kino nakyo butaliimu.” Omubuulizi 5:10

Era,

“Ebintu nga bwe byeyongera obungi, n’ababirya gye bakoma okweyongera. Kale nnyini byo agasibwaki, okuggyako okusanyusa amaaso ge?” Omubuulizi 5:11

Ekirala,

“Otulo tuwoomera omupakasi ne bw’aba agabana bitono oba bingi. Naye obugagga bw’omugagga obuyitiridde tebumuganya kwebaka.” Omubuulizi 5:12

Ate,

“Omuntu nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina n’ajja mu nsi nga talina kintu, bw’atyo bw’aliddayo nga mwereere ng’ava mu nsi. Tewali ky’aggya mu mirimu gye, wadde kyayinza okugenda nakyo mu mukono gwe.” Omubuulizi 5:15

Wabula,

“Katonda bw’awa omuntu obugagga, n’ebintu n’amusobozesa okubyeyagaliramu, n’okutegeera omugabo gwe n’okusanyukira by’akoze, ekyo kiba kirabo ekivudde ewa Katonda.”         Omubuulizi 5:19

Ekirala,

“Omuntu ayinza okuba n’abaana kikumi, n’awangaala; bw’atasanyukira mu bugagga bwe, era n’ataziikwa mu kitiibwa, ne bw’aba ng’awangadde nnyo, omwana afiira mu lubuto ng’agenda okuzalibwa amusingira wala.” Omubuulizi 6:3

Ate,

“Buli muntu ateganira mumwa gwe, naye tasobola kukkuta by’alina.” Omubuulizi 6:7

Era,

“Amaaso kye galaba kisinga olufulube lw’ebirowoozo.”   Omubuulizi 6:9

Ate,

“Ebigambo gye bikoma obungi, gye bikoma n’obutabaamu makulu; kale ekyo kigasa kitya omuntu.” Omubuulizi 6:11

Ekirala,

“Obwatiikirivu bw’erinnya eddungi businga eby’akawoowo ebirungi.” Omubuulizi 7:1

Ate,

“Okunakuwala kusinga okuseka, kubanga amaaso amaaso amanakuwavu gazzaamu omutima amaaanyi.” Omubuulizi 7:3

Era,

“Kirungi okussaayo omwoyo ku kunenya kw’omuntu ow’amagezi okusinga okuwuliriza ennyimba z’abasirusiru.” Omubuulizi 7:5

Ekirala,

“Enkomerero y’ekintu esinga entandikwa yaakyo, n’omugumiikiriza asinga ow’amalala.” Omubuulizi 7:8

Ate,

“Amagezi kintu kirungi, okufaanana ng’ekyo’obugagga ky’obusika, era kigasa abo ab’akyalaba enjuba.” Omubuulizi 7:11

Era nti,

“Amagezi kiwummulo, ng’ensimbi bwe ziri ekiwummulo, naye enkizo y’okumanya y’eno: amagezi gakuuma obulamu bw’oyo agalina.” Omubuulizi 7:12

Era,

“Ebiseera bwe biba ebirungi, sanyuka.” Omubuulizi 7:14

Ekirala,

“Teweefuulanga mutuukirivu ayitiridde wadde okwefuula ow’amagezi ow’ekitalo; oleme okwezikiriza.” Omubuulizi 7:16

Ate,

“Towulirizanga buli kigambo, bantu kye boogera, si kulwa ng’owulira omuweereza wo ng’akukolimira.” Omubuulizi 7:21

Ekirala,

“Ekintu kye nalaba eky’obulabe ekisinga okufa, ye mykazi alina omutima ogusendasenda, era ogusikiriza, era emikono gye gisiba ng’enjegere. Oyo ayagala Katonda, y’awona omukazi oyo, kyokka ye omwonoonyi talema kugwa mu mutego gwe.” Omubuulizi 7:26

Ate,

“Ng’omuntu bw’aweebwa ebiragiro mu biseera eby’olutalo, bwe kityo n’obutali butuukirivu bwe buduumira abo ababutambuliramu.” Omubuulizi 8:8b

Era,

“Newaakubadde ng’omuntu omubi azza emisango kikumi, ate n’awangaala, nkimanyi ng’abatuukirivu, abo abatya Katonda bijja kubagendera bulungi.” Omubuulizi 8:12

Ekirala,

“Bwe ntyo nteesa nti omuntu yeyagalire mu bulamu: kubanga wansi w’enjuba tewali kisinga, wabula omuntu okulya n’okunywa n’okweyagala. Kale essanyu linaamuwerekeranga mu mirimu gye ennaku zonna ez’obulamu bwe Katonda bw’amuwadde wansi w’enjuba.” Omubuulizi 8:15

Ate,

“Omuntu omulamu aba n’essuubi, wadde embwa ennamu esinga empologoma enfu!” Omubuulizi 9:4

Era,

“Genda olye emmere yo ng’osanyuka, onywe ne wayini wo nga weeyagala; kubanga Katonda asiimye ky’okola. Yambalanga engoye ennyonjo, era weesiigenga n’ebyakaloosa. Ssanyukanga ne mukyala wo gw’oyagala ennaku zo zonna, mu bulamu buno obutaliimu, Katonda bw’akuwadde wansi w’enjuba, kubanga ekyo gwe mugabo gwo mu kutegana kwo kw’oteganamu wansi w’enjuba.” Omubuulizi 9:7-9

Ekirala,

“Buli omukono gwo kye gugenda okukola, kikole n’amaanyi go gonna.” Omubuulizi 9:10

 

Ate,

“Ow’embiro ennyingi si y’awangula mu mpaka, era ne kirimaanyi si y’awangula olutalo, ng’ate bakalimagezi bonna si be baatiikirira; wabula ng’omukisa gukwata bukwasi oyo aba aliwo mu kifo ekituufu ne mu kiseera ekituufu..” Omubuulizi 9:11

Era,

“Newaakubadde ng’amagezi gasinga amaanyi, naye ow’amagezi bw’aba omwavu, anyoomebwa, ne ky’ayogera tekissibwako mwoyo.” Omubuulizi 9:16

Era nti,

“Amagezi gasinga ebyokulwanyisa mu lutalo, naye omwonoonyi omu azikiriza ebirungi bingi.” Omubuulizi 9:18

Ekirala,

“Mukama wo bw’akunyigiranga, tomulaganga busungu; okuddamu n’eggonjebwa kukyusa ekiruyi.” Omubuulizi 10:4

Ate,

“Ebigambo ebiva mu kamwa k’omuntu ow’amagezi bya muwendo nnyo eri abo ababiwulira.” Omubuulizi 10:12

Era,

“Omusirusiru asavuwaza ebigambo.” Omubuulizi 10:14

Ekirala,

“Zikusanze gw’ensi kabaka bw’aba nga yali muddu, nga n’abalangira bakeera kwetamiirira.” Omubuulizi 10:16

Ate,

“Obugayaavu buleetera akasolya k’ennyumba okutonya, n’emikono egitayagala kukola giretera ennyumba okutonnya.” Omubuulizi 10:18

Ekirala,

“Siganga emmere yo ng’enkuba etonnya, kubanga ebbanga lyayo bwe lirituuka olikungula.” Omubuulizi 11:1

Ate,

“Oyo alabirira embuyaga talisiga; n’oyo atunuulira ebire talikungula.” Omubuulizi 11:4

Era,

“Ku makya siga ensigo zo, n’akawungeezi toddiriza mukono gwo; kubanga tomanyi eziryala, zino oba ziri, oba zombi ziriba nnungi.” Omubuulizi 11:6

Ekirala,

“Omuvubuka sanyukiranga mu buvubuka bwo, n’omutima gwo gusanyukenga mu nnaku ez’obuvubuka bwo; tambulira mu makubo g’omutima gwo ne mu kulaba kw’amaaso go. Naye manya nga mu byonna, Katonda agenda kukusalira omusango.” Omubuulizi 11:9

Ate,

“Ng’enfuufu edda mu ttaka mwe yava, n’omwoyo ne gudda eri Katonda eyaguwa omuntu.” Omubuulizi 12:7

Era,

“Okuwandiika ebitabo ebingi tekukoma, n’okuyiga okungi kukooya omubiri.” Omubuulizi 12:12b

Ate era,

“Tyanga Katonda okwatenga amateeka ge, kubanga ekyo omuntu ky’agwanira okukola.” Omubuulizi 12:13

 

Ekitamiiza mukiwenga oyo ayagala okufa, n’omwenge oyo alina emmeeme eriko obuyinike

“Si kya balangira okwegomba omwenge, si kulwa nga bagunywa ne beerabira amateeka.” Engero 31:4

Oluwombo lwaffe leero lulimu eby’assava okuva mu:                                  Proverbs 25-26, 27-29, 30-31.

Mu nyanjuluza, kyogerwa nti,

“Okukisa ensonga kitiibwa kya Katonda, naye okunoonyereza ensonga kitiibwa kya bakabaka.”  Engero 25:2

Ekirala,

“Teweekuzanga mu maaso ga kabaka, wadde okwewa ekifo mu bantu ab’ekitiibwa.”  Engero 25:6

Era nti,

“Amaaso go bye galabye tobyanguyirizanga kubireeta mu mbuga.”  Engero 25:8

Era,

“Ekigambo ekyogere nga bwe kisaanidde, kiba kya muwendo nnyo nga zaabu gwe batonye mu bintu bye bakoze mu ffeeza.”  Engero 25:11

Ekirala,

“Ng’ebire n’empewo omutali nkuba, omuntu asuubiza ebirabo by’atagaba bw’abeera.”  Engero 25:14

Era nti,

“Olulimi olw’eggonjebwa lumenya eggumba.”  Engero 25:15

Era,

“Bw’ozuula omubisi gw’enjuki, lyako ogwo gwokka ogukumala, si kulwa ng’ogukkuta nnyo n’ogusesema.”  Engero 25:16

Ekirala,

“Omulabe wo bw’aba alumwa enjala, muwe emmere alye, bw’aba alumwa ennyonta muwe amazzi anywe. Kubanga oliba otuuma amanda g’omuliro ku mutwe gwe, era Mukama alikuwa empeera.”  Engero 25:21-22

Era nti,

“Okusulanga mu kasonda waggulu ku nnyumba, kisinga okubeera n’omukazi omuyombi mu nnyumba.”  Engero 25:24

Era,

“Si kirungi kulya mubisi gwa njuki mungi, bwe kityo si kirungi omuntu okwenoonyeza ekitiibwa.”  Engero 25:27

Ekirala,

“Ekikolimo ekitasaanidde tekibaako kye kikola.” Engero 26:2b

Ate,

“Omuggo gusaanira migongo gya basirusiru.” Engero 26:3b

Era nti,

“Ng’asika embwa amatu, omuyise bw’abeera eyeeyingiza mu luyombo olutali lulwe.” Engero 26:17

Era,

“Enku bwe zibula omuliro guzikira, awatali lugambo ennyombo ziggwaawo.” Engero 26:20

Ekirala,

“Buli asima ekinnya y’alikigwamu.” Engero 26:27

Ate,

“Okunenya mu lwatu, kisinga okwagala okukisibbwa.” Engero 27:5

Era nti,

“Oyo akkuse akyawa omubisi gw’enjuki, naye eri omuyala n’ekikaawa kiba kiwoomerera.” Engero 27:7

Era,

“Ebyakaloosa bisanyusa omutima, n’obuwomerevu bw’omukwano gw’omuntu bwe butyo bwe buvaamu okubuulirira okw’amazima.” Engero 27:9

Ekirala,

“Muliraanwa wo akira muganda wo akuli ewala.” Engero 27:10c

Ate,

“Okulamusa ku muliraanwa wo mu makya ennyo, ng’oleekaana, obanga amukolimidde.” Engero 27:14

Era nti,

“Omukazi omuyombi ali ng’enkuba etonnya olutata.” Engero 27:15

Era,

“Ng’ekyuma bwe kiwagala ekyuma, n’omuntu bw’abangula muntu munne.” Engero 27:17

Ekirala,

“Omuntu ekimugezesa kutenderezebwa.” Engero 27:21

Ate ara,

“Okakasanga nti omanyi bulungi embeera z’ekisibo kyo, ossangayo omwoyo ku ggana lyo. Kubanga eby’obugagga tebiberera mirembe gyonna, n’engule tebeerera mirembe gyonna.” Engero 27:23-24

Era nti,

“Abakozi b’ebibi badduka nga tewali abagoba, naye abatuukirivu babeera n’obuvumu ng’empologoma.” Engero 28:1

Era,

“Abo abava ku mateeka ga Mukama batendereza aboonoonyi, naye abo abagakuuma babawakanya.” Engero 28:4

Ekirala,

“Atassayo myoyo kuwulira mateeka ga Mukama, n’okusaba kwe tekukkirizibwa.” Engero 28:9

Ate,

“Oyo akweka ebibi bye talifuna mukisa kukulaakulana, naye buli abyatula n’abireka, alisaasirwa.” Engero 28:13

Era,

“Omuntu alima ennimiro ye aliba n’emmere nnyingi, naye oyo ali mu birowoozo ebitalimu alifa bwavu.” Engero 28:19

Ekirala,

“Omusajja omwesigwa aliweebwa emikisa mingi, naye oyo ayanguyiriza okugaggawala talirema kubonerezebwa.” Engero 28:20

Ate,

“Omusajja omukodo yeegomba okugaggawala, naye nga tamanyi nti obwavu bumulindiridde.” Engero 28:22

Era,

“Agabira abaavu talibaako ne kye yeetaaga.” Engero 28:27

Ekirala,

“Ebibi by’omwonoonyi bye bimutega, naye omutuukirivu abeera mu kuyimba na kusanyuka.” Engero 29:6

Ate,

“Omusirusiru alaga obusungu bwe bwonna, naye omuntu ow’amagezi abuziyiza n’abukkakkanya.” Engero 29:11

Era,

“Akaggo akakangavvula, kaleeta amagezi, naye omwana alekeddwa awo aswaza nnyina.” Engero 29:15

Ekirala,

“Kangavvula omwana wo alikuwa emirembe, alireetera emmeeme yo essanyu.” Engero 29:17

Ate,

“Awatali kwolesebwa abantu tebaba beegendereza, naye wa mukisa akuuma amateeka ga Mukama.” Engero 29:18

Era nti,

“Olaba omuntu ayanguyiriza ebigambo bye? Omusirusiru alina essubi okumusinga.” Engero 29:20

Ekirala,

“Omuntu asunguwala amangu ayonoona nnyo.” Engero 29:22

Ate,

“Atali omwesimbu wa muzizo eri abatuukirivu; era omwesimbu wa muzizo eri abakozi b’ebibi.” Engero 29:27

Ekirala,

“Buli kigambo kya Katonda kya mazima, era aba ngabo eri abo abamwesiga.” Engero 30:5

Ate,

“Tonjavuwazanga wadde okungaggawaza, naye ndiisanga emmere eya buli lunaku. Nneme okukkutanga ne nkwegaana ne njogera nti, “Mukama ye y’ani?” Era nnemenga okuba omwavu ne nziba, ne nvumisa erinnya lya Katonda wange.” Engero 30:8b-9

Era tulaba ekimu ku bigambo eby’ekitalo,

“Engeri omusajja gye yeeyisaamu ng’ali n’embeerera.” Engero 30:19

Na bino, bikankanya ensi,

“Omuweereza bw’afuuka kabaka, n’omusirusiru bw’akutta emmere; n’omukazi eyadibira muddya; n’omuweereza omuwala bw’afumbirwa bba wa mugole we.” Engero 30:22-23

Ekirala,

“Tomaliranga maanyi go ku bakazi, newaakubadde amaanyi go ku abo abazikiriza bakabaka.” Engero 31:3

Ate,

“Si kya bakabaka okunywanga omwenge, so si kya balangira okwegomba omwenge, si kulwa nga bagunywa ne beerabira amateeka, ne batalamula mu bwenkanya abantu baabwe abatulugunyizibwa.” Engero 31:4-5

Are,

“Ekitamiiza mukiwenga oyo ayagala okufa, n’omwenge oyo alina emmeeme eriko obuyinike.” Engero 31:6

Ekirala,

“Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba?.” Engero 31:10

“Aleetera bba essanyu so tamukola kabi, obulamu bwe bwonna.” Engero 31:12

“Anoonya ebyoya by’endiga n’anoonya ne ppamba, n’akola emirimu gye mu ssanyu eritayogerekeka.” Engero 31:13

“Agolokoka tebunnakya, n’awa ab’omu nnyumba ye ebyokulya.” Engero 31:15

“Alowooza ku nnimiro n’agigula; asimba ennimiro ey’emizabbibu n’ebibala by’emikono gye.” Engero 31:16

“Ayiiya ebyamaguzi ebirimu amagoba n’abisuubula, era n’ettabaaza ye ekiro tezikira.” Engero 31:18

“Ayanjululiza abaavu omukono gwe, n’agololera omukono gwe oyo ali mu bwetaavu.” Engero 31:20

“Bba amanyibbwa, era y’omu ku bakulu abakulembera ensi era ateeseza mu nkiiko enkulu.” Engero 31:23

“Amaanyi n’ekitiibwa bye byambalo bye, era tatya ebiro ebigenda okujja.” Engero 31:25

“Abaana be bagolokoka ne bamuyita wa mukisa, ne bba n’amutendereza ng’ayogera nti,” Engero 31:28

“Abakazi bangi abakola eby’ekitiibwa naye bonna ggwe obasinga.” Engero 31:29

“Obubalagavu bulimba n’endabika ennungi teriiko kyegasa, naye omukazi atya Mukama anaatenderezebwanga.” Engero 31:30

 

 

Okunenya mu lwatu, kisinga okwagala okukisibbwa

“Akaggo akakangavvula, kaleeta amagezi, naye omwana alekeddwa awo aswaza nnyina.” Engero 29:6

Oluwombo lwaffe leero lulimu eby’assava okuva mu:                                  Proverbs 25-26, 27-29, 30-31.

Mu nyanjuluza, kyogerwa nti,

“Okukisa ensonga kitiibwa kya Katonda, naye okunoonyereza ensonga kitiibwa kya bakabaka.”  Engero 25:2

Ekirala,

“Teweekuzanga mu maaso ga kabaka, wadde okwewa ekifo mu bantu ab’ekitiibwa.”  Engero 25:6

Era nti,

“Amaaso go bye galabye tobyanguyirizanga kubireeta mu mbuga.”  Engero 25:8

Era,

“Ekigambo ekyogere nga bwe kisaanidde, kiba kya muwendo nnyo nga zaabu gwe batonye mu bintu bye bakoze mu ffeeza.”  Engero 25:11

Ekirala,

“Ng’ebire n’empewo omutali nkuba, omuntu asuubiza ebirabo by’atagaba bw’abeera.”  Engero 25:14

Era nti,

“Olulimi olw’eggonjebwa lumenya eggumba.”  Engero 25:15

Era,

“Bw’ozuula omubisi gw’enjuki, lyako ogwo gwokka ogukumala, si kulwa ng’ogukkuta nnyo n’ogusesema.”  Engero 25:16

Ekirala,

“Omulabe wo bw’aba alumwa enjala, muwe emmere alye, bw’aba alumwa ennyonta muwe amazzi anywe. Kubanga oliba otuuma amanda g’omuliro ku mutwe gwe, era Mukama alikuwa empeera.”  Engero 25:21-22

Era nti,

“Okusulanga mu kasonda waggulu ku nnyumba, kisinga okubeera n’omukazi omuyombi mu nnyumba.”  Engero 25:24

Era,

“Si kirungi kulya mubisi gwa njuki mungi, bwe kityo si kirungi omuntu okwenoonyeza ekitiibwa.”  Engero 25:27

Ekirala,

“Ekikolimo ekitasaanidde tekibaako kye kikola.” Engero 26:2b

Ate,

“Omuggo gusaanira migongo gya basirusiru.” Engero 26:3b

Era nti,

“Ng’asika embwa amatu, omuyise bw’abeera eyeeyingiza mu luyombo olutali lulwe.” Engero 26:17

Era,

“Enku bwe zibula omuliro guzikira, awatali lugambo ennyombo ziggwaawo.” Engero 26:20

Ekirala,

“Buli asima ekinnya y’alikigwamu.” Engero 26:27

Ate,

“Okunenya mu lwatu, kisinga okwagala okukisibbwa.” Engero 27:5

Era nti,

“Oyo akkuse akyawa omubisi gw’enjuki, naye eri omuyala n’ekikaawa kiba kiwoomerera.” Engero 27:7

Era,

“Ebyakaloosa bisanyusa omutima, n’obuwomerevu bw’omukwano gw’omuntu bwe butyo bwe buvaamu okubuulirira okw’amazima.” Engero 27:9

Ekirala,

“Muliraanwa wo akira muganda wo akuli ewala.” Engero 27:10c

Ate,

“Okulamusa ku muliraanwa wo mu makya ennyo, ng’oleekaana, obanga amukolimidde.” Engero 27:14

Era nti,

“Omukazi omuyombi ali ng’enkuba etonnya olutata.” Engero 27:15

Era,

“Ng’ekyuma bwe kiwagala ekyuma, n’omuntu bw’abangula muntu munne.” Engero 27:17

Ekirala,

“Omuntu ekimugezesa kutenderezebwa.” Engero 27:21

 

Ate ara,

“Okakasanga nti omanyi bulungi embeera z’ekisibo kyo, ossangayo omwoyo ku ggana lyo. Kubanga eby’obugagga tebiberera mirembe gyonna, n’engule tebeerera mirembe gyonna.” Engero 27:23-24

Era nti,

“Abakozi b’ebibi badduka nga tewali abagoba, naye abatuukirivu babeera n’obuvumu ng’empologoma.” Engero 28:1

Era,

“Abo abava ku mateeka ga Mukama batendereza aboonoonyi, naye abo abagakuuma babawakanya.” Engero 28:4

Ekirala,

“Atassayo myoyo kuwulira mateeka ga Mukama, n’okusaba kwe tekukkirizibwa.” Engero 28:9

Ate,

“Oyo akweka ebibi bye talifuna mukisa kukulaakulana, naye buli abyatula n’abireka, alisaasirwa.” Engero 28:13

Era,

“Omuntu alima ennimiro ye aliba n’emmere nnyingi, naye oyo ali mu birowoozo ebitalimu alifa bwavu.” Engero 28:19

Ekirala,

“Omusajja omwesigwa aliweebwa emikisa mingi, naye oyo ayanguyiriza okugaggawala talirema kubonerezebwa.” Engero 28:20

Ate,

“Omusajja omukodo yeegomba okugaggawala, naye nga tamanyi nti obwavu bumulindiridde.” Engero 28:22

Era,

“Agabira abaavu talibaako ne kye yeetaaga.” Engero 28:27

Ekirala,

“Ebibi by’omwonoonyi bye bimutega, naye omutuukirivu abeera mu kuyimba na kusanyuka.” Engero 29:6

Ate,

“Omusirusiru alaga obusungu bwe bwonna, naye omuntu ow’amagezi abuziyiza n’abukkakkanya.” Engero 29:11

Era,

“Akaggo akakangavvula, kaleeta amagezi, naye omwana alekeddwa awo aswaza nnyina.” Engero 29:15

Ekirala,

“Kangavvula omwana wo alikuwa emirembe, alireetera emmeeme yo essanyu.” Engero 29:17

Ate,

“Awatali kwolesebwa abantu tebaba beegendereza, naye wa mukisa akuuma amateeka ga Mukama.” Engero 29:18

Era nti,

“Olaba omuntu ayanguyiriza ebigambo bye? Omusirusiru alina essubi okumusinga.” Engero 29:20

Ekirala,

“Omuntu asunguwala amangu ayonoona nnyo.” Engero 29:22

Ate,

“Atali omwesimbu wa muzizo eri abatuukirivu; era omwesimbu wa muzizo eri abakozi b’ebibi.” Engero 29:27

Ekirala,

“Buli kigambo kya Katonda kya mazima, era aba ngabo eri abo abamwesiga.” Engero 30:5

Ate,

“Tonjavuwazanga wadde okungaggawaza, naye ndiisanga emmere eya buli lunaku. Nneme okukkutanga ne nkwegaana ne njogera nti, “Mukama ye y’ani?” Era nnemenga okuba omwavu ne nziba, ne nvumisa erinnya lya Katonda wange.” Engero 30:8b-9

Era tulaba ekimu ku bigambo eby’ekitalo,

“Engeri omusajja gye yeeyisaamu ng’ali n’embeerera.” Engero 30:19

Na bino, bikankanya ensi,

“Omuweereza bw’afuuka kabaka, n’omusirusiru bw’akutta emmere; n’omukazi eyadibira muddya; n’omuweereza omuwala bw’afumbirwa bba wa mugole we.” Engero 30:22-23

Ekirala,

“Tomaliranga maanyi go ku bakazi, newaakubadde amaanyi go ku abo abazikiriza bakabaka.” Engero 31:3

Ate,

“Si kya bakabaka okunywanga omwenge, so si kya balangira okwegomba omwenge, si kulwa nga bagunywa ne beerabira amateeka, ne batalamula mu bwenkanya abantu baabwe abatulugunyizibwa.” Engero 31:4-5

Are,

“Ekitamiiza mukiwenga oyo ayagala okufa, n’omwenge oyo alina emmeeme eriko obuyinike.” Engero 31:6

Ekirala,

“Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba?.” Engero 31:10

“Aleetera bba essanyu so tamukola kabi, obulamu bwe bwonna.” Engero 31:12

“Anoonya ebyoya by’endiga n’anoonya ne ppamba, n’akola emirimu gye mu ssanyu eritayogerekeka.” Engero 31:13

“Agolokoka tebunnakya, n’awa ab’omu nnyumba ye ebyokulya.” Engero 31:15

“Alowooza ku nnimiro n’agigula; asimba ennimiro ey’emizabbibu n’ebibala by’emikono gye.” Engero 31:16

“Ayiiya ebyamaguzi ebirimu amagoba n’abisuubula, era n’ettabaaza ye ekiro tezikira.” Engero 31:18

“Ayanjululiza abaavu omukono gwe, n’agololera omukono gwe oyo ali mu bwetaavu.” Engero 31:20

“Bba amanyibbwa, era y’omu ku bakulu abakulembera ensi era ateeseza mu nkiiko enkulu.” Engero 31:23

“Amaanyi n’ekitiibwa bye byambalo bye, era tatya ebiro ebigenda okujja.” Engero 31:25

“Abaana be bagolokoka ne bamuyita wa mukisa, ne bba n’amutendereza ng’ayogera nti,” Engero 31:28

“Abakazi bangi abakola eby’ekitiibwa naye bonna ggwe obasinga.” Engero 31:29

“Obubalagavu bulimba n’endabika ennungi teriiko kyegasa, naye omukazi atya Mukama anaatenderezebwanga.” Engero 31:30

 

 

Mukama asanyukira abo abamussaamu ekitiibwa

“Abantu bange abatuumiddwa erinnya lyange bwe baneetowazanga, ne basaba, ne banoonya amaaso gange, ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amakyamu, kale nnaawuliranga nga nsinziira mu ggulu ne nsonyiwa ekibi kyabwe era ne mponya ensi yaabwe.”   2  Ebyomumirembe 7:14

Ekijjulo kyaffe kirimu eby’assava okuva mu 1 Bassekabaka 5-6, 2 Ebyomumirembe 2-3; 1 Bassekabaka 7, 2 Ebyomumirembe 4;          1 Bassekabaka 8, 2 Ebyomumirembe 5; 2 Ebyomumirembe 6-7, Zabbuli 136; Zabbuli 134, 146-150; 1 Bassekabaka 9,                             2 Ebyomumirembe 8; Engero 25-26, Engero 27-29.

Mukibego ekisooka; 1 Bassekabaka 5-6, 2 Ebyomumirembe 2-3, tulaba kabaka Kiramu ng’ayogera ku Sulemaani nti;

“Mukama yeebazibwe, kubanga awadde Dawudi omwana ow’amagezi okufuga eggwanga lino eddene.”   1 Bassekabaka 5:7

“Mukama Katonda wa Isirayiri eyakola eggulu n’ensi, yeebazibwe, kubanga awadde Dawudi omwana omutegeevu, alina okutegeera n’okwawula ebirungi n’ebibi, agenda okuzimbira Mukama eyeekaalu n’okwezimbira olubiri.”   2 Ebyomumirembe 2:12

Era tutegezebwa nti,

“Mukama n’awa Sulemaani amagezi, nga bwe yamusuubiza. Ne waba emirembe wakati wa Kiramu ne Sulemaani, n’okulagaana ne balagaana endagaano bombi.”   1 Bassekabaka 5:12

Sulemaani ng’atanudde okuzimba yeekalu, ekigambo kya Mukama kya mujjira nti,

“Bino bye bikwata ku yeekaalu eno gy’ozimba; bw’onootambuliranga mu mateeka gange, n’ogondera ebiragiro byange, n’okwatanga n’amateeka gange gonna ng’ogatambulirangamu, kale ndituukiriza ekigambo kye nayogera eri Dawudi kitaawo. Era nnaabeeranga wamu n’abaana ba Isirayiri, so siryabuulira bantu bange Isirayiri.”                                   1 Bassekabaka 6:12-13

Bwe tweyongerayo, kyogerwa nti,

“Sulemaani kyamutwalira ebbanga lya myaka kkumi n’esatu okuzimba olubiri lwe.” 1 Bassekabaka 7:1

Era ssanduuko  ya Mukama ng’eretebwa mu yeekaalu. Ku ssanduuko kyogerwa nti,

“Temwali kintu mu ssanduuko okuggyako ebipande ebibiri eby’amayinja Musa bye yateekamu e Kolebu, Mukama bwe yalagaana endagaano n’abaana ba Isirayiri, nga bavudde mu nsi y’e Misiri.”   1 Bassekabaka 8:9

Essanduuko yaletebwa wakati mu kutendereza Mukama. Era bayimba nti,

“Mulungi, kubanga okwagala kwe okwenkalakkalira kubeerera emirembe n’emirembe.”   2  Ebyomumirembe 5:13b

Era kabaka Sulemaani y’agamba ekibiina kyonna ekya Isirayiri nti,

“Mukama atuukirizza kye yasuubiza, ne nsikira Dawudi kitange, n’okutuula ne ntuula ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbidde erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri eyeekaalu.”   1 Bassekabaka 8:20

Era tulaba okusaba kwa Sulemaani kw’okuwaayo yeekaalu eri Mukama. Asaba nti,

“Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri tewali Katonda akufaanana mu ggulu newaakubadde ku nsi, atuukiriza endagaano ye ey’okwagala eri abaddu be abatambulira mu maaso ge n’emitima gyabwe gyonna.”   2  Ebyomumirembe 6:14

“Amaaso go gatunuulirenga yeekalu eno emisana n’ekiro, ekifo kino kye wayogerako nti, ‘Erinnya lyange linaabeeranga omwo’, okuwulira okusaba kw’omuddu wo kw’asabira ekifo kino.”               1 Bassekabaka 8:29

Era asaba nti,

“Eggulu bwe linaggalwangawo ne wataba nkuba, olw’ebibi byabwe, era bwe banasabanga nga batunuulira ekifo kino ne baatula erinnya lyo ne bakyuka okuleka ekibi kyabwe, olw’okubabonereza, kale owulirenga ng’oli mu ggulu, era obasonyiwenga ekibi ky’abaddu bo, abantu bo Isirayiri. Obayigirize ekkubo etuufu ery’okutambulirangamu, era otonnyese enkuba ku nsi gye wawa abantu bo ng’omugabo gwabwe.”   1 Bassekabaka 8:35-36

Era yebaza Mukama nti,

“Mukama yeebazibwe awadde abantu be Isirayiri okuwummula nga bwe yasuubiza. Tewali kigambo na kimu ekitatuukiridde ku ebyo ebirungi bye yasuubiza omuddu we Musa.”                                 1 Bassekabaka 8:56

Era kitegezebwa nti,

“Awo Sulemaani bwe yamaliriza esaala ye, omuliro ne guva mu ggulu ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka era n’ekitiibwa kya Mukama ne kijjula eyeekaalu. Bakabona ne batayinza kuyingira mu yeekaalu ya Mukama kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjula eyeekaalu ya Mukama.”                                     2  Ebyomumirembe 7:1-2

Era tulaba nga Mukama alabikira Sulemaani omulundi ogw’okubiri, n’amanukula nti,

“Abantu bange abatuumiddwa erinnya lyange bwe baneetowazanga, ne basaba, ne banoonya amaaso gange, ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amakyamu, kale nnaawuliranga nga nsinziira mu ggulu ne nsonyiwa ekibi kyabwe era ne mponya ensi yaabwe.”   2  Ebyomumirembe 7:14

Ayongerako nti,

“Naye bwe munaakyuka ne muva ku mateeka gange n’ebiragiro byange bye mbawadde, ne mugenda okuweereza bakatonda abalala ne mubasinza, ndi siguukulula Isirayiri okuva mu nsi yange, gye mbawadde, era sirifaayo na ku yeekaalu eno gye neewongera olw’Erinnya lyange. Ndigifuula ekisekererwa era ekinyoomebwa mu mawanga gonna.”   2  Ebyomumirembe 7:19-20

Era Mukama awa okuddamu okuliwebwa abalibuuza ekyatuuka ku yeekaalu,

“Kubanga baava ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe eyabaggya mu Misiri, ne bagoberera bakatonda abalala, nga babasinza era nga babaweereza, kyavudde abaleetako emitawaana gino gyonna, ginnamuzisa.”   2  Ebyomumirembe 7:22

Bwe tugendako mu Zabbuli tulaba okwebaza Mukama.

“Mwebaze Mukama kubanga mulungi, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. ”   Zabbuli 136:1

Kubanga,

“Oyo eyatujjukira nga tuweddemu ensa… ”   Zabbuli 136:23

Era nti,

“Kale mwebaze Katonda w’eggulu, kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna. ”   Zabbuli 136:26

Ewalala kyogerwa nti,

“Mutendereze Mukama, mmwe mwenna abaddu ba Mukama, abaweereza ekiro mu nnyumba ya Mukama. ”  Zabbuli 134:1

Era,

“Mukama eyakola eggulu n’ensi akuwe omukisa ng’asinziira mu Sayuuni. ”   Zabbuli 134:3

Ewalala tulagirwa nti,

“Tendereza Mukama ggwe emmeeme yange! ”   Zabbuli 146:1

Era nti,

“Tewesiganga bafuzi, wadde abantu obuntu omutali buyambi. Kubanga bafa ne bakka emagombe. ”   Zabbuli 146:3-4a

Era

“Yeesiimye oyo ayambibwa Katonda wa Yakobo; ng’essuubi lye liri mu Mukama Katonda we, eyakola eggulu n’ensi n’ennyanja ne byonna ebirimu, era omwesigwa emirembe gyonna.”              Zabbuli 146:5-6

Ekirala,

“Mukama anaafuganga emirembe gyonna, Katonda wo, Ayi Sayuuni, anaabanga Katonda wa buli mulembe. ”   Zabbuli 146:10

Era nti,

“Mukama waffe mukulu era wa kitiibwa; amaanyi g’obuyinza bwe tegatendeka, n’okutegeera kwe tekuliiko kkomo. ” Zabbuli 147:5

Era,

“Muyimbire Mukama ennyimba ez’okumwebaza; mumukubire entongooli ezivuga obulungi. ” Zabbuli 147:7

Ekirala,

“Wabula Mukama asanyukira abo abamussaamu ekitiibwa, era abalina essubi mu kwagala kwe okutaggwaawo. ” Zabbuli 147:11

Era nti,

“Mukama aweereza ekigambo kkye, omuzira ne gusaanuuka.” Zabbuli 147:18

Era,

“Mumutendereze mmwe mwenna bamalayika be, mumutendereze mmwe mwenna eggye lye ery’omu ggulu. Mmwe enjuba n’omwezi mutendereze Mukama, nammwe mwenna emmunyeenye ezaaka mumutendereze.” Zabbuli 148:2-3

Kyongerwako nti,

“Leka byonna bitendereze erinnya lya Mukama! Kubanga ye yalagira, ne bitondebwa.” Zabbuli 148:5

Era,

“Bitendereze erinnya lya Mukama, kubanga erinnya lye lyokka lye ligulumizibwa; ekitiibwa kye kisinga byonna eby’omu nsi n’eby’omu ggulu.” Zabbuli 148:13

Ewalala tulagirwa nti,

“Muyimbire Mukama oluyimba oluggya, mumutendereze wamu n’ekibiina ky’abatukuvu. Isirayiri asanyukirenga eyamutonda; n’abantu ba Sayuuni bajagulize kabaka waabwe!” Zabbuli 149:1-2

Kubanga,

“Mukama asanyukira abantu be, n’abawombeefu abawa engule ey’obulokozi.” Zabbuli 149:4

Era nti,

“Batenderezenga Katonda waabwe, bakwate ekitala eky’obwogi obubiri.” Zabbuli 149:6

Ekirala,

“Mumutendereze olw’ebikolwa bye ebiraga amaanyi ge; mumutendereze olw’obukulu bwe obusukiridde.” Zabbuli 150:2

Bwe tugendako mu Engero 25-26 ne Engero 27-29, kyogerwa nti,

“Okukisa ensonga kitiibwa kya Katonda, naye okunoonyereza ensonga kitiibwa kya bakabaka.”  Engero 25:2

Era nti,

“Teweekuzanga mu maaso ga kabaka, wadde okwewa ekifo mu bantu ab’ekitiibwa.”  Engero 25:6

Era,

“Amaaso go bye galabye tobyanguyirizanga kubireeta mu mbuga.”  Engero 25:8

Ekirala,

“Ekigambo ekyogere nga bwe kisaanidde, kiba kya muwendo nnyo nga zaabu gwe batonye mu bintu bye bakoze mu ffeeza.”        Engero 25:11

Era nti,

“Ng’ebire n’empewo omutali nkuba, omuntu asuubiza ebirabo by’atagaba bw’abeera.”  Engero 25:14

Era,

“Olulimi olw’eggonjebwa lumenya eggumba.”  Engero 25:15b

Ekirala,

“Bw’ozuula omubisi gw’enjuki, lyako ogwo gwokka ogukumala, si kulwa ng’okkuta nnyo n’ogusesema.”  Engero 25:16

Era nti,

“Omulabe wo bw’aba alumwa enjala, muwe emmere alye, bw’aba alumwa ennyonta muwe amazzi anywe. Kubanga oliba otuuma amanda g’omuliro ku mutwe gwe, era Mukama alikuwa empeera”  Engero 25:21-22

Era,

“Okusulanga mu kasonda waggulu ku nnyumba, kisinga okubeera n’omukazi omuyombi mu nnyumba.”  Engero 25:24

Ekirala,

“Si kirungi kulya mubisi gwa njuki mungi, bwe kityo si kirungi omuntu okwenoonyeza ekitiibwa.”  Engero 25:27

Era nti,

“Ekikolimo ekitasaanidde tekibaako kye kikola.”  Engero 26:2b

Era,

“Omuggo gusaanira migongo gya basirusiru.”  Engero 26:3

Ekirala,

“Ng’asika embwa amatu, omuyise bw’abeera eyeeyingiza mu luyombo olutali lulwe.”  Engero 26:17

Era nti,

“Enku bwe zibula omuliro guzikira, awatali lugambo ennyombo ziggwaawo.”  Engero 26:20

Era,

“Buli asima ekinnya y’alikigwamu”  Engero 26:27

Ewalala,

“Okunenya mu lwatu, kisinga okwagala okukisibbwa.”  Engero 27:5

Era nti,

“Oyo akkuse akyawa omubisi gw’enjuki, naye eri omuyala n’ekikaawa kiba kiwoomerera.”  Engero 27:7

Era,

“Ebyakaloosa bisanyusa omutima.”  Engero 27:9

Ekirala,

“Muliraanwa wo akira muganda wo akuli ewala.”  Engero 27:10b

Era nti,

“Okulamusa ku muliranwa wo mu makya ennyo, ng’oleekaana, obanga amukolimidde.”  Engero 27:14

Era,

“Omukazi omuyombi ali ng’ekuba etonnya olutata.”  Engero 27:15

Ekirala,

“Ng’ekyuma bwe kiwagala ekyuma, n’omuntu bw’abangula muntu munne.”  Engero 27:17

Era nti,

“Omuntu ekimugezesa kutenderezebwa.”  Engero 27:21b

Era,

“Okakasanga nti omanyi bulungi embeera z’ekisibo kyo, ossangayo omwoyo ku ggana lyo. Kubanga eby’obugagga tebibeerera mirembe gyonna, n’engule tebeerera mirembe gyonna .”  Engero 27:23-24

Ekirala,

“Abakozi b’ebibi badduka nga tewali abagoba, naye abatuukirivu babeera n’obuvumu ng’empologoma.”  Engero 28:1

Era nti,

“Abava ku mateeka ga Mukama batendereza aboonoonyi, naye abo abagakuuma, babawakanya.”  Engero 28:4

Era,

“Atassaayo mwoyo kuwulira mateeka ga Mukama, n’okusaba kwe tekukkirizibwa.”  Engero 28:9

Ekirala,

“Oyo akweka ebibi bye, talifuna mukisa kukulaakulana, naye buli abyatula n’abireka, alisaasirwa.”  Engero 28:13

Era nti,

“Omuntu alima ennimiro ye aliba n’emmere nnyingi.”                Engero 28:19

Era,

“Omusajja omwesigwa aliweebwa emikisa mingi, naye oyo ayanguyiriza okugaggawala talirema kubonerezebwa.”               Engero 28:20

Ekirala,

“Omusajja omukodo yeegomba okugaggawala, naye nga tamanyi nti obwavu bumulindiridde.”  Engero 28:22

Era nti,

“Agabira abaavu talibaako ne kye yeetaga.”  Engero 28:27

Era,

“Ebibi by’omwonoonyi bye bimutega, naye omutuukirivu abeera mu kuyimba na kusanyuka.”  Engero 29:6

Ekirala,

“Omusirusiru alaga obusungu bwe bwonna, naye omuntu ow’amagezi abuziyiza n’abukkakkanya.”  Engero 29:11

Era nti,

“Akaggo akakangavvula kaleeta amagezi, naye omwana alekeddwa awo, aswaza nnyina.”  Engero 29:15

Era,

“Kangavvula omwana wo, alikuwa emirembe, alireetera emmeeme yo essanyu.”  Engero 29:17

Ekirala,

“Awatali kwolesebwa abantu tebaba beegendereza.”  Engero 29:18

Era nti,

“Olaba omuntu ayanguyiriza ebigambo bye? Omusirusiru alina essuubi okumusinga.”  Engero 29:20

Ekirala,

“Omuntu asunguwala amangu ayonoona nnyo.”  Engero 29:22b

Era nti,

“Omwesimbu wa muzizo eri abakozi b’ebibi.”  Engero 29:27b

 

Olulimi oluzimba muti gwa bulamu

“Omuntu omutuukirivu ne bw’agwa emirundi omusanvu, addamu nayimuka.” Engero 24:16

 

Oluwombo lwaffe leero lujjudde eby’assava okuva mu Engero 1-24. Ekitaabo kino kye kimu ku bitabo ebibalibwa ng’eby’amagezi. Omulamwa gwe kitabo kino guli ku bintu ng’obugagga, n’obwenkanya, n’okwagala, n’obwesigwa, n’okussaamu abaavu ekitiibwa, n’amalala, n’okwegomba, n’omululu, n’okukola, n’ebirala.

Mu kujjako akawuwo, tutegezebwa lwaki Sulemaani, omu kubawandisi b’ekitabo Engero, yawandiika engero zino.

“Yaziwandiika okuyigiriza abantu okuba n’amagezi n’okuyiga…okuba n’empisa, n’obulamu obw’amagezi…”         Engero 1:2-3

Era tutegezebwa nti,

“Mukutya Mukama amagezi mwe gasookera ” Engero 1:7

Eri abavubuka, kyogerwa nti,

“Ossangayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawo era tolekanga kukuutira kwa maama wo; bijja kuba ngule eneeweesanga omutwe gwo ekitiibwa, n’emikuufu mu bulago bwo. ” Engero 1:8-9

Era nti,

“Kuba kumala biseera okutega omutego, ng’ekinyonyi ky’oyagala okukwata kikulaba. ” Engero 1:17

Ku kunoonya obugagga mu bukyamu kyogerwa nti,

“Obugagga obw’engeri eyo busaanyaawo obulamu bw’abo ababufuna. ” Engero 1:19b

Era tulaba okulabula eri abo abanyooma amagezi,

“Mulituusa ddi mmwe ab’amagezi amatono obutayagala kweyongera kuyiga by’amagezi. ” Engero 1:22

Abantu abanyooma anagezi boogerwako nti,

“Baakyawa okuyigirizibwa, n’okumanya, era ne bamalirira obutatya Mukama. Kyebaliva balya ebibala eby’ekkubo lyabwe ebbi… ” Engero 1:29,31a

Era nti,

“Obusirusiru bulitta ab’amagezi amatono n’obutafaayo bulizikiriza abasirusiru. ” Engero 1:32

Mu kweyongerayo tulaba empeera y’okunoonya amagezi. Era tutegezebwa nti,

“Bw’onooganoonyanga nga ffeeza, era n’oganoonyanga ng’ekyobugagga ekyakwekebwa, awo w’olitegeerera okutya Mukama era n’ovumbula okumanya Katonda. Kubanga Mukama awa amagezi; era mu kamwa ke muvaamu okumanya n’okutegeera. ” Engero 2:4-6

Era nti,

“Okwesalirawo okulungi kunaakulabiriranga n’okutegeera kunaakukuumanga. Amagezi ganaakuwonyanga ekkubo ly’omubi, n’abantu aboogera eby’obugwagwa. ” Engero 2:11-12

Era kitegezebwa nti,

“Amagezi Mukama g’awa ge gokka agajja okukuwonya ekkubo ly’omukazi omwenzi, n’okukuwonya ebigambo bye ebisendasenda, eyaleka bba ow’omu buvubuka bwe era eyeerabira endagaano gye yakola mu maaso ga Katonda we. ” Engero 2:16-17

Era omukazi omwenzi,

“Tewali n’omu agenda ewuwe adda wadde okufunirayo amakubo g’obulamu. ” Engero 2:19

Era tweyonegra okulaba emikisa egiva mu kuba n’amagezi. Tulaba okukutirwa nti,

“Okuumanga ebiragiro byange mu mutima gwo, kubanga bijja kuwangaaza obulamu bwo ku nsi, era bikukulakulanye. ”       Engero 3:1-2

Ayongerako nti,

“Weesige Mukama n’omutima gwo gwonna, so teweesigamanga ku magezi go gokka. Mukama mukulembezenga mu by’okola byonna, naye anaakuluŋŋamyanga n’owangula. ” Engero 3:5-6

Era nti,

“Mukama anenya oyo gw’ayagala. ”   Engero 3:12

Era nti,

“Amagezi gasinga ffeeza era galimu amagoba okusinga zaabu. ”       Engero 3:14

Ayongerako nti,

“Mu magezi mulimu essanyu, era n’amakubo gaago ga mirembe. Amagezi muti gwa bulamu eri abo abagakwata ne baganyweza. ”     Engero 3:17-18

Kukubera n’okutesa okulungi, kyegorewa nti,

“Bw’onoogalamiranga toobenga na kutya, weewaawo bw’oneebakanga otulo tunakuwomeranga. ” Engero 3:24

Era tulaba okubulirirwa nti,

“Tommanga birungi abo be bisaanira bwe kibeera mu buyinza bwo okukikola. ”  Engero 3:27

Era nti,

“Ddala ddala, Mukama anyooma abanyoomi, naye abeetoowaza abawa ekisa. ”  Engero 3:34

Ku magezi, kyogerwa nti,

“Amagezi gagulumize, nago gajja kukuyimusa, gaanirize, nago gajja kukuweesa ekitiibwa. ”  Engero 4:8

Ku kubbo ly’abatukirivu kyogerwa nti,

“Ekkubo ly’abatuukirivu liri ng’enjuba eyakavaayo, eyeeyongera okwaka okutuusa obudde lwe butangaalira ddala. ”  Engero 4:18

Ebigambo eby’amagezi byogerwako nti,

“Bya bulamu eri abo ababifuna, era biwonya omubiri gwabwe gwonna. ”  Engero 4:22

Era nti,

“Ekisinga byonna kuuma omutima gwo, kubanga y’ensulo y’obulamu bwo. ”  Engero 4:23

Era tulaba okulabula ku bwenzi nti,

“Emimwa gy’omukazi omwenzi gitonya omubisi gw’enjuki, n’ebigambo bye biweweevu okusinga omuzigo. ”  Engero 5:3

Kyongerwako nti,

“Mwewalenga omukazi oyo era temusembereranga luggi lwa nnyumba ye. ”  Engero 5:8

Abafumbo babulirirwa nti,

“Onoonywanga amazzi ag’omu kidiba kyo, n’amazzi agava mu luzzi lwo goonoonywanga. ”  Engero 5:15

Kyongerwako nti,

“Kale ensuulo yo ebeere n’omukisa, era osanyuke ne mukazi wo ow’omu buvubuka bwo. ”  Engero 5:18

Era nti,

“Ng’ennangaazi eyeeyagaza n’empeewo esanyusa, leka okusuuta kwe kukumalenga ennaku zonna era naye akwetoloozenga okwagala kwe. ”  Engero 5:19

Ku bugayavu kyogerwa nti,

“Olituusa ddi okwebaka mugayaavu ggwe? Oligolokoka ddi n’ova mu tulo two?. ”  Engero 6:9

Era nti,

“Naye obwavu bulikujjira ng’omunyazi bw’ajja, n’obwetaavu ng’omutemu. ”  Engero 6:11

Kumateeka ky’ogerwanti,

“Amateeka ttabaaza, era n’okuyigiriza kitangaala, okukulabula olw’okukuluŋŋamya, ly’ekkubo ery’obulamu. ”  Engero 6:23

Ku bwenzi kitegezebwa nti,

“NAye buli ayenda ku mukazi talina magezi; kubanga azikiririza ddala emmeeme ye ye. Alifuna ebiwundu n’okunyoomebwa; n’obuswavu tebulimusangulibwako. ”  Engero 6:32-33

Ku magezi kyogerwa nti,

“Amagezi gatwalire ddala nga mwannyoko, n’okutegeera, ng’owooluganda ow’omu kika kyo. ”  Engero 7:4

Ku mukazi omwenzi kitegezebwa nti,

“Ennyumba ye, lye kkubo eridda emagombe, nga likka mu bisenge eby’okufa. ”  Engero 7:27

Amagezi gakoowoola nti,

“Nze magezi, mbeera wamu n’okuteesa okulungi, era munze mulimu okumanya n’okwawula ekirungi n’ekibi. ”  Engero 8:12

Era nti,

“Njagala abo abanjagala, n’abo abanyiikira okunnoonya bandaba. Obugagga n’ekitiibwa biri mu nze, obugagga obutakoma n’okukulaakulana.  …n’abo abanjagala mbagaggawaza era nzijuza amawanika gaabwe.”  Engero 8:17-18,21

Era Amagezi gakoowoola nti,

“Buli andaba afuna obulamu, era afuna okuganja eri Mukama. ”  Engero 8:35

Ewalala lyogerwa nti,

“Oyo anenya omunyoomi ayolekera kuvumwa, n’oyo abuulirira omukozi w’ebibi yeeretera kuvumibwa. ”  Engero 9:7

Era nti,

“Nenya ow’amagezi naye anaakwagalanga. ”  Engero 9:8b

Ensibuuko yamagezi eragibwa:

“Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera, era n’okumanya oyo Omutukuvu Katonda, kwe kutegeera . ”  Engero 9:10

Omukazi omusirusiru aleekana nti,

“Amazzi amabbe nga gawooma! Emmere eriibwa mu kyama ng’ewooma! ”  Engero 9:17

Zinno wammanga, ze zimu ku ngero za Sulemaani:

“Omwana ow’amagezi asanyusa kitaawe; naye omwana omusirusiru anakuwaza nyinna. ”  Engero 10:1

Era,

“Emikono emigayavu gyavuwaza, naye emikono eminyiikivu gireeta obugagga. ”  Engero 10:4

Era nti,

“Omutukirivu anajjukirwanga n’essanyu, naye erinnya ly’omubi linaavundanga. ”  Engero 10:7

“Akamwa ak’omutukirivu nsulo ya bulamu… ”  Engero 10:11

Era nti,

“Obukyayi buleeta enjawukana, naye okwagala kubikka ku bibi bingi. ”  Engero 10:12

Ku bigambo ebingi, kyogerwa nti,

“Mu bigambo ebingi temubula kwonoona, naye akuuma olulimi lwe aba wa magezi. ”  Engero 10:19

Era nti,

“Ebigambo by’omutukirivu birisa abantu bangi… ”  Engero 10:21

Ku mukisa aguva ewa Mukama, kyogerwa nti,

“Omukisa gwa Mukama guleeta obugagga era tagwongerako buyinike. ”  Engero 10:22

Era nti,

“Okutya Mukama kuwangaaza omuntu… ”  Engero 10:27

Kyongerwa ko nti,

“Esuubi ly’abatukirivu livaamu ssanyu…”  Engero 10:28

Era nti,

“Abatuukirivu tebajjululwenga ennaku zonna ”  Engero 10:30

Era nti,

“Emimwa gy’omutuukirivu gyogera ebisanidde…”  Engero 10:32

Ewalala, kyogerwa nti,

“Minzaani eteri ya mazima ya muzizo eri Mukama, naye ebipimo ebituufu bye bimusanyusa.”  Engero 11:1

Era nti,

“Amalala bwe gajja, ng’obuswavu butuuse, naye obwetoowaze buleeta amagezi.”  Engero 11:2

Ku batukirivu kyogerwa nti,

“Abatuukirivu bwe bakulaakulana ekibuga kijaguza; abakozi b’ebibi bwe bazikirira wawulirwawo amaloboozi ag’essanyu.”  Engero 11:10

Ku kuluŋŋamazibwa kyogerwa nti,

“Awatali kuluŋŋamazibwa eggwanga lidobonkana, naye abawi b’amagezi abangi baleeta obuwanguzi.”  Engero 11:14

Ekirala,

“Omukazi ow’ekisa aweebwa ekitiibwa, naye abasajja ab’amawaggali bakoma ku bugagga bwokka.”  Engero 11:16

Era nti,

“Ng’empeta ya zaabu mu nnyindo y’embizzi, bw’atyo bw’abeera omukazi omulungi atalaba njawulo wakati w’ekirungi n’ekibi.”  Engero 11:22

Ku muntu omugabi kyogerwa nti,

“Omuntu agaba obuteerekereza, yeeyongera bweyongezi kugaggawala; naye akwatirira kye yandigabye, yeeyongera kwavuwala.”  Engero 11:24

Era nti,

“Omuntu agaba anagaggawalanga, n’oyo ayamba talibulako amuyamba.”  Engero 11:25

Ekirala,

“Oyo anyikira okukola obulungi afuna okuganja…”  Engero 11:27

Ku batukirivu kyogerwa nti,

“Abatukirivu banaakulaakulananga ne baba ng’amalagala amalamu..”  Engero 11:28b

Era nti,

“Ekibala ky’omutuukirivu muti gwa bulamu, era n’oyo asikiriza emyoyo gy’abantu ne balokoka wa magezi.”  Engero 11:30

Ewalala kyogerwa nti,

“Omukyala ow’empisa ennungi ssanyu era ngule ya mwami we, naye omukazi eyeeyisa obubi ali nga kookolo mu magumba ga bba.”  Engero 12:4

Era nti,

“Ebigambo by’omugezi bimuleetera okusiimibwa…”  Engero 12:8

Era,

“Omuntu eyeetoowaza ne yeekolera, asinga oyo eyeegulumiza n’abulwa ky’alya.”  Engero 12:9

Ekirala,

“Omuntu ajjuzibwa ebirungi okuva mu bibala by’ebigambo by’akamwa ke.”  Engero 12:14

Era nti,

“Omusirusiru alaga mangu obusungu bwe, naye omutegeevu tassa myoyo ku kivume.”  Engero 12:16

Ekirala,

“Omutima ogweraliikirira guleetera omuntu okwennyika, naye ekigambo eky’ekisa kimusanyusa.”  Engero 12:25

Era nti,

“Mu kkubo er’obutuukirivu mulimu obulamu, era mu kkubo eryo temuli kufa.”  Engero 12:28

Ewalala kyogerwa nti,

“Oyo eyeegendereza by’ayogera akuuma obulamu bwe.”        Engero 13:3

Era nti,

“Ekitangaala ky’abatuukirivu kyaka nnyo.” Engero 13:9

Ekirala,

“Ensimbi enkumpanye ziggwawo, naye ezijja empolampola zeeyongera obungi.” Engero 13:11

Era nti,

“Essuubi erirwawo okutuukirira lirwaza omutima, naye ekyegombebwa bwe kituukirira kiba muti gwa bulamu.”        Engero 13:12

Ekirala,

“Oyo atambula n’abantu abagezi ageziwala.” Engero 13:20

Era nti,

“Omutuukirivu alya emmere ye n’akkuta.” Engero 13:25a

Ewalala kyogerwa nti,

“Omukazi ow’amagezi yeezimbira ennyumba ye, naye omusirusiru eyiye agyemenyera n’emikono gye.” Engero 14:1

Era nti,

“Teweeretereza muntu musirusiru, kubanga tewali by’amagezi biva mu kamwa ke.” Engero 14:7

Ekirala,

“Buli mutima gumanya okulumwa kwagwo, tewali ayinza kugusanyukirako.” Engero 14:10

Era nti,

“Waliwo ekkubo erirabika nga ttuufu eri omuntu, naye ng’enkomerero yaalyo kufa.” Engero 14:12

Ekirala,

“Omuntu asunguwala amangu akola eby’obusirusiru.”             Engero 14:17

Era nti,

“Anyooma muliraanwa we akola kibi, naye alina omukisa oyo asaasira abaavu.” Engero 14:21

Ekirala,

“Buli mulimu ogukolebwa n’amaanyi gubaako amagoba, naye okwogera obwogezi kireeta bwavu bwokka.” Engero 14:23

Era nti,

“Okutya Mukama ye nsulo y’obulamu, kuleetera omuntu okwewala emitego gy’okufa.” Engero 14:27

Ku bugumiikiriza kyogerwa nti,

“Omuntu omugumiikiriza aba n’okutegeera kungi, naye oyo asunguwala amangu ayolesa obusirusiru.” Engero 14:29

Era nti,

“Omutima ogulina emirembe guwangaaza omuntu, naye obuggya buvunza amagumba ge.” Engero 14:30

Ewalala kyogerwa nti,

“Okuddamu n’eggonjebwa kumalawo ekiruyi, naye ekigambo eky’obukambwe  kisaanuula obusungu.” Engero 15:1

Era nti,

“Olulimi oluzimba muti gwa bulamu.” Engero 15:4

Ekirala,

“Mu nnyumba y’omutikirivu mubaamu obugagga bungi, naye omukozi w’ebibi by’afuna, bimuleetera emitawana.” Engero 15:6

Era nti,

“Okuba n’akatono ng’otya Mukama, kusinga okuba n’ebingi naye ng’oli mu mitawaana.” Engero 15:16

Kyongerwako nti,

“Okulya emmere ngeriko enva endiirwa awali okwagalana, kisinga okuliirako ebyassava awali obukyayi.” Engero 15:4

Ekirala,

“Omwana omugezi asanyusa kitaawe, naye omuntu omusirusiru anyooma nnyina.” Engero 15:20

Era nti,

“Awatali kuluŋŋamizibwa entegeka zifa, naye awali abawi b’amagezi abangi ziyitamu.” Engero 15:22

Ekirala,

“Okuddamu obulungi kisanyusa, era kirungi ekigambo ekirungi okujjira mu kiseera ekituufu.” Engero 15:23

Era nti,

“Omutima gw’omutukirivu gufumiitiriza bye gunaayanukula, naye akamwa k’omwonoonyi kafubutula ebitasaana.” Engero 15:28

Ewalala tulaba okugera kwa Mukama ku kubo ly’omuntu:

“Omuntu ateekateeka by’ayagala okukola mu mutima gwe, naye okuddamu kuva eri Mukama.” Engero 16:1

Tutegezebwa nti,

“Amakubo g’omuntu gonna gaba matuufu mu maaso ge ye, naye Mukama y’apima ebigendererwa.” Engero 16:2

Era nti,

“Emirimu gyo gyonna gikwasenga Mukama, naye anaatuukirizanga entegeka zo.” Engero 16:3

Ekirala,

“Buli muntu alina omutima ogw’amala wa muzizo eri Mukama.” Engero 16:5

Era nti,

“Okutya Mukama kuleetera omuntu okwewala okukola ebibi.” Engero 16:6b

Era,

“Akatono akafune mu butuukirivu, kasinga obugagga obungi obufune mu bukyamu.” Engero 16:8

Ekirala,

“Okufuna amagezi nga kisinga nnyo okufuna zaabu, era n’okufuna okutegeera kikira ffeeza!” Engero 16:16

Era,

“Amalala gakulembera okuzikirira, n’omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo.” Engero 16:18

Ekirala,

“Omutima gw’omuntu ow’amagezi gumuwa enjogera ennungi, era akamwa ke kayigiriza abalala.” Engero 16:23

Era nti,

“Ebigambo ebirungi biri ng’ebisenge by’omubisi gw’enjuki, biwoomera emmeeme, ne biwonya n’amagumba.” Engero 16:24

Era,

“Okwagala okulya kuleetera omuntu okukola n’amaanyi.”      Engero 16:26

Ekirala,

“Omutwe ogw’envi ngule ya kitiibwa, gufunibwa abo abatambulira mu bulamu obutuukirivu.” Engero 16:31

Era nti,

“Akalulu kayinza okukubibwa, naye okusalawo kwa byonna kuva eri Mukama.” Engero 16:33

Ewalala kyogerwa nti,

“Okulya akamere akaluma awali emirembe, kisinga okuba mu nnyumba ejjudde ebyassava nga mulimu entalo.” Engero 17:1

Era nti,

“Oyo akudaalira omwavu avvoola eyamutonda, n’oyo asanyukira obuyinike bw’abalala talirema kubonerezebwa.” Engero 17:5

Era,

“Okwagala tekulondoola nsobi, naye oyo atasonyiwa nsobi akyawaganya ab’omukwano enfirabulago.” Engero 17:9

Ekirala,

“Eyejjeereza omukozi w’ebibi n’oyo avumirira omutukirivu, bombi bamuzizo eri Mukama.” Engero 17:15

Era nti,

“Omukwano ogw’amagezi guba gwa lubeerera, era owooluganda yeesigibwa mu biro eby’ennaku.” Engero 17:17

Era,

“Omutima ogw’essanyu ddagala ddungi, naye omwoyo omunyiikaavu gukozza omubiri.” Engero 17:22

Ekirala,

“Omuntu omwegendereza mu bigambo bye abeera n’okutegeera, n’oyo alina omwoyo omuteefu aba muntu wa magezi.”           Engero 17:27

Ewalala tutegezebwa,

“Erinnya lya Mukama kigo ky’amanyi, omutuukirivu addukira omwo n’afuna emirembe.” Engero 18:10

Era nti,

“Omuntu nga tannagwa, omutima gwe gwegulumiza, naye okwetoowaza kumuweesa ekitiibwa.” Engero 18:12

Era,

“Omwoyo gw’omuntu gumuwanirira mu bulwadde.” Engero 18:14

Ekirala,

“Omutima gw’omwegendereza guyiga okumanya, amatu g’omuntu omugezi gawuliriza.” Engero 18:15

Era nti,

“Ekirabo ky’omuntu kimuseguliza, era kimutuusa ne mu maaso g’abeekitiibwa.” Engero 18:16

Era,

“Omuntu anakkutanga ebigambo ebiva mu kamwa ke; ebibala ebijjula akamwa ke bye binamukkusanga.” Engero 18:20

Ekirala,

“Olulimi lulina obuyinza okuwa obulamu oba okutta, era n’abo abalwagala balirya ebibala byalwo.” Engero 18:21

Ku kuwasa, kyogerwa nti,

“Azuula omukazi omulungi ow’okuwasa aba azudde ekirungi, era aganja eri Mukama.” Engero 18:22

Ewalala, kyogerwa nti,

“Omuntu omwavu atambulira mu butuukirivu, asinga akamwa ak’omusirusiru akaweebuula.” Engero 19:1

Era nti,

“Okwanguyiriza okukola ekintu kuleetera omuntu okukwata ekkubo ekyamu.” Engero 19:2b

Era,

“Obusirusiru bw’omuntu bwe bwonoona obulamu bwe, kyokka omutima gwe ne gunenya Mukama.” Engero 19:3

Ekirala,

“Buli muntu aba mukwano gw’oyo agaba ebirabo.” Engero 19:6b

Era nti,

“Oyo afuna amagezi ayagala emmeeme ye, n’oyo asanyukira okutegeera, akulakulana..” Engero 19:1

Era,

“Omuntu omutegeevu alwawo okusunguwala, era kiba kya kitiibwa obutafa ku bye bamusobezza.” Engero 19:11

Ekirala,

“Omukazi omuyombi ali ng’enkuba etonnya olutata.” Engero 19:13b

Era nti,

“Ennyumba n’obugagga bisikirwa okuva ku bazadde, naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama.” Engero 19:14

Era,

“Oyo akwatirwa omwavu ekisa awola Mukama, era Mukama alimusasula olw’ekikolwa ekyo. Engero 19:17

Ekirala,

“Kangavvulanga omwana wo kubanga mu ekyo mulimu essuubi, oleme kumuwaayo mu kuzikirira.” Engero 19:18

Era nti,

“Enteekateeka z’omuntu ziba nnyingi mu mutima gwe; byo ebigendererwa bya Mukama bituukirira.” Engero 19:21

Era,

“Okutya Mukama kutuusa mu bulamu; olwo omuntu n’awummula nga mumativu nga tatuukiddwako kabi.” Engero 19:23

Ekirala,

“Ebibonerezo bitekebwawo kukangavvula banyoomi, n’embooko zaakolebwa lwa migongo gy’abasirusiru.” Engero 19:29

Ewalala, omwenge gw’ogerwako guti,

Omwenge mukudaazi, ekitamiiza muleekaanyi, era buli alaga mu kkubo ekyamu olw’ebyo talina magezi.” Engero 20:1

Era nti,

” Kya kitiibwa omuntu okwewala entalo, naye buli musirusiru ayagala okuyomba.” Engero 20:3

Era,

“Omuntu omutuukirivu, atambulira mu bulamu obutaliiko kyakunenyerezebwa; ba mukisa abaana be abalimuddira mu bigere.” Engero 20:7

Ekirala,

“Ebipima obuzito ebitatuuka n’ebigere ebikyamu, byombi bya muzizo eri Mukama.” Engero 20:10

Era nti,

“Toyagalanga kwebaka oleme kwavuwala, tunula, obeerenga n’ebyokulya bingi.” Engero 20:13

Era,

“Eby’obusika ebifune ng’ekiseera kyabo tekinnatuuka, ku nkomerero tebiba na mukisa.” Engero 20:21

Ekirala,

“Ettabaaza ya Mukama ekebera omwoyo gw’omuntu, n’enoonya mu bitundu eby’omunda ennyo.” Engero 20:27

Era nti,

“Amaanyi kye kitiibwa ky’abavubuka, envi kye kitiibwa ky’abakadde.” Engero 20:29

Ekirala,

“Omutima gwa kabaka guli ng’amazzi agakulukutira mu mukono gwa Mukama, era agukyusiza gy’ayagala yonna.” Engero 21:1

Era nti,

“Enteekateeka z’omunyiikivu zivaamu  magoba meerere, naye okwanguyiriza okutalina nteekateeka kuvaamu bwavu.”        Engero 21:5

Era,

“Okusula ku kasolya k’ennyumba, kisinga okubeera mu nnyumba n’omukazi omuyombi.”  Engero 21:9

Ekirala,

“Oyo aziba amatu ge eri okulaajana kw’omwavu, naye alikoowoola nga talina amwanukula.”  Engero 21:13

Era nti,

“Ensonga bwe zisalibwa mu bwenkanya, lye ssanyu eri abatuukirivu, naye kiba kyekango eri abakozi b’ebibi.”            Engero 21:15

Era,

“Aganza eby’amasanyu anaabanga mwavu…”  Engero 21:17

Ekirala,

“Okubeera mu ddungu, kisinga okubeera n’omukazi omuyombi anyiiganyiiga.”  Engero 21:19

Era nti,

“Mu nnyumba y’omutuukirivu mubaamu eby’obugagga eby’omuwendo.”  Engero 21:20

Era,

“Agoberera obutuukirivu n’ekisa alibeera n’obulamu obukulakulana n’ekitiibwa.”  Engero 21:21

Ekirala,

“Omutukirivu agaba awatali kwebalira.”  Engero 21:26

Era nti,

“Tewali magezi, newaakubadde okutegeera, wadde ebiteeso ebiyinza okulemesa Mukama.”  Engero 21:30

Era,

“Embalaasi etegekerwa olw’olutalo, naye obuwanguzi buva eri Mukama.”  Engero 21:31

Ewalala, kyogerwa nti,

“Erinnya eddungi lyagalibwa okusinga eby’obugagga ebingi, n’okuganja kusinga ffeeza oba zaabu.”  Engero 22:1

Era nti,

“Omuntu omutegeevu bw’alaba akabi yeekweka .”  Engero 22:3

Era,

“Obugagga n’ekitiibwa n’obulamu y’empeera ey’okwetoowazanga n’okutyanga Mukama.”  Engero 22:4

Ekirala,

“Manyiriza omwana mu kkubo erimugwanira okutambulirangamu, ne bw’alikula talirivaamu.”  Engero 22:6

Era nti,

“Omuntu omugabi anaabanga n’omukisa, kubanga emmere ye agirya n’abaavu.”  Engero 22:9

Era,

“Obusirusiru busibiddwa ku mutima gw’omwana omuto, naye omuggo ogukangavvula gulimuwonyeza ddala.”  Engero 22:15

Ekirala,

“Tokwananga muntu wa busungu, oba okuyitanga n’omuntu anyiiganyiiga amangu, oleme kuyiga makubo ge.”  Engero 22:24-25

Era nti,

“Teweegattanga ku abo abeeyama, newakubadde ku abo abeeyimirira ab’amabanja. Bw’oliba tolina kya kusasula ekitanda kyo kyennyini kye kirikuggyibwako.”  Engero 22:26-27

Era,

“Omanyi omuntu omunyiikivu era omukugu mu mulimu gwe? Aliweereza bakabaka; taliweereza bantu batamanyiddwa.”    Engero 22:29

Ewalala, kyogerwa nti,

“Teweemalangako mirembe ng’oyaayaanira obugagga; weefuge obeere mukkakkamu. Eby’obugagga obikubako eriiso limu nga by’agenze dda , kubanga ddala bimera ebiwaawaatiro ne bibuuka mu bbanga ng’empungu.”  Engero 23:4-5

Era nti,

“Tolekangayo kukangavvula mwana, bw’omubonereza n’akaggo tekimutta. Mubonerezenga n’akaggo, kiwonye emmeeme ye okufa.”  Engero 23:13-14

Era,

“Omukazi omwenzi lukonko luwanvu, n’omukazi omubambaavu luzzi lufunda.”  Engero 23:27

Ku mwenge, kyogerwa nti,

“Ani alina obuyinike? Ani alina ennaku? Ani alina ennyombo? Ani alina okwemulugunya? ani alina ebiwundu eby’obwerere? Ani amyuse amaaso?  Abo abatava ku mwenge, nga bageda baloza ku mwenge omutabule.”  Engero 23:29-30

Era nti,

“Totunuulira wayini ng’amyuse, bw’atemaganira mu ggiraasi ng’akka empolampola; ku nkomerero aluma ng’omusota, wa busagwa ng’essalambwa.”  Engero 23:31-32

Ewalala kyogerwa nti,

“Amagezi ge gazimba ennyumba, n’okutegeera kwe kugigumiza. Olw’amagezi ebisenge by’ayo bijjula ebintu ebirungi.”              Engero 24:3-4

Era nti,

“Mwana wange olyanga omubisi gw’enjuki kubanga mulungi, omubisi oguva mu bisenge byagwo guwomerera.”  Engero 24:13

Era,

“Era manya nti amagezi gawoomera emmeeme yo, bw’onoogafuna onoobeera n’essuubi mu bulamu obw’omu maaso.”  Engero 24:14

Ekirala,

“Omuntu omutuukirivu ne bw’agwa emirundi omusanvu, addamu nayimuka.”  Engero 24:16

Era nti,

“Omuntu omubi talina ssuubi mu maaso, ettabaaza y’abakozi b’ebibi erizikizibwa.”  Engero 24:20

Era,

“Eky’okuddamu eky’amazima, kiri ng’okunywegerwa.”            Engero 24:26

Ekirala,

“Otulo otutinotono, n’okusumagira akatono, n’okufunya emikono okuwummulako, obwavu bulikutuukako ng’omutemu, era n’obwetaavu ng’omubi.”  Engero 24:34

Ng’olabika bulungi, ng’osanyusa ggwe omwagalwa n’obulungi bwo!

“Osenzesenze omutima gwange, mwanyinaze, omugole wange; otutte omutima gwange, ne munye y’eriiso ly’onkubye.”      Luyimba 4:9

Ebyasava bino bigyiddwa mu kitabo Luyimba ekyawandiikibwa Sulemaani. Oluwombo luno lilimu ebitontome bingi ebiri mu ngeri y’ennyimba ebyogera ku mukwano wakati w’omusajja ne mukazi we. Ekitabo kino kyateekebwa mu byawandiikibwa ebitukuvu, okulaga enteekateeka ya Katonda gyalina eri abantu ku nsonga y’okufumbiriganwa.

Omwagalwa ayogera nti,

“Leka annywegere n’emimwa gye kubanga okwagala kwo kusinga wayini, n’amafuta go gawunya akaloosa akalungi; erinnya lyo liri ng’amafuta agattululwa, era abawala kyebava bakwagala.”  Luyimba 1:2

Era nti,

“Amatama go galabika bulungi ng’oyambadde ebikomo eby’oku matu, n’ensingo yo nerabika bulungi ng’erimu eby’omu bulago eby’omuwendo.”  Luyimba 1:10

“Muganzi wange ali ng’ensawo eya kaloosa aka mooli gye ndi, ng’awummulidde mu kifuba kyange.”  Luyimba 1:13

Era nti,

“Laba, oli mubalagavu, omwagalwa wange oli mubalagavu olabika bulungi.”  Luyimba 1:15

Era omwagalwa ayogera nti,

“Ng’omucungwa mu miti egy’omu kibira, aŋŋanza bw’ali bw’atyo mu bavubuka. Neesiima okutula mu kisiikirize kye, n’ekibala kye kimpomera .”  Luyimba 2:3

Era akuutira abawala ba Yerusaalemi nti,

“Temusisimula newaakubadde okuzuukusa okwagala okutuusa nga kweyagalidde .”  Luyimba 2:7b

Era boogeraganya nti,

“Ndaga amaaso go, ka mpulire eddoboozi lyo, kubanga eddoboozi lyo ddungi nnyo, n’amaaso go gasanyusa.”  Luyimba 2:14b

Ewalala omwagalwa ayogera nti,

“Ekiro kyonna nga ndi ku kitanda kyange, nalindirira emmeeme yange gw’eyagala.”  Luyimba 3:1

Era nti bweyanoonya eno neri, yaliko beyayisa nalyoka alaba omwagalwa,

“Twali twakayisiŋŋanya, ne ndaba oyo emmeeme yange gw’eyagala. Ne munnywegera ne simuganya kugenda, okutuusa lwe namuleeta mu nnyumba ya mmange, ne mutwala mu kisenge ky’oyo eyanzala.”  Luyimba 3:4

Era kyogerwa nti,

“Temusisimula newaakubadde okuzuukusa okwagala okutuusa nga kwesiimidde.”  Luyimba 3:5b

Olunaku lw’embaga ya Sulemaani, kyogerwa nti,

“Mufulume…mulabe ku Kabaka Sulemaani…ku lunaku olw’embaga ye, ku lunaku omutima gwe kwe gwasanyukira”  Luyimba 3:11

Owoomukwano, ayogerwako nti,

“Ng’olabika bulungi, gwe njagala, laba ondabikidde bulungi. Amaaso go mayiba mu lugoye mwogabisse.”  Luyimba 4:1

“Ng’olabika bulungi wenna, omwagala wange, toliiko bbala na limu.”  Luyimba 4:7

Era nti,

“Osenzesenze omutima gwange, mwanyinaze, omugole wange; otutte omutima gwange, ne munye y’eriiso ly’onkubye, n’omukuufu ogumu ogw’omu bulago bwo.”  Luyimba 4:9

“Ng’okwagala kwo kulungi mwanyinaze, omugole wange, okwagala kwo nga kusinga nnyo wayini, n’akawoowo ak’amafuta go kasinga eby’akawoowo eby’engeri zonna obulungi.”  Luyimba 4:10

Ayongerako nti,

“Akaloosa ak’ebyambalo byo kali ng’akawoowo ak’e Lebanooni.”  Luyimba 4:11b

Era nti,

“Oli nsulo ya nnimiro oluzzi olw’amazzi amalamu, olukulukuta okuva mu Lebanooni.”  Luyimba 4:15

Abemikwano bakubirizibwa nti,

“Abemikwano mulye munywe, munywere ddala, mmwe abaagalana.”  Luyimba 5:1c

Eri omwagalwa kyogera nti,

“Omutima gwange gwasanyuka bwe nnawulira eddoboozi lye.”  Luyimba 5:6b

Eri Abawala ba Isirayiri abakuutira nti,

“Mmwe abawala be Yerusaalemi, mbakuutira nti bwe mulaba ku muganzi wange, mumutegeeze ng’okwagala kwange gy’ali bwe kunzita.”  Luyimba 5:8

Era emikwano kimubuuza nti,

“Owange, kiki muganzi wo ky’alina kyasinza abalungi abalala ggwe omukazi akira abalala obulungi.”  Luyimba 5:9

Era abanukula nti,

“Muganzi wange alabika bulungi nnyo…omutwe gwe gwa zaabu ennongoose ennyo; n’enviiri ze zirimu amayengo, era nzirugavu nga nnamuŋŋoona.”  Luyimba 5:10-11

Era nti,

“Enjogera ye mpomerevu, weewaawo awamu n’ebyo byonna ayagalibwa.”  Luyimba 5:16

“Muganzi wange, wange, nange ndi wuwe.”  Luyimba 6:3

“Tontunuulira nnyo kubanga amaaso go gantawanya.”  Luyimba 6:5

Abemikwano bebuuza nti,

“Ani ono alabika ng’emmambya, omulungi ng’omwezi, atangalijja ng’enjuba, alina ekitiibwa ng’eky’emunnyeenye?”  Luyimba 6:10

Owoomukwanono ayogera nti,

“Ebigere byo nga birabika bulungi mu ngatto, ggwe omumbejja!”  Luyimba 7:1

Era nti,

“Ng’olabika bulungi, ng’osanyusa ggwe omwagalwa n’obulungi bwo.”  Luyimba 7:6

Abawala ba Yerusaalemi bakuutira nate nti,

“Mmwe abawala ba Yerusaalemi mbakuutira, temusiikuula newaakubadde okuzuukusa okwagala okutuusa ng’ekiseera ekituufu kituuse.”  Luyimba 8:4

Omwagalwa ayogera nti,

“Nteeka ng’akabonero ku mutima gwo, era ng’akabonero ku mukono gwo, kubanga okwagala kwa maanyi ng’okufa, obuggya bwakwo buli ng’obusungu obw’emagombe. Kwaka ng’ennimi ez’omuliro, omuliro ogwaka n’amaanyi ennyo.”  Luyimba 8:6

Era nti,

“Amazzi amangi tegamalaawo nnyonta ya kwagala n’emigga tegiyinza kukumalawo.”  Luyimba 8:7

 

Wummula ggwe emmeeme yange, kubanga Mukama abadde mulungi gy’oli

“Ebisuubizo byo nga bimpoomera nnyo! Biwoomera akamwa kange okusinga omubisi gw’enjuki. Mubiragiro byo mwe nfunira okutegeera; kyenva nkyawa ekkubo lyonna ekyamu. Ekigambo kyo ttaala eri ebigere byange, era kye kimulisa ekkubo lyange.Zabbuli 119:103-105

Ekijjulo kyaffe leero kivudde mu:  Zabbuli 111-118;                                  1 Bassekabaka 1-2, Zabbuli 37, 71, 94;  Zabbuli 119:1-88;                      1 Bassekabaka 3-4, 2 Ebyomumirembe 1; Zabbuli 72;               Zabbuli 119:89-176

Nga tujjako akawuwo, tusose kubega  Zabbuli 111-118:

Tukulubirizibwa okutendereza Mukama, kubanga,

“Byakola byonna bya bwesigwa era bya bwenkanya; n’amateeka ge gonna ga bwesigwa, manywevu emirembe gyonna; era yagassawo nga ga bwesigwa era nga ga mazima.”  Zabbuli 111:7-8

Era kirambikibwa nti,

“Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera era abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu.”  Zabbuli 111:10

Bwe tweyongerayo, kyogerwa nti,

“Alina omukisa omuntu atya Katonda, era asanyukira ennyo mu mateeka ge.”  Zabbuli 112:1

Era nti,

“Abaana be baliba ba kitiibwa mu nsi; omulembe gw’abalongoofu guliweebwa omukisa. Ennyumba ye enejjulanga ebintu n’obugagga obungi; era anaabanga mutukirivu ennaku zonna.”  Zabbuli 112:2-3

Ekiralala nti,

“Ne mu kizikiza, ekitangaala kyakira omulongoofu.”  Zabbuli 112:4

Era nti,

“Omuntu oyo agabira abeetaga, era tawolera magoba, era akola emirimu gye gyonna n’obwenkanya, alifuna ebirungi.”            Zabbuli 112:5

“Amawulire amabi tegaamutiisenga, kubanga omutima gwe munywevu gwesiga Mukama.”  Zabbuli 112:7

Mu kibego ekirala tukutirwa nti,

“Mutendereze Mukama! Mumutendereze, mmwe abaweereza be, mutendereze erinnya lya Mukama.”  Zabbuli 113:1

Era nti,

“Enjuba weeviirayo okutuusa bw’egwa, erinnya lya Mukama litenderezebwenga.”  Zabbuli 113:3

Era tulaba okubuuza nti,

“Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe, atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka eri waggulu ennyo.”  Zabbuli 113:5

Kubanga,

“Abaavu abayimusa n’abaggya mu nfuufu; n’abali mu kwetaaga n’abasitula ng’abaggya mu vvu, n’abatuuza wamu n’abalangira.”  Zabbuli 113:7-8

Era nti,

“Omukazi omugumba amuwa abaana, n’abeera mu maka ge n’ezzadde lye ng’ajjudde essanyu.”  Zabbuli 113:9

Ewalala, kyogera kuzadde lya Isirayiri nga bavudde e Misiri nti,

“Yuda n’afuuka omutukuvu wa Katonda, Isirayiri n’afuuka amatwale ge.”  Zabbuli 114:2

Era nti,

“Ennyanja bwe yabalaba n’edduka; Omugga Yoludaani ne gudda emabega. Ensozi ne zibuukabuuka ng’endiga zisseddume.”  Zabbuli 114:3-4

Era kyogerwa nti,

“Kankana, ggwe ensi, mu maaso ga Mukama, mu maaso ga Katonda wa Yakobo, eyafuula olwazi ekidiba eky’amazzi, n’olwazi olugumu n’aluggyamu ensulo ez’amazzi.”  Zabbuli 114:7-8

Ewalala, kyatulwa nti,

“Si ffe, Ayi Mukama, si ffe. Wabula erinnya lyo lye ligwana okuwebwanga ekitiibwa, olw’okwagala kwo n’olwobwesigwa bwo.” Zabbuli 115:1

Ennyumba ya Isirayiri ekuutirwa nti,

“Mmwe ennyumba ya Isirayiri mwesigenga Mukama, ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.” Zabbuli 115:9

“Mmwe abamutya mwesigenga Mukama, ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.” Zabbuli 115:11

Ewalala kyogerwa nti,

“Mukama alabirira abantu abaabulijjo; bwe nnali mu buzibu obunene, n’andokola.” Zabbuli 116:6

Era nti,

“Wummula ggwe emmeeme yange, kubanga Mukama abadde mulungi gy’oli.” Zabbuli 116:7

“Kubanga gwe, ayi Mukama, owonyezza omwoyo gwange okufa, n’amaaso gange ogawonyezza okukaaba; n’ebigere byange n’obiwonya okwesittala.” Zabbuli 116:8

Ku birungi Mukama byakola, kyogerwa nti,

“Mukama ndimusasula ntya olw’ebirungi bye ebingi bwe bityo by’ankoledde.” Zabbuli 116:12

Ku kufa kw’abatukuvu, tutegezebwa nti,

“Okufa kw’abatukuvu ba Mukama kwa muwendo nnyo eri Mukama.” Zabbuli 116:15

Era nti,

“Ayi Mukama, onsumuluddeko ebyansiba n’onfuula wa ddembe, nange nnaakuweerezanga ennaku zonna.” Zabbuli 116:16

Ewalala ensi zonna ziragibwa okutendereza Mukama, kubanga,

“Kubanga okwagala kwe okutaggwaawo kungi gye tuli; n’obwesigwa bwa Mukama bwa lubeerera.” Zabbuli 117:2

Ewalala kyogerwa nti,

“Bwe nnali mu nnaku empitirivu, nakoowoola Mukama, n’annyanukula, n’agimponya. Mukama ali ku ludda lwange, siriiko kyentya.” Zabbuli 118:5-6

Era nti,

“Kirungi okwesiga Mukama okusinga okwesiga omuntu.” Zabbuli 118:8

Bwetugendako mu 1 Bassekabaka 1-2, tulaba nga Adoniya mutabani wa Dawudi akola omupango okwefuula kabaka. Nabbi Nasani, nabbirako Basuseba nnyina wa Sulemani. Era namuwa amagezi agende ensonga eyo agitegeze kabaka Dawudi. Era Basuseba yayogera nti,

“Kaakano mukama wange kabaka, amaaso ga Isirayiri gatunuulidde gwe, okubategeeza anaatuula ku ntebe y’obwakabaka eya mukama wange kabaka, oluvannyuma lwe.”        1 Bassekabaka 1:20

Era Dawudi ebigambo ebyo bwe byamuggwa mu matu, nayogera nti,

“Nga Mukama bw’ali omulamu eyannunula mu buli kabi konna; era nga bwe nakulayirira mu maaso ga Mukama, Katonda wa Isirayiri, Sulemaani mutabani wo y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era y’alituula ku ntebe yange ey’obwakabaka mu kifo kyange.”  1 Bassekabaka 1:29

Era Dawudi nawa ekiragiro Kabona Zadoki, Nasani nnabi ne Benaya nti,

“Mutwale abaweereza ba mukama wammwe, mwebagaze Sulemaani mutabani wange ennyumbu yange, mumuserengese e Gikoni. Zadoki Kabona ne Nasani nnabbi bamufukireko eyo amafuta okuba kabaka wa Isirayiri. Mufuuwe ekkondeere era muleekaane nti, Kabaka Sulemaani awangale.1 Bassekabaka 1:33

Era Benaya mutabani wa Yekoyaada n’addamu nti,

“Mukama nga bwe yabeeranga ne mukama wange kabaka, abeere ne Sulemaani okufuula entebe ye ey’obwakabaka ey’ekitiibwa n’okusinga entebe ey’obwakabaka eya mukama wange Dawudi.”     1 Bassekabaka 1:37

Era n’abakungu ne bagamba Dawudi nti,

“Katonda wo afuule erinnya lya Sulemaani ekkulu n’okusinga eriryo era n’entebe ye ey’obwakabaka enkulu n’okusinga eyiyo!”        1 Bassekabaka 1:47

Dawudi bwe yali anatera okufa nabulirira mutabani we Sulemaani ng’amukuutira nti,

“Nze ŋŋenda bonna ab’omu nsi gye bagenda, kale beera n’amaanyi era n’obuvumu, era tambuliranga mu makubo ga Mukama Katonda wo ng’okwatanga ebiragiro bye, era okwatenga amateeka ge, n’ebiragiro bye n’ebyo by’ayagala, nga bwe byawandiikibwa mu mateeka ga Musa, olyoke obeerenga n’omukisa mu byonna by’onookolanga na buli gy’onoogendanga yonna .”   1 Bassekabaka 2:2-3

Bwe tuva awo tuddako mu Zabbuli 37,71 ne 94. Era Dawudi ayogera nti,

“Weesigenga Mukama okolenga bulungi, onooberanga n’emirembe mu nsi n’ofuna ebirungi.Zabbuli 37:3

Era nti,

“Sanyukiranga mu Mukama, anaakuwanga omutima gwo bye gwetaaga. By’okola byonna byesigamyenga ku Mukama; mwesigenga, anaakukpleranga ky’oyagala.Zabbuli 37:4-5

“Siriikirira awali Mukama, ogumiikirize ng’olindirira ky’anaakola. Tofangayo ng’abalala bafunye ebirungi nga bayita mu kutetenkanya kwabwe okubi.Zabbuli 37:7

Ayongerako nti,

“Tonyiiganga era weewale ekiruyi; teweerariliikiriranga kubanga bivaamu bibi byereere.Zabbuli 37:8

Ku bintu, Dawudi ayogera nti,

“Ebitono omutuukirivu by’alina bisinga obugagga bw’ababi abangi.Zabbuli 37:16

Era nti,

“Ennaku z’abataliiko kya kunenyezebwa, zimanyibwa Mukama, era omugabo gwabwe gunaabanga gwa lubeerera.Zabbuli 37:18

“Mu biro eby’enjala banakkusibwanga.Zabbuli 37:19b

Ku babi ayogera nti,

“Ababi beewola, ne batasasula; naye abatuukirivu basaasira era bagaba bingi.Zabbuli 37:21

Ku ntambula y’omuntu agamba nti,

“Mukama bw’asanyukira ekkubo ly’omuntu, aluŋŋamya entambula ye. Ne bw’aneesittalanga, taagwenga wansi kubanga omukono gwa Mukama gumuwanirira.Zabbuli 37:23-24

Era nti,

“Nnali muto kati nkaddiye, naye sirabanga batuukirivu nga balekeddwa ttayo, wadde abaana baabwe nga basabiriza ekyokulya.Zabbuli 37:25

“Lindirira Mukama n’okugumiikiriza, otambulirenga mu makubo ge; naye alikugulumiza n’akuwa ensi.Zabbuli 37:34

Era nti,

“Tunuulira ataliiko kya kunenyezebwa, wekkaanye oyo omulongoofu; obulamu bwe bunajjulanga emirembe.”            Zabbuli 37:37

“Obulokozi bw’abatuukirivu buva eri Mukama; ye ky’ekigo kyabwe ekinywevu gye baddukira mu kiseera eky’emitawaana.”        Zabbuli 37:39

Ewalala kyogerwa nti,

“Mu ggwe, Ayi Mukama, mwe neekweka, tondeka kuswazibwa.Zabbuli 71:1

Era nti,

“Akamwa kange kanaayogeranga ku bikolwa byo eby’obutuukirivu obudde okuziba; nnaayogeranga ku bulokozi bwo wadde siyinza kubupima.Zabbuli 71:15

Ewalala, kibuzibwa nti,

“Oyo eyatonda okutu tawulira? Oyo eyakola eriiso talaba? Oyo akangavvula amawanga taakubonereze? Oyo ayigiriza abantu talina ky’amanyi?.Zabbuli 94:9-10

Ku kugunjula kwa Mukama, kyogerwa nti,

“Ayi Mukama, alina omukisa oyo gw’ogunjula, gw’oyigiriza eby’omu mateeka go.Zabbuli 94:12

Era nti,

“Singa Mukama teyali mubeezi wange, omwoyo gwange gwandiserengese emagombe.Zabbuli 94:17

Kyongerako nti,

“Naye Mukama afuuse ekiddukiro kyange eky’amaanyi; ye Katonda wange, era Olwazi lwange mwe neekweka.Zabbuli 94:22

Bwe tuva awo tugendako mu Zabbuli 119:1-88. Era munyanjuluza, kyogerwa nti,

“Balina omukisa abo abatambulira mu butuukirivu; abatambulira mu mateeka ga Mukama.Zabbuli 119:1

Ku ntambula y’omuvubuka, kyebuzibwa nti,

“Omuvubuka anaakuumanga atya ekkubo lye nga ttereevu? Anaalikuumanga ng’agoberera ekigambo kyo nga bwe kiri.Zabbuli 119:9

Era kyongerwako nti,

“Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange; ndyoke nneme okwonoona.Zabbuli 119:11

Ku biragiro bya Mukama, kyogerwa nti,

“Nsanyukira okugondera ebiragiro byo, ng’asanyukira ebyobugagga..Zabbuli 119:14

Era nti,

“Amateeka go lye ssanyu lyange, era ge gannuŋŋamya.”        Zabbuli 119:24

“Nnyweredde ku biragiro byo, Ayi Mukama, tondeka kuswazibwa.” Zabbuli 119:31

Era tulaba okusaba nti,

“Okyuse omutima gwange ogulaze eri ebyo bye walagira; so si eri eby’okufuna ebitaliimu.” Zabbuli 119:36

“Kyusa amaaso gange galeme okunneegombesa ebitaliimu; obulamu bwange obufuule obuggya ng’ekigambo kyo bwe kiri.” Zabbuli 119:37

Era kyogerwa nti,

“Nzisaamu nnyo ekitiibwa ebiragiro byo era mbyagala. Nnaafumiitirizanga ku mateeka go.” Zabbuli 119:48

Era nti,

“Ekiwummuza omutima gwange nga ndi mu bulumi kye kisuubizo kyo ekimpa obulamu.” Zabbuli 119:50

Kyongerako nti,

“Olw’okukugonderanga nfunye emikisa gyo mingi.” Zabbuli 119:56

Era nti,

“Nzuukuka mu ttumbi okukwebaza, olw’ebiragiro byo ebituukirivu.” Zabbuli 119:62

Era tulaba okusaba nti,

“Njigiriza okumanya n’okwawula ekirungi n’ekibi, era ompe okumanya; kubanga nzikiririza mu mateeka go.” Zabbuli 119:66

Era nti,

“Emikono gyo gye gyankola ne gimmumba, mpa okutegeera ndyoke njige amateeka go.” Zabbuli 119:73

Bwe tuva awo tuddako mu 1 Bassekabaka 3-4, 2 Ebyomumirembe 1 ne Zabbuli 72. Era mu kibego kino, tulaba nga Sulemaani kabaka ayagala Mukama.

“Sulemaani n’ayagala Mukama, ng’atambulira mu mateeka ga Dawudi kitaawe, newaakubadde nga yaweerangayo ssaddaaka era ng’ayotereza n’obubaane ku bifo ebigulumivu.1 Bassekabaka 3:3

Sulemaani yalabikirwa Mukama mu kirooto e Gibyoni, Katonda n’amugamba nti,

“Saba ky’oyagala kyonna kye mba nkuwa.1 Bassekabaka 3:5b

Mu kuddamu, Sulemaani yayogera nti,

“Ndi mwana muto era simanyi ngeri ya kuddukanyaamu mirimu gyange. Omuddu wo ali wakati mu bantu bo be walonda, eggwanga ekkulu, eritalabika. Kale omuddu wo muwe amagezi okufuganga abantu bo, njawulenga ekirungi n’ekibi: kubanga ani ayinza okufuga eggwanga lyo lino ekkulu?1 Bassekabaka 3:7b-9

Essala eno yasanyusa Mukama, eya n’agamba Sulemaani nti,

“N’akola kyosabye. Nzija kukuwa omutima omugezi era omutegeevu, so tewalibeerawo eyali akwenkana oba alikwenkana. Era ndikuwa, ne by’otasabye: obugagga n’ekitiibwa waleme kubeerawo kabaka akwenkana mu kiseera kyo.”                  1 Bassekabaka 3:12

Bwe wayiyawo akaseera, Sulemaani yasala omusango, era tutegezebwa nti,

“Isirayiri yonna bwe yawulira okusalawo kwa kabaka, ne beewuunya kabaka, kubanga baalaba ng’alina amagezi okuva eri Katonda okulamula ensonga .1 Bassekabaka 3:28

Era kyogerwa nti,

“Mu mirembe gya Sulemaani, Yuda ne Isirayiri yonna, okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba buli muntu yalina emirembe, era ng’alina ennimiro ye ey’emizabbibu n’ey’emitiini.”                              1 Bassekabaka 4:25

Era nti,

“Katonda n’awa Sulemaani amagezi n’okutegeera kungi nnyo n’obugunjufu bungi, ng’omusenyu oguli ku mabbali g’ennyanja.”   1 Bassekabaka 4:29

Bwe tuvako awo tuddayo kko mu Zabbuli 119:89-176. Mu kibego ekisooka kyogerwa nti,

“Obwesigwa bwo tebuggwaawo emirembe gyonna.Zabbuli 119:90

Kubiragiro bya Mukama kyogerwa nti,

“Siyinza kwerabira biragiro byo; kubanga mu ebyo obulamu bwange mw’obufuulidde obuggya.Zabbuli 119:93

Era nti,

“Ebintu byonna biriko we bikoma naye amateeka go tegakugirwa.Zabbuli 119:93

Era amateeka ga Mukama gogerwako nti,

“Amateeka go ganfuula mugezi okusinga abalabe bange, kubanga ge gannuŋŋamya bulijjo.Zabbuli 119:98

“Ntegeera okusinga abasomesa bange bonna, kubanga nfumiitiriza nnyo ebyo bye walagira. Ntegeera okusinga abakadde; kubanga ŋŋondera ebyo bye walagira .”                  Zabbuli 119:99-100

Era nti,

“Ebisuubizo byo nga bimpoomera nnyo! Biwoomera akamwa kange okusinga omubisi gw’enjuki. Mubiragiro byo mwe nfunira okutegeera; kyenva nkyawa ekkubo lyonna ekyamu. Ekigambo kyo ttaala eri ebigere byange, era kye kimulisa ekkubo lyange.Zabbuli 119:103-105

“Ebiragiro byo gwe mugabo gwange emirembe gyonna; weewaawo, ebyo bye bisanyusa omutima gwange.Zabbuli 119:111

“Ggwe kiddukiro kyange era ggwe ngabo yange; essubi lyange liri mu kigambo kyo.Zabbuli 119:114

Kyongerwako nti,

“Onyooma abo bonna abaleka ebiragiro byo; weewaawo obugezigezi bwabwe tebuliimu kantu.Zabbuli 119:118

Era nti,

“Ndi muddu wo, mpa okwawula ekirungi n’ekibi.Zabbuli 119:125

“Ebigambo byo bwe binnyonnyolwa bireeta omusana; n’atategeera bulungi bimugeziwaza.Zabbuli 119:130

“Oluŋŋamye ebigere byange ng’ekigambo kyo bwe kiri, era tokkiriza kibi kyonna kunfuga.Zabbuli 119:133

“Ontunuulire, nze omuddu wo, n’amaaso ag’ekisa.Zabbuli 119:135

Era nti,

 

“Ngolokoka bunatera okukya ne nkukaabirira onnyambe; essuubi lyange liri mu kigambo kyo.Zabbuli 119:147

“Abakola ebibi obulokozi bubabeera wala.Zabbuli 119:155

Era nti,

“Nsanyukira ekisuubizo kyo okufaanana ng’oyo afunye obugagga obungi.Zabbuli 119:162

“Abo abaagala anateeka go bali mu ddembe lingi; tewali kisobola kubeesittaza.Zabbuli 119:165

 

Mukama alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde

“Amaaso g’abantu bonna gatunuulira ggwe, ayi Mukama, era bonna gw’obawa ebyokulya mu biseera byabyo. Oyanjuluza engalo zo, ebiramu byonna n’obigabira bye byetaaga ne bikkuta.Zabbuli 145:15-16

Oluwombo lwa leero mulimu ebirungo okuva mu:  2 Samwiri 22- 23, Zabbuli 57;  Zabbuli 95, 97-99;  2 Samwiri 24, 1 Ebyomumirembe 21-22,  Zabbuli 30;  Zabbuli 108-110;  1 Ebyomumirembe 23-25; Zabbuli 131, 138-139, 143-145;  1 Ebyomumirembe 26-29; Zabbuli 127.

Mu kwanjuluza, tusose kulya ku 2 Samwiri 22- 23, Zabbuli 57.

Tulaba Dawudi ng’ayimba oluyimba:

“Mukama lwe lwazi lwange, era ekigo kyange era omulokozi wange; Katonda wange lwe lwazi lwange, omwo mwe neekweka, ye ngabo yange era amaanyi ge bwe bulokozi.”  2 Samwiri 22:2-3

Era Dawudi ayogera nti,

“Amayengo ag’okufa ganzingiza; embuyaga ez’okusaanawo zansaanikira.”  2 Samwiri 22:5

Wabula mumbeera eyo, Dawudi atutegeza nti,

“Mu nnaku yange nakoowoola Mukama; nakoowoola Katonda wange. Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye; n’okukaaba kwange kwamutuukako.”  2 Samwiri 22:8

Tulaba nga Mukama amuddukirira. Dawudi kwe kwogera nti,

“Yasinzira waggulu n’antwala n’ansika mu mazzi amangi.”                2 Samwiri 22:17

Dawudi kyava atutegeza nti,

“Eri abeesigwa weeraga okuba omwesigwa; n’eri abatalina musango ne weeraga obutaba na musango; eri omulongoofu weeraga okuba omulongoofu n’eri omukujjukujju ne weeraga okuba omukujjukujju okumusinga.”  2 Samwiri 22:26-27

Dawudi ayongera okwegera ku Mukama nti,

“Oli ttaala yange, Ayi Mukama era Mukama wange yammulisiza mu nzikiza yange.”  2 Samwiri 22:29

Era nti,

“Ku lulwe mpangula eggye, era ku lwa Katonda wange mbuuka bbugwe.”  2 Samwiri 22:30

Ayongerako nti,

“Ekkubo lya Katonda golokofu, n’ekigambo kye kituukirira; era ngabo eri abo bonna abaddukira gy’ali.”  2 Samwiri 22:31

Era nti,

“Anteekateeka okulwana entalo, era n’ansobozesa okulasa obusaale obw’ebikomo.”  2 Samwiri 22:35

“Ogaziyizza ekkubo mwe mpita, n’obukongovvule bwange tebukoonagana.”  2 Samwiri 22:37

“Mukama mulamu! Olwazi lwange yeebazibwe. Agulumizibwe Katonda wange, olwazi lwange, era obulokozi bwange.”  2 Samwiri 22:47

Bwe tuva awo tulaba ebigambo bya Dawudi eby’ekomerero. Ebigambo bye byogerwako biti,

“Ebigambo eby’omusajja eyagulumizibwa, Aliwaggulu ennyo, Katonda wa Yakobo gwe yafukako amafuta, omuyimbi wa Zabbuli za Isirayiri.”  2 Samwiri 23:1

Era Dawudi agamba nti,

“Omwoyo wa Mukama yayogerera mu nze, ekigambo kye kyali mu kamwa kange.2 Samwiri 23:2

Mu Zabbuli 57, Dawudi agamba nti,

“Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda, omutima gwange munywevu. Nnaakutenderezanga n’ennyimba.” Zabbuli 57:7

Era Dawudi awa ensonga ey’okutendereza Katonda,

“Kubanga okwagala kwo kungi nnyo, kutuuka ne ku ggulu; n’obwesigwa bwo butuuka ku bire.” Zabbuli 57:10

Bwe tuddako mu Zabbuli 95, 97-99. Tuyitibwa nti,

“Mujje tuyimbire Mukama; tuyimbire waggulu n’essanyu nga tutendereza Mukama olwazi olw’obulokozi bwaffe.” Zabbuli 95:1

Era nti,

“Mujje tusinze tuvuuname mu maaso ge; tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe. Kubanga ye Katonda waffe, naffe tuli bantu ab’omu ddundiro lye, era tuli ndiga ze z’alabirira.” Zabbuli 95:6-7

Ewalala tutegezebwa nti,

“Mukama afuga; ensi esanyuke…! Obutukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’entebe y’obwakabaka bwe.” Zabbuli 97:1a,2b

Era nti,

“Ensozi zisaanuuka ng’envumbo awali Mukama, mu maaso ga Mukama ow’ensi yonna.” Zabbuli 97:5

Era tutegezebwa nti,

“Abo abaagala Mukama bakyawa ekibi, akuuma obulamu bw’abamwesiga, n’abawonya okuva mu mukono gw’omukozi w’ebibi.” Zabbuli 97:10

Era nti,

“Omusana gwe gwakira abatuukirivu, n’abalina omutima ogw’amazima bajjula essanyu.” Zabbuli 97:11

Mu Zabbuli 98, tulagirwa nti,

“Muyimbire Mukama oluyimba oluggya, kubanga akoze eby’ekitalo. Omukono gwe ogwa ddyo, era omukono omutukuvu, gumuwadde obuwanguzi.” Zabbuli 98:1

Mu Zabbuli 99, tutegezebwa nti,

“Mukama afuga amawanga gakankane.” Zabbuli 99:1

Era nti,

“Musa ne Alooni baali bamu ku bakabona be; ne Samwiri yali mu abo abaakoowoolanga erinnya lye; baasabanga Mukama n’abaanukula.” Zabbuli 99:6

Era nti,

“Ayi Mukama Katonda waffe, wabaanukulanga; n’obeeranga Katonda asonyiwa eri Isirayiri, newaakubadde wababonerezanga olw’ebikolwa byabwe ebibi.” Zabbuli 99:8

Bwe tuva awo tuddako mu 2 Samwiri 24. Era tulaba nga Dawudi abala eggye lye. Tutegezebwa nti,

“Awo Mukama n’asunguwalira Isirayiri nate, n’aleetera Dawudi okubabala.2 Samwiri 24:1

Ekintu ekyo nno Yawaabu yakyesitalako era nagamba Dawudi nti,

“Mukama Katonda wo ayongere ku bantu bo emirundi kikumi n’okusingawo, nga kabaka akyali mulamu. Naye kiki ekikukoza ekintu bwe kityo mukama wange kabaka?.2 Samwiri 24:3

Wabula tutegezebwa nti ekigambo kya kabaka Dawudi kyasinza amanyi, era bantu ne babalibwa. Wabula bwe yawebwa omuwendo gw’abantu, tutegezebwa nti,

“Naye Dawudi n’akeŋŋeentererwa emmeeme olw’ekikolwa ekyo eky’okubala abantu. N’agamba Mukama nti, nnyonoonye nnyo olw’ekyo kye nkoze. Kaakano, Ayi Mukama Katonda nziggyako omusango guno omuddu wo gw’azizza, kubanga nkoze eky’obusirusiru.2 Samwiri 24:10

Mukama nasaba Dawudi ng’ayita mu nnabbi Gaadi, alondeko kimu kubisatu Mukama bye yali yetegese okukola olw’ekibi ekyo. Dawudi yaddamu nti,

“Nsobeddwa nnyo; wakiri tugwe mu mukono gwa Mukama Katonda, kubanga okusasira kwe kungi; okusinga okugwa mu mikono gy’abantu.2 Samwiri 24:14

Wabula tutegezebwa nti,

“Malayika bwe yagolola omukono gwe eri Yerusalemi okukizikiriza, Mukama ne yejjusa olw’ekikolwa ekyo, n’agamba malayika eyabonereza abantu nti, Kinaamala, toyoongera nate.2 Samwiri 24:16

Era tulaba nga Dawudi alagibwa okuzimbira Mukama ekyoto mu kifo Katonda we yakomerako malayika we. Nannyini kifo ekyo bwe yali nga ayagala kukiwa Dawudi bwerere, Dawudi n’agaana era n’amuddamu nti,

“Sijja kuwaayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wange, nga sisasulidde muwendo.2 Samwiri 24:24

Bwetuddako mu Zabbuli 30, Dawudi ayogera nti,

“Ayi Mukama, nakukaabirira onnyambe, n’omponya.Zabbuli 30:2

Era awa ensonga ey’okutendereza Mukama,

“Kubanga obusungu bwe bwa kiseera buseera, naye obulungi bwe bwa mirembe gyonna.Zabbuli 30:5a

Era nti,

“Amaziga gayinza okubaawo ekiro kyokka essanyu ne lijja nga bukedde.Zabbuli 30:5b

Ayongerako nti,

“Ofudde okwaziirana kwange amazina; onnyambuddemu ebibukutu, n’onyambaza essanyu.Zabbuli 30:11

Era n’olwekyo, Dawudi agamba nti,

“Omutima gwange gulemenga kusirika busirisi, wabula gukuyimbirenga ennyimba ez’okukutenderezanga.Zabbuli 30:12

Ewalala, Zabbuli 108-110, Dawudi ayogera nti,

“Muzuukuke, mmwe entongooli n’ennanga ey’enkoba, nzija kuyimba okukeesa obudde.Zabbuli 108:2

Era Dawudi awa ensonga lwaki ayimbira Mukama; kubanga,

“Okwagala kwo kunene, kutumbiira okutuuka ku ggulu; n’obwesigwa bwo butuuka ku bire.Zabbuli 108:4

Era Dawudi asaba nti,

“Tudduukirire nga tulwanyisa abalabe baffe, kubanga obuyambi bw’abantu temuli nsa.Zabbuli 108:12

Ayongerako nti,

“Bwe tunaabeeranga ne Katonda tunaabanga bawanguzi; kubanga y’anaalinnyiriranga abalabe baffe wansi w’ebigere bye.Zabbuli 108:13

Kw’oyo atakolera bantu bya kisa, Dawudi agamba nti,

“Yayagalanga nnyo okukolima; kale ebikolimo bimwefuulire. Teyayagalanga mikisa; kale gimwesambire ddala!Zabbuli 109:17

Era Dawudi asaba nti,

“Mbeera, Ayi Mukama Katonda wange! Ondokole ng’okwagala kwo okutaggwaawo bwe kuli.Zabbuli 109:26

Ewalala tutegezebwa nti,

“Mukama anaakulwaniriranga; bakabaka abakulwanyisa anaababetentanga mu busungu bwe obungi.Zabbuli 110:5

Bwe tuva awo tugendako mu 1 ebyomumirembe 23-25. Era tulaba nga Dawudi afuula Sulemaani kabaka era nga abala Abalevi.

“Awo Dawudi bwe yawangaala ennyo n’akaddiwa emyaka mingi n’afuula Sulemaani mutabani we okuba kabaka wa Isirayiri.1 Ebyomumirembe 23:1

Bwe tuddayo kko mu Zabbuli 131, 138-139, ne 143-145, Dawudi ayogera nti,

“Ayi Mukama siri wa malala, so n’amaaso gange tegeegulumiza. siruubirira bintu binsukiridde…Zabbuli 131:1

Ayongerako nti,

“Naye ŋŋonzezza emmeeme yange era ngisiriikirizza ng’omwana bw’asiriikirira nga nnyina amuggye ku mabeere.Zabbuli 131:2

Awalala Dawudi ayogera nti,

“Kubanga wagulumiza ekigambo kyo n’erinnya lyo okusinga ebintu byonna.Zabbuli 138:2b

Era agamba nti,

“Newaakubadde nga Mukama asukkulumye, naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala.Zabbuli 138:6

Ayongerako nti,

“Mukama alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde.Zabbuli 138:8

Ewalala Dawudi ayogera nti,

“Bwe ntuula omanya, ne bwe ngolokoka omanya; era otegeera byonna bye ndowooza, ne bwe mbeera ewala ennyo.Zabbuli 139:2

Era nti,

“Ekigambo kye nnaayogera, Ayi Mukama, okimanya nga sinnaba na kukyogera.Zabbuli 139:4

Bwatyo n’agamba nti,

“Okumanya okw’engeri eyo kunsukkiridde, era nkwewuunya nnyo, kunnema okutegeera.Zabbuli 139:6

Era nti,

“Naye ekizikiza gy’oli tekiba kizikiza, ekiro kyakaayakana ng’emisana; kubanga gy’oli ekizikiza n’omusana bifaanana.Zabbuli 139:12

Era nti,

“Ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange. Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri ey’entiisa era ey’ekitalo.Zabbuli 139:13b-14

“Wandaba nga si natondebwa. Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera zawandiikibwa mu kitabo kyo.Zabbuli 139:16

“By’ondowooleza nga bya muwendo munene, Ayi Katonda! Omuwendo gwabyo munene! Singa ngezaako okubibala bisinga omusenyu obungi.Zabbuli 139:17-18

Ewalala agamba nti,

“Abakukyawa, ayi Mukama nange mbakyawa.Zabbuli 139:21

Dawudi asaba nti,

“Nkebera, ayi Katonda, otegeere omutima gwange. Ngezesa omanye ebirowoozo byange. Olabe obanga mu nze mulimu engeri yonna enkyamu; era onkulembere mu kkubo erintuusa mu bulamu obutaggwaawoZabbuli 139:24

Ewalala, Dawudi asaba nti,

“Tonsalira musango kubanga mu maaso go tewali n’omu atuukiridde.Zabbuli 143:2

Era nti,

“Ngolola emikono gyange gy’oli, ne nkuyaayaanira ng’ettaka ekkalu bwe liyaayaanira enkuba.Zabbuli 143:6

“Obudde nga bukedde, nsaba ondage okwagala kwo okutaggwaawo; kubanga ggwe gwe neesiga. Njigiriza ekkubo lye nsaana okutambuliramu.Zabbuli 143:8

Ewalala, Dawudi agamba nti,

“Atemderezebwe Mukama, olwazi lwange, atendeka emikono gyange okulwana, era ateekerateekera engalo zange olutalo.Zabbuli 144:1

Era yebuuza nti,

“Ayi Mukama, omuntu kye ki ggwe okumufaako, oba omwana w’omuntu, ggwe okumulowoozaako?Zabbuli 144:3

Asaba nti,

“Mwansa abalabe basaasaane, era lasa obusaale bwo obazikirize.Zabbuli 144:6

Era nti,

“Batabani baffe mu buvubuka bwabwe, Ayi Mukama, babeere ng’ebisimbe ebikulidde ddala obulungi, ne bawala baffe babe ng’empagi ennungi ez’oku nsonda okuzimbirwa ennyumba ya kabaka mu lubiri.Zabbuli 144:12

“Balina omukisa abantu abo abalina Katonda waabwe nga ye Mukama.Zabbuli 144:15b

Ku bwakabaka bwa Mukama, Dawudi agamba nti,

“Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera, n’obufuzi bwo bwa mirembe na mirembe. Mukama by’ayogera byonna bya bwesigwa, n’ebikolwa bye bijjudde okusaasira.Zabbuli 145:13

Ku bulungi bwa Mukama, Dawudi agamba nti,

“Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa, era ayimusa bonna abagwa.Zabbuli 145:14

Era nti,

“Amaaso g’abantu bonna gatunuulira ggwe, ayi Mukama, era bonna gw’obawa ebyokulya mu biseera byabyo. Oyanjuluza engalo zo, ebiramu byonna n’obigabira bye byetaaga ne bikkuta.Zabbuli 145:15-16

Ayongerako nti,

“Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola; abo bonna abamukoowoola mu mazima. Abo bonna abamussaamu ekitibwa abawa bye baagala.Zabbuli 145:18-19

Bwe tuddayo kko mu 1 Ebyomumirembe 26-29, tulaba nga Dawudi ayalambika enteekateeka ku bikwata ku yekaalu. Era nga yaŋŋaanya abakungu bonna aba Isirayiri. Yayimirira nayogera nti,

“Mumpulirize baganda bange era abantu bange. Nnali nteseeteese mu mutima gwange okuzimbira essanduuko ey’endagaano ya Mukama n’entebe ey’ebigere bya Katonda, ennyumba, era nga nentegeka eyaayo ewedde okukolebwa.1 Ebyomumirembe 28:2

Era yayongerako nti,

“Naye Katonda n’aŋŋamba nti, tolizimbira linnya lyange nnyumba, kubanga oli mutabaazi wa ntalo era wayiwa omusaayi.1 Ebyomumirembe 28:3

Era nti,

“Mu batabani bange bonna, kubanga Mukama ampadde bangi, Sulemaani mutabani wange gwalonze okutuula ku ntebe ey’obwakabaka bwa Mukama mu Isirayiri.1 Ebyomumirembe 28:5

Bwatyo Dawudi nakutiira Sulemaani nti,

“Era Sulemaani mutabani wange tegeera Katonda wa kitaawo, omuweerezenga n’omutima gumu n’emmeeme yo yonna, kubanga Mukama akebera emitima, era ategeera okufumitiriza okw’ebirowoozo. Bw’onoomunoonyanga, onoomulabanga, naye bw’onoomulekanga, anaakuvangako emirembe gyonna.1 Ebyomumirembe 28:9

Era tutegezebwa nti,

“Awo emitwe gy’ennyumba, n’abataka b’ebika bya Isirayiri, n’abaduumizi ab’olukumi n’ab’ekikumi, n’abakungu abaavunaanyizibwanga emirimu gya kabaka, ne beewaayo awatali kuwalirizibwa.1 Ebyomumirembe 29:6

Era nti,

“Abantu ne basanyukira nnyo okwewaayo abakulembeze baabwe kwe beewaayo, kubanga baawaayo n’omutima ogutuukiridde eri Mukama. Ne kabaka Dawudi n’asanyuka nnyo nnyini.1 Ebyomumirembe 29:9

Ebyo nga biwedde, Dawudi asaba essala ng’agamba nti,

“Weebazibwe, Ayi Mukama Katonda, Katonda wa jjajjaffe Isirayiri, emirembe n’emirembe.1 Ebyomumirembe 29:10

“Obukulu, n’amaanyi, n’ekitiibwa, n’obuwanguzi, n’okugulumizibwa bibyo, ayi Mukama Katonda kubanga byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi bibyo.1 Ebyomumirembe 29:11

“Obugagga n’ekitiibwa biva gy’oli, era ggwe ofuga ebintu byonna.1 Ebyomumirembe 29:12

Era nti,

“Byonna biva gy’oli, era tukuwadde ku bibyo. Ffe tuli bagenyi era abatambuze mu maaso go, nga bajjajjaffe bonna bwe baali, n’ennaku zaffe ez’okunsi ziri ng’ekisiikirize, awatali ssuubi.1 Ebyomumirembe 29:14

Dawudi ayongerako nti,

“Ayi Mukama… okuume omuliro ogwo mu mitima gy’abantu bo emirembe gyonna, era emitima gyabwe ginywerere ku gwe.1 Ebyomumirembe 29:18

Era tulaba nga Sulemaani atikirwa okuba kabaka.

“Awo Sulemaani mutabani wa Dawudi n’akakasibwa nga kabaka omulundi ogw’okubiri, era n’afukibwako amafuta mu maaso ga Mukama okuba omukulembeze ne Zadoki okuba kabona.1 Ebyomumirembe 29:22b

Era tutegezebwa nti,

“Mukama n’agulumiza nnyo Sulemaani mu maaso ga Isirayiri yenna, era n’aweebwa ekitiibwa eky’obwakabaka ekyali kitaweebwanga kabaka mulala yenna mu Isirayiri.1 Ebyomumirembe 29:25

Tutegezebwa ku kufa kwa Dawudi,

“N’afa ng’akaddiye nnyo, ng’ajjudde essanyu olw’emyaka gye yamala ku nsi, mu bugagga ne mu kitiibwa, era Sulemaani mutabani we n’amusikira.1 Ebyomumirembe 29:28

Bwe tuddayo mu Zabbuli tulaba Sulemaani nga ayimba nti,

“Mukama bw’atazimba nnyumba, abo abagizimba bazimbira bwereere. Mukama bw’atakuuma kibuga, abukuumi bateganira bwereere.Zabbuli 127:1

Era nti,

“Oteganira bwereere bw’okeera mu makya n’okola, ate n’olwawo n’okwebaka ng’okolerera ekyokulya; kubanga Mukama abaagalwa be abawa otulo.Zabbuli 127:2

Ku baana ab’obulenzi ayogera nti,

“Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri Mukama; era abaana mpeera gy’agaba okuva gy’ali. Ng’obusale bwe bubeera mu mukono gw’omulwanyi, n’abaana abalibwa mu buvubuka bw’omuntu bwe bali bwe batyo.Zabbuli 127:3-4

Ayi Katonda tukwatirwe ekisa, era otwakize amaaso go

“Ayi Katonda, omanyi obusirusiru bwange, n’okusobya kwange tekukukwekeddwa. Sisaana kuswaza abo abakwesiga, Ayi Mukama, Mukama ow’Eggye. Abo abakunoonya baleme kuswazibwa ku lwange.Zabbuli 69:5-6

Ebya ssava byaffe leero biggyiddwa mu:  Zabbuli 65-67, 69-70;  2 Samwiri 11-12, 1 Ebyomumirembe 20; Zabbuli 32, 51, 86, 122;  2 Samwiri 13-15;  Zabbuli 3-4, 12-13, 28,55;  2 Samwiri 16-18;     Zabbuli 26, 40,58,61-62, 64;  2 Samwiri 19-21; Zabbuli 5, 38, 41-42

Mu kusosootoola, tutandikira mu Zabbuli ya Dawudi eya 65.

Dawudi ayogera ku Katonda nti,

“Osanira okutenderezebwa, Ayi Katonda, ali mu Sayuuni; tunaatuukiririzanga obweyamo bwaffe gy’oli.”  Zabbuli 65:1

Era nti,

“Alina omukisa omuntu oyo gw’olonda n’omusembeza okumpi naawe, abeerenga mu mpya zo. Tunaamalibwanga ebirungi eby’omu nnyumba yo; eby’omu yeekaalu yo entukuvu.”         Zabbuli 65:4

Ayongerako nti,

“Ensi ogirabirira n’ogifukirira n’egimuka nnyo.”  Zabbuli 65:9

Era nti,

“Ofundikira omwaka n’amakungula amangi…Zabbuli 65:11

Ewalala Dawudi okutegeza nti,

“Yimbira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka, ggwe ensi yonna. Muyimbe ekitiibwa ky’erinnya lye. Mumuyimbire ennyimba ezimusuuta.Zabbuli 66:1-2

Era nti,

“Mutendereze Katonda waffe, mmwe amawanga; eddoboozi ery’okumutendereza liwulirwe wonna. Oyo y’atukuumye ne tuba balamu, n’ataganya bigere byaffe kuserera.Zabbuli 66:8-9

Era Dawudi agamba nti,

“Singa nnali nsirikidde ekibi mu mutima gwange, Mukama teyandimpulirizza.Zabbuli 66:18

Ewalala tulaba nga Katonda asabibwa nti,

“Ayi Katonda tukwatirwe ekisa, era otwakize amaaso go.Zabbuli 67:1

Bwe tweyongerayo tulaba Dawudi ng’agamba nti,

“Ayi Katonda, omanyi obusirusiru bwange, n’okusobya kwange tekukukwekeddwa. Sisaana kuswaza abo abakwesiga, Ayi Mukama ow’Eggye. Abo abakunoonya baleme kuswazibwa ku lwange.Zabbuli 69:5-6

Era Dawudi asaba nti,

“Onnyanukule, Ayi Mukama olw’obulungi bw’okwagala kwo; onkyukire olw’kusaasira kwo okungi.Zabbuli 69:16

Eri abalabe be, Dawudi asaba nti,

“Bawanduukululwe mu kitabo ky’obulamu, baleme kulabika ku lukalala lw’abatuukirivu.Zabbuli 69:28

Ku ngeri Katonda gy’atunuliramu ettendo lyaffe, Dawudi agamba nti,

“Nnaatennderezanga erinnya lya Katonda nga nnyimba, nnaamugulumizanga n’okwebaza. Kino kinaasanyusanga Mukama okusinga okumuwa ente ennume.Zabbuli 69:30-31

Ewalala, Dawudi asaba nti,

“Abo abannoonya okunzita batabulwetabulwe; abo abannoonya okunzikiriza, bagobebwe nga baswadde. Abagamba nti, kasonso, badduke nga bajjudde ensonyi.Zabbuli 70:2-3

Ekibego eky’okubiri kiva mu 2 Samwiri 11-12 ne 1 Ebyomumirembe 20. Era nga mukutandika tulaba okwenda kwa Dawudi ku Basuseba. Emboozi egenda eti,

“Olunaku lumu, mu ssaawa ez’olweggulo, Dawudi n’agolokoka, n’atambulatambula ku kasolya ak’olubiri lwe. N’asinzira waggulu eyo n’alengera omukazi ng’anaaba, era omukyala yali mulungi mubalagavu.1 Samwiri 11:2

Gy’ebyaggwera nga Dawudi yebase ne Basuseba. Era nasala amagezi okubikirira ekibi kye. Kwe kutumya bba we, Uliya. Wabula Dawudi bwe yalagira Uliya addeyo eka yetabe ne mukyala we, Uliya yamuddamu nti,

“Essanduuko ne Isirayiri ne Yuda baasigadde mu weema, ne mukama wange Yowaabu n’abaddu ba mukama wange basiisidde ku ttale. Kale nnyinza ntya okugenda mu nnyumba yange okulya n’okunywa, n’okwebaka ne mukyala wange?.1 Samwiri 11:11

Dawudi bwe yalaba ng’ekyo kiganye, nasalawo atte Uliya. Era nasindikira Yowaabu ebbaluwa ng’egamba nti,

“Uliya muteeke mu maaso ddala olutalo we luli olw’amaanyi, mumwabulire, afumitibwe afe.1 Samwiri 11:15

Tutegezebwa nti Basuseba yakungubagira mwami we Uliya. Oluvanyuma tutegezebwa nti,

“Okukungubaga bwe kwaggwa, Dawudi n’amutumya, n’amuleeta mu nnyumba ye, n’afuuka mukyala we, n’amuzaalira omwana owoobulenzi. Naye ekigambo ekyo Dawudi kye yakola ne kitasanyusa Mukama.1 Samwiri 11:27

Bwe wayitawo ebbanga, Mukama yatuma Nasani eri Dawudi okumunenya. Era Nasani bwe yamunyumiza emboozi ekwata kumusajja eyeyisa obubi, Dawudi yasunguwala era nayogera nti,

“Mukama nga bwali omulamu, omusajja akoze ekintu bwe kityo ateekwa okusasula emirundi ena olw’ekikola ekyo, kubanga talina kusaasira, era asaanira attibwe..1 Samwiri 12:5-6

Wabula Nasani naddamu Dawudi nti,

“Omusajja oyo ye ggwe1 Samwiri 12:7

Era Mukama yatuusa obubaka bwe ku Dawudi ng’ayita mu Nasani. Mukama yategeza Dawudi byonna bye yali amutusizaako, era nayongerako nti,

“Ebyo singa byali tebimala nandikwongedde bingi n’okusingawo. Kiki ekikunyoomezza ekigambo kya Mukama, n’okukola n’okola ekibi bwe kityo mu maaso ge? Watta Uliya Omukiiti n’ekitala, n’otwala mukyala we n’omufuula owuwo.1 Samwiri 12:8-9

Era Mukama n’agamba Dawudi nti,

“Laba, ndireeta ekikolimo mu nnyumba yo, ne nzirira bakyala bo ng’olaba ne mbawa muliraanwa wo, ne yeebaka nabo emisana. Wakikola mu kyama, naye nze ndikikola mu maaso ga Isirayiri yenna, emisana.1 Samwiri 12:11-12

Nasani ayongerako nti,

“Kale Mukama aggyeewo ekyonoono kyo era toofe. Naye olw’ekikolwa ekyo, oleetedde abalabe ba Mukama okumunyooma, omwana anaakuzaalirwa kyanaava afa.1 Samwiri 12:13

Tulaba Dawudi ng’asiiba era ng’asaba, wabula omwana bwe yafa, Dawudi ate nalya emmere gye yali aganye. Kino nno kye wunyisa abaddu be. Mu kubaddamu yabagamba nti,

“Omwana we yabeerera omulamu, n’asiiba ne nkaaba, nga ndowooza nti, Ani amanyi, Mukama ayinza okunsaasira, omwana n’aba mulamu?1 Samwiri 12:22

Nga wayisewo ebbanga tutegezebwa nti,

“Dawudi n’akubagiza mukyala we Basuseba, ne yeetaba naye, n’aba olubuto, n’azaala omwana wabulenzi, ne bamutuuma sulemaani, Mukama n’amwagala.1 Samwiri 12:24

Bwe tuva awo tuddako mu Zabbuli. Era Dawudi ayogera nti,

“Alina omukisa oyo asonyiyiddwa ebyonoono bye ekibi ne kiggyibwawo. Alina omukisa omuntu oyo Mukama gw’atakyabalira kibi kye, ne mu mutima gwe nga temuli bukuusa.Zabbuli 32:1-2

Dawudi era ayogera nti,

“Bwe nasirikiranga ekibi kyange, ne nkogga, kubanga nasindanga olunaku lwonna.Zabbuli 32:3

Ku Mukama agamba nti,

“Oli kifo kyange mwe nneekweka, ononkuumanga ne situukwako kabi era ononneetoolozanga ennyimba ez’obulokozi.Zabbuli 32:7

Awundikira nti,

“Ababi balaba ennaku nnyingi; naye abeesiga Mukama bakuumirwa mu kwagala kwe okutaggwawo.Zabbuli 32:10

Ewalala, tulaba Zabbuli eya 51, Dawudi ggy’eyawandiika ng’amaze okutwala Basuseba n’okutemula bba, Uliya. Mukwanjuluza, Dawudi asaba nti,

“Onsasire, Ayi Mukama ggwe alina okwagala okutaggwawo. Olw’okusaasira kwo okungi nziggyaako ebyonoono byange byonna.Zabbuli 51:1

Era  nti,

“Nnaazaako obutali butuukirivu bwange, ontukulize ddala okuva mu kibi kyange.Zabbuli 51:2

Ayongerako nti,

“Ggwe wennyini ggwe nnyonoonye, ne nkola ebitali bya butukirivu mu maaso go ng’olaba.Zabbuli 51:4

Era nti,

“Ddala, nazaalibwa mu kibi; kasookedde ntondebwa mu lubuto lwa mmange ndi mwonoonyi.Zabbuli 51:5

Era yegayirira Mukama nti,

“Ontondemu omutima omulongoofu, ayi Katonda, era onteekemu omwoyo omulungi munda yange. Tongoba w’oli, era tonzigyako Mwoyo wo Omutukuvu. Onkomezeewo essanyu ery’obulokozi bwo, era ompe omutima ogugondera by’oyagala.Zabbuli 51:10-12

Era nti,

“Ssaddaaka Katonda gy’ayagala gwe mwoyo ogutegedde okusobya kwagwo. Omutima ogumenyese era oguboneredde, Ayi Katonda, toogugayenga.Zabbuli 51:17

Awalala, Dawudi agamba nti,

“Mu bakatonda bonna tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama; era teriiyo akola bikolwa ng’ebibyo. Ayi Mukama amawanga gonna ge watonda ganajjanga mu maaso go ne gakusinza era ne bagulumiza erinnya lyo ery’ekitiibwa.Zabbuli 86:8-9

Era Dawudi asaba nti,

“Onjigirize ekkubo lyo, Ayi Mukama, ntambulirenga mu mazima go; ompe omutima omunywevu ogutasagasagana, ntyenga erinnya lyo.Zabbuli 86:11

Ewalala, Dawudi ayogera nti,

“Nasanyuka bwe baŋŋamba nti, tugende mu nnyumba ya Mukama.Zabbuli 122:1

Ku Yelusaalemi agamba nti,

“Musabirenga Yerusalemi emirembe: Abo abakwagala bafune ebirungi..Zabbuli 122:6

Bwe tweyongerayo tuddako mu 2 Samwiri 13-15. Era mukutandika tutegezebwa nti,

“Abusaalomu, mutabani wa Dawudi yalina mwannyina omulungi, omubalagavu erinnya lye Tamali…2 Samwiri 13:1

Tulaba nga Tamali akwatibwa mugandawe Amunoni. Kino nno oluvannyuma kyavirako Amunoni okuttibwa Abusalomu

Bwe tweyongerayo, tulaba ng’obulungi bwa Abusaalomu bw’ogerwako nti,

“Mu Isirayiri yonna temwali n’omu eyatenderezebwa nga abusaalomu olw’endabika ye ennungi, kubanga okuviira ddala ku mutwe okutuuka ku bigere teyaliiko kamogo.2 Samwiri 14:25

Ebya ddirira, Abusaalomu yayagala okufuulibwa Kabaka nga Dawudi kitawe akyali mulamu era n’ewabawaawo olutalo.

Bwe tuva awo tuddayo kko mu Zabbuli 3-4, 12-13, 28, 55.

Dawudi asaba bwe yali adduse Abusaalomu mutabani we nti,

“Naye ggwe, Ayi Mukama, ggwe ngabo yange enkuuma; ggwe kitiibwa kyange, era gw’onzizaamu amaanyi.Zabbuli 3:3

Ewalala, Dawudi agamba nti,

“Nnagalamira ne nneebaka mirembe; kubanga ggwe wekka, ayi Mukama, ggwe ondabirira akabi ne katantuukako.Zabbuli 4:8

Ku bigambo bya Mukama, Dawudi agamba nti,

“Ebigambo bya Mukama bya bwesigwa era bya mazima. Bigeraageranyizibwa n’effeeza erongoosebbwa obulungi emirundi musanvu mu kyoto eky’ebbumba.Zabbuli 12:6

Era Dawudi ayogera ewalala nti,

“Neesiga okwagala kwo okutajjulukuka; era omutima gwange gunaasanyukiranga mu bulokozi bwo. Nnaayimbiranga Mukama, kubanga ankoledde ebirungi.Zabbuli 13:5-6

Ewalala, agamba nti,

“Mukama ge maanyi gange, era ye ngabo yange, ye gwe neesiga. Bwe ntyo ne nyambibwa. Omutima gwange gunaajaguzanga, ne mmuyimbira ennyimba ez’okumwebazanga.” Zabbuli 28:7

Ewalala, tulaba Dawudi ng’ayogera nti,

“Singa omulabe wange y’abadde anvuma, nandikigumiikirizza; singa oyo atakkiriziganya nange y’annumbaganye n’anduulira, nandimwekwese. Naye ggwe munnange, bwe tuyita, era mukwano gwange ddala! Gwe twabanga naye mu ssanyu ng’abooluganda, nga tutambulira mu kibiina ekinene mu nnyumba ya Katonda.” Zabbuli 55:12-14

Bwe tuddayo kko mu 2 Samwiri 16-18. Tulaba Dawudi ng’aduuse mutabani we Abusaalomu. Era tulaba ng’akolimirwa Simeeyi.

“Fuluma, vva wano, ggwe omusajja eyasaaba omusaayi, era ataliiko bw’ali! Mukama akusasudde olw’omusaayi gwonna gwe wayiwa mu nnyumba ya Sawulo, gwe waddira mu bigere. Mukama obwakabaka abugabidde mutabani wo Abusaalomu. Laba ekikutuusizza kw’ekyo, kubanga engalo zo zijjudde omusaayi .” 2 Samwiri 16:7

Abisaayi bwe yayagala okumutta, Dawudi namukomako era agamba nti,

“Bw’aba ng’ankolimira kubanga Mukama ye yamugambye nti, kolimira Dawudi, ani ayinza okubuuza nti, kiki ekikukoza bw’otyo?” 2 Samwiri 16:10

Tulaba Dawudi ng’alagira abadumizi bamaggye ge nti,

“Omuvubuka Abusaalomu mumukwate n’ekisa ku lwange.” 2 Samwiri 18:5b

Bwe tuddayo kko mu Zabbuli, Dawudi asaba Mukama amwejjereze ng’agamba nti,

“Kubanga okwagala kwo kwe kunkulembera, era mumazima go mwe ntambulira.Zabbuli 26:3

Awalala, Dawudi agamba nti,

“Nalindirira Mukama n’obugumiikiriza, n’antegera okutu, n’awulira okukoowoola kwange. N’anziggya mu kinnya eky’entiisa, n’annyinyula mu bitosi, nanteeka ku lwazi olugumu kwe nyimiridde.Zabbuli 40:1-2

Era nti,

“Anjigiriza oluyimba oluggya, oluyimba olw’okutenderezanga Katonda waffe.Zabbuli 40:3

Ayongerako nti,

“Nsanyukira okukola ky’oyagala, Ayi Katonda wange, kubanga amateeka go gali mu mutima gwange.Zabbuli 40:8

Era nti,

“Ndi mwavu, eyeetaaga ennyo. Mukama ondowoozeeko. Tolwawo, ayi Katonda wange. Ggwe mubeezi wange era omulokozi wange.Zabbuli 40:17

Ewalala, Dawudi asaba nti,

“Onkulembere ontuuse ku lwazi olusinga obuwanvu mwe nyinza okwekweka.Zabbuli 61:2b

Dawudi ewalala ayatula nti,

“Emmeeme yange ewummulira mu Katonda yekka; oyo obulokozi bwange mwe buva. Ye yekka, lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange; ye kye kigo kyange siinyeenyezebwenga n’akatono.Zabbuli 62:1-2

Era nti,

“Emmeeme yange ewummulire mu Katonda yekka; kubanga mu ye mwe muli essubi lyange.Zabbuli 62:5

Era nti,

“Temuyitirira okwewaanirawaanira mu bugagga bwammwe ne bwe bweyongeranga, era temubumalirangako mwoyo gwammwe.Zabbuli 62:10

Awalala Dawudi agamba nti,

“Omutuukirivu ajagulizenga mu Mukama, era yeekwekenga mu ye.Zabbuli 64:10

Bwe tuddayo kko mu 2 Samwiri, Dawudi akabira mutabani we Abusaalomu eyali attiddwa nti,

“Mutabani wange Abusaalomu! Woowe Abusaalomu mutabani wange!2 Samwiri 19:4b

Wabula ekyo tekyasanyusa Yowaabu omudumizi w’amaggye ge. era namunenya nti,

“Oyagala abakukyawa ate n’okyawa abakwagala. Leero okikakasizza ng’abaduumizi n’abaweereza si kitu gyoli.”                    2 Samwiri 19:6

Era Yowaabu nakkomekkereza Dawudi nti,

“Kale nno golokoka ogende ogumye emyoyo gy’abaweereza bo, kubanga nkulayirira eri Mukama, nga bwe wataabeewo musajja n’omu anaasigala naawe ekiro kya leero. Ekyo kye kirisingako obubi okusinga obubi bwonna bwe wali olabye okuva mu buto bwo.”    2 Samwiri 19:7

Bwe tuddayo mu Zabbuli, Dawudi agamba nti,

“Ayi Mukama, buli nkya owulira eddoboozi lyange; buli nkya ndeeta gy’oli okusaba kwange, ne nnindirira onziremu.”         Zabbuli 5:3

Era nti,

“Ab’amalala era abakola ebibi tobeetaaga mu maaso go: kubanga okyawa abakola ebibi bonna.”  Zabbuli 5:5

Kubamwesiga asaba nti,

“Naye leka abo bonna abakwesiga basanyukenga; ennaku zonna bayimbenga n’essanyu, obakuumenga.”  Zabbuli 5:11

Era nti,

“Ayi Mukama, omutuukirivu omuwa omukisa; era omukuuma, n’omwetoolooza okwagala ng’engabo.”  Zabbuli 5:12

Ewalala, Dawudi agamba nti,

“Alina omukisa asaasira omunaku; Mukama amulokola ku lunaku olw’akabi. Mukama anaamukuumanga anaawonyanga obulamu bwe, era anaamuwanga omukisa mu nsi.Zabbuli 41:1-3

Era Dawudi ayogera nti,

“Atenderezebwenga Mukama Katonda wa Isirayiri, oyo eyabaawo okuva edda n’edda lyonna n’okutuusa emirembe gyonna. Amiina era Amiina.Zabbuli 41:13

Awalala, Dawudi agamba nti,

“Ng’empeewo bw’ewejjawejja olw’amazzi, n’emmeeme yange bw’etyo bwe wejjawejja ku lulwo, Ayi Katonda. Emmeeme yange eyaayaanira Katonda, Katonda omulamu.Zabbuli 42:1-2

Era Dawudi yebuuza nti,

“Lwaki oweddemu amaanyi ggwe emmeeme yange? Lwaki otabusetabuse mu nda yange? Essuubi lyo liteeke mu Katonda…Zabbuli 42:5

Era nti,

“Mukama alaga okwagala kwe emisana n’ekiro ne muyimbira oluyimba; y’essaala eri Katonda w’obulamu.Zabbuli 42:8

 

Alina omukisa omuntu atatambulira mu kuteesa kw’ababi

“Lekerawo okwatulanga amateeka gange, n’endagaano yange togyogerangako. Kubanga okyawa okuluŋŋamizibwa, n’ebigambo byange tobissaako mwoyo. Bw’olaba omubbi, ng’omukwana; era weetaba n’abenzi. Okolima era olimba; olulimi lwo lwogera ebitali bya butuukirivu. Ebyo byonna obikoze, ne nsirika, n’olowooza nti twenkanankana.Zabbuli 50:16-19,21

Ebya ssava byaffe leero biggyiddwa mu:  Zabbuli 1-2, 15, 22-24, 47, 68; Zabbuli 89, 96, 100 – 101, 105, 132; 2 Samwiri 7, 1 Ebyomumirembe 17; Zabbuli 25, 29, 33, 36, 39;  2 Samwiri 8-9, 1 Ebyomumirembe 18;  Zabbuli 50, 53, 60, 75, 20;  2 Samwiri 10, 1 Ebyomumirembe 19; 

Mu kwanjuluza, tutunulira Zabbuli ezenjawulo. Era nga tulaba omuntu awereddwa omukisa bwafanana.

Ayogerwako ati,

“Alina omukisa omuntu atatambulira mu kuteesa kw’ababi…newaakubadde okutuula n’abo abanyooma ebya Katonda.”  Zabbuli 1:1

Era nti,

“Afaanana ng’omuti ogwasimbibwa ku mabbali g’omugga, ogubala ebibala byagwo mu ntuuko zaabyo, n’ebikoola byagwo tebiwotoka. Na buli ky’akola kivaamu birungi  byereere.”      Zabbuli 1:3

Ewalala Mukama atugamba nti,

“Nsaba, nange ndikuwa amawanga gonna okuba obusika bwo, era n’ensi yonna gy’ekoma okuba amatwale go.”  Zabbuli 2:8

Era tutegezebwa nti,

“Bonna abaddukira gy’ali balina omukisa.Zabbuli 2:12c

Ewalala Dawudi yebuuza nti, muntu ki ayinza okubeeranga mu nnyumba ya Mukama. Wabula addamu nti:

“Oyo ataliiko kya kunenyezebwa, akola eby’obutukirivu, era ayogera eby’amazima nga biviira ddala mu mutima gwe.Zabbuli 15:2

Era nti,

“Olulimi lwe talwogeza bya bulimba, era mikwano gye tagiyisa bubi, so tasaasaanya ŋŋambo ku baliraanwa be.Zabbuli 15:3

Era nti,

“Anyooma ababi, naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa. Atuukiriza ky’asuubiza ne bwe kiba nga kimulumya.Zabbuli 15:4

Amaliliza nti,

“Oyo akola ebyo aliba munywevu emirembe gyonna.Zabbuli 15:5b

Awalala Dawudi ayogera ku kuyisibwamu amaaso n’okuduulirwa kwe yasisinkana. Bamugamba nti

“Yeesiga Mukama; kale amuwonye. Obanga Mukama amwagala, kale nno amulokole!Zabbuli 22:8

Era Dawudi asaba nti,

“Nzigya mu kamwa k’empologoma, omponye amayembe g’embogo enkambwe.Zabbuli 22:21

Era Dawudi akubiriza abatya Mukama nti,

“Mwe abatya Mukama, mumutenderezenga. Abaana ba Yakobo mwenna mumugulumizenga; era mumussengamu ekitiibwa nga mumutya, mwe abaana ba Isirayiri mwenna.Zabbuli 22:23

Ewalala Dawudi ayogera ku Mukama nga bwali omusumba we:

“Mukama ye Musumba wange, seetaagenga. Antwala awali amazzi amateefu. Annuŋŋamya okukola eby’obutukirivu olw’erinnya lye.Zabbuli 23:1,2b,3

Era nti,

“Onsosootolera emmere abalabe bange nga balaba.Zabbuli 23:5

Awalala, Dawudi agamba nti,

“Ensi ya Mukama n’ebigirimu byonna, n’ensi zonna n’abo abazibeeramu.Zabbuli 24:1

Era Dawudi alagira enzigi ez’edda okwegulawo Kabaka ow’ekitiibwa ayingire. Era ayogera ku Kabaka ono nti,

“Kabaka ow’ekitiibwa ye ani? Ye Mukama Ow’amaanyi era ow’obuyinza, omuwanguzi mu ntalo.Zabbuli 24:8

Era nti,

“Kabaka ow’ekitiibwa ye ani? Mukama Ayinzabyonna; oyo ye Kabaka ow’ekitiibwa.Zabbuli 24:10

Awalala, batabani ba Koola balagira amawanga nti,

“Mukube mu ngalo mmwe amawanga gonna; muyimuse amaloboozi muyimbire nnyo Katonda ennyimba ez’essanyu.Zabbuli 47:1

Era nti,

“Mumutendereze Katonda, mumutendereze. Mumutendereze Kabaka waffe, mumutendereze..Zabbuli 47:6

Kubanga,

“Katonda afuga amawanga gonna; afuga amawanga ng’atudde ku ntebe ye entukuvu.Zabbuli 47:8

Awalala Dawudi ayimba nti,

“Katonda agolokoke, abalabe be basaasaane, n’abo abamukyawa bamudduke.Zabbuli 68:1

Era ayongerako enyiriri nti,

“Muyimbire Katonda, muyimbe nga mutendereza erinnya lye; mumuyimusize amaloboozi gammwe oyo atambulira mu bire. Erinnya lye ye Mukama, mujagulize mu maaso ge.Zabbuli 68:4

Kubanga,

“Ye Kitaawe w’abataliiko bakitaabwe, ye mukuumi wa bannamwandu; ye Katonda abeera mu kifo kye ekitukuvu…aggya abasibe mu kkomera n’abagaggawaza.Zabbuli 68:5,6b

Era ayimba nti,

“Atenderezebwe Mukama, Katonda omulokozi waffe, eyeetikka emigugu gyaffe egya buli lunaku. Katonda waffe ye Katonda alokola; era tuddukira eri Mukama Katonda okuwona okufa.Zabbuli 68:19-20

Ku ndagaano ya Katonda ne Dawudi, Dawudi agamba nti,

“Nnaayimbanga ku kwagala kwo okungi, Ayi Mukama, emirembe gyonna. Nnaatenderezanga obwesigwa bwo n’akamwa kange, bumanyibwe ab’emirembe gyonna.Zabbuli 89:1

Ayongerako nti,

“Katonda atiibwa nnyo mu lukiiko olw’abatukuvu; era wa ntiisa okusinga bonna abamwetooloola.Zabbuli 89:7

Era nti,

“Eggulu liryo, n’ensi yiyo; ensi yonna gwe wagitonda ne byonna ebigirimu.Zabbuli 89:11

Ayongerako nti,

“Obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’obwakabaka bwo. Okwagala n’obwesigwa bye binaakukulemberanga.Zabbuli 89:14

Era nti,

“Balina omukisa abantu abamanyi okukutendereza Mukama n’amaloboozi ag’essanyu.Zabbuli 89:15

Era nti,

“Kubanga gw’obawa amaanyi ne bafuna ekitiibwa. Olw’okwagala kwo otutuusa ku buwanguzi olw’ekisa kyo.Zabbuli 89:17

Era Dawudi ayogera ku Mukama bye yamusuubiza bweyagamba nti,

“Obwesigwa bwange n’okwagala kwange kunaabanga naye, ne mu linnya lyange aneeyongeranga okuba ow’amaanyi.Zabbuli 89:24

Era Dawudi abuuza nti,

“Muntu ki omulamu atalifa, omuntu asobola okwewonya okufa n’awangula amaanyi g’emagombe?Zabbuli 89:48

Awalala tulagirwa nti,

“Muyimbire Mukama; mutendereze erinnya lye, mulangirire obulokozi bwe buli lukya.Zabbuli 96:2

Kubanga,

“Asaana okutiibwa okusinga bakatonda bonna. Kubanga bakatonda bonna abakolebwa abantu bifaananyi bufaananyi, naye Mukama ye yakola eggulu.Zabbuli 96:4-5

Era nti,

“Mugulumize Mukama mu ngeri esaanira erinnya lye; muleete ekiweebwayo mujje mu mbuga ze..Zabbuli 96:8

Awalala, Dawudi agamba nti,

“Muwereze Mukama n’essanyu; mujje mu maaso ge n’ennyimba ez’essanyu. Mumanye nga Mukama ye Katonda; ye yatutonda, tuli babe, tuli bantu be era endiga ez’omu ddundiro lye.Zabbuli 100:2-3

Era Dawudi agamba nti,

“Nnaayimbanga ku kwagala kwo n’obutuukirivu bwo; nnaayimbiranga ggwe, Ayi MukamaZabbuli 101:1

Era nti,

“Sijjanga kuba mukuusa; ekibi nnaakyewaliranga ddalaZabbuli 101:4

Ayongerako nti,

“Atayogera mazima taabeerenga mu nnyumba yange. Omuntu alimba sirimuganya kwongera kubeera nange.Zabbuli 101:7

Ewalala kyogerwa nti,

“Emitima gy’abo abanoonya Mukama gijjule essanyu.Zabbuli 105:3b

Era tulaba obwesigwa bwa Mukama. Tutegezebwa ku Isirayiri nti,

“Teyaganya muntu yenna kubayisa bubi; n’alabulanga bakabaka ku lwabwe nti, Abalonde bange ne bannabi bange temubakolangako kabi.Zabbuli 105:14

Ku Yusufu, agamba nti,

“N’atuma omuntu okubeesooka mu maaso, ye Yusufu eyatundibwa ng’omuddu.Zabbuli 105:17

Nga baali muddungu, tutegezebwa nti,

“Yayasa olwazi, amazzi ne gatiiriika, ne gakulukuta mu ddungu ng’omugga..Zabbuli 105:41

Ayongerako nti,

“Yabawa ensi eyali ey’amawanga amalala, ne basikira ebyo abalala bye baakolerera.Zabbuli 105:44

Ku Sayuuni, Mukama agamba nti,

“Nnaakiwanga omukisa ne nkiwa n’ebirungi, era n’abaavu baamu nnaabakkusanga ebyokulya.Zabbuli 132:15

Bwetuddayo ko mu 2 Samwiri, tutegezebwa nti,

“Awo olwatuuka kabaka n’atereera mu lubiri lwe, Mukama n’amuwa okuwummula eri abalabe be bonna abaamwetooloola.” 2 Samwiri 7:1

Ekyo nga kiwedde, Mukama yajjira Nasani nnabbi namutegeza ebyali ebyokutuuka ku Dawudi. Era namutuma abibulire Dawudi. Ebimu ku byo,

“Ennyumba yo n’obwakabaka bwo birifuuka bya nkalakkalira ennaku zonna mu maaso gange, era entebe yo ey’obwakabaka erinywezebwa ennaku zonna.” 2 Samwiri 7:16

Mu kuddamu Dawudi agamba nti,

“Ng’oli mukulu, ayi Mukama Katonda! Tewali akwenkana, era tewali Katonda wabula ggwe, nga bwe twewuliridde n’amatu gaffe.” 2 Samwiri 7:22

Bwetuddayo kko mu Zabbuli, Dawudi agamba nti,

“Ddala ddala abakwesiga tebaajulirirenga.Zabbuli 25:3

Era asaba nti,

“Onjigirizenga okunywerera ku mazima go, era onkulemberenga mu byonna.Zabbuli 25:5

Era agamba nti,

“Mikwano gya Mukama be bo abamugondera; anaababikkuliranga ekyama eky’endagaano ye.Zabbuli 25:14

Awalala, Dawudi agamba nti,

“Eddoboozi lya Mukama ly’amaanyi; eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.Zabbuli 29:4

Era nti,

“Mukama awa abantu be amaanyi; Mukama awa abantu be emirembe.Zabbuli 29:11

Awalala, Dawudi ayimba nti,

“Muyimbire Mukama n’essanyu mmwe abatuukirivu; kisaanira abalongoofu okumutenderezanga.Zabbuli 33:1

Era nti,

“Ensi yonna esaana etyenga Mukama, n’abantu ab’omu mawanga gonna bamussengamu ekitiibwa.Zabbuli 33:8

Ayongerako nti,

“Lirina omukisa eggwanga eiririna Katonda nga ye Mukama waalyo.Zabbuli 33:12

Era nti,

“Tewali kabaka asobola kuwona olw’obunene bw’eggye lye; era tewali mulwanyi ayinza kuwona olw’amaanyi ge amangi.Zabbuli 33:16

Era nti,

“Tulindirira Mukama nga tulina essuubi, kubanga ye mubeezi waffe era ye ngabo yaffe.Zabbuli 33:20

Ewalala Dawudi agamba nti,

“Okwagala kwo okutaggwaawo nga tekugeraageranyizika. Kubanga gw’olina ensulo ey’obulamu, era gw’otwakiza omusanaZabbuli 36:7a, 9

Awalala Dawudi agamba nti,

“Ddala ddala omuntu ku nsi ali ng’ekisiikirize. Atawaana mu kino ne mu kiri, naye byonna butaliimu. Akuŋŋaanya obugagga, so nga tamanyi agenda kubutwala.Zabbuli 39:6

Bwe tuddayo kko mu 2 Samwiri, Dawudi abuuza nti,

“Wakyaliwo omuntu mu nnyumba ya Sawulo eyasigalawo gwe nyinza okulaga ekisa ku lwa Yonasaani?2 Samwiri 9:1

Era yatumya Ziba, eyali omuddu mu nnyumba ya Sawulo. Dawudi namubuuza nti,

“Tewaliwo muntu mu nnyumba ya Sawulo eyasigalawo gwe nyinza okukolera ebirungi olw’ekisa kya Katonda?2 Samwiri 9:3

Era Mefibosesi yazulibwa, naletebwa ewa Dawudi. Dawudi n’amugamba nti,

“Totya kubanga sireme kukukolera bya kisa ku lwa Yonasaani kitaawo. Nzija kukuddiza ettaka lyonna eryali erya jjajjaawo Sawulo, era onooliranga ku mmeeza yange.2 Samwiri 9:7

Bwe tuddayo mu Zabbuli, Asafu agamba nti,

“Eggulu litegeeza obutuukirivu bwa Katonda.Zabbuli 50:6

Era Mukama anenya abantu be nti,

“Buli nsolo ey’omu kibira yange, awamu n’ente eziri ku nsozi lukumi. Ennyonyi zonna ez’oku nsozi nzimanyi, n’ebiramu byonna eby’omu nsiko byange. Singa nnumwa enjala sandikubuulidde: kubanga ensi n’ebigirimu byonna byange.Zabbuli 50:6

Era abagamba nti,

“Owangayo ssaddaaka ey’okwebaza eri Katonda; era otuukirizanga obweyamo bwo eri oyo Ali Waggulu ennyo.Zabbuli 50:14

Era akoma ku bantu be nti,

“Lekerawo okwatulanga amateeka gange, n’endagaano yange togyogerangako. Kubanga okyawa okuluŋŋamizibwa, n’ebigambo byange tobissaako mwoyo. Bw’olaba omubbi, ng’omukwana; era weetaba n’abenzi. Okolima era olimba; olulimi lwo lwogera ebitali bya butuukirivu. Ebyo byonna obikoze, ne nsirika, n’olowooza nti twenkanankana.Zabbuli 50:16-19,21

Era nti,

“Oyo awaayo ssaddaaka ey’okwebaza angulumiza, era ateekateeka ekkubo ndyoke mulage obulokozi bwa Katonda.Zabbuli 50:23

Ewalala, Dawudi ayogera nti,

“Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti, tewali katonda. Boonoonefu, n’empisa zaabwe mbi nnyo; tewali n’omu akola kirungi.Zabbuli 53:1

Awalala, Dawudi agamba nti,

“Bwe tunaaberanga ne Katonda, tunaabanga bawanguzi, kubanga ye y’anaalinnyiriranga abalabe baffe wansi w’ebigere bye.Zabbuli 60:12

Awalala, Asafu ayimba nti,

“Okugulumizibwa tekuva mu ddungu era n’obuyinza tebuva buvanjuba wadde obugwanjuba bw’ens, wabula biva eri Katonda; era ye y’agulumiza omu ate n’atoowaza omulala.Zabbuli 75:6-7

Bwe tuddayo kko mu 2 Samwiri, tulaba Yowaabu omudumizi omukulu oweggye lya Dawudi ng’agumya abalwanyi bwe bali balumbiddwa abaana ba Amoni nti,

“Tuddemu amaanyi tulwane masajja olw’abantu baffe, n’olw’ebibuga bya Katonda waffe. Mukama Akole nga bw’asiima.2 Samwiri 10:12

Era nti,

“Guma omwoyo, tulwanirire abantu baffe n’ebibuga bya Katonda waffe n’obuzira. Mukama akole ng’okusiima kwe bwe kuli.”             1 Ebyomumirembe 19:13

Bwe tuddayo kko mu Zabbuli, Dawudi asaba nti,

“Mukama akwanukulenga ng’oli mu buzibu. Erinnya lya Katonda wa Yakobo likukuumenga.Zabbuli 20:1

Era nti,

“Akuwenga omutima gwo bye gwetaaga, era atuukirizenga by’oteejateeka byonna.Zabbuli 20:4

Era nti,

“Abamu beesiga amagali, n’abalala beesiga embalaasi, naye ffe twesiga erinnya lya Mukama Katonda waffe.Zabbuli 20:7

Mwebaze Mukama, mmwe ebitonde bye byonna ebiri mu matwale ge gonna

“Olagira omuddo ne gukula okuliisa ente, n’ebirime abantu bye balima, balyoke bafune ebyokulya okuva mu ttaka. Ne wayini okusanyusa omutima gwe, n’ebizigo okwesiiga awoomye endabika ye, n’emmere okumuwa obulamu.Zabbuli 104:14-15

Leero ebya ssava tubiggye mu: 1 Ebyomumirembe 7-10; Zabbuli 102-104; 2 Samwiri 5:1-10, 1 Ebyomumirembe 11-12; Zabbuli 133; Zabbuli 106-107; 2 Samwiri 5:11-6:23, 1 Ebyomumirembe 13-16

Mu bumpimpi, tweyongera okulaba okuzalibwa kw’Abayisirayiri nga twatandikira ku Adamu n’enyiriri  zaabwe mwe bava. Era tulaba zabbuli ezenjawulo nga era nnoonzeemu ezimu ku zo mu kijjulo kino nga bwe ntela okukola.

Ekibego ekisooka kiggyibwa mu 1 Byomumirembe, era nga tweyongera okulaba enyiriri abaaba ba Isirayiri mwe baava. Era mukiseera ekyo Ebika ebyava mu buwaŋŋanguse mu Babulooni bya baalibwa.

Tutegezebwa nti,

“Eggwanga lyonna erya Isirayiri lyabalibwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali era ne bawandiikibwa mu kitabo ky’ebyafaayo bya bassekabaka ba Isirayiri.  Olw’okukola ebibi mu maaso ga Mukama, abantu ba Yuda nabo batwalibwa mu buwaŋŋanguse. ”  1 Ebyomumirembe 9:1

Ku bakabona ababalibwa, kyogerwa nti,

“Baali basajja babuvunaanyizibwa mu buweereza bwabwe mu nnyumba ya Katonda.1 Ebyomumirembe 9:13

Tuzzibwayo kko emabega, ne tutegezebwa ku kwetta kwa kabaka Sawulo. Era kigambibwa nti,

“Bwatyo Sawulo n’afa olw’obutaba mwesigwa eri Mukama, n’obutakwata kigambo kya Mukama, ate n’okulagulwa omusamize n’amwebuzaako, mu kifo ky’okwebuuza ku Mukama. Mukama kyeyava atta Sawulo n’obwakabaka n’abuwa Dawudi mutabani wa Yese.1 Ebyomumirembe 10:13-14

Bwe tuva awo, tuddako mu Zabbuli, tulaba essala yoyo ali mubuyinike ng’era abalabe baagala ku mutta. Agamba nti,

“Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama, okkirize okukoowoola kwange kutuuke gy’oli.Zabbuli 102:1

Era alangirira nti,

“Amawanga gonna ganaatyanga erinnya lya Mukama; ne bakabaka bonna ab’ensi banaakankananga olw’ekitiibwa kyo.Zabbuli 102:15

Ku bye yatonda era byeyatekawo, agamba nti,

“Byonna biriggwawo, naye ggwe oli wa lubeerera. Byonna birikaddiwa ng’ebyambalo. Olibikyusa ng’ebyambalo, ne bisuulibwa. Naye ggwe tokyuka oli wa lubeerera n’emyaka gyo tegirikoma.Zabbuli 102:26-27

Ewalala, tulaba Zabbuli ya Dawudi eya 103. Agamba nti,

“Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange; ne byonna ebiri mu nze byebaze erinnya lye ettukuvu.Zabbuli 103:1

Ayongerako nti,

“Asonyiwa ebibi byo byonna, n’awonya n’endwadde zo zonna. Anunula obulamu bwo emagombe, nakusaasira era n’akwagala n’okwagala okutaggwawawo.Zabbuli 103:3-4

Era nti,

“Awa emmeeme yo ebintu ebirungi byeyagala; obuvubuka bwo ne budda buggya ng’empungu.Zabbuli 103:5

Era nti,

“Ng’eggulu bwe litumbidde ennyo waggulu w’ensi, n’okwagala kwe bwe kuli okunene bwe kutyo eri abo abamutya.Zabbuli 103:11

Ku nnaku z’omuntu agamba nti,

“Kale omuntu, ennaku z’obulamu bwe ziri ng’omuddo; akula n’agimuka ng’ekimuli eky’omu nnimiro.Zabbuli 103:15

Era agamba nti,

“Mukama anywezezza entebe ye ey’obwakabaka mu ggulu, n’obwakabaka bwe bufuga ensi yonna.Zabbuli 103:19

Era nti,

“Mwebaze Mukama, mmwe ebitonde bye byonna ebiri mu matwale ge gonna. Webaze Mukama ggwe emmeeme yange.Zabbuli 103:22

Ewalala obukulu bwa Mukama bwogerwako nti,

“Afuula empewo ababaka be, n’ennimi z’omuliro ogwaka abawereza be.Zabbuli 104:4

Era nti,

“Olagira ensulo ne zisindika amazzi mu biwonvu; ne gakulukutira wakati w’ensozi, Ne ganywesa ebisolo byonna eby’omu nsiko.Zabbuli 104:10

Era nti,

“Olagira omuddo ne gukula okuliisa ente, n’ebirime abantu bye balima, balyoke bafune ebyokulya okuva mu ttaka. Ne wayini okusanyusa omutima gwe, n’ebizigo okwesiiga awoomye endabika ye, n’emmere okumuwa obulamu.Zabbuli 104:14-15

Era nti,

“Wakola omwezi okutegeza ebiro; n’enjuba bw’egwa n’eraga olunaku.Zabbuli 104:19

Ku bintu ebingi ennyo Mukama bye yakola agamba nti,

“Ebyo byonna bitunuulira ggwe okubiwa emmere yaabyo ng’ekiseera kituuse.Zabbuli 104:27

Era nti,

“Bw’oyanjuluza engalo zo n’obigabira ebintu ebirungi ne bikkusibwa.Zabbuli 104:28

Era ayongerako nti,

“Nnaayimbiranga Mukama obulamu bwange bwonna; nnaayimbanga nga ntendereza Katonda wange ennaku zonna ze ndimala nga nkyali mulamu.Zabbuli 104:33

Bwe tuddakko mu 2 Samwiri, tulaba nga Dawudi afuuka kabaka wa Isirayiri. Ebika byonna ebya Isirayiri byagenda gye yaali ne bimugamba nti,

“Mu biro eby’edda, Sawulo nga kabaka waffe, gwe wakulemberanga Isirayiri mu ntalo. Era Mukama yakwogerako nti, ‘Olirunda abantu bange Isirayiri, era oliba mukulembeze waabwe.” 2 Samwiri 5:2

Oluvanyuma tutegezebwa nti,

“Dawudi ne yeeyongera nga okuba ow’amaanyi kubanga Mukama Katonda ow’Eggye yali wamu naye.” 2 Samwiri 5:10

Bwe tuddaako mu 1 Ebyomumirembe, tulaba ba Dawudi abazira. Lwali lumu Dawudi yayagala amazzi, era basajja be abasatu abazira ne bawaguza nebagamuletera. Wabula tutegezebwa nti,

“Naye Dawudi mu kifo ky’okuganywa yagawaayo ng’agafuka eri Mukama.” 1 Ebyomumirembe 11:18

Bwe tuvaawo tuddako mu Zabbuli. Era tulaba oluyimba lwa Dawudi.

“Laba bwe kiri ekirungi era nga kisanyusa, abooluganda okubeera awamu nga batabaganye. Kiri ng’amafuta ag’omuwendo omungi…Zabbuli 133:1

Bwe tuva awo, tutunulira ku Zabbuli endala. Era Zabbuli 106 eggulawo eti,

“Mumutendereze Mukama! Mwebaze Mukama kubanga mulungi, kubanga okwagala kwe tekuggwaawo emirembe gyonna.Zabbuli 106:1

Bwetweyongerayo, tulaba okusaba nti,

“Onzijukiranga, Ayi Mukama, bw’obanga okolera abantu bo ebirungi; nange onnyambe bw’olibalokola.Zabbuli 106:4

Kubulokozi bwa Mukama eri Isirayiri tutegezebwa nti,

“Naye Mukama n’abalokola olw’erinnya lye, alyoke amanyise amaanyi g’obuyinza bwe obungi.Zabbuli 106:8

Tujjukizibwa nti Isirayiri bwe yeerabira Katonda, era naye namalirira okubazikiriza, Musa yemwegayirira.

“Naye Musa, omulonde we n’ayimirira mu maaso ge n’amwegayirira, obusungu bwe ne bumuggwaako n’atabazikiriza.Zabbuli 106:23

Era tutegezebwa nti,

“Beeyonoona olw’ebyo bye baakola, ebikolwa byabwe ne bibafuula abataliimu nsa nga bavudde ku Katonda waabwe.Zabbuli 106:39

Ewalala Mukama yebazibwa.

“Mwebaze Mukama kubanga mulungi; okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.Zabbuli 107:1

Era ensonga ewebwa lwaki Mukama asaana okwebazibwa.

“Kubanga abalina ennyonta abanywesa, n’abayala abakkusa ebirungi.Zabbuli 107:9

Era tutegezebwa nti,

“Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo, n’olwebikolwa bye eby’ekitalo by’akolera abaana b’abantu!Zabbuli 107:15

Awalala tulaba kukuwonya kwa Mukama,

“Yabatumira ekigambo kye, n’awonya endwadde zaabwe; n’abalokola mu kuzikirira.Zabbuli 107:20

Era nti abaana b’abantu basaana okukola kino eri Mukama,

“Bamuleeterenga ebiweebwayo eby’okwebaza, era batendenga ebikolwa bye n’ennyimba ez’essanyu.Zabbuli 107:22

Era nti,

“Bamugulumizenga ng’abantu bakuŋŋaanye, era bamutenderezenga mu lukiiko lw’abakulu.Zabbuli 107:32

Era nti,

“Abalina amagezi bonna, bagondere ebigambo bino era bategeere okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.Zabbuli 107:43

Bwe tuddayo kko mu 2 Samwiri, tulaba essanduuko eretebwa e Yerusaalemi. Era nti,

“Dawudi n’ennyumba yonna eya Isirayiri ne bajaguliza mu maaso ga Mukama n’amaanyi gaabwe gonna, nga bayimba ennyimba nga bakuba ennanga, n’entongooli, n’ebitaasa, n’ensaasi, n’ebirala.”    2 Samwiri 6:5

Wabula Mikali, Mukyala wa Dawudi, tekyamusanyusa okulaba nga kabaka omulamba abuuka era ng’azinira mu maaso ga Mukama. Era yamunyooma. Mikali bwe yamunenya, Dawudi yamudfamu nti,

“Nakikoledde mu maaso ga Mukama eyanninda okusinga kitaawo, n’ennyumba ye yonna okuba omukulembeze w’abantu ba Mukama, Isirayiri, era nzija kujagulizanga mu maaso ga Mukama. Nzija kweyongerera ddala okweswaza, era sijja kuswala mu maaso gange, naye mu maaso g’abawala abawereza b’oyogeddeko, nnaasibwangamu ekitiibwa.”  2 Samwiri 6:21-22

Wabula emabegako, mu 1 Ebyomumirembe, essanduuko bwe yasooka okugezebwako okujiza, Uzza yatiibwa olw’okugikwatako nga yali tasanidde.

“Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Uzza, n’afiirawo, kubanga yakwata ku ssanduuko. N’afiira mu maaso ga Katonda.1 Ebyomumirembe 13:10

Ewalala, tulaba kabaka Kiramu ow’e Ttuulo ng’atuma ababaka…okuzimbira Dawudi olubiri. Tutegezebwa nti,

“Awo Dawudi n’ategeera nga Mukama amunywezezza okuba kabaka wa Isirayiri, era nga n’obwakabaka bwe bwagulumizibwa nnyo olw’abantu be Mukama Isirayiri.1 Ebyomumirembe 14:2

Dawudi yategera nti ekyattisa Uzza, kyali kubanga teyali muleevi. Era awa ekiragiro bwe yaddamu okuleta essanduuko e Yerusalemi nti,

“Tewali muntu yenna akkirizibwa kusitula essanduuko ya Katonda wabula Abaleevi, kubanga Mukama be yalonda okugisitula, era n’okumuweerezanga ennaku zonna.1 Ebyomumirembe 15:2

Ebyo nga biwedde, Dawudi alagira okwebaza Mukama mu luyimba.

“Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye, mumanyise ebikolwa bye mu mawanga. Mumuyimbire, muyimbe okumutendereza mwogere ku byamagero bye byonna.”                    1 Ebyomumirembe 16:8-9

Era nti,

“Bakatonda bonna abamawanga bifaananyi, naye Mukama ye yakola eggulu.1 Ebyomumirembe 16:29

Ayongerako nti,

“Muyimusize Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye; muleete ekiweebwayo, mujje mu maaso ge; musinze Mukama mu kitiibwa ky’obutukuvu bwe.1  Ebyomumirembe 16:26

Ompeere ddala omukisa, ogaziye ensalo yange…!

“Omubiri gwange n’omutima gwange biyinza okulemwa; naye Katonda ge maanyi g’omutima gwange, era ye wange ennaku zonna.”  Zabbuli 73:26

Ekijjulo kyaffe leero kijjudde ebya ssava okuva mu, Zabbuli 43-45, 49, 84-85, 87; 1 Ebyomumirembe 3-5; Zabbuli 73, 77-78; 1 Ebyomumirembe 6. 

Mu bumpimpi, tweyongera okulaba okuzalibwa kw’Abayisirayiri nga twatandikira ku Adamu n’enyiriri  zaabwe mwe bava. Era tulaba zabbuli ezenjawulo nga era nnoonzeemu ezimu ku zo mu kijjulo kino nga bwe ntela okukola.

Ekibego ekisooka kiri mu Zabbuli, era nga enyiriri ezimu nzinokoddeyo.

Tutandika nga waliwo asaba nti,

“Kale tuma omusana gwo n’amazima binnuŋŋamye, bindeete ku lusozi lwo olutukuvu, mu kifo mw’obeera.Zabbuli 43:3

Bwe tugenda mu maaso tulaba zabbuli ya batabani ba koola eya 44. Era bagamba nti,

“Ayi Katonda, twawulira n’amatu gaffe, bajjajjaffe baatubuulira ebyo bye wakola mu biro byabwe…Zabbuli 43:1

Bongeerako nti,

“Ekitala kyabwe si kye kyabaleetera okuwangula ensi, n’omukono gwabwe si gwe gw’abalokola; wabula baawangula n’omukono gwo ogwa ddyo awamu n’obulungi bwo, kubanga wabaagala.Zabbuli 44:3

Era nti,

“Ku lulwo tunaawangulanga abalabe baffe; ku lw’erinnya lyo tunaalinnyiriranga abalabe baffe.Zabbuli 44:5

Bongerako nti,

“Twenyumiriza mu Katonda olunaku lwonna. Era tunaatenderezanga erinnya lyo emirembe gyonna.Zabbuli 44:8

Ku lw’abantu ba Katonda okutundiibwa olw’okwonoona, bagamba nti,

“Watunda abantu bo omuwendo mutono, n’otobaako ky’oganyulwa.Zabbuli 44:12

Ku mutima gwabwe boogera nti,

“Omutima gwaffe tegukuvuddeeko, so tetugaanyi kutambulira mu kkubo lyo.Zabbuli 44:18

Era basaba Mukama nti,

“Golokoka otuyambe; tulokole olw’okwagala kwo okutaggwaawo.Zabbuli 44:26

Ewalala, batabani ba Koola bayimba nti,

“Omutima gwange gujjudde ebigambo ebirungi, nga nnyimba oluyimba lwa Kabaka. Olulimi lwange kkalaamu y’omuwandiisi omukugu.Zabbuli 45:1

Era nti,

“Entebe yo ey’obwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera; n’omuggo ogw’obwenkanya gwe guliba ogw’obwakabaka bwo.Zabbuli 45:6

Ewalala abaana ba Koola bayimba nti,

“Ddala ddala, tewali muntu ayinza kununula bulamu bwa munne, wadde okwegula okuva eri Katonda. Kubanga omuwendo ogununula obulamu munene nnyo, tewali n’omu agusobola.Zabbuli 49:7-8

Era bongerako nti,

“Kubanga n’abantu abagezi bafa; abasirusiru n’abatalina magezi bonna baaggwaawo , obugagga bwabwe ne babulekera abalala.Zabbuli 49:10

Era nti,

“Omuntu tabeerera mirembe gyonna, ne bw’aba mugagga atya, alifa ng’esolo bwe zifa.Zabbuli 49:12

Era balabula nti,

“Omuntu bw’agaggawalanga n’ekitiibwa ky’ennyumba ye nga kyeyongedde, tomutyanga.Zabbuli 49:16

Ewalala bayimba nti,

“Eweema zo nga nnungi, Ayi Mukama ow’Eggye! Omwoyo gwange guyayaayaana, gwagala na kuzirika, olw’empya za Mukama, omutima gwange n’omubiri gwange bikoowoola Katonda omulamu..Zabbuli 84:1-2

Era nti,

“Balina omukisa ababeera mu nnyumba yo, banakutenderezanga. Alina omukisa omuntu eyeesiga amaanyi go, era assaayo omwoyo okutambulira mu makubo go.Zabbuli 84:4-5

Bongeerako nti,

“Bagenda beeyongera amaanyi, okutuusa lwe batuuka mu maaso ga Katonda mu sayuuni.Zabbuli 84:7

Era nti,

“Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange, okusinga okubeeranga mu weema z’abakola ebibi.Zabbuli 84:8

Boongerako nti,

“Kubanga Mukama Katonda ye njuba yaffe era ye ngabo yaffe; atuwa emikisa gye awamu n’ekitiibwa; tewaliiwo kirungi na kimu ky’ataawa abo abatambulira mu makubo ge nga tebaliiko kyakunenyezebwa.Zabbuli 84:11

Era nti,

“Ayi Mukama ow’Eggye alina omukisa omuntu akwesiga.Zabbuli 84:12

Awalala, basaba nti,

“Tulage okwagala kwo okutaggwawo ayi Katonda, era otuwe obulokozi bwo.Zabbuli 85:7

Kubamutya boogeera nti,

“Ddala ddala obulokozi bwe busemberera abo abamutya, ensi yaffe n’eryoka ejjula ekitiibwa kye.Zabbuli 85:9

Era nti,

“Okwagala n’obwesigwa bisisinkanye; obutuukirivu n’emirembe binywegeraganye.Zabbuli 85:10

Era nti,

“Ddala ddala Katonda anaatuwanga ebirungi, n’ensi yaffe eneebalanga ebibala bingi.Zabbuli 85:12

Bwe tuddayo kko mu Kitabo kya 1 Ebyomumirembe, twongera okulaba enyiriri ez’enjawulo az’Abayisirayiri. Tulaba ennyumba ya Dawudi, olulyo lwa Sulemaani, n’ebika ebirara ebya Yuda. Bwe twatuuka ku Yabezi tutegezebwa nti,

“Yabezi yali wa kitiibwa okusinga baganda be…” 1 Eby’omumirembe 4:9

Era tutegezebwa yakoowoola Katonda wa Isirayiri ng’agamba nti,

“Ompeere ddala omukisa, ogaziye ensalo yange! Omukono gwo gubeere wamu nange, gunkuume obutagwa mu kabi konna, nneme okulumwa omutima.” 1 Eby’omumirembe 4:10

Bwe tweyongera mu maaso, Mukama nga bwe yali yalayira okuzikiriza Abamaleki bonna, Ekika kya Simyoni kye kya kitukiriza.

“Era baazikiriza n’ekitundu ky’Abamaleki ekyali kisigaddewo, oluvannyuma ne basenga eyo, okutuusa olunaku lwa leero.” 1 Eby’omumirembe 4:43

Ewalala, Yuda ayogerwako nti,

“Yuda yali w’amaanyi okusinga baganda be, era mu ye mwe mwava kabaka ow’eggwanga lya Isirayiri, wabula ebyobusika eby’obuggulanda byali bya mutabani wa Yusufu omukulu.” 1 Eby’omumirembe 5:2

Ku kika kya Gaadi kyogerwa nti,

“Olw’okwesiga n’okusaba Katonda okubabeera, baawangula Abakaguli mu lutalo.” 1 Eby’omumirembe 5:20

Ewalala tulaba nga ekitundu kye kika kya Manase, bakola ebibi ebimenya ebiragiro bya Katonda wa bajjajjaabwe. Era tutegezebwa nti,

“Katonda wa Isirayiri kyeyava akubiriza omwoyo gwa Puli kabaka w’e Bwasuli, eyayitibwanga Tigulasupireseri, n’alumba Abalewubeeni, n’Abagaadi n’ekitundu ekyali kisigaddewo ku Manase, n’abawamba era n’abatwala mu buwaŋŋanguse e Kala.” 1 Eby’omumirembe 5:26

Bwetuddayo mu Zabbuli, tutalaba Zabbuli ya Asafu. Era agamba nti,

“Ddala Katonda mulungi eri Isirayiri n’eri abo abalina omutima omulongoofu. Naye nze amagulu gange gaali kumpi okutagala era n’ebigere byange okuserera.Zabbuli 73:1-2

Asafu bweyalaba ababi nga bagaggawala nyo yatya era naloowooza nti,

“Ddala omutima gwange ngukuumidde bwerere obutayonoona, n’engalo zange ne nzinaaba obutaba na musango.Zabbuli 73:13

Wabula bwe yalaga ewatukuvu, n’alyoka ategeera enkomerero y’ababi:

“Bali ng’omuntu azuukuse n’ategeera nti yaloose buloosi.Zabbuli 73:20

Era Asaful ayogera nti,

“Mu kuteesa kwo onkulembera, era olintuusa mu kitiibwa.Zabbuli 73:24

Era abuuza nti,

“Ani gwe nnina mu ggulu, wabula ggwe? Era tewali ne kimu kunsi kye neetaaga bwe mba naawe.Zabbuli 73:25

Ayongerako nti,

“Omubiri gwange n’omutima gwange biyinza okulemwa, naye Katonda ge maanyi g’omutima gwange, era ye wange ennaku zonna.Zabbuli 73:26

Ewalala, Asafu ayimba nti,

“Bwe nnali mu nnaku nanoonya Mukama ekiro kyonna ne ngolola emikono gyange obutakoowa; emmeeme yange neegaana okusanyusibwa.Zabbuli 77:2

Era ayogera ku Mukama nti,

“Wakulembera abantu bo ng’ekisibo, nga bali mu mikono gya Musa ne Alooni.Zabbuli 77:20

Awalala Asafu ayimba ku bikolwa bya Mukama eby’ekitalo bye yakolera Isirayiri. Okugeza,

“Ennyanja yajaawulamu, amazzi ne geetuuma ebbali n’ebbali ng’ekisenge.Zabbuli 78:13

Kubugabirizi bwa Mukama mu ddungu, agamba nti,

“Abantu ne balya emmere ya bamalayika; Mukama n’abawanga emmere nnyingi eyabamaliranga ddala.Zabbuli 78:25

Wabula ayogera kubutali bwesigwa bwabwe nti,

“Kyokka baamuwaananga n’emimwa gyabwe, nga bwe bamulimba n’ennimi zaabwe, so tebaali beesigwa mu mitima gyabwe, era nga tebatuukiriza ndagaano ye.Zabbuli 78:36-37

Wabula olw’obujeemu bwabwe,

“N’awaayo amaanyi ge mu busibe, n’ekitiibwa kye n’akiwayo eri omulabe.Zabbuli 78:61

Era nti,

“Omuliro ne gusaanyaawo abavubuka baabwe abalenzi, ne bawala baabwe ne babulwa ow’okubawasa.”  Zabbuli 78:63

Obulamu, enyiimba, n’essaala za Dawudi ng’ayiganyizibwa kabaka Sawulo

“Malayika wa Mukama yeebungulula abo abatya Mukama, n’abawonya. Mulegeeko mulabe nga Mukama bw’ali omulungi! Balina omukisa abaddukira gy’ali.Zabbuli 34:7-8

Eby’assava leero tubiggye mu 1 Samwiri 21-27; Zabbuli 7, 27, 31, 34, 52, 56, 120, 140 – 142. Mu bufunze tulaba nga Dawudi ayiganyizibwa kabaka Sawulo. Sawulo yali amaliridde okutta Dawudi. Mumbeera eya dukaduka, Dawudi yayiya enyimba ezenjawulo, era yasaba Mukama katonda okumulokola. Mu byonna yalina essubi eddaamu nti Mukama yali wakutukiriza ebisuubizo bye.

Mu nyanjuluza, tulaba Dawudi ng’enjala emulumye era ng’adukidde ewa kabona Akimereki amuwe ku ky’okulya.

“Kale nno kiki ky’olina wo? Mpaayo emigaati etaano, oba kyonna ky’olinawo.1 Samwiri 21:3

Gye byagweera nga kabona amuwadde emigaati egyo, era Dawudi namusaba n’ekitala kya Goliyaasi omufirisuuti gwe yaali yatta emabegako.

Bwe yava awo, Dawudi yaddukira e Gaasi ewa kabaka Akisi. Wabula Dawudi bwe yamanya nti bamutegedde kyali yefuula omulalu.

“Kyeyava yeefuula omulalu mu maaso gaabwe, n’aba ng’agudde eddalu, n’awandiika ebitategeerekeka ku wankaaki, nga bw’akulukusa amalusu ku birevu bye.1 Samwiri 21:13

Dawudi bwe yava e Gaasi, naddukira mu mpuku Adulamu. Era tutegezebwa nti baganda be n’ennyumba ya kitaawe bagenda okumusisinkana. Era nti,

“N’abo bonna abaali abanaku, n’abaalina abababanja, n’abaali beetamiddwa, nga si bamativu, ne bakuŋŋanira gy’ali, n’afuuka omukulembeze waabwe; abantu ng’ebikumi bina abaali naye.1 Samwiri 22:2

Wabula Dawudi yalabulibwa nnabbi Gaadi okuva mu kifo ekyo agende mu nsi ya Yuda.

Bwe tweyongerayo, tulaba nga Sawulo atta bakabona b’e Nobu. Nga tannabatta, Sawulo yabuuza kabona Akimereki lwaki yeekobaana ne Dawudi? Mukuddamu yamugamba nti,

“Ani ku baddu bo bonna eyenkana Dawudi, mukoddomi wa kabaka, omuduumizi wo ow’oku ntikko aduumira ekibinja ekikukuuma, era assibwamu ennyo ekitiibwa mu nnyumba yo?”  1 Samwiri 22:14

Era Sawulo yawa ekiragiro bakabona battibwe.

“Mutte bakabona ba Mukama, kubanga nabo bassa kimu ne Dawudi. Baategeera ng’adduka, naye ne batantegeeza.1 Samwiri 22:17

Wabula Abiyasaali yeyawonawo ku batabani ba Akimereki ere naddukira ewa Dawudi. Dawudi n’amugamba nti,

“Sigala nange, totya, kubanga omusajja anoonya obulamu bwo anoonya n’obwange. Ojja kuba bulungi ng’oli wamu nange.1 Samwiri 22:23

Era tutegezebwa nti,

“Sawulo n’anoonyanga Dawudi buli lunaku, naye Katonda n’atamuwaayo mu mukono gwe.1 Samwiri 23:14b

Mu kiseera ekyo, Yonasaani nagenda eri Dawudi mu kibira Kolesi, okumugumya mu Mukama.

“Totya, kubanga kitange Sawulo talikukola kabi n’akamu. Gwe oliba kabaka wa Isirayiri, nze ne mbeera omumyuka wo, era n’ekyo kitange akimanyi.1 Samwiri 23:17

Nga wayisewo akaseera, Mukama awa Dawudi Sawulo mu ngalo ze, naye Dawudi namusaasira n’atamutta. Era Dawudi yagamba abasajja be abaali bamusaba Sawulo attibwe nti,

“Kikafuuwe, nze okukola mukama wange ekintu ekifaanana bwe kityo, Mukama gwe yafukako amafuta, wadde okumugololerako omukono, kubanga Mukama yamufukako amafuta.1 Samwiri 24:6

Oluvanyuma Dawudi yayatulira Sawulo nti,

“Mukama alamule wakati wange naawe. Mukama akusasule ng’ebikolwa ebibi byonna by’onkoze bwe biri, naye nze siriyimusa mukono gwange ku ggwe.1 Samwiri 24:12

Sawulo y’amuddamu nti,

“Gwe oli mutuukirivu okunsinga, kubanga onsasudde bulungi, newaakubadde nga nze nkuyisizza bubi.1 Samwiri 24:17

Nayongerako nti,

“Kaakano ntegeeredde ddala ng’onoobeera kabaka, era n’obwakabaka bwa Isirayiri bulinywezebwa mu mukono gwo.”  1 Samwiri 24:20

Mu kiseera kye kimu Dawudi yawandika enyimba era yali mu kusaba Mukama. Ebimu ku bigambo bya Dawudi bino byatekebwa mu Zabbuli. Byendokoddeyo bibino wammanga:

“Ayi Mukama, Katonda wange, neesiga ggwe: ngobaako bonna abangiganya era omponye.Zabbuli 7:1

Era nti,

“Golokoka, Ayi Mukama, mubusungu bwo oziyize abalabe bange abajjudde obukambwe. Golokoka, Ayi Katonda onnyambe ggwe asala omusango mu bwenkanya.Zabbuli 7:6

“Ayi Katonda omutukuvu, akebera emitima n’emmeeme; okomye ebikolwa by’abakola ebibi: era onyweze abatuukirivu.Zabbuli 7:9

Awalala yagamba nti,

“Nneebazanga Mukama olw’obutukirivu bwe; nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lya Mukama Ali Waggulu Ennyo.Zabbuli 7:17

Era nti,

“Mukama gwe musana gwange n’obulokozi bwange; ani gwe nnaatyanga? Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange; ani asobola okuntisa.Zabbuli 27:1

Nayongerako nti,

“Newaakubadde ng’eggye linaasiisira okunneebungulula, omutima gwange teguutyenga; olutalo ne bwe lunansitukirangako, nnaabanga mugumu.Zabbuli 27:3

Era nti,

“Mu biseera eby’obuzibu anansuzanga mu nju ye; anankwekanga mu wema ye, n’ankuumira ku lwazi olugulumivu.Zabbuli 27:5

Nnayongerako nti,

“Omutima gwange guwulidde eddoboozi lyo nga lyogera nti, “munnoonye munsinze. Omutima gwange ne guddamu nti, Nnaakunoonyanga, ayi Mukama.Zabbuli 27:8

Era nti,

“Kitange ne mmange bwe balindeka, Mukama anandabiriranga.Zabbuli 27:10

Nnakakkatiza nti,

“Nkyakakasiza ddala nga ndiraba obulungi bwa Mukama mu nsi ey’abalamu.Zabbuli 27:13

Awalala yagamba nti,

“Ayi Mukama, ggwe kiddukiro kyange, leka nneme kuswazibwa. Ndokola mu butukirivu bwo.Zabbuli 31:1

Era nti,

“Nkyawa abo abeesiga bakatonda abalala; nze nneesiga Mukama.Zabbuli 31:6

Era nakabirira Mukama nti,

“Onsaasiire, Ayi Mukama, kubanga ndi mu nnaku nnyingi; amaaso gange gakooye olw’ennaku; omwoyo gwange n’omubiri gwange nabyo binafuye olw’obuyinike.Zabbuli 31:9

Era Dawudi nayogera nti,

“Oli Katonda wange. Entuuko zange ziri mu mikono gyo.Zabbuli 31:14b-15a

Ku bulungi bwa Mukama Dawudi yagamba nti,

“Obulungi bwo bwe waterekera abo abakutya nga buyitirivu, n’obuwa mu lwatu abo abaddukira gy’oli. Obalabirira n’obawonya enkwe z’abalabe baabwe, n’obakuuma bulungi mu nnyumba yo, n’ennyombo z’abantu ne zitabatuukako.Zabbuli 31:20

Era nti,

“Muddeemu amaanyi mugume omwoyo mmwe mwenna abalina essubi mu Mukama.Zabbuli 31:24

Awalala, Dawudi agamba nti,

“Nanoonya Mukama n’annyanukula; n’ammalamu okutya kwonna. Abamwesiga banajjulanga essanyu, era tebaswalenga.Zabbuli 31:4-5

Era nti

“Malayika wa Mukama yeebungulula abo abatya Mukama, n’abawonya. Mulegeeko mulabe nga Mukama bw’ali omulungi! Balina omukisa abaddukira gy’ali.Zabbuli 34:7-8

Era nti,

“Empologoma zirumwa enjala ne ziggwaamu amaanyi; naye abo abanoonya Mukama, ebirungi tebiibaggwengako..Zabbuli 34:10

Ayongerako nti,

“Oyagala okuwangaala mu bulamu obulungi, okuba mu ssanyu emyaka emingi? Olulimi lwo lukuumenga luleme okwogera ebitasaana, n’akamwa ko kaleme okwogera eby’obulimba.Zabbuli 34:12-13

Era nti,

“Abatuukirivu bakoowoola Mukama n’abawulira n’abawonya mu byonna ebiba bibateganya. Mukama abeera kumpi n’abalina emitima egimenyese, era alokola abo abalina emyoyo egyennyise.Zabbuli 34:17-18

Era nti,

“Omuntu omutuukirivu ayinza n’okuba n’ebizibu bingi, naye byonna Mukama abamuyisaamu.Zabbuli 34:19

Awalala agamba nti,

“Nneesiganga erinnya lyo kubanga ddungi; era nnaakutendererezanga awali batuukirivu bo.Zabbuli 52:9

Awalala, Dawudi agamba nti,

“Buli lwe ntya, neesiga ggwe. Nditendereza Katonda ne nyweerera mu kigambo kye, ye Katonda gwe neesiga; siityenga.Zabbuli 56:3-4

Agattako nti,

“Ndikuleetera ebirabo eby’okwebaza. Kubanga emmeeme yange ogiwonyezza okufa.Zabbuli 34:12b-13

Awalala Dawudi agamba nti,

“Ebigambo byabwe byogi ng’ennimi z’emisota; ebiva mu kamwa kaabwe busagwa ng’obw’essalambwa.Zabbuli 140:3

Akakkatiriza nti,

“Ayi Mukama, Mukama wange, ggw’omponya n’amaanyi go, ggwe engabo yange mu lutalo.Zabbuli 140:7

Era nti,

“Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonaabona, y’ayamba abanaku okuyisibwa mu bwenkanya. Abatuukirivu banaakutenderezanga, era w’oli we banaabeeranga..Zabbuli 140:12-13

Awalala, agamba nti,

“Okusaba kwange kubeere ng’ebyakaloosa mu maaso go, n’okugolola emikono gyange gy’oli kubeere nga ssaddaaka ey’akawungeezi.Zabbuli 141:2

Era nti,

“Leka omuntu omutuukirivu ankube, kubanga anaaba ankwatiddwa ekisa; muleke annenye, ekyo kinaaba ng’amafuta amalungi agafukiddwa ku mutwe gwange; sijja kugagaana.Zabbuli 141:5

Awalala agamba nti,

“Nkaabirira ggwe, Ayi Mukama, nga ŋŋamba nti, Gwe kiddukiro kyange, ggwe mugabo gwange mu nsi muno .Zabbuli 142:5

Era nti,

“Abatuukirivu balinneetooloola ng’onkoledde ebyekisa ekingi ebingi.Zabbuli 142:5

Ekibego ekirala, kituzzaayo mu Samwiri nate. Era tutegezebwa nti,

“Awo Samwiri n’afa, Isirayiri yenna ne bakuŋŋaana okumungubagira.1 Samwiri 25:1

Bwe tuva awo, tulaba nga Dawudi asindika abasajja be okusaba ku kyokulya okuva ewa Nabali. Wabbula Nabali yaddamu abatume nti,

“Nyinza ntya okuddira emigaati gyange, n’amazzi, n’ennyama bye ntekeddeteekedde abasajja bange abasala ebyoya ne mbiwa be sirina kye mbamanyiiko?1 Samwiri 25:11

Ekintu ekyo tekyasanyusa Dawudi, Kubanga ggyebwavaako baali bakuumaa ebisibo bya Nabali. Era Dawudi n’ayogera nti,

“Nakuumira bwereere ebintu byonna eby’omusajja one bwe byali mu ddungu ne wataba na kimu ekyabula; bwatyo bw’ansasudde, obubi olw’obulungi.1 Samwiri 25:21

Wabula Abiggayiri, Mukazi wa Nabali bwe yakitegeera kye yali akoze, nategeka ekiwebwayo eky’okuwa Dawudi amuwoyewoye obusungu. Nabali wayita mbale, nakutuka. Era Oluvanyuma Dawudi yawasa Abiggayiri.

Bwe tweyongerayo tulaba nga Sawulo addamu okuwebwa mu mikono gya Dawudi omulundi ogw’okubiri era Dawudi natamukolako bulabe bwonna. Era yagamba nti,

“Kikafuuwe ne okugolola omukono gwange okutta oyo Mukama gwe yafukako amafuta.1 Samwiri 26:11

Dawudi bwatakosa Sawulo, Sawulo nayogera nti,

“Kubanga leero ondaze, obulamu bwange bwe buli obw’omuwendo mu maaso go. Laba neeyisizza ng’omusirusiru, era nnyonoonye ekiyitiridde.1 Samwiri 26:21

Nayongerako nti,

“Oweebwe omukisa mutabani wange Dawudi. Olikola ebintu ebikulu bingi era oliraba omukisa mu byo.1 Samwiri 26:25

 

Nzija gy’oli mu linnya lya Mukama ow’eggye, Katonda w’eggye lya Isirayiri gw’osoomooza!

“Ojja gye ndi n’ekitala n’effumu, naye nze nzija gy’oli mu linnya lya Mukama ow’eggye, Katonda w’eggye lya Isirayiri gw’osoomooza.1 Samwiri 17:45

Olwaliiro lwaffe leero lujjudde ebya ssava okuva mu 1 Samwiri 13-20.  Mu bumpimpi tulaba nga Sawulo atandika okukulembera Isirayiri nga Kabaka eyasooka. Wabula kubanga teyagondera biragiro bya Mukama Katonda, bwatyo yaggyibwamu obwesige. Era Mukama yafuka amafuta ku Dawudi mutabani wa Yese okumuddira mu bigere. Mukama yatandika okwatikkiriza Dawudi ekintu ekyatiisa Sawulo ate natandika okumuwalana era n’okumunoonya amutte.

Nga tusosotola, tutegezebwa nti,

“Sawulo yalina emyaka amakumi asatu we yaliira obwakabaka, n’afuga Isirayiri okumala emyaka amakumi ana.1 Samwiri 13:1

Mubiseera ebyo, Abafirisuuti beekunga okulwana n’Abayisirayiri era nga n’eggye lyabwe nga linyigirizibwa nnyo omulabe. Tutegezebwa nti,

“Ne beekweka mu mpuku, ne mu bisaka ne mu njazi, ne mu binnya.1 Samwiri 13:6b

Wabula mu kiseera kye kimu, Sawulo yali alindirira Samwiri baweeyo ekiwebwayo balyoke beebuuze ku Mukama Katonda eky’okukola. Samwiri bwe yalwayo, Sawulo nabyekwatiramu. Samwiri bweyatuuka, namunenya nti,

“Okoze kya busirusiru, obutakuuma kiragiro kya Mukama Katonda wo kye yakulagira. Singa wakikuumye, Mukama yandinywezezza obwakabaka bwo okufuga Isirayiri emirembe gyonna.1 Samwiri 13:13

Nayongerako nti,

“Mukama anoonyezzaayo omusajja alina omutima ogumunoonya era amulonze okuba omukulembeze w’abantu be.1 Samwiri 13:14

Bwe tweyongerayo tulaba nga Yonasaani alumba Abafirisuuti era nabaako batta. Era tutegezebwa nti enkambi y’Abafirisuuti yajjula okutya olw’abo abali batiddwa. Era nti nettaka lyakankana, nekiretera ekibinja ky’Abafirisuuti okusasaanira mu njuyi zonna.

Oluvanyuma, Sawulo n’abasajja be bwe bagenda mu lutalo, tutegezebwa nti,

“Ne basanga ng’Abafirisuuti balwanagana bokka ne bokka, nga bafumitagana ebitala.1 Samwiri 14:20

Era tutegezebwa nti,

“Mukama n’alokola Isirayiri ku lunaku olwo, olutalo ne lutuukira ddala e Besaveni.1 Samwiri 14:23

Wabula tulabanga Sawulo yali y’alayiza abalwanyi ba Isirayiri obutalya ku kintu paka nga buwungedde. Era Abalwanyi baali bajjudde ennaku.

Ekya kabi Yonasani teyaliwo nga Sawulo alayiza abantu. Era ye bwe yasanga omubisi gw’enjuki, neyegweera, nayogera n’okwogera nti,

“Laba amaaso gange bwe ganyirira n’amaanyi gange bwe gakomyewo bwe nkombyeko ku mubisi guno ogw’enjuki.1 Samwiri 14:29

Sawulo bwe yakitegeera nti Yonasaani yali amenye ekirayiro, n’ayagala attibwe. Wabula abantu bonna ne bakigaana. Ne bogeera nti,

“Nga Mukama bw’ali omulamu, tewali luviiri na lumu lunaava ku mutwe gwe ne lugwa wansi, kubanga ebyo by’akoze leero Katonda y’amuyambye okubikola.1 Samwiri 14:45b

Tutegezebwa nti,

“Awo Sawulo bwe yalya obwakabaka bwa Isirayiri n’alwana n’abalabe be ku njuyi zonna… na buli we yaddanga n’abawangula… n’anunula Isirayiri okuva mu mukono gw’abo abaabanyaganga.1 Samwiri 14:47-48

Bwe tweyongerayo, Mukama alagira Sawulo okuyita mu Samwiri okulumba Abamaleki.

“Kaakano genda olumbe Abamaleki obazikirizze ddala, n’ebintu byabwe byonna. Tobasaasira, otta abasajja n’abakazi, abaana n’abato ddala, ente, n’endiga, neŋŋamira n’endogoyi.1 Samwiri 15:3

Wabula Sawulo teyagoberera biragiro Mukama bye yamuwa. Era nga yeloboza ebintu bye yalabanga bya muwendo. Ekyo kyanyiiza Mukama, era n’agamba Samwiri nti,

“Nejjusizza okufuula Sawulo Kabaka, kubanga avudde kukungoberera, n’atakolera ku biragiro byange..1 Samwiri 15:11

Bwe tweyongerayo, tulaba nga Samwiri aneenya Sawulo era n’amugamba nti,

“Okugonda kusinga ssaddaaka, era n’okuwuliriza kusinga amasavu g’endiga ennume. Kubanga obujeemu buli ng’ekibi eky’okusamira, era n’obukakanyavu buli ng’ekibi eky’okusinza bakatonda abalala.1 Samwiri 15:23

Samwiri ayongerako nti,

“Mukama akuyuzizzaako obwakabaka bwa Isirayiri leero, n’abuwa omu ku baliraanwa bo akusinga.1 Samwiri 15:28

Era nti,

Oyo ayitiibwa Ekitiibwa kya Isirayiri talimba ate takyusakyusa kirowoozo kye, kubanga si muntu nti anaakyusa ekirowoozo kye1 Samwiri 15:29

Bwe tweyongerayo, tulaba nga Mukama anenya Samwiri olw’okunakuwalira Sawulo.

Olituusa ddi okunakuwala olwa Sawulo, ate nga nze sikyamubala kuba kabaka wa Isirayiri?” 1 Samwiri 16:1

Era yamulagira ajjuze ejjembe lye amafuta agende ewa Yese Omubeserekemu gye yali alonze omu ku batabani be, era amufukeko amafuta okuba kabaka mu kifo kya Sawulo.

Samwiri bwe yatukaayo, yaali alonze Eriyaabu eyali abasinga obugagagufu. Wabula mukama namugamba nti,

“Totunuulira nfaanana ye wadde obuwanvu bwe, kubanga si gwe nnonze. Mukama tatunuulira ebyo abantu bye batunuulira. Abantu batunuulira bya kungulu naye Mukama atunuulira bya mu mutima.1 Samwiri 16:7

Dawudi bwe yamala okufukibwaako amafuta, tutegezebwa nti,

“Okuva ku lunaku olwo Omwoyo wa Mukama n’akka ku Dawudi mu maanyi mangi.1 Samwiri 16:13

Bwetugenda mu maaso tutegezebwa nti,

“Awo Omwoyo wa Mukama Katonda yali avudde ku Sawulo, omwoyo omubi ogwava eri Mukama ne gumucoccanga..1 Samwiri 16:14

Era Sawulo nasaba bamufunire omuntu eyali asobola okumukubira entongooli ng’omwoyo owo omubi gumulumbye. Era Dawudi nalondebwa. Bino bye bya mwogerwako,

“Musajja muzira era mulwanyi, ate nga mwogezi mulungi, era alabika bulungi. Ate Mukama Katonda ali wamu naye.1 Samwiri 16:18

Tutegezebwa nti,

“Awo buli omwoyo omubi okuva eri Katonda lwe gw’ajjanga ku Sawulo, Dawudi n’amukubiranga entongooli, Sawulo n’akkakkana, era n’awulira bulungiko, n’omwoyo omubi ne gumuvaako.1 Samwiri 16:23

Ebyo nga biri awo,

“Mu lusiisira lw’Abafirisuuti ne muva essajja eddene nga lizira erinnya lyalyo Goliyaasi.1 Samwiri 17:4

Essajja lino lyatandika okuwera enkorokooto nga ligamba nti,

“Mulonde omusajja mu mmwe aserengete gye ndi. Bw’anannwanyisa n’anzita, kale tunaafuuka baddu bammwe, naye bwe nnaamuwangula ne mutta, munaafuuka baddu baffe era munaatuweerezanga.1 Samwiri 17:8b-9

Olumu Dawudi bwe yatumibwa kitaawe mu nkambi okubaako by’atwalira baganda be abaali mu ggye, naye neyalabira kukutisatisa kw’essajja lino. Era nawulira n’empera enaweebwa alimutta, Sawulo gye yali attadewo.

“Omuntu alimutta, kabaka alimugaggawaza era alimuwa muwala we okumuwasa, era n’ennyumba ya kitaawe eneebanga ya ddembe mu Isirayiri.1 Samwiri 17:25

Era Dawudi nayogera nti,

“Omufirisuuti oyo atali mukomole yeeyita ani okusoomooza eggye lya Katonda omulamu?1 Samwiri 17:26b

Ebigambo ebyonno Dawudi byatuuka mu matu ga Sawulo era namutumya. Dawudi namugamba nti,

“Waleme kubaawo muntu n’omu aggwamu mwoyo olw’Omufirisuuti oyo. Omuweereza wo anaagenda n’amulwanyisa.1 Samwiri 17:32

Wabula Sawulo bwe yali abusabusa, Dawudi namuwa kubujjulizi bwe. Namugamba nti,

“Omuwereza wo yattako ku mpologoma n’eddubu. Omufirisuuti ono atali mukomole anaaba ng’emu ku zo, kubanga asoomozezza eggye lya Katonda omulamu.1 Samwiri 17:36

Dawudi nayongerako nti,

“Mukama eyamponya enjala z’empologoma n’enjala z’eddubu, alimponya ne mu mukono gw’omufirisuuti oyo.1 Samwiri 17:37

Dawudi bwe yagasimbagana ne Goliyaasi, n’amugamba nti,

“Ojja gye ndi n’ekitala n’effumu, naye nze nzija gy’oli mu linnya lya Mukama ow’eggye, Katonda w’eggye lya Isirayiri gw’osoomooza.1 Samwiri 17:45

Dawudi yamutegeeza nga Mukama bwe yali agenda okumugabula mu mukono gwe. Era nti,

“Ensi yonna eryoke etegere nga waliwo Katonda mu Isirayiri. abo bonna abakuŋŋaanye wano banaategeera nga Mukama talokola na kitala wadde effumu, kubanga olutalo, lwa Mukama era mwenna agenda kubawaayo mu mukono gwaffe. 1 Samwiri 17:46b-47

Gye byagwera nga Dawudi asazeeko Goliyaasi omutwe. Era Abafirisuuti badduka bwe balaba ng’omuzira wabwe attiddwa. Era n’abasajja ba Isirayiri ne babagoba.

Bwe tweyongerayo Dawudi ne Yonasaani batta omukago.

“Yonasaani n’aba bumu ne Dawudi, era n’amwagala nnyo nga bwe yali yeeyagala.1 Samwiri 18:1

Era nti,

“Awo Yonasaani n’atta omukago ne Dawudi kubanga yamwagala nnyo nga bwe yali yeeyagala yekka .1 Samwiri 18:3

Era tutegezebwa nti,

“Buli kintu Sawulo kye yatumanga Dawudi, Dawudi n’akituukirizanga bulungi nnyo, era Sawulo kyeyava amuwa ekifo ekyawaggulu mu magye.1 Samwiri 18:5

Nga wayisewo ebbanga, Sawulo yakwatibwa Dawudi obuggya kubanga abakazi bayimba nti,

“Sawulo asse enkumi ze. Dawudi n’atta emitwalo gye.1 Samwiri 18:7

Era nti,

“Sawulo n’atya Dawudi kubanga Mukama yali wamu naye, kyokka ng’avudde ku Sawulo.1 Samwiri 18:12

Era tutegezebwa nti,

“Dawudi n’afuna omukisa mu buli kye yakolanga, kubanga Mukama yali wamu naye.1 Samwiri 18:14

Era nti,

“Isirayiri yenna ne Yuda ne baagala Dawudi, kubanga yakulemberanga bulungi.1 Samwiri 18:16

Sawulo natandika okusala amagezi Dawudi alyoke attibwe naye nga siyamwetidde. Era awamu yamusuubiza n’okumuwa muwala we.

Era awalala, Sawulo yalagira Yonasaani n’abaweereza be bonna batte Dawudi. Era Yonasaani nalabula Dawudi.

Era Yonasaani awalala yabuuza kitaawe Sawulo nti,

“Lwaki oyigganya omuntu nga Dawudi ataliiko musango, n’oyagala okumutta awatali nsonga .1 Samwiri 19:5

Ewalala, Yonasaani yawonya Dawudi okuttibwa, era Sawulo nanenya mutabani we nti,

“Ggwe omwana w’omukazi omukyamu era omujeemu! Olowooza sikimanyi nga weekobaana ne mutabani wa Yese okweleetako okuswala, n’okukwasa maama wo eyakuzaala ensonyi?.1 Samwiri 20:30

Mukama Katonda y’ayavuwaza era y’agaggawaza; atoowaza ate n’agulumiza!!

“Mukama Katonda y’aleeta okufa, era y’awa obulamu; atwala emagombe ate n’azuukiza. Mukama Katonda y’ayavuwaza era y’agaggawaza; atoowaza ate n’agulumiza.1 Samwiri 2:6-7

Emmeeza yaffe leero ejjudde eby’okulya okuva mu 1 Samwiri 1-12.  Mu bumpimpi ekitabo kya Samwiri eky’olubereberye kiraga obwesigwa bwa Katonda obuleeta obugagga n’emirembe ate era ne kiraga nti obujeemu buleeta okufa.

Ekitundutundu kye tutunulidde leero kiraga okussibwawo obwakabaka bwa Isirayiri. Tulaba okuzalibwa kwa Samwiri, okuyitibwa kwe, okufa kwa kabona Eri, obulamuzi bwa Samwiri era n’okufikibwako amafuta kwa Sawulo nga kabaka wa Isirayiri eyasooka.

Ekibego ekisooka tutegezebwa ku famile ya Erukaana eyalina abakazi babiri; Kaana ne Penina. Wabula nga Kaana yali mugumba wadde nga Erukaana gwe yali asinga okwagala. Famile eno yalina akalombolombo okugenda okuzinza n’okuwayo ssaddaaka buuli mwaka. Lumu Kaana omugumba nga akoye embera yasaba Mukama omwana.

“Mu kulumwa olw’ennaku ennyingi ennyo, n’akaaba nnyo amaziga ng’asaba Mukama.1 Samwiri 1:10

Kaana y’agamba nti,

“Ayi Mukama Ayinzabyonna, bw’olitunuulira ennaku ey’omuweereza wo, n’onzijukira, n’ompa omwana owoobulenzi, ndimuwaayo eri Mukama Katonda ennaku zonna ez’obulamu bwe nga muwonge era enviiri ze teziimwebwengako.1 Samwiri 1:11

Bwe wayitawo akaseera, Mukama Katonda najjukira Kaana n’azaala omwana omulenzi n’amutuuma Samwiri; ekitegeeza nti, ‘namusaba Mukama Katonda.

Omwana bwe yava kumabere, Erukaana ne Kaana ne bamutwala mu yeekaalu ya Mukama Katonda e Siiro, namukwasa kabona Eri. Kaana nagamba nti,

“Kaakano mmuwaayo eri Mukama, era obulamu bwe bwonna aweereddwayo eri Mukama Katonda.1 Samwiri 1:28

Tulaba nga Kaana agulumiza Mukama Katonda.

“Omutima gwange gusanyukira Mukama; amaanyi gange geenyumiririza mu Mukama Katonda…essanyu lyange liri mu bulokozi bwo.1 Samwiri 2:1

Era nti,

“Mukama Katonda y’aleeta okufa, era y’awa obulamu; atwala emagombe ate n’azuukiza. Mukama Katonda y’ayavuwaza era y’agaggawaza; atoowaza ate n’agulumiza.1 Samwiri 2:6-7

“Anaakuumanga ebigere by’abatukuvu be, naye ababi balisirisibwa mu kizikiza; kubanga omuntu tawangula lw’amaanyi.1 Samwiri 2:9

Bwe tugenda mu maaso tutegezebwa ku baana ba Eri, kabona nga bwe balina empisa embi era nga tebatya Mukama Katonda. era nti,

“Ekibi ky’abavubuka abo ne kiba kinene nnyo mu maaso ga Mukama, kubanga baanyoomanga ekiweebwayo kya Mukama Katonda.1 Samwiri 2:17

Ne kaboona Eri kyamuyitirirako era nanenya abaana be nti,

“Omuntu bw’ayonoona eri muntu munne, Katonda ayinza okubatabaganya, naye omuntu bw’ayonoona eri Mukama, ani anaamwegayiririra?1 Samwiri 2:25

Ku muvubuka Samwiri, tutegezebwa nti,

“Awo omuvubuka Samwiri ne yeeyongera okukula, n’aba muganzi eri Mukama n’eri abantu.1 Samwiri 2:26

Awalala, Mukama Katonda yayogera ne Eri ebikwata ku baana be n’obwakabona.

“Abanzisaamu ekitiibwa bennassangamu ekitiibwa, naye abo abannyooma banaaswazibwanga.1 Samwiri 2:30

Mukama Katonda nayongerako nti,

“Ndyeyimusiza kabona omwesigwa, aligoberera ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange.1 Samwiri 2:35

Bwe tweyongerayo, tutegezebwa nti,

“Mu biro ebyo ekigambo kya Mukama kyali kya bbula, era nga n’okwolesebwa kwa bbalirirwe.1 Samwiri 3:1

Era tulaba nga Mukama Katonda ayita omwana omuto Samwiri mutulo era nabaako byamugamba. Mukama n’abeera wamu ne Samwiri.

“Isirayiri yenna okuva mu ddaani okutuuka e Beeruseba ne bategeera nga Samwiri ateekeddwawo okuba nnabbi wa Mukama. Mukama ne yeeyongeranga okweyolekera Samwiri mu Siiro.1 Samwiri 3:20

Bwe tweyongerayo tulaba olutalo wakati wa Isirayiri n’Abafirisuuti era nga gye byaggwera nga essanduuko ya Katonda ewambiddwa, era nga n’abaana ba Eri; Kofuni ne Finekaasi battiddwa. Eri bwe yafuna amawulire n’agwa n’ensingo ye n’emenyeka n’afiirawo.

Wabula Mukama yabonereza Abafirisuuti olw’essanduuko ya Mukama.

“Omukono gwa Mukama ne gubonereza abantu b’e Asudodi n’emiriraano, n’abaleetako entiisa era ne bakwatibwa ebizimba.1 Samwiri 5:6

Era bawalirizibwa okuzzaayo essanduuko ya Mukama mu Isirayiri.

Oluvannyuma waliwo olutalo wakati w’Abafirisuuti ne Isirayiri, era Isirayiri ne wangula nga Samwiri agikulembera. Wabula Samwiri yategeka abantu bagenda mu lutalo n’abagamba nti,

“Obanga mudda eri Mukama n’omutima gumu, muggyeewo bakatonda abagwira ne Baasutoleesi, mmweweeyo eri Mukama gwe muba muwerezanga yekka, era anaabalokola okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.1 Samwiri 7:3

Abafirisuuti bwe balumba Isirayiri, tutegezebwa nti,

“Mukama n’abwatuka okubwatuka okw’amaanyi, Abafirisuuti ne batya nnyo, era ne badduka Abayisirayiri.1 Samwiri 7:10

Era ekifo ekyo Samwiri yakituuma Ebenezeri; ekitegeza nti ‘ Mukama atuyambye okutusa kaakano.’ 

Wabula nga batabani ba Eri, ne batabani ba Samwiri tebalina mpisa nnungi.

“Naye batabani be ne batagoberera mpisa ze, ne bakyama ne banoonya amagoba, ne balya enguzi, era nga tebalamula mu bwenkanya.1 Samwiri 8:3

Era ekyo kyavirako abakadde ba Isirayiri okugamba Samwiri nti,

“Laba, okaddiye ne batabani bo tebagoberera mpisa zo, kaakano tulondere kabaka anaatukulemberanga, tubeere ng’amawanga amalala.1 Samwiri 8:5

Ekyo nno tekyasanyusa Samwiri, wabula Mukama n’amugamba nti,

“Wuliriza ebigambo byonna abantu bye bakugamba. Tebajeemedde ggwe, naye bajeemedde nze nneme kuba kabaka waabwe.1 Samwiri 8:7

Tulabanga Samwiri alabula Abayisirayiri kabaka bye yali agenda okukola n’okwetaaga. Okugeza,

“Alitwala ekimu eky’ekkumi ku bisibo byammwe, mmwe n’abafuula abaweereza be.1 Samwiri 8:17

Bwe tweyongerayo, Mukama akola omupango ogw’okutwala Sawulo mutabani wa Kiisi ewa Samwiri alyoke amufukeko amafuta nga Kabaka wa Isirayiri eyasooka.

Ku Sawulo, kyayogerwa nti,

“Mulenzi alabika bulungi, era nga tewali amwenkana obulungi mu bantu ba Isirayiri, nga muwanvu okusinga abantu bonna.1 Samwiri 9:2

Endogoyi Za Kiisi kitaawe wa Sawulo bwe zabula, Sawulo n’omu ku baweereza nebagenda okuzinonya. Bwe baali banonya, Mukama naye nategeza Samwiri nti,

“Enkya ku saawa nga zino nzija kukusindikira omusajja okuva mu nsi ya Benyamini. Mufukeeko amafuta okuba omukulembeze w’abantu bange, Isirayiri; oyo y’alirokola abantu bange okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.1 Samwiri 9:16

Gye byaggwera nga Sawulo afukiddwaako amafuta.

“Awo Samwiri n’addira eccupa ey’amafuta n’agifuka ku mutwe gwa Sawulo, n’amunywegera ng’agamba nti, Mukama akufuseeko amafuta okufuga abantu be, Isirayiri.1 Samwiri 10:1

Bwe tweyongerayo tutegezebwa nti,

“Awo Sawulo bwe yava eri Samwiri, Katonda n’amuwa omutima omuggya.1 Samwiri 10:9

Ekyo nga kiwedde, Samwiri yayita abantu ba Isirayiri bonna n’abagamba nti,

“Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Naggya Isirayiri mu Misiri, ne mbalokola okuva mu mukono gw’Abamisiri, ne mu mukono gw’obwakabaka bwonna obwabajooganga. Naye kaakano mujeemedde Katonda wammwe eyabalokola okuva mu buyinike bwammwe n’ennaku yammwe, ne mwogera nti, nedda tuteerewo kabaka atufuge.1 Samwiri 10:18-19

Bwe tweyongerayo Sawulo ng’amaze okutekebwa ku bwa kabaka, tulaba nga anunula ekibuga Yabesi. Mukutandika ababaka ba Nakkasi Omwamoni yayogera ebigambo ebisomooza.

“Awo Sawulo bwe yawulira ebigambo ebyo, Omwoyo wa Katonda n’amukkako mu maanyi, obusungu bwe ne bubuubuuka nnyo.1 Samwiri 11:6

Era Sawulo yakunga abantu bonna bagooberere ye ne Samwiri okulumba Abamoni. Era Mukama Katonda nabawa obuwanguzi. Samwiri nayita abantu bonna okugenda e Girugaali okukakasa Sawulo nga kabaka.

Era tulaba Samwiri ng’asiibula Isirayiri, era ng’ababuuza oba enkola etali nambulukufu gye yaali abakulembeddemu. Era bantu bonna ne bamutendereza nga bwakulembedde obulungi, mu bwenkanya, mu mazima ng’era talya na nguzi.

Samwiri ayogera kubununuzi bwa Mukama okuva ku Musa ne Alooni abajja Isirayiri mu Misiri. Era nayogera ne kukissera ekya balamuzi; Mukama bwe yatumanga abalamuzi abenjawulo okununula Isirayiri okuva mu mikono gyabo Mukama gye yali abatunze olw’obutamugondera.

Era n’abagamba nti,

“Bwe munaatyanga Mukama ne mumuweerezanga, ne mutajeemera biragiro bye, mmwe ne kabaka abafuga be mugobereranga Mukama Katonda wammwe kinaabanga kirungi.1 Samwiri 12:14

Samwiri era asaba Mukama akole akabonero abantu bamanye nti teyasanyukira kusaba kwabwe okuweebwa kabaka. Era Mukama yawereza okubwatuka n’enkuba, abantu bonna ne batya Mukama ne Samwiri. Era abantu nebasaba Samwiri abasabire eri Mukama. Samwiri  n’abaddamu nti,

“Temutya, okukola mwakola ebibi ebyo byonna, naye temuvanga ku Mukama, kaakano mumuweerezenga n’omutima gwammwe gwonna. Temukyukanga okugoberera ebintu ebitalimu, ebitayinza kubagasa wadde okubawonya, kubanga tebirimu nsa.1 Samwiri 12:20

Nayongerako nti,

“Nze ku lwange, kikafuuwe, okwonoona eri Mukama ne ssibasabira; nnaabalaganga ekkubo ettuufu era eggolokofu.1 Samwiri 12:23

Gy’onogendanga, nange gye nnaagendanga…ne Katonda wo y’anaaberanga Katonda wange

“Gy’onogendanga, nange gye nnaagendanga, gy’onooberanga, nange gye nnaaberanga, era abantu bo be banaabanga abantu bange, era ne Katonda wo y’anaaberanga Katonda wange. Gy’olifiira nange gye ndifiira era eyo gye balinziika. Mukama Katonda ankangavvule nnyo bwe ndyawukana naawe wabula mpozi okufa.” Luusi 1:16-17

Ebya ssaava byaffe leero biggyiddwa mu Luusi 1-4.  Mu kitabo kino tulaba Mukama engeri gy’alabiriramu abantu be mu bulamu obwa bulijjo. Era n’omukisa ogwaweebwa Luusi olw’okulondawo Katonda wa Isirayiri.

Mu kibego ekisooka, tutegezebwa nti Nawomi ne mwami we Erimeleki abaali balina abavubuka babiri, Maloni ne Kiriyoni basengukira e Mowaabu olw’enjala eyali ekunta mu Beserekemu mwe baali batuula.

Batabani babwe bawasa abakazi Olupa ne Luusi. Tutegezebwa nti Erimereki, bba wa Nawomi y’afa era nabaana baabwe bombi. Wabula amawulire bwe gamugwa mu matu nti ekyengera kyali kikomwewo mu Isirayiri, nagolokoka okuddayo. Naome n’agamba baka baana be nti,

“Gy’onogendanga, nange gye nnaagendanga, gy’onooberanga, nange gye nnaaberanga, era abantu bo be banaabanga abantu bange, era ne Katonda wo y’anaaberanga Katonda wange. Gy’olifiira nange gye ndifiira era eyo gye balinziika. Mukama Katonda ankangavvule nnyo bwe ndyawukana naawe wabula mpozi okufa.” Luusi 1:16-17

Nawomi ne Luusi bwe baatuuka a Besirekemu, abaakazi baayo abaali bamumanyi beebuuza obanga ye ye kenyini. Era naye yabaddamu ati,

“Temumpita Nawomi, naye mumpite Mala, kubanga Mukama Ayinzabyonna yalumya obulamu bwange n’okukaawa bunkayiridde.” Luusi 1:20

Bwe tweyongerayo tulaba nga Luusi agenda munnimiro okulonda ebirimba by’emmere (Sayiri). Wabuula ennimiro gye yagendamu yaali ya Bowaazi. Era Bowaazi bwe yatuuka yamulaba era nabuuza abakunguzi ebifa ku muwala Luusi, nabo ne bamutegeeza byoona.

Era Bowaazi yamusaba asigale mu nnimiro ye, aleme kugenda mu ndaala. Luusi era yalaga okusiima kwe. Bowaazi yamuddamu nti,

“By’okoledde nnyazaala wo kasookedde balo afa, ne bwe waleka kitaawo ne nnyoko era n’abantu bo n’ojja mu nsi ey’abantu botomanyi, babintegezezza byonna.” Luusi 2:11

Bowaazi nayongerako nti,

“Mukama Katonda wa Isirayiri gwe weeyuna wansi w’ebiwaawaatiro bye, akusasule olw’ebyo by’okoze, era akuwe empeera ennene ddala.” Luusi 2:12

Luusi yaddamu Bowaazi nti,

“Nneeyongere okulaba ekisa mu maaso go mukama wange, kubanga oyogedde ebigambo ebyekisa eri omuwereza wo era emmeeme yange ogizizza mu nteeko wadde nga sigwanidde kuba omu ku baweereza bo.” Luusi 2:12

Luusi bwe yaddaayo eka, nategeeza nnyazaala we ennimiro gye yali akozemu, era Luusi namubulira byonna.

Era Nawomi nasabira Bowaazi omukisa ng’agamba nti,

“Mukama Katonda atalekanga kulaga kisa eri abalamu n’abafu amuwe omukisa.” Luusi 2:20

Ebyo bwe byaggwa, Nawomi, nasaala amagezi agokunoonyeza Luusi amaka. Era nawa Luusi eky’okukola era nga Luusi yalina kugenda abikkule ebigere bya Bowaazi emirannamiro, naaye agalamire awo ekiro mu gguuliro lya Bowaazi. Mu kiro Bowazi, bwe yekyusa, yalaba omukazi, era namubuuza ebimukwatako. Luusi y’adamu nti,

“Nze Luusi omuwereza wo. Mbikkaako ku lugoye lwo kubanga oli mununuzi wa kika.” Luusi 3:9

Era Bowaazi yamuddaamu nti,

“Mukama Katonda akuwe omukisa muwala ggwe, olw’ekisa ekinene kyondaze okusinga eky’olubereberye, kubanga togenze wa bavubuka, abagagga oba abaavu.” Luusi 3:10

Bowaazi nakkiriza okusaba kwa Luusi. Era Luusi bwe yaddayo eka yateegeza nnyazaala nga bwe byali bigenze. Mu kudaamu, Nawomi yamugamba nti,

“Gumiikiriza, muwala wange, olabe ebigambo gye binakkira, kubanga leero omusajja oyo tajja kuwummula okutuusa ensonga eyo lw’anagimala.” Luusi 3:18

Wabula waliwo muganda wa Erimereki asinga ku Bowaazi, era nga yasooka kumubuuza oba yaali mwetegefu okugula ekibanja kya Erimereki. Omusajja yali akkiriza, wabula nateekawo akawayiro nti,

“Olunaku lw’oligula ekibanja ekyo ku Nawomi, ne Luusi Omumowaabu, nnamwandu naye olimutwala, erinnya lye yafa n’olikuuma n’ebintu bye n’obirabirira.” Luusi 4:5

Omwami oyo yagaana, era n’asaba Bowaazi yaba abinunnula. Bowaazi bwe yakkiriza, Abakadde ne boogera nti,

“Tuli bajulirwa. Mukama Katonda amufaananye nga Laakeeri ne Leeya, abaazimbira awamu ennyumba ya Isirayiri. Naawe Bowaazi oyale mu efulasi, era oyatiikirire mu Besirekemu.” Luusi 4:11

Bowaazi n’awasa Luusi. Era Luusi bwe yazaala omwana ow’obulenzi, abakyala ne bagamba Nawomi nti,

“Mukama Katonda yeebazibwe, oyo atakulese nga tolina mununuzi olunaku lwa leero. Era erinnya ly’omwana lyatiikirire mu Isirayiri yonna!” Luusi 4:14

Katonda omwesigwa, asonyiwa era omununuzi! Ekitundu eky’okubiri

“Mu biro ebyo tewaali kabaka mu Isirayiri; buli muntu yakolanga nga bwayagala.Ebyabalamuzi 21:25

Ekijjulo kyaffe kiva mu Ebyabalamuzi 13-21.  Mubufunze tulaba omunuzi alinga eyasembayo mu kitabo kyabalamuzi, Samusooni. Era nga bwe yamala okutiibwa, Isirayiri neyita mu kiseera nga telina kabaka oba abalamuzi nga buli muntu akola nga bwe yeyagalira.

Mu kusosotola, tulaba nga olw’okwonoona kwa Isirayiri, Mukama abagabula mu mukono gw’Abafirisuuti.

“Awo abaana ba Isirayiri ne beeyongera okukola ebibi mu maaso ga Mukama. Mukama Katonda kyeyava abagabula mu mukono gw’Abafirisuuti okumala emyaka amakumi ana.” Ebyabalamuzi 13:1

Oluvanyuuma Mukama yakola omupango ogw’okubaweweeza ku bulumbi bw’Abafirisuuti era okuzalibwa kwa Samusooni kwa langibwa Malayika wa Mukama Katonda. Era Samusooni,

“Teyalina kunywa wayini, newakubadde ekitamiza kyonna, wadde okulya ekintu kyonna ekitali kirongoofu…” Ebyabalamuzi 13:4

Era nti,

“Tamwebwangako nviiri, kubanga omulenzi aliba muwonge wa Katonda ng’akyali mu lubuto lwa nnyina, era yalitanula okulokola Isirayiri okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.” Ebyabalamuzi 13:5

Samusooni bwe yakula, nalaba omukazi gwe yogemba era nategeezako bakadde be nti,

“Nalabye omukazi ku bawala ab’Abafirisuuti mu timuna. Kale mumumpasize kaakano.” Ebyabalamuzi 14:2

Samusooni ne bakadde be bwe baali baserengeta okufuna omukazi Samusooni gwe yali asiimye, empologoma nemulumba.

“Awo omwoyo wa Mukama Katonda n’amukkako, n’ayuzaayuza empologoma n’emikono gye ng’ayuzaayuza akabuzi akato, naye n’atabaako ky’ategeeza kitaawe newaakubadde nnyina.” Ebyabalamuzi 14:6

Bwe baali mukabaga akokuwasa omukazi Samusooni nakokkolera ekikokko abasajja asatu abaali bavudde ew’omukyala nga singa bakidamu butuufu yali wakubawa ebyambalo bya linena amakumi asatu.

Era ekikokko kye kino,

“Mu muli mwavaamu ekyokulya Mu w’amaanyi mwavaamu ekiwoomerera.” Ebyabalamuzi 14:14

Bwe kityo kya balema okutta era nebatisa omukazi okumwokya omuliiro okujjaako ng’asenzesenze Samusooni akimubulire. Era bwatyo yasendasenda mwami we nakimubulira. Amakulu g’ekikokko gegaano,

” Kiki ekisinga omubisi gw’enjuki okuwoomerera? Kiki ekisinga empologoma amaanyi?” Ebyabalamuzi 14:18

Ng’oggyeeko okubasasula, amukazi wa Samusooni bamugabira mukwano gwe. Samusooni nanyiiga era nakuma omuliro ku nniimiro z’Abafirisuuti ng’akozesa ebibe ebikuumi bisatu. Era tutegezebwa nga ebyo bimaze okubaawo nti,

“Abafirisuuti ne bagenda ne bookya omukazi ne kitaawe omuliro.” Ebyabalamuzi 15:6b

Bwe bamala era ne batanula okunoonya Samusooni bamutte. Abasajja ba Yuda nebayombesa Samusooni, wabula naabasaba baleme okumutta wabula bamuweyo buwi eri Abafirisuuti. Wabula bwe yaali attuka webali tutegezebwa nti,

“Awo omwoyo wa Mukama Katonda n’amukkako, emiguwa egyali gimusibye emikono ne giba ng’obugoogwa obwokeddwa omuliiro.” Ebyabalamuzi 16:14

Era bwatyo nakozesa oluba lw’endogoyi n’atta abasajja lukumi. Era tutegezebwa nti,

“Samusooni n’akulembera Isirayiri mu biro by’Abafirisuuti, okumala emyaka amakumi abiri.” Ebyabalamuzi 15:20

Oluvanyuuma lw’ebyo, Samusooni naganza Derira. Abakulembeze  b’Abafirisuuti nebasuubiza okuwa Derira sente singa asendasenda Samusooni n’amubuulira ensibuuko y’amaanyi ge.

“Musendesende olabe amaanyi ge amangi mwe gasibuka, tulyoke tusinziire okwo okumusobola, tumusibe tumujeeze. Naffe tulikuwa buli omu ku ffe, ebitundu bya ffeeza lukumi mu kikumi.” Ebyabalamuzi 16:5

Samusooni yalimba Derira enfunda, naye oluvanyuma namwatulira ensibuuko y’amaanyi ge. Samusooni namutegeeza nti,

“Simwebwangako nviiri, kubanga ndi muwonge eri Katonda okuva mu lubuto lwa mmange. Bwe mwebwako enviiri, olwo amaanyi gange gananvaako, ne nnafuwa, ne mbeera ng’omuntu omulala yenna.” Ebyabalamuzi 16:17

Bwatyo Samusooni n’akwatiibwa era ne bamuggyamu amaaso. Era Abafirisuuti bwe balaba Samusooni ng’awambiddwa ne boogera nti,

“Lubaale waffe agabudde omulabe waffe mu mukono gwaffe, oyo eyazikiriza ensi yaffe, n’atta bangi ku ffe.” Ebyabalamuzi 16:24

Oluvanyuma Samusooni y’afa n’Abafirisuuti bwe baali baali mu kayisanyu. Ng’atanakola ky’abuzira kino, yasaba Mukama nti,

“Mukama Katonda onzijukire kaakano, ompe amaanyi. Omulundi guno gwokka, ayi Katonda mpalane eggwanga ku Bafirisuuti olw’amaaso gange abiri.” Ebyabalamuzi 16:28

Ebyo nga biwedde tutegezebwa nti,

“Mu biro ebyo tewaaliwo kabaka mu Isirayiri, era buli muntu yakolaanga nga bw’alaba.” Ebyabalamuzi 17:6

Era ne ekika ky’Abadani nakyo kiwamba ekibuga Layisi.

Tugenda mumaso okulaba ku muleevi eyalina omukazi eyalina omukazi ataali mwesigwa. Omukazi ono yanoba n’addayo ewa kitawe, wabula omuleevi bwe yamunonayo, olunaku lwe yali adda waliwo abasajja Abenjamini abasobya ku mukwala we era n’afa. Era yamusalasalamu ebitundu kumi na bibiri nabisindikira buli kika kya Isirayiri.

Gye byagweera nga ebika bya Isirayiri ebirala byonna byekunze okujja okulwanyisa ekika kya Ababenjamini ekyali kikoze ekikolwa ekyo. Abasajja bonna batibwa okujaako abasajja lukaga abekweka. Wabula oluvanyuma bakola omupango abasajja olukaga bonna ne bafunirwa abakazi, ekika ky’Ababenjamini kireme okusangulibwawo mu Isirayiri.

“Mu biro ebyo tewaali kabaka mu Isirayiri; buli muntu yakolanga nga bwayagala.Ebyabalamuzi 21:25

 

Katonda omwesigwa, asonyiwa era omununuzi! Ekitundu ekisooka

“Abo bonna abakwagala bamasemasenga ng’enjuba ey’akavaayo mu maanyi gaayo.Ebyabalamuzi 5:31

Eby’assava leero tubigye mu Ebyabalamuzi 1-12. Mu bufunze, ekitabo kino ekyabalamuzi kinnyonyola ku byafaayo bya Isirayiri ebyabawo wakati w’okufa kwa Yoswa n’okuzalibwa kwa Samwiri n’ebintu eby’ejawulo abalamuzi abenjawulo bye baakola. Era tulaba nga buuli Isirayiri bwe yagonderanga era ne yewaayo eri Mukama babanga n’emirembe. Buuli bwe bamuvangako, abalabe baabwe nga baberisizaako enkuuli. Wabula bwe beenenyanga oluvanyuuma lw’okusobya Katonda yabasonyiwanga era nabaletera omununuzi.

Nga tusosotola, abaana ba Isirayiri babuuza Mukama eyali owokusooka okwaŋŋanga Abakanani okubalwanyisa nga Yoswa amaze okufa.

“Mukama Katonda n’abaddamu nti Yuda yalisooka, era laba mbawadde obuwanguzi ku Bakanani.” Ebyabalamuzi 1:2

Era Yuda yagenda mumaso nakola ennumba, era ne Mukama nabaawa obuwanguzi.

“Mukama yali wamu ne Yuda n’awangula abantu abaabeeranga mu nsozi.” Ebyabalamuzi 1:19

Era tutegezebwa nti,

“Awo Abayisirayiri bwe beeyongera amaanyi ne bawaliriza Abakanani okubakoleranga emirimu mu kifo ky’okugobwa mu nsi eyo.” Ebyabalamuzi 1:28

Bwe tweyongerayo tulaba Malayika wa Mukama ye mulugunyiza abaana ba Isirayiri ng’agamba nti,

“Nabaggya mu nsi y’e Misiri ne mbaleeta mu nsi gye nalayira okuwa bajjajjammwe; ne ŋŋamba nti, Endagaano yange gye nalagaana nammwe sirigimenya emirembe gyonna; nammwe temukolanga ndagaano n’abantu ab’omu nsi eyo: museseggulanga ebyoto byabwe; naye mmwe temugondedde kiragiro kyange: Kiki ekibakozesezza bwe mutyo?” Ebyabalamuzi 2:1-2

Era Mukama naye nagamba nti olw’obujeemu bwabwe teyali wa kufubutula balabe baabwe mu maaso gabwe.

Wabula tudizibwayo ko emabega, era netutegezebwa nti,

“Abayisirayiri ne baweerezanga Mukama mu kiseera kyonna ekya Yoswa era ne mu kiseera kyonna eky’abakulembeze abaawangaala okusinga Yoswa era abalaba ebikolwa eby’amaanyi Mukama bye yakolera Abayisirayiri.” Ebyabalamuzi 2:7

Era tutegezebwa nti,

“Awo ab’omulembe gwa Yoswa bonna bwe baafa ne baggwaawo ne waddawo omulembe gw’abataamanya Mukama yadde ebikolwa eby’amaanyi bye yakolera Abayisirayiri.” Ebyabalamuzi 2:10

Omulembe guno gw’anyiiza Mukama kubanga baagoberera era ne basinza bakatonda abalala abamawanga agaali gabeetoolodde.

“Mukama n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri: Kyeyava abawaayo mu mikono gy’abanyazi ne babanyaganga era ne batasobola na kwerwanako okuva mu mikono gy’abalabe baabwe ababeetoolodde kubanga Mukama yali amaze okubawayo.” Ebyabalamuzi 2:14

Wabula tutegezebwa nti,

“Mukama n’abawa abakulembeze abaabalwaniriranga ne babawonya abanyazi.” Ebyabalamuzi 2:16

Era nti,

“Olw’okusindanga n’okweraliikirizibwa abalabe baabwe abaabajooganga, Mukama kyeyava abakwatirwa ekisa.” Ebyabalamuzi 2:18b

Era tutegezebwa nti,

“Waliwo amawanga Mukama gaatazikiriza asobole okuyigiririzaako Abayisirayiri bonna abataamanya ntalo zonna ez’omu Kanani; Kino kiyaambe Abayisirayiri ab’omulembe omuggya abatalwanangako okukuguka mu by’entalo.” Ebyabalamuzi 3:1

Agattaako nti,

“Era gaalekebwawo okugezesa Abayisirayiri obanga baligondera amateeka ga Mukama ge yalagira bajjajjabwe ng’ayita mu Musa.” Ebyabalamuzi 3:4

Olwempisa embi za Isirayiri, Mukama yabawayo okufugibwa bakabaka abenjawulo okugeza Kabaka Kusanurisasaimu ow’e Mesopotamiya. Wabula tutegezebwa nti,

“Naye Abayisirayiri bwe baalaajanira Mukama, kyeyava abawa omulwanyi omuzira okubanunula erinnya lye Osunieri azaalibwa Kenezi muto wa Kalebu.” Ebyabalamuzi 3:9

Era tutegezebwa nti,

“Awo ne wayitawo emyaka ana ng’Abayisirayiri bali mu mirembe okutuusa ddala Osunieri mutabani wa Kenazi bwe yafa.” Ebyabalamuzi 3:11

Abalamuzi abalala abayimukawo mwe mwali Ekudi, Samugali ne Debola. Debola weyafugira, Mukama yaali yawayo Abayisirayiri mu mikono gya Yabini Kabaka wa Kanani.

“Awo Nnabbi Debola Mukazi wa Leppidosi ye yali akulembera Abayisirayiri mu kiseera ekyo.” Ebyabalamuzi 4:4

Wabula gye byagweera nga Yabini awanguddwa,

“Abayisirayiri ne beeyongera okufufuggaza Yabini kabaka wa Kanani okutuusa lwe bamuzikiririza ddala.” Ebyabalamuzi 4:24

Debola eya bwatyo yayimba oluyimba ng’obuwanguzi buno butuseewo. Ebimu ku bya muluyimba by’ebino:

“Mutendereze Mukama Kubanga Mu Isirayiri abakulembeze baatuukiriza omulimu gwabwe n’abantu ne beewaayo nga baagala.” Ebyabalamuzi 5:2

“Ensozi ne zikankana awali Mukama, Oyo owa Sinaayi, ne lukankana mu maaso ga Mukama Katonda w’Abayisirayiri.” Ebyabalamuzi 5:5

“Omutima gwange guli eri abakulembeze b’Abayisirayiri, n’eri abantu abeewayo nga baagala. Mutendereze Mukama..” Ebyabalamuzi 5:9

“Wulira oluyimba lw’abantu ku luzzi, nga batendereza obuwanguzi era n’ebikolwa bya Mukama eby’obutuukirivu.” Ebyabalamuzi 5:11

“Abo bonna abakwagala bamasemasenga ng’enjuba ey’akavaayo mu maanyi gaayo.Ebyabalamuzi 5:31

Bwe tweyongerayo tulaba nga Mukama ayita Gidyoni. Era Malayika wa Mukama amulabikira era nebogereganya:

“Ggwe omusajja omulwanyi namige. Mukama ali wamu naawe.Ebyabalamuzi 6:31

Mukuddamu, Gidyoni yamubuuza nti,

“Ayi Mukama wange, obanga Mukama ali wamu naffe, kale lwaki bino byonna bitutuuseeko? Eby’amagero eby’ekitalo bajjajjaffe bye baatubuulirako nti Mukama yatuggya mu Misiri, byo biruwa?Ebyabalamuzi 6:13

Wabula Mukama Katonda namukyukira n’amugamba nti,

“Ggenda n’amaanyigo g’olina, onunule Abayisirayiri mu mikono gy’Abamidiyaani: si nze nkutumye?Ebyabalamuzi 6:14

Mukama naamuwa obweyamo nti,

“Ndibeera wamu naawe, era olifufuggaza Abamidiyaani ng’olinga akuba omuntu omu.Ebyabalamuzi 6:16

Bwe tweyongera mu maaso tulaba nga Gidyoni asaba Mukama obukakafu obanga alinunula Isirayiri nga bwe yasubiiza.

Era ekyo nga kiwedde, Mukama alagira Gidyoni akendeze ku balwanyi be yaali ayungudde okutabaala ab’Abamidiyani.

“Abalwanyi bo basusse obungi; nze sibaganye kuwangula Abamidiyaani, Abayisirayiri baleme okwennyumiriza nti amaanyi gaabwe ge gabawanguzza.Ebyabalamuzi 7:2

Era tulaba Mukama ng’asitusa Gidyoni ng’amugamba nti,

“Situkiramu olumbe eggye ly’Abamidiyaani mu lusiisira kubanga mbawaddeyo mu mikono gyo.Ebyabalamuzi 7:9

Era tutegezebwa nti,

“Awo amakondeere ebikumi ebisatu bwe gaafuuyibwa, Mukama Katonda n’atabulatabula Abamidiyaani ne batiŋŋana bokka na bokka n’ebitala byabwe.Ebyabalamuzi 7:22

Bwe tweyongerayo abantu ba Isirayiri ne bagamba Gidyoni nti,

“Tufugire ddala ggwe ne mutabani wo, kubanga otulokodde okuva mu mukono gwa Midiyaani.Ebyabalamuzi 8:22

Wabula Gidyoni yabaddamu nti,

“Nze sijja kubafuga, so ne mutabani wange tajja kubafuga, wabula Mukama y’anaabafuganga.Ebyabalamuzi 8:23

Era tutegezebwa nti,

“Ensi n’eba n’emirembe okumala emyaka amakumi ana, Gidyoni gye yabalamula.Ebyabalamuzi 8:28b

BWe tweyongerayo tulaba abalamuzi abalala okwali Toola, Yayiri, ne Yefusa. Wabula nga Yefusa tanatanula kulamula, Mukama yali agabudde Abayisirayiri mu mikono gy’Abafirisuuti. Bwe bakabira Mukama, n’abagamba nti,

“Mugende mukaabire bakatonda abo be mwasalawo okuweereza, babalokole mu nnaku yammwe.Ebyabalamuzi 10:14

Wabula Isirayiri yekuba mumutima nedda eri Mukama. Era tutegezebwa nti,

“Mukama n’alumwa olw’ennaku ya Isirayiri.Ebyabalamuzi 10:16b

Bwe tweyongerayo tulaba nga Yefusa asabibwa okukulembera Isirayiri.

Era Yefusa yayamba abaana ba Isirayiri okuwangula abaana ba Amoni abaali babalubye.

Wabula nga tanagenda mulutabalo, Yefusa yeyaama nti,

“Bw’onogabula abaana ba Amoni mu mukono gwange, ekintu kyonna ekirifuluma mu nzigi z’ennyumba yange nga nkomyewo mu buwanguzi.Ebyabalamuzi 11:30

Era tulaba nga muwala we, omwana we omu yekka yassoka okufuluma ng’akomyewo, bwatyo oluvanyuma yawebwayo eri Mukama nga okweyama kwa Yefusa bwe kwali.

Nze n’ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama Katonda

“Mulondewo leero gwe munaaweerezanga…Naye nze n’ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama KatondaYoswa 24:15

Ekijjulo kyaffe leero tukijje mu Yoswa 16-24. Mu bufunze, tulaba obukulembeze bwa Yoswa ng’abaana ba Isirayiri batebenkedde mu Kanani. Yoswa agenda mumaso okugabira Abayisirayiri omugabo gwabwe. Era Oluvanyuma tulabanga naye afa.

Mu kibego ekisooka, Yoswa agenda mumaso ng’alambika emigabo gy’ebika eby’enjawulo eby’abaana ba Isirayiri.

Bwe ya tuuka ku Manase, tutegezebwa nti,

“Naye Zerofekadi mutabani wa Keferi mutabani wa Gireyaadi mutabani wa Manase teyazaala baana balenzi wabula bawala bokka era baali bayitibwa Maala ne Noowa, ne Kogula, ne Mirika ne Tiruza.” Yoswa 17:3

Era bano bagenda eri Eriyazaali kabona ne Yoswa n’ebabajjukiza Musa kye yali ayoggedde mu kukubawa omugabo.

“Mukama yalagira Musa okutuwa omugabo nga baganda baffe.” Yoswa 17:4b

Tutegezebwa nate nti Manase teyasobola mu bibuga bye baali bawereddwa, wabula babafula baddu bwebeyongera amanyi.

“Naye abaana ba Isirayiri bwe beeyongera amaanyi ne bafuula Abakanani abaddu baabwe ab’okubakozesanga emirimu, ne batabeegoberako ddala.” Yoswa 17:13

Bwe tweyongerayo tulaba nga abaana ba Yusufu beemulugunya olw’okubawa ekitundu ky’omugabo kimu. Mukuddamu, Yoswa yabagamba nti,

“…Muli kika kinene era mulina amaanyi mangi temuliba na mugabo gumu gwokka, naye ensi ey’ensozi eribeera yammwe, newaakubadde nga ya kibira mulikisaawa okutuuka gye kikoma, kubanga muligobamu Abakanani newaakubadde nga balina amagaali ag’ebyuma era nga baamaanyi.Yoswa 17:17b-18

Yoswa agenda mumaso okulaga emigabo gy’ebika ebirara byonna. Era oluvanyuma naye omugabo gwe n’egumuweebwa.

“…Bwe batyo baamaliriza okugabanyaamu ensi.” Yoswa 19:51c

Mukibego ekirala, Mukama awa ekiragiro nti,

“Gamba abaana ba Isirayiri bateekewo ebibuga ebyokwekamu nga bwe nabalagira okuyita mu Musa.” Yoswa 20:2

Era tutegezebwa nti,

“Bw’atyo Mukama n’awa Isirayiri ettaka lyonna nga bwe yalayirira bajjajjaabwe, era bwe baamala okulifuna ne babeera omwo. Mukama n’abawa emirembe ne bawummula ku buli luuyi nga bwe yalayirira bajjajjaabwe, tewali mulabe waabwe n’omu gwe bataawangula kubanga Mukama yali agabudde abalabe baabwe mu mukono gwabwe.” Yoswa 21:43-44

Tutegezebwa era nti,

“Buli kintu kyonna ekirungi Mukama kye yasuubiza ennyumba ya Isirayiri yakituukiriza. Byonna byatuukirira..” Yoswa 21:45

Yoswa yagenda mu maaso n’agamba Abalewubeeni n’Abagaadi n’ekitundu eky’ekika kya Manase nti,

“Mwekuumye ne mukola byonna Musa omuweereza wa Mukama Katonda bye yabalagira. Ebbanga lyonna n’okutuusa leero temulekeredde baganda bammwe, mubadde beegendereza okukuuma ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe.” Yoswa 22:2-3

Bwatyo yabasibuula okuddayo mu maka gabwe ku luuyi olulala olwa Yoludaani ng’abakomekkereza nti,

“Wabula mwegendereze okukuumanga ebiragiro era n’amateeka Musa omuwereza wa Mukama bye yabalagira: okwagalanga Mukama Katonda wammwe, okutambuliranga mu makubo ge gonna, okukuumanga ebiragiro bye, n’okumunywererangako era n’kumuwerezanga n’omutima gwammwe gwonna era n’emmeeme yammwe yonna.” Yoswa 22:5

Wabula Abalewubeeni n’Abagaadi n’ekitundu eky’ekika kya Manase nga tebanasomaka Yoludaani bazimba ekyoto ekinene ddala ku Yoludaani. Ebika bya Isirayiri ebilala bwe byakiwulira, ne byetegeka okubakolako olutalo. Wabula nebasoka okutumayo akabinja ka bantu kumi okuva mu bika kumi nga kakulembedwa Finekaasi mutabani wa kabona Eriyazaali.

Era babagamba bati,

“Obanga ensi gye mututte sinnongoofu, mujje eno eri ensi ya Mukama, weema ya Mukama gy’eri, tugabane eno gye tuli. Kye mutasaana kukola kwe kujeemera Mukama, oba okutufuula ffe abajeemu nga mwezimbira ekyoto ekitali kya Mukama Katonda waffe.” Yoswa 22:

Bayongerako nti,

“Akani mutabani wa Zeera teyajeema bwe yatoola ku bintu Mukama bye yali yeerobozza, ekiruyi kya Mukama ne kijjira ekibiina kyonna ekya Isirayiri? Si ye yekka eyazikirira olw’ekibi kye.” Yoswa 22:20

Mukuddamu, babategeeza ekyali kibazimbisizza ekyoto kino,

“…twakikola mu kutya nti mu mirembe egijja abaana baffe balitubuuza nti, ‘Mukama Katonda wa Isirayiri mumumanyiiko ki?’ Kubanga Mukama yakola Yoludaani okubeera ensalo wakati wammwe naffe mmwe Abalewubeeni, n’Abagaadi, temulina mugabo eri Mukama Katonda.’ Noolwekyo abaana bammwe bayinza okugaana abaana baffe okusinza Mukama Katonda.” Yoswa 22:24-25

Era ne bongerako nti ekyoto kyali kikoleddwa nga kabonero akobujjulizi wakati wabwe n’ebika bya Isirayiri ebirara. Nebagumiza nti,

“Kikafuuwe ffe okujeemera Mukama era n’okumuvaako leero ne tutamugoberera nga tuzimba ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa,” Yoswa 22:129

Ekyoto n’ekikkirizibwa era Finekaasi n’ayogera nti,

“Leero tutegedde nti Mukama ali wakati mu ffe, kubanga temukoze kivve kino eri Mukama Katonda, kaakano abantu ba Isirayiri mubawonyezza omukono gwa Mukama Katonda” Yoswa 22:31

Bwe baddayo eri Abayisirayiri nebabategeza nga bwe bibadde,

“Bye baayogera ne bisanyusa abantu ba Isirayiri ne bagulumiza katonda ne bataddayo kwogera ku bya lutalo kubalumba, bazikirize ensi  Abalewubeeni n’Abagaadi gye baali basenze.” Yoswa 22:33

Bwetuva awo, Yoswa asibula. Era yayita Abayisirayiri bonna, abakadde baabwe, n’abakulembeze baabwe, abalamuzi n’abakungu nabagamba nti,

“Kaakano nkaddiye era mmaze emyaka mingi; mmwe bennyini mulabye byonna Mukama Katonda wammwe byakoze amawanga gano gonna ku lwammwe, kubanga Mukama Katonda wammwe yabalwaniridde.” Yoswa 23:2b-3

Nayongerako nti,

“Noolwekyo mwegendereze nnyo okukwata n’okukola byonna ebiwandikiddwa mu kitabo kya Musa eky’amateeka, obutakyama kukivaako kudda ku ddyo wadde ku kkono. Naye munywerere ku Mukama Katonda wammwe nga bwe mukoze okutuusa leero. ” Yoswa 23:6,8

Era nti,

“Omuntu omu ku mmwe agoba abantu lukumi, kubanga Mukama Katonda wammwe yaabalwanirira nga bwe yabasuubiza.” Yoswa 23:10

Nabalabula nti,

“Bwe munaamuvaangako ne mwegattanga n’abamawanga abaasigalawo abali mu mmwe, oba ne mufumbiriganwa ne mukolagananga nabo, mukitegeererewo nti Mukama Katonda wammwe tagenda kweyongera kubagobamu mawanga gano, naye ganaafukanga emitego era enkonge gye muli, embooko ezinaabakubanga mu mbirizi…” Yoswa 23:12-13

Era Yoswa abategeza nti yali anaatera okukwata olugendo lw’abantu bonna ab’oku nsi. Nabajjukiza nti,

“Tewali kintu kyonna kitatuukiridde Mukama Katonda wammwe kye yasuubiza ekibakwatako.” Yoswa 23:14b

Ayongera okwogera kubuwanguzi bwonna bwe baali batuuseko okugoba amawanga mu Kanani. Abagamba nti,

“Si mmwe mwakikola n’ekitala kyammwe wadde obusaale. ” Yoswa 24:12b

Abasaba nti,

“Noolwekyo kaakano mutye Mukama Katonda era mumuweereze mu bwesimbu era mu mazima, muggyeewo bakatonda babajjajjammwe be baawererezanga emitala w’omugga ne mu Misiri, muweereze Mukama Katonda.” Yoswa 24:14

Yoswa bwatyo abagamba balondewo gwe banaweerezanga.

“…, mulondewo leero gwe munaaweerezanga…. Naye nze n’ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama KatondaYoswa 24:15

Abantu bonna ne baddamu nti,

“Naffe kyetunaava tuweerezanga Mukama Katonda, kubanga ye Katonda waffe.” Yoswa 24:18b

Yoswa Nabalabula nti,

“Kizibu okuweereza Mukama, kubanga Katonda mutukuvu, Katonda wabuggya, taasonyiwenga bujeemu bwammwe newaakubadde ebibi byammwe.” Yoswa 24:19

Abantu bonna ne bagamba Yoswa nti,

“Tujja kuweerezanga Mukama Katonda waffe era tujja kumugonderanga.” Yoswa 24:24

Era tutegezebwa nti,

“Abayisirayiri ne baweereza Mukama ennaku zonna ez’abakadde abaasigalawo nga Yoswa amaze okufa era abaamanya emirimu gyonna Mukama Katonda gye yakolera Isirayiri.” Yoswa 24:31