Munnoonye kale munaabanga balamu

“Ekiseera kijja”, bw’ayogera Mukama Katonda, “lwe ndisindika enjala mu nsi yonna, teriba njala ya mmere oba nnyonta y’amazzi, naye eriba enjala y’ekigambo kya Katonda.”  Amos 8:11

Ebyasava bino bijiddwa mu kitabo Amos 1-9. Era ekijjulo kino kiraga nga Katonda bw’atasanyukira butali bwenkanya.

Mukwanjuluza Mukama alamula bariranwa ba Isirayiri. Okugeza nga Gaza, Ttuulo, amoni, Edomu, Damasiko, Mowaabu nga kwotadde ne Yuda. Ku Yuda ayogera nti,

“Olw’ebyonoono bya Yuda ebisatu weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange. Kubanga banyoomye amaateka ga Mukama, ne batakuuma biragiro bye nabawa ne bagondera bakatonda ab’obulimba bajjajjaabwe be baagobereranga.”  Amos 2:4

Era nti,

“Batunda obuukirivu bafune ffeeza…omwana ne kitaawe bayingira eri omuwala omu ne boonoona erinnya lyange.”  Amos 2:6c,7b

Era Mukama ayogera nti,

“Laba, ndibasesebbula…abanguwa tebaliwona, n’ab’amaanyi tebaliŋŋaanya maanyi gaabwe era n’omuzira nnamige talisobola kuwonya bulamu bwe.”  Amos 2:13a,14

Era Mukama ayongera okulabula Isirayiri nti,

“Mu bantu bonna abali ku nsi, mmwe mwekka be nalonda. Kyendiva mbabonereza olw’ebibi byammwe byonna. Abantu ababiri bayinza okutambulira awamu wabula nga bakkiriziganyizza?”  Amos 3:2-3

Era Mukama abuuza ebibuuzo ebyenjawulo, okugeza,

“Akanyonyi kayinza okugwa mu mutego nga tewali kikasikirizza? Omutego gumasuka nga teguliiko kye gukwasizza.”  Amos 3:5

Era,

“Akagombe kavugira mu kibuga abantu ne batatya?.”  Amos 3:6

Ekirala,

“Naye ddala Mukama Katonda takola kintu kyonna nga tasoose kukibikkulira baweereza be, bannabbi.”  Amos 3:7

Era Mukama alabula enju ya Yakobo nti,

“Era ndisaanyaawo ennyumba ebeerwamu mu biseera eby’obutiti, awamu n’ennyumba ebeerwamu mu biseera ey’ebbugumu.”   Amos 3:15

Era kyogerwa nti,

“Mu  butukuvu bwe Mukama Katonda alayidde nti,”  Amos 4:2

“Nabaleetera enjala embuto zammwe ne ziba njereere mu buli kibuga, ne ssibawa kyakulya mu buli kabuga, naye era ne mugana okudda gyendi.”  Amos 4:6

Mukama era ayogera ku bye yakola abantu be naye era nebatadda gyali,

“Emirundi mingi ebirime byammwe na bigengewaza. Nabireetaako obulwadde…naye era temwadda gyendi.”  Amos 4:9

Era ku Mukama kyogerwa nti,

“Oyo eyatonda ensozi era ye yatonda n’embuyaga era abikkulira omuntu ebirowoozo bye. Yafuula enkya okubeera ekiro…Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.”  Amos 4:13

Ewalala Mukama ayogera nti,

“Munnoonye kale munaabanga balamu.”  Amos 5:4

Era nti,

“Oyo eyakola ettendo eriri mu mmunyeenye ezaaka…era akyusa obudde ne buva mu kitangaala ne bufuuka ekiro, ayita amazzi g’omu nnyanja ne gafukirira ensi ng’enkuba, Mukama lye linnya lye.”  Amos 5:8

Era alabula nti,

“Newaakubadde nga mwezimbidde amayumba ag’amayinja, temuligabeeramu.”  Amos 5:11

Wabula,

“Munoonyenga okukola obulungi so si obubi munaaberanga balamu! Mukyawe ekibi, mwagalenga ekirungi”  Amos 5:14-15a

Era Mukama ayatula nti,

“Nkyawa, era nnyooma embaga zammwe n’emikolo gyammwe egy’eddiini so sisanyukira kukuŋŋaana kwammwe.”  Amos 5:21

Naye alaga kya yagala,

“Kye njagala okulaba ge mazima n’obwenkanya nga bikulukuta ng’amazzi, n’obutuukirivu ng’omugga ogw’amaanyi.”  Amos 5:24

Era Mukama enenya abali mu mirembe nti,

“Mwekatankira wayini, ne mwesiiga n’ebizigo ebirungi, naye temukaabira kubonaabona kwa Yusufu.”  Amos 6:6

Ewalala Mukama ayogera nti,

“Ekiseera kijja”, bw’ayogera Mukama Katonda, “lwe ndisindika enjala mu nsi yonna, teriba njala ya mmere oba nnyonta y’amazzi, naye eriba enjala y’ekigambo kya Katonda.”  Amos 8:11

Era Mukama ayogera ku balitwalibwa mubuwaŋŋanguse nti,

“Ndibasimba amaaso ne batuukibwako bibi so si birungi.”        Amos 9:4b

Era kyogerwa nti,

“Oyo eyazimba olubiri lwe olulungi ennyo mu ggulu, omusingi gwalwo ne gubeera ku nsi, ayita amazzi g’ennyanja, n’agayiwa wansi ku lukalu, Mukama lye linnya lye.”  Amos 9:6

Ekijjulo kino kiwumbibwako nga Mukama asubiza nti,

“Ndisimba Isirayiri mu nsi yaabwe era tebaliggibwa nate mu nsi gye nabawa,”  bw’ayogera Mukama Katonda. Amos 9:15