Nze n’ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama Katonda

“Mulondewo leero gwe munaaweerezanga…Naye nze n’ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama KatondaYoswa 24:15

Ekijjulo kyaffe leero tukijje mu Yoswa 16-24. Mu bufunze, tulaba obukulembeze bwa Yoswa ng’abaana ba Isirayiri batebenkedde mu Kanani. Yoswa agenda mumaso okugabira Abayisirayiri omugabo gwabwe. Era Oluvanyuma tulabanga naye afa.

Mu kibego ekisooka, Yoswa agenda mumaso ng’alambika emigabo gy’ebika eby’enjawulo eby’abaana ba Isirayiri.

Bwe ya tuuka ku Manase, tutegezebwa nti,

“Naye Zerofekadi mutabani wa Keferi mutabani wa Gireyaadi mutabani wa Manase teyazaala baana balenzi wabula bawala bokka era baali bayitibwa Maala ne Noowa, ne Kogula, ne Mirika ne Tiruza.” Yoswa 17:3

Era bano bagenda eri Eriyazaali kabona ne Yoswa n’ebabajjukiza Musa kye yali ayoggedde mu kukubawa omugabo.

“Mukama yalagira Musa okutuwa omugabo nga baganda baffe.” Yoswa 17:4b

Tutegezebwa nate nti Manase teyasobola mu bibuga bye baali bawereddwa, wabula babafula baddu bwebeyongera amanyi.

“Naye abaana ba Isirayiri bwe beeyongera amaanyi ne bafuula Abakanani abaddu baabwe ab’okubakozesanga emirimu, ne batabeegoberako ddala.” Yoswa 17:13

Bwe tweyongerayo tulaba nga abaana ba Yusufu beemulugunya olw’okubawa ekitundu ky’omugabo kimu. Mukuddamu, Yoswa yabagamba nti,

“…Muli kika kinene era mulina amaanyi mangi temuliba na mugabo gumu gwokka, naye ensi ey’ensozi eribeera yammwe, newaakubadde nga ya kibira mulikisaawa okutuuka gye kikoma, kubanga muligobamu Abakanani newaakubadde nga balina amagaali ag’ebyuma era nga baamaanyi.Yoswa 17:17b-18

Yoswa agenda mumaso okulaga emigabo gy’ebika ebirara byonna. Era oluvanyuma naye omugabo gwe n’egumuweebwa.

“…Bwe batyo baamaliriza okugabanyaamu ensi.” Yoswa 19:51c

Mukibego ekirala, Mukama awa ekiragiro nti,

“Gamba abaana ba Isirayiri bateekewo ebibuga ebyokwekamu nga bwe nabalagira okuyita mu Musa.” Yoswa 20:2

Era tutegezebwa nti,

“Bw’atyo Mukama n’awa Isirayiri ettaka lyonna nga bwe yalayirira bajjajjaabwe, era bwe baamala okulifuna ne babeera omwo. Mukama n’abawa emirembe ne bawummula ku buli luuyi nga bwe yalayirira bajjajjaabwe, tewali mulabe waabwe n’omu gwe bataawangula kubanga Mukama yali agabudde abalabe baabwe mu mukono gwabwe.” Yoswa 21:43-44

Tutegezebwa era nti,

“Buli kintu kyonna ekirungi Mukama kye yasuubiza ennyumba ya Isirayiri yakituukiriza. Byonna byatuukirira..” Yoswa 21:45

Yoswa yagenda mu maaso n’agamba Abalewubeeni n’Abagaadi n’ekitundu eky’ekika kya Manase nti,

“Mwekuumye ne mukola byonna Musa omuweereza wa Mukama Katonda bye yabalagira. Ebbanga lyonna n’okutuusa leero temulekeredde baganda bammwe, mubadde beegendereza okukuuma ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe.” Yoswa 22:2-3

Bwatyo yabasibuula okuddayo mu maka gabwe ku luuyi olulala olwa Yoludaani ng’abakomekkereza nti,

“Wabula mwegendereze okukuumanga ebiragiro era n’amateeka Musa omuwereza wa Mukama bye yabalagira: okwagalanga Mukama Katonda wammwe, okutambuliranga mu makubo ge gonna, okukuumanga ebiragiro bye, n’okumunywererangako era n’kumuwerezanga n’omutima gwammwe gwonna era n’emmeeme yammwe yonna.” Yoswa 22:5

Wabula Abalewubeeni n’Abagaadi n’ekitundu eky’ekika kya Manase nga tebanasomaka Yoludaani bazimba ekyoto ekinene ddala ku Yoludaani. Ebika bya Isirayiri ebilala bwe byakiwulira, ne byetegeka okubakolako olutalo. Wabula nebasoka okutumayo akabinja ka bantu kumi okuva mu bika kumi nga kakulembedwa Finekaasi mutabani wa kabona Eriyazaali.

Era babagamba bati,

“Obanga ensi gye mututte sinnongoofu, mujje eno eri ensi ya Mukama, weema ya Mukama gy’eri, tugabane eno gye tuli. Kye mutasaana kukola kwe kujeemera Mukama, oba okutufuula ffe abajeemu nga mwezimbira ekyoto ekitali kya Mukama Katonda waffe.” Yoswa 22:

Bayongerako nti,

“Akani mutabani wa Zeera teyajeema bwe yatoola ku bintu Mukama bye yali yeerobozza, ekiruyi kya Mukama ne kijjira ekibiina kyonna ekya Isirayiri? Si ye yekka eyazikirira olw’ekibi kye.” Yoswa 22:20

Mukuddamu, babategeeza ekyali kibazimbisizza ekyoto kino,

“…twakikola mu kutya nti mu mirembe egijja abaana baffe balitubuuza nti, ‘Mukama Katonda wa Isirayiri mumumanyiiko ki?’ Kubanga Mukama yakola Yoludaani okubeera ensalo wakati wammwe naffe mmwe Abalewubeeni, n’Abagaadi, temulina mugabo eri Mukama Katonda.’ Noolwekyo abaana bammwe bayinza okugaana abaana baffe okusinza Mukama Katonda.” Yoswa 22:24-25

Era ne bongerako nti ekyoto kyali kikoleddwa nga kabonero akobujjulizi wakati wabwe n’ebika bya Isirayiri ebirara. Nebagumiza nti,

“Kikafuuwe ffe okujeemera Mukama era n’okumuvaako leero ne tutamugoberera nga tuzimba ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa,” Yoswa 22:129

Ekyoto n’ekikkirizibwa era Finekaasi n’ayogera nti,

“Leero tutegedde nti Mukama ali wakati mu ffe, kubanga temukoze kivve kino eri Mukama Katonda, kaakano abantu ba Isirayiri mubawonyezza omukono gwa Mukama Katonda” Yoswa 22:31

Bwe baddayo eri Abayisirayiri nebabategeza nga bwe bibadde,

“Bye baayogera ne bisanyusa abantu ba Isirayiri ne bagulumiza katonda ne bataddayo kwogera ku bya lutalo kubalumba, bazikirize ensi  Abalewubeeni n’Abagaadi gye baali basenze.” Yoswa 22:33

Bwetuva awo, Yoswa asibula. Era yayita Abayisirayiri bonna, abakadde baabwe, n’abakulembeze baabwe, abalamuzi n’abakungu nabagamba nti,

“Kaakano nkaddiye era mmaze emyaka mingi; mmwe bennyini mulabye byonna Mukama Katonda wammwe byakoze amawanga gano gonna ku lwammwe, kubanga Mukama Katonda wammwe yabalwaniridde.” Yoswa 23:2b-3

Nayongerako nti,

“Noolwekyo mwegendereze nnyo okukwata n’okukola byonna ebiwandikiddwa mu kitabo kya Musa eky’amateeka, obutakyama kukivaako kudda ku ddyo wadde ku kkono. Naye munywerere ku Mukama Katonda wammwe nga bwe mukoze okutuusa leero. ” Yoswa 23:6,8

Era nti,

“Omuntu omu ku mmwe agoba abantu lukumi, kubanga Mukama Katonda wammwe yaabalwanirira nga bwe yabasuubiza.” Yoswa 23:10

Nabalabula nti,

“Bwe munaamuvaangako ne mwegattanga n’abamawanga abaasigalawo abali mu mmwe, oba ne mufumbiriganwa ne mukolagananga nabo, mukitegeererewo nti Mukama Katonda wammwe tagenda kweyongera kubagobamu mawanga gano, naye ganaafukanga emitego era enkonge gye muli, embooko ezinaabakubanga mu mbirizi…” Yoswa 23:12-13

Era Yoswa abategeza nti yali anaatera okukwata olugendo lw’abantu bonna ab’oku nsi. Nabajjukiza nti,

“Tewali kintu kyonna kitatuukiridde Mukama Katonda wammwe kye yasuubiza ekibakwatako.” Yoswa 23:14b

Ayongera okwogera kubuwanguzi bwonna bwe baali batuuseko okugoba amawanga mu Kanani. Abagamba nti,

“Si mmwe mwakikola n’ekitala kyammwe wadde obusaale. ” Yoswa 24:12b

Abasaba nti,

“Noolwekyo kaakano mutye Mukama Katonda era mumuweereze mu bwesimbu era mu mazima, muggyeewo bakatonda babajjajjammwe be baawererezanga emitala w’omugga ne mu Misiri, muweereze Mukama Katonda.” Yoswa 24:14

Yoswa bwatyo abagamba balondewo gwe banaweerezanga.

“…, mulondewo leero gwe munaaweerezanga…. Naye nze n’ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama KatondaYoswa 24:15

Abantu bonna ne baddamu nti,

“Naffe kyetunaava tuweerezanga Mukama Katonda, kubanga ye Katonda waffe.” Yoswa 24:18b

Yoswa Nabalabula nti,

“Kizibu okuweereza Mukama, kubanga Katonda mutukuvu, Katonda wabuggya, taasonyiwenga bujeemu bwammwe newaakubadde ebibi byammwe.” Yoswa 24:19

Abantu bonna ne bagamba Yoswa nti,

“Tujja kuweerezanga Mukama Katonda waffe era tujja kumugonderanga.” Yoswa 24:24

Era tutegezebwa nti,

“Abayisirayiri ne baweereza Mukama ennaku zonna ez’abakadde abaasigalawo nga Yoswa amaze okufa era abaamanya emirimu gyonna Mukama Katonda gye yakolera Isirayiri.” Yoswa 24:31