Ayi Katonda,… gw’oleeta obulokozi mu nsi

“Ggwe wateekawo ensalo z’ensi; ggwe wakola ebiro eby’ekyeya n’eby’obutiti.” Zabbuli 74:17

Ekijjulo kyaffe leero kijjudde ebya ssava okuva mu Yeremiya 35-40; Psalm 74 & 79

Bwetusosotoola, mu kibego ekisooka tulaba nga Mukama alagira Yeremiya agende eri ekika ky’Abalekabu akiyite bajje mu kisenge ky’ennyumba ya Mukama abawe wayini banywe. Wabula tulaba nga bamudamu nti,

“Tetujja kunywa wayini kubanga jjajjaffe Yonadabu mutabani wa Lekabu yatulagira nti, ‘Tewabanga n’omu ku mmwe wadde abaana bammwe anywanga wayini. Era temuzimbanga ennyumba, wadde okusiganga ensigo wadde okusimba emizabbibu; temubanga na bintu bino byonna, naye mubeeranga mu weema zokka. Olwo munaawangaliranga mu nsi gye munaaberangamu.'” Yeremiya 35:6-7

Awo nno, Mukama kyava ayogera eri abantu ba Yuda n’ab’omu Yerusaalemi nti,

“Temuyinza kubaako kye muyiga, ne mugondera ebigambo byange? Yonadabu mutabani wa Lekabu yalagira batabani be obutanywa wayini n’ekiragiro kino kyakumibwa.” Yeremiya 35:13b-14a

Era nti,

“Okutuusa ne leero tebanywa wayini, kubanga baagondera etteeka lya jjajjaabwe. Naye njogedde nammwe emirundi mingi, naye temuŋŋondedde.” Yeremiya 35:14b

Era ayongerako nti,

“‘Emirundi mingi, natuma abaddu bange bonna bannabbi gye muli.’ babagamba nti, ‘Buli omu ku  mmwe ateekwa okuva mu makubo ge amabi akyuse ebikolwa bye, muleme kugoberera bakatonda balala okubaweereza, mulyoke mubeere mu nsi gye nabawa ne bajjajjammwe.’ Naye temwanfaako wadde okumpuliriza. “ Yeremiya 35:15

Era Mukama kyava ayogera nti,

“Muwulirize, ŋŋenda kuleeta ku Yuda ne ku buli muntu yenna atuula mu Yerusaalemu buli kibonoobono kye naboogerako. Nayogera nabo, naye tebampuliriza; nabayita, naye tebanziramu.” Yeremiya 35:17

Era Mukama nayogera ku nnyumba y’Abalekabu nti,

“Yonadabu mutabani wa Lekabu talirema kuba na mwana we alimpereza.” Yeremiya 35:19b

Bwe tweyongerayo, Mukama agamba Yeremiya nti,

“Twala omuzingo gw’empapula oguwandiikeko ebigambo byonna bye njogedde naawe ebikwata ku Isirayiri, ne Yuda n’amawanga gonna okuva mu biseera bye natandika okwogera naawe okuva ku bufuzi bwa Yosiya okutuusa kaakano.” Yeremiya 36:2

Era nga ekigendererwa kyali nti,

“Oboolyawo abantu ba Yuda bwe banaawulira ku bikangabwa bye ntegeka okubateekako, buli omu ku bo anaakyuka okuleka amakubo ge amabi, ndyoke mbasonyiwe ebibi byabwe n’obutali butuukirivu bwabwe.” Yeremiya 36:3

Wabula kubanga Yeremiya yali yaganibwa okugenda mu nnyumba ya Mukama, atuuma Baluki mutabani wa Neriya nti,

“Kale laga mu nnyumba ya Mukama ku lunaku olw’okusiiba osomere abantu ebigambo bua Mukama ebiri ku muzingo by’owandiise nga njogera. Bisomere abantu ba Yuda bonna abava mu bibuga byabwe. Oboolyaawo banaaleeta okwegayirira kwabwe eri Muka, era buli omu anaava mu makubo ge amabi, kubanga obusungu n’ekiruyi Mukama by’agambye okutuusa ku bantu bano binene nnyo.” Yeremiya 36:6-7

Era tulaba nga Mikaaya abuuliira abakungu bye yaali awulidde Baluki asomera abantu okuva ku muzingo. Era tulaba nga batumya Baluki wamu n;omuzingo agubasomere. Era tulaba nga basalawo okutegeeza kabaka ebigambo ebyo. Era tulaba kabaka ng’atuma Yekudi okuleeta omuzingo okuva ew’omuwandiisi era n’ebagumusomera. Kigambibwa nti,

“Buli Yekudi lwe yasomangako empapula  ssatu oba nga nnya ez’omuzingo, kabaka ng’azisala n’akambe k’omuwandiisi n’azisuula mu muliro okutuusa omuzingo gwonna lwe gwajjirira mu muliro.” Yeremiya 36:23

Era tulaba nga kabaka alagira okukwatibwa kwa Baluki ne Yeremiya, wabula Mukama yaali abakwese. Era Mukama ayogera eri Yeremiya nti,

“Twala omuzingo omulala oguwandiikeko ebigambo byonna ebyali ku muzingo ogwasooka, YEkoyakimu kabaka wa Yuda gwe yayokya.” Yeremiya 36:28

Bwe tweyongerayo, tulaba nga Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni afuula Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda okuba kabaka wa Yuda.

Era kitegezebwa nti,

“Wabula ye wadde abakungu be wadde abantu ab’omu nsi tebaafaayo ku bigambo Mukama bye yali ayogedde ng’ayita mu nnabbi Yeremiya.” Yeremiya 37:2

Bwe tweyonegrayo tulaba nga Yeremiya bamukuba era ne bamusibira mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi, gye baali bafudde ekkomera.

Wabula Zeddekiya atuywa Yeremiya era naleteebwa mu lubiri n’amubuliza mu kyama nti,

“Olinayo ekigambo kyonna okuva eri Mukama?” Yeremiya n’addamu nti, “Weewaawo, ojja kuweebwayo eri kabaka w’e Babulooni.” Yeremiya 37:17b

Era Yeremiya abuuza kabaka Zeddekiya nti,

“Musango ki gwe nzizizza gy’oli oba eri abakungu bo oba abantu bano; mulyoke munteeke mu kkomera?” Yeremiya 37:18

Bwe tweyongerayo, Mukama agamba nti,

“Buli muntu anaasigala mu kibuga kino ajja kufa ekitala, enjala oba kawumpuli, naye buli afuluma n’agenda eri Abakaludaaya ajja kuba mulamu.” Yeremiya 38:2

Era tulaba ng’abakungu bagamba kabaka nga Yeremiya bwe yali asaana okuttibwa. Era Kabaka n’amuteeka mu ngalo zaabwe. Bwatyo Yeremiya nateekebwa mu kinnya. Wabula Ebedumeleki Omuwesiyopya, omu ku balawe b’omu lubiri lwa kabaka, bweyakiwulira, nasaba kabaka amukkirize okujja Yeremiya mi kinnya, era ne kikolebwa.

Bwe tweyongerayo tulaba Zeddekiya kabaka ng’atumya Yeremiya okudamu okumwebuuzaako. Era Yeremiya nategeeza kabaka Mukama kyagamba nti,

“Singa weewaayo eri abakungu ba kabaka w’e Babulooni, ojja kukuumibwa bulungi tootuukibweko kabi konna, n’ekibuga kino tekijja kwokebwa; ggwe n’ab’omu maka go munaabeera balamu.” Yeremiya 38:17

Era Zeddekiya kabaka agamba Yeremiya nti,

“Tobuulirako muntu n’omu ku bye twogedde, bw’onookikola ojja kufa.” Yeremiya 38:24

Bwe tweyongerayo, tulaba nga Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni alumba Yerusaalemi era bwe wayitawo ebbanga ekisenge ky’ekibuga kyabotorwa. Era kabaka Zeddekiya n’abaserikale be bonna n’ebadduka mukibuga ekiro. Wabula eggye ly’Abakaludaaya ne libagoba era n’eribawamba.

Era tulaba nga Nebukadduneeza aggyamu kabaka Zeddekiya amaaso.

Era tulaba nga,

“Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye, n’aleka abamu ka bantu abaavu abaali batalina kantu, mu nsi ya Yuda; n’abawa ebibanja n’ennimiro z’emizabbibu.” Yeremiya 39:10

Era Nebukadduneeza yawa omuduumizi ebiragiro ebikwata ku Yeremiya nti,

“Mmutwale omulabirire: tomubonyaabonya wabula mukolere byonna by’ayagala.” Yeremiya 39:12

Era Mukama awa Yeremiya ekigambo kya Ebedumeleki Omuwesiyopya nti,

“Naye ndikuwonya ku lunaku olwo…toliweebwayo eri abo b’otya. Ndikuwonya; tolittibwa, olisigala ng’oli mulamu, kubanga onnesiga, bw’ayogera Mukama.” Yeremiya 39:17

Ewalala mu Zabbuli ya Asafu eya 74, tulaba okwebuuza nti,

“Ayi Katonda, lwaki otusuulidde ddala ennaku zonna? Obusungu bwo lwaki bunyookera ku ndiga z’omu ddundiro lyo?” Zabbuli 74:1

Era tulaba okwongera ku mbeera ya Sayuuni bwe yaali. Ekibuga kyali kyononeddwa, ewatukuvu waali wookeddwa.

Wabula Asafu ayogera nti,

“Naye ggwe, Ayi Katonda, oli Kabaka wange wa dda; gw’oleeta obulokozi mu nsi.” Zabbuli 74:12

Era ku Katonda kyogerwa nti,

“Ggwe wazibukula ensulo n’emyala; ate n’okaza n’emigga egyakulukutanga bulijjo.” Zabbuli 74:15

Era nti,

“Obudde bw’emisana bubwo, n’ekiro kikyo; ggwe wakola omwezi n’enjuba.” Zabbuli 74:16

Era nti,

“Ggwe wateekawo ensalo z’ensi; ggwe wakola ebiro eby’ekyeya n’eby’obutiti.” Zabbuli 74:17

Era nti,

“Tokkiriza abo abajoogebwa okuwangulwa; era leka abaavu n’abeetaga batenderezenga erinnya lyo ennaku zonna.” Zabbuli 74:21

Era Asafu agenda mumaaso ng’agamba nti,

“Ayi Katonda omugabo gwo gulumbiddwa amawanga; boonoonye yeekaalu yo entukuvu ne Yerusaalemi kizikiriziddwa, ne kifuuka entuumo.” Zabbuli 79:1

Era nti,

“Baliraanwa baffe batuyisaamu amaaso, era tufuuse ekisekererwa eri abo abatwetoolodde.” Zabbuli 79:4

Era asaba nti,

“Totubalira kibi kya bajjajjaffe; tukusaba oyanguwe okutusaasira kubanga tuli mu bwetaavu bungi nnyo.” Zabbuli 79:8

Era nti,

“Tuyambe olw’ekitiibwa ky’erinnya lyo, Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe; otuwonye era otutangiririre olw’ebibi byaffe olw’erinnya lyo.” Zabbuli 79:9

Era nti,

“Ayi Ayi Mukama, baliraanwa baffe abakuduulira, bawalane emirundi musanvu.” Zabbuli 79:12

“Kale nno, ffe abantu bo era endiga ez’omuddundiro lyo, tulyoke tukutenderezenga emirembe gyonna.” Zabbuli 79:13