Enkomerero etuuse ku nsonda ennya ez’ensi

Nnaatera okubalaga obusungu bwange, n’ekiruyi kyange. Ndibasalira omusango ng’enneeyisa yammwe bw’eri, ne mbasasula ng’ebikolwa byammwe byonna eby’ekkive bwe biri.

Ezeekyeri 7:8

Ekijjulo kyaffe leero kijjudde ebya ssava okuva mu Ezeekyeri 1-7. Ekitabo kino kyawandiikibwa mu biseera ebyasingira ddala okubaamu ebizibu mu byafaayo bya Isirayiri. Ekiseera ekyo okujemera katonda kwali kungi, okusinza bakatonda abalala, okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango, n’ebintu ebirala ebiri ng’ebyo.

Bwetujjaako akawuwo, tulaba nga nnabi Ezeekyeri alaba ekitiibwa kya Mukama. Era Ezeekyeri agamba nti,

“…eggulu ne libikkulwa, ne ndaba okwolesebwa okuva eri Katonda.” Ezeekyeri 1:1c

Era yalaba ekire ekikutte ekimwansa…

Wakati mu muliro mwalabika ng’omwali ebiramu ebina, nga birina ekifaananyi ky’omuntu.

Ku biramu ebina bino, kyogerwa nti,

“Obwenyi bwabyo bwafaanana bwe buti: Buli kimu kyalina ekyenyi eky’omuntu, oluuyi olwa ddyo olwa buli kyenyi nga lufaanana ekyenyi eky’empologoma, n’oluuyi olwa kkono ku buli kyenyi nga lufaanana ekyenyi ky’ente, ate nga birina n’ekyenyi ky’emunyungu.” Ezeekyeri 1:10

Era kigambibwa nti ebiramu ebina bino,

“Omwoyo gye yalaganga nabyo gye byalaganga, ne bitakyuka kudda mabega.” Ezeekyeri 1:12

Era Ezeekyeri yalaba ekyafanananga entebe ey’obwakabaka ate nga waggulu w’ekifananyi eky’entebe ey’obwakabaka nga watuddeyo eyafaanana ng’omuntu. Era agamba nti,

“Ekitiibwa ekyamwetooloolanga kyafaanana nga musoke mu bire ku lunaku olw’enkuba. Ekyo kye kyali ekifaananyi eky’ekitiibwa kya Mukama.” Ezeekyeri 1:28

Era Ezeekyeri bwe yakiraba, n’avuunama. Wabula yawulira eddoboozi erya mulagira ayimirire era Omwoyo namujjako n’amuyimusa. Eyali ayogera yagamba nti,

“Omwana w’omuntu, nkutuma eri Abayisirayiri, eri eggwanga ejeemu eryanjeemera, era bo ne bajjajjaabwe banjemera okuva edda n’okutuusa olunaku lwa leero.” Ezeekyeri 2:3

Ayongerako nti,

“Oba banaawuliriza oba tebaawulirize, kubanga nnyumba njeemu, balimanya nga mu bo musituseemu nnabbi.” Ezeekyeri 2:5

Era nti,

“Kaakano ggwe omwana w’omuntu, tobatya newaakubadde ebigambo bye banaayogera, newakubadde emyeramannyo n’amaggwa nga bikwetoolodde, era ng’obeera wakati mu njaba ez’obusagwa. Totya bigambo bye banaayogera newaakubadde okutekemuka kubanga nnyumba njeemu.” Ezeekyeri 2:6

Era Mukama agamba Ezeekyeeri nti,

“Naye ggwe omwana w’omuntu wuliriza kye nkugamba. Tojeema ng’ennyumba eyo bwe yanjeemera. Yasamya akamwa ko olye bye nkuwa.” Ezeekyeri 2:8

Era Ezeekyeri agambibwa nti,

“Omwana w’omuntu, lya kiri mu maaso go, lya omuzingo gw’empapula guno; oluvannyuma ogende oyogere eri ennyumba ya Isirayiri.” Ezeekyeri 3:1

Era nti,

“Omwana w’omuntu, lya omuzingo gw’empapula gwe nkuwa, ojjuze olubuto lwo. Ne ngulya, ne guwoomerera ng’omubisi gw’enjuki.” Ezeekyeri 3:3

Wabula Mukama alabula Ezeekyeri nti,

“Naye ennyumba ya Isirayiri si beetegefu kukuwuliriza kubanga si beetegefu kumpuliriza; era ennyumba ya Isirayiri yonna balina ekyenyi kikalubo n’emitima mikakanyavu. Naye naawe ndikufuula omukalubo era omukakanyavu mu mutima nga bo. Ndifuula ekyenyi kyo okuba ng’ejjinja erikaluba ennyo…” Ezeekyeri 3:7-9

Era Mukama agamba Ezeekyeri nti,

“Genda kaakano eri abantu bo mu buwaŋŋanguse, oyogere nabo. Bagambe nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda, obanga banaawulira, obanga tebaawulire.” Ezeekyeri 3:11

Era tulaba ng’Omwoyo asitula Ezeekyeri. Era Ezeekyeri agamba nti,

“Ne ntuuka mu kifo ekimu awaali abawaŋŋanguse e Terabibu ku mugga kebali, ne ntuula mu bo okumala ennaku musanvu, nga nsamaaliridde.” Ezeekyeri 3:15

Era Mukama ayogera eri Ezeekyeri nti,

“Omwana w’omuntu, nkufudde omukuumi w’ennyumba ya Isirayiri, era buli lw’onoowuliranga ekigambo kye nnaayogeranga, balabulenga.” Ezeekyeri 3:17

Era nti,

“Naye bw’olirabula omuntu atali mutuukirivu, n’atalekaayo obutali butuukirivu, newaakubadde engeri ze embi; alifa olw’ekibi kye, naye obulamu bwo bulilokolebwa.” Ezeekyeri 3:19

Era nti,

“Kyokka bw’olabulanga omutuukirivu obutayonoona, n’atayonoona, ddala ddala aliba mulamu kubanga yawulira okulabula kwo, era naawe oliba weerokodde.” Ezeekyeri 3:21

Era Mukama agamba nti,

“Omwana w’omuntu, ndisalako emmere eri mu Yerusaalemi. Abantu balirya emmere engere mu kutya, ne banywa amazzi amapime mu kutya, kubanga emmere n’amazzi biriba bya bbula. Tebalyagala kwetunulako, era baliggwaawo olw’ekibi kyabwe.” Ezeekyeri 4:16

Era Mukama Katonda ayogera nti,

“Eno ye Yerusaalemi gye nateeka wakati mu mawanga, ng’ensi zonna zigyetoolodde. Naye, boonoonye okusinga amawanga n’ensi abemwetoolodde bwe boonoonye ne bajeemera amateeka n’ebiragiro byange. Ajeemedde amateeka gange, n’atagoberera biragiro byange.” Ezeekyeri 5:6

Era ayongerako nti,

“Nze kennyini ndi mulabe wo, Yerusaalemi, era ndikubonereza mu maaso g’amawanga.” Ezeekyeri 5:8

Era nti,

“Olw’okuyonoonesa awatukuvu wange ne bakatonda abalala ab’ekivve, n’ebikolwa byammwe eby’ekivve, nze kennyini kyendiva okukulaga ekisa, era sirikulaga kisa wadde okukusaasira.” Ezeekyeri 5:11

Era Mukama ayogera nti kimu kyakusatu kyali kyakufa kawumpuli oba ekyeeya, era kimu kyakusatu ekirirala kirittibwa ekitala…ate nti kimu kyakusatu ekirala yali wakukisaasaanya. Era nti,

“Olwo nno obusungu bwange n’ekiruyi birikkakkana, era ndiba nesasuzza. Era bwe ndibasunguwalira balamanya nga nze Mukama kyogeredde mu buggya.” Ezeekyeri 5:13

Era nti,

“Bwe ndirasa obusaale obutta era obuzikiriza obw’ekyeya ndirasa okubazikiriza. Ndyongera okuleeta ekyeya, ne nsalako n’emmere ebaweebwa. Ndibaleetera ekyeya n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko, ne zibaleka nga temulina baana. Kawumpuli n’okuyiwa omusaayi biribatuukako, ne mbaleetako ekitala.” Ezeekyeri 5:16

Bwe tweyongerayo tulaba obubaka eri ensozi za Isirayiri.

“Mmwe ensozi za Isirayiri, muwulire ekigambo kya Mukama Katonda. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri ensozi n’obusozi, eri emigga n’ebiwonvu, nti, Nze kennyini ndibaleetako ekitala ne nzikiriza n’ebifo byammwe ebigulumivu.” Ezeekyeri 6:3

Mukama agamba nti abantu balittibwa wakati mu mmwe, ne mulyoka mumanya nga nze Mukama. Era nti,

“Naye ndirekawo bamu ku mmwe, era muliba bakaawonawo nga musaasaanye mu nsi ne mu mawanga.” Ezeekyeri 6:8

Era nti,

“Era eyo mumawanga bakaawonawo gye mwatwalibwa mu busibe, mulinzijukira, kubanga nnumwa olw’emitima gyabwe eginjemedde egyegomba era egisinza bakatonda abalala.” Ezeekyeri 6:9

Era nti,

“Era balimanya nga nze Mukama; saabatiisiza bwereere okubaleetako akabi kano.” Ezeekyeri 6:10

Era Mukama ayogera nti, kuba mungalo zo, osambagale era okaabire waggulu oyogere nti,

“Woowe; olw’ebikolwa byonna ebitali bya butuukirivu n’ebintu byonna eby’ekivve eby’ennyumba ya Isirayiri; abamu baligwa n’ekitala, abalala balifa enjala, n’abalala balifa kawumpuli.” Ezeekyeri 6:11b

Era ekigambo kya Mukama ne kijjira Ezeekyeri nga kigamba nti,

“Enkomerero! Enkomerero etuuse ku nsonda ennya ez’ensi. Enkomerero ebatuuseeko era ndibasumulurira obusungu bwange, ne mbasalira omusango ng’engeri zammwe bwe ziri era ndibabonereza ng’ebikolwa byammwe eby’ekivve byonna bwe biri.” Ezeekyeri 7:1-3

Era nti,

“Siribatunuulira na liiso lya kisa newaakubadde okubasonyiwa; naye ndibasasula ng’engeri zammwe, n’ebikolwa byammwe eby’ekkive bwe biri mu mmwe, mumanye nga nze Mukama.” Ezeekyeri 7:4

Era nti,

“Nnaatera okubalaga obusungu bwange, n’ekiruyi kyange. Ndibasalira omusango ng’enneyisa yammwe bw’eri, ne mbasasula ng’ebikolwa byammwe byonna eby’ekkive bwe biri.” Ezeekyeri 7:8

Kyongerwaako nti,

“Ekiseera kituuse, n’olunaku lutuuse. Agula aleme okusanyukirira, n’oyo atunda aleme okunakuwala, kubanga obusungu bubuubuukidde ku kibiina kyonna.” Ezeekyeri 7:12

Era nti,

“Ebweru waliyo ekitala ne munda waliyo kawumpuli n’enjala. Abali ku ttale balifa kitala, abali mu kibuga balimalibwawo kawumpuli n’enjala.” Ezeekyeri 7:15

Era nti,

“Emikono gyonna giriremala, n’amaviivi gonna galiba ng’amazzi.” Ezeekyeri 7:17

Era nti,

“Balisuula effeeza yaabwe mu nguudo, ne zaabu yaabwe eriba ekitali kirongoofu; effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe tebiriyinza kubalokola ku lunaku lwa Mukama olw’obusungu bwe, era tebalikkuta newaakubadde okukkusibwa. Ebyo bye byabaleetera okugwa mu kibi.” Ezeekyeri 7:19

Era nti,

“Ebintu byaabwe eby’omuwendo byabaleetera amalala, era ekyavaamu kwe kukola bakatonda abalala…” Ezeekyeri 7:20

Era nti,

“Entiisa bw’erijja, balinoonya emirembe naye tebaligifuna.” Ezeekyeri 7:20